LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • th essomo 13 lup. 16
  • Okulaga Omuganyulo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okulaga Omuganyulo
  • Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Similar Material
  • Ennyanjula Ennungi
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Okufuba Okutuuka ku Mutima
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Okwogera n’Ebbugumu
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Ebiganyula Abakuwuliriza
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
See More
Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
th essomo 13 lup. 16

ESSOMO 13

Okulaga Omuganyulo

Ekyawandiikibwa

Engero 3:21

MU BUFUNZE: Yamba abakuwuliriza okulaba engeri ebyo by’oyogerako gye biyinza okubaganyulamu era obalage engeri gye bayinza okubikolerako.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Lowooza ku banaakuwuliriza. Lowooza ku nsonga lwaki beetaaga okuwulira ebyo by’ogenda okubabuulira, era olowooze ku binaasinga okubaganyula.

  • Mu mboozi yo yonna, laga abakuwuliriza eky’okukola. Okuviira ddala ku ntandikwa, buli omu ku bakuwuliriza asaanidde okukiraba nti by’oyogerako bimukwatako. Bw’oba onnyonnyola ensonga enkulu, laga engeri gye bayinza okussa mu nkola ebyo by’obabuulira.

    Eky’okukola

    Bw’oba obalaga engeri gye bayinza okukolera ku misingi gya Bayibuli, yogera mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala. Mu kifo ky’okubaleetera okulumizibwa olw’ekyo kye bayinza okuba nga tebakola bulungi, nyweza okukkiriza kwabwe, ng’oli mukakafu nti bajja kukola ekituufu.

MU BUWEEREZA

Bw’oba weeteekateeka okugenda okubuulira, lowooza ku bifulumidde mu mawulire ne ku ebyo ebiyinza okusikiriza abantu. Yogera ku bintu abantu bye basinga okulowoozaako. Buuza ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi osobole okumanya omuntu ky’ayagala okwogerako oba ekimweraliikiriza. Muwulirize bulungi ng’akuddamu, osobole okutuukaganya by’oyogera n’ebyo by’akuzzeemu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share