LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwbr21 Jjanwali lup. 1-14
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2021
  • Subheadings
  • JJANWALI 4-10
Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2021
mwbr21 Jjanwali lup. 1-14

Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

JJANWALI 4-10

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBY’ABALEEVI 18-19

“Sigala ng’Oli Muyonjo mu Mpisa”

w19.06 lup. 28 ¶1

Engeri Gye Tuyinza Okwekuumamu Ogumu ku Mitego gya Sitaani

Yakuwa bwe yali ayogera ku bikolwa eby’obugwenyufu amawanga bye gaali gakola, yagamba Abayisirayiri nti: “Temukolanga ebyo ebikolebwa mu nsi ya Kanani gye mbatwalamu. . . . Ensi efuuse etali nnongoofu, era nja kugibonereza olw’ensobi zaayo.” Mu maaso ga Katonda wa Isirayiri omutukuvu, empisa z’Abakanani zaali mbi nnyo ne kiba nti ensi yaabwe yali agitwala nga si nnongoofu.​—Leev. 18:3, 25.

w17.02 lup. 20 ¶13

Yakuwa Akulembera Abantu Be

Bakabaka abeesigwa abaakulemberanga abantu ba Katonda baali ba njawulo nnyo ku bakabaka b’amawanga amalala. Bakabaka b’amawanga amalala baakoleranga ku magezi g’abantu! Ng’ekyokulabirako, bakabaka ba Kanani n’abantu be baafuganga, baakolanga ebintu ebibi ennyo, gamba ng’okwegatta n’abantu be baalinako oluganda, okulya ebisiyaga, okwegattanga n’ensolo, okusaddaaka abaana, n’okusinza ebifaananyi. (Leev. 18:6, 21-25) Ate era abafuzi ba Babulooni ne Misiri tebaalina mateeka agakwata ku buyonjo ng’ago Katonda ge yawa Abayisirayiri. (Kubal. 19:13) Kyokka bo abasajja abeesigwa abaakulemberanga abantu ba Katonda baakubirizanga abantu okusigala nga bayonjo mu by’omwoyo, mu mpisa, ne mu mubiri. Mu butuufu, Yakuwa yali abakozesa okukulembera abantu be.

w14 7/1 lup. 7 ¶2

Katonda Ajja Kuggyawo Okubonaabona Kwonna

Kiki ekinaatuuka ku abo abakola ebintu ebibi mu bugenderevu era abagaana okukyusa enneeyisa yaabwe? Bayibuli egamba nti: “Abagolokofu be balibeera mu nsi, era abo abataliiko kya kunenyezebwa be baligisigalamu. Naye ababi balimalibwawo mu nsi, n’abo ab’enkwe balisimbulibwamu.” (Engero 2:21, 22) Abantu ababi bonna bajja kuzikirizibwa. Mu kiseera ekyo buli kimu kijja kuba kirungi, era abantu abawulize bajja kufuuka abatuukiridde.​—Abaruumi 6:17, 18; 8:21.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w06 7/1 lup. 14 ¶11

‘Amateeka Go nga Ngaagala Nnyo!’

Okukuŋŋaanya ebifikidde kye kintu eky’okubiri ekyali mu Mateeka ga Musa ekyalaga nti Katonda afaayo ku abantu be. Yakuwa yalagira Omuyisirayiri omulimi okukkiriza omuntu ali mu bwetaavu okutwala ebirime abakunguzi be bye baabanga balese mu nnimiro. Abalimi tebaalinanga kukungula ebirime ebyalinga ku mabbali g’ennimiro, era tebaalina kuddayo kukungula zzabbibu n’ettiini ezaasigaliranga. Ebinywa eby’eŋŋaano ebyalekebwanga mu nnimiro mu butali bugenderevu nabyo tebaalinanga kuddayo kubikima. Enteekateeka eno yayambanga nnyo abaavu, abagwira, bamulekwa ne bannamwandu. Wadde nga kyali kyetaagisa okufuba ennyo okukuŋŋaanya ebifikidde, enteekateeka eno yasobozesanga abo abaali mu bwetaavu okwewala okusabiriza.​—Eby’Abaleevi 19:9, 10; Ekyamateeka 24:19-22; Zabbuli 37:25.

JJANWALI 11-17

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBY’ABALEEVI 20-21

“Yakuwa Ayawulawo Abantu Be”

w04 11/1 lup. 11 ¶12

Olina ky’Osinziirako Okukkiriza nti Walibaawo Olusuku lwa Katonda?

Wadde kiri kityo, waliwo ekintu kye tutalina kubuusa maaso. Katonda yagamba Abayisirayiri nti: “Mukwatenga ebiragiro byonna bye mbawa leero, musobole okuba ab’amaanyi, musomoke muyingire mu nsi mugitwale.” (Ekyamateeka 11:8) Ate era mu Eby’Abaleevi 20:22, 24, Yakuwa yagamba Abayisirayiri nti: “Mukwatenga amateeka gange n’ebiragiro byange byonna, ensi gye mbatwalamu okubeeramu ereme okubasesema. Eno ye nsonga lwaki nnabagamba nti: “Mujja kutwala ensi yaabwe era nze nja kugibawa ebe yammwe, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.” Okubeera mu Nsi Ensuubize kyali kyesigamye ku kubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda. Olw’okuba Abayisirayiri tebaamugondera, Katonda yaleka Abababulooni okubawamba ne babaggya mu nsi yaabwe.

it-1-E lup. 1199

Obusika

Ekintu kyonna ekiweebwa omusika oba omuntu omulala yenna ng’abadde nnannyini kyo afudde. Ekigambo ekyo kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya na·chalʹ (oba na·chalahʹ). Kizingiramu okugaba oba okufuna eky’obusika, nnaddala nga waliwo omuntu adidde omulala mu bigere. (Kbl 26:55; Ezk 46:18) Ekigambo ya·rashʹ emirundi egimu kikozesebwa okutegeeza ‘okusikira’ naye okusingira ddala kikozesebwa okutegeeza ‘okutwala’ ekintu ne kifuuka ekikyo. (Lub 15:3; Lev 20:24) Ate era kikozesebwa okutegeeza ‘okutwala ekintu; okugoba,’ ng’ekyo kizingiramu okulwana nga bakozesa eggye. (Ma 2:12; 31:3) Ekigambo kleʹros eky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “obusika” mu kusooka kyali kitegeeza “akalulu.”​—Mat 27:35; Bik 26:18.

it-1-E lup. 317 ¶2

Ebinyonyi

Oluvannyuma lw’Amataba, Nuuwa yawaayo ebimu ku “bibuuka byonna ebirongoofu” n’ezimu ku nsolo nga ssaddaaka. (Lub 8:18-20) Oluvannyuma Katonda yakkiriza abantu okulya ebinyonyi kasita tebalyanga musaayi gwabyo. (Lub 9:1-4; geraageranya Lev 7:26; 17:13.) N’olwekyo, ebinyonyi ebimu okutwalibwa nga ‘birongoofu’ mu kiseera ekyo kyava ku kuba nti Katonda yakkiriza biweebweyo nga ssaddaaka. Bayibuli teraga nti waliwo ebinyonyi ebyali bitwalibwa nga ‘si birongoofu’ era nga tebisaana kuliibwa, okutuusa Katonda lwe yawa Abayisirayiri Amateeka okuyitira mu Musa. (Lev 11:13-19, 46, 47; 20:25; Ma 14:11-20) Bayibuli teraga nsonga lwaki ebinyonyi ebimu byatwalibwanga ‘ng’ebitali birongoofu.’ N’olwekyo, wadde ng’ebinyonyi ebisinga obungi ebyatwalibwa ng’ebitali birongoofu byali ebyo ebirya ennyama, si byonna ebirya ennyama nti byatwalibwanga ng’ebitali birongoofu. (Laba HOOPOE.) Amateeka agaali gagaana abantu okulya ebinyonyi ebimu gaggibwawo endagaano empya bwe yassibwawo, era ekyo Katonda yakiraga Peetero okuyitira mu kwolesebwa.​—Bik 10:9-15.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-1-E lup. 563

Okwesala Emisale

Amateeka ga Katonda gaagaana abantu okwesala emisale ku mibiri gyabwe olw’omuntu afudde. (Lev 19:28; 21:5; Ma 14:1) Ensonga yali nti Abayisirayiri baali ggwanga lya Yakuwa ettukuvu era ekintu kye ekiganzi. (Ma 14:2) N’olw’ensonga eyo, Abayisirayiri baalina okwewalira ddala obulombolombo bwonna obukolebwa mu kusinza okw’obulimba. Ate era, abantu abaali bamanyi embeera y’abafu era nga balina essuubi ly’okuzuukira, baali tebasaana kukungubaga nnyo mu ngeri ng’eyo eyali ezingiramu n’okwesala emisale ku mibiri. (Dan 12:13; Beb 11:19) N’ekirala, etteeka eryali ligaana Abayisirayiri okwesala emisale ku mibiri gyabwe lyandibayambye okutwala emibiri gyabwe nga gya muwendo.

JJANWALI 18-24

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBY’ABALEEVI 22-23

“Engeri Embaga Abayisirayiri Ze Baabanga Nazo Gye Zitukwatako”

it-1-E lup. 826-827

Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse

Olunaku olusooka olw’Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse lwali lukuŋŋaana lwa njawulo era nga ssabbiiti. Ku lunaku olw’okubiri, nga Nisaani 16, ekinywa eky’ebibala ebibereberye ebya ssayiri, nga bye bibala ebyasookanga okwengera mu Palesitayini, kyatwalibwanga eri kabona. Ng’embaga eyo tennatuuka, tewali yakkirizibwanga kulya ku mugaati gwonna, emmere ey’empeke ensiike, oba eyaakakungulwa. Kabona yawangayo eri Yakuwa ekiweebwayo eky’ebibala ebibereberye ng’awuubawuuba ekinywa eky’emmere ey’empeke, era yaweerangako n’endiga ento ennume ennamu obulungi etasussa mwaka gumu ng’ekiweebwayo ekyokebwa, awamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke etabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni era n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa. (Lev 23:6-14) Tewaaliwo tteeka eryali liragira okwokya emmere ey’empeke oba obuwunga ku kyoto, nga bakabona bwe baakolanga oluvannyuma. Okuwaayo ekiweebwayo eky’ebibala ebibereberye ng’eggwanga si kye kyokka ekyakolebwanga, naye era waaliwo n’enteekateeka esobozesa buli maka oba omuntu kinnoomu okuwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza mu kiseera ekyo eky’embaga.​—Kuv 23:19; Ma 26:1, 2; laba FIRSTFRUITS.

Ensonga lwaki embaga eyo yakwatibwanga. Okulya emigaati egitali mizimbulukuse mu kiseera ekyo kyali kikwatagana n’obulagirizi Yakuwa bwe yawa Musa obuli mu Okuva 12:14-20, omwali muzingiramu n’ekiragiro kino ekiri mu lunyiriri 19: “Mu nnyumba zammwe temubangamu kizimbulukusa okumala ennaku musanvu.” Mu Ekyamateeka 16:3, emigaati egitali mizimbulukuse era giyitibwa “emigaati egy’okunakuwala,” era buli mwaka emigaati egyo gyajjukizanga Abayisirayiri engeri gye baava e Misiri mu bwangu (nga tebalina budde bwa kuteeka kizimbulukusa mu buwunga bwe baali bakanze [Kuv 12:34]). Mu ngeri eyo bajjukiranga okubonaabona kwe baalimu e Misiri nga tebannaba kununulibwa, era nga ne Yakuwa bwe yabagamba nti, “osobole okujjukira olunaku lwe wava mu nsi ya Misiri ennaku zonna ez’obulamu bwo.” Embaga eyo Abayisirayiri gye baasookanga okukwata ku mbaga essatu ze baabanga nazo mu mwaka, yabayambanga okusiima eddembe lye baalina ng’eggwanga n’okusiima Yakuwa eyabanunula.​—Ma 16:16.

it-2-E lup. 598 ¶2

Pentekooti

Ebibala ebibereberye eby’eŋŋaano byakozesebwanga mu ngeri ya njawulo ku bibala ebibereberye ebya ssayiri. Ebitundu bibiri bya kkumi ebya efa y’obuwunga bw’eŋŋaano obutaliimu mpulunguse (lita 4.4) obuteekeddwamu ekizimbulukusa bwakolebwangamu emigaati ebiri. Baali ba kugiggya ‘gye baali babeera,’ ekitegeeza nti emigaati egyo tegyakolebwanga mu ngeri ya njawulo wabula gyali ng’egyo gye baalyanga bulijjo. (Lev 23:17) Baaweerangako ebiweebwayo ebyokebwa n’ekiweebwayo olw’ekibi awamu n’endiga ento ennume bbiri ng’ekiweebwayo olw’emirembe. Kabona yakwatanga emigaati egyo n’endiga n’abiwuubirawuubira mu maaso ga Yakuwa okulaga nti biweereddwayo gy’ali. Kabona bwe yamalanga okuwaayo emigaati n’endiga, yabiryanga ng’ekiweebwayo olw’emirembe.​—Lev 23:18-20.

w14 5/15 lup. 29 ¶11

Otambulira Wamu n’Ekibiina kya Yakuwa?

Bulijjo ekibiina kya Yakuwa kitukubiriza okukolera ku bigambo by’omutume Pawulo bino: “Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu ng’abamu bwe bakola, naye nga tuzziŋŋanamu amaanyi, naddala nga bwe mulaba nti olunaku lusembedde.” (Beb. 10:24, 25) Embaga ezaabangawo buli mwaka awamu n’enkuŋŋaana endala Abayisirayiri ze baabanga nazo zaabayambanga okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa. Ate era enkuŋŋaana n’embaga ezo, gamba ng’Embaga ey’Ensiisira eyaliwo mu kiseera kya Nekkemiya, zaaleeteranga Abayisirayiri essanyu lingi. (Kuv. 23:15, 16; Nek. 8:9-18) Ne leero, tuba n’enkuŋŋaana ennene n’entono. Tusaanidde okubaawo mu nkuŋŋaana ezo zonna kubanga zituyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa n’okweyongera okumuweereza n’essanyu.​—Tit. 2:2.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w19.02 lup. 3 ¶3

Kuuma Obugolokofu Bwo!

Abaweereza ba Katonda booleka batya obugolokofu? Babwoleka nga baagala Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna era nga bamwemalirako, ne kiba nti bakulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala mu bulamu bwabwe. Lowooza ku ngeri ekigambo obugolokofu gye kikozesebwamu mu Bayibuli. Mu Bayibuli, ekigambo “obugolokofu” kiyinza okutegeeza ekintu ekijjuvu, ekiramu obulungi, oba ekiramba. Ng’ekyokulabirako, Abayisirayiri baawangayo eri Yakuwa ssaddaaka z’ensolo era okusinziira ku Mateeka ensolo ezo zaalina okuba nga nnamu bulungi. (Leev. 22:21, 22) Abantu ba Katonda baali tebakkirizibwa kuwaayo nsolo ebulako wadde okugulu okumu, okutu, oba eriiso; era baali tebakkirizibwa kuwaayo nsolo ndwadde. Yakuwa yali abeetaagisa okuwaayo ensolo ennamu obulungi era nga nnamba. (Mal. 1:6-9) Kyangu okulaba ensonga lwaki Yakuwa ayagala okumuwa ekintu ekiramu obulungi era ekitalina kikibulako. Bwe tuba tulina ekintu kye tugula, ka kibe kibala, kitabo, oba ekintu ekirala kyonna, tetwagala ekyo ekirimu ebituli oba ekirina ekikibulako. Twagala ekintu nga kiri mu bulambalamba bwakyo era nga kiri mu mbeera nnungi. Ne Yakuwa bw’atyo bw’awulira bwe kituuka ku kwagala kwe tulina gy’ali ne ku kuba abeesigwa gy’ali. Okwagala kwaffe n’obwesigwa bwaffe birina okuba nga bijjuvu nga tebibulako.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

w07-E 7/15 lup. 26

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Okuva bwe kiri nti amakungula gaatandikanga ng’Abayisirayiri bonna abasajja bagenze ku Mbaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, baani abaakungulanga ebibala ebibereberye ebya ssayiri ebyatwalibwanga ku weema entukuvu?

Amateeka gaalagira Abayisirayiri nti: “Emirundi esatu mu mwaka buli musajja anaalabikanga mu maaso ga Yakuwa Katonda wo mu kifo ky’aneeroboza: ku Mbaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, ne ku Mbaga ey’Amakungula, ne ku Mbaga ey’Ensiisira.” (Ekyamateeka 16:16) Okuva mu kiseera kya Kabaka Sulemaani n’okweyongerayo, ekifo Katonda kye yeeroboza yali yeekaalu eyali mu Yerusaalemi.

Embaga eyasookanga ku mbaga essatu Abayisirayiri ze baabanga nazo mu mwaka, eyitibwa Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, yatandikanga ku lunaku olwaddiriranga embaga ey’Okuyitako eyabangawo nga Nisaani 14 era yamalanga ennaku musanvu okutuuka nga Nisaani 21. Olunaku olw’okubiri olw’Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, Nisaani 16, lwe lwabanga olunaku olusooka olw’amakungula g’omwaka okusinziira ku kalenda y’Abayudaaya. Ku lunaku olwo, kabona asinga obukulu yaddiranga “ekinywa ky’ebibala ebibereberye” ebya ssayiri ebyabanga bikunguddwa, ‘n’akiwuubirawuubira mu maaso ga Yakuwa’ ku weema entukuvu. (Eby’Abaleevi 23:5-12) Okuva bwe kiri nti abasajja bonna baalina okubangawo ku Mbaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, baani abaakungulanga ebibala ebyo ebyaweebwangayo?

Etteeka ery’okuwaayo eri Yakuwa ebibala ebibereberye eby’amakungula ku Mbaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse lyaweebwa ggwanga lyonna. Si buli muntu nti kyali kimukakatako okukungula ebibala ebibereberye n’okubitwala ku weema entukuvu. Mu kifo ky’ekyo, waabangawo abaatumibwanga mu nnimiro ya ssayiri eyabanga okumpi, ne bakungula ekinywa eky’ebibala ebibereberye ebya ssayiri ku lw’eggwanga lyonna ne babireeta ku Mbaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse. Ekitabo ekiyitibwa Encyclopaedia Judaica kyogera bwe kiti ku nsonga eyo: “Ekiseera eky’amakungula ga ssayiri bwe kyabanga kituuse, yali esobola okuggibwa mu nnimiro eyali okumpi ne Yerusaalemi oba mu kitundu ekirala kyonna mu Isirayiri. Yakungulwanga abasajja basatu nga buli omu alina nnajjolo n’ekisero.” Oluvannyuma, ekinywa kya ssayiri kyaleetebwanga eri kabona asinga obukulu n’akiwaayo eri Yakuwa.

Etteeka erikwata ku kuwaayo ebibala ebibereberye lyawanga Abayisirayiri akakisa okulaga okusiima kwabwe eri Katonda olw’okubawa ensi ennungi n’okubaza ebirime byabwe. (Ekyamateeka 8:6-10) Kyokka, okuwaayo ebiweebwayo ebyo ‘kyali kisiikirize busiikirize eky’ebintu ebirungi ebyali bigenda okujja.’ (Abebbulaniya 10:1) Tekyewuunyisa nti Yesu Kristo yazuukizibwa nga Nisaani 16, 33 E.E., olunaku lwe baaweerangayo ebibala ebibereberye eri Yakuwa. Omutume Pawulo bwe yali ayogera ku Yesu yagamba nti: “Kristo yazuukizibwa mu bafu, era ye bye bibala ebibereberye eby’abo abaafa. . . . Naye buli omu mu kiti kye; Kristo ebibala ebibereberye, oluvannyuma abo aba Kristo mu kiseera ky’okubeerawo kwe.” (1 Abakkolinso 15:20-23) Ekinywa ky’ebibala ebibereberye kabona asinga obukulu kye yawuubirawuubiranga mu maaso ga Yakuwa kyali kisonga ku Yesu Kristo eyazuukizibwa, era nga ye yasooka okuzuukizibwa n’afuna obulamu obutaggwaawo. Bw’atyo Yesu yaggulawo ekkubo ery’okununula abantu okuva mu kibi n’okufa.

JJANWALI 25-31

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBY’ABALEEVI 24-25

“Omwaka gwa Jjubiri n’Eddembe Lye Tujja Okufuna mu Biseera eby’Omu Maaso”

it-1-E lup. 871

Eddembe

Katonda ow’Eddembe. Yakuwa, ye Katonda ow’eddembe. Yanunula eggwanga lya Isirayiri okuva mu buddu e Misiri. Yabagamba nti singa bagondera amateeka ge bandibadde bafuna ebyo byonna bye beetaaga. (Ma 15:4, 5) Kyokka, Amateeka gaalaga nti omusajja bwe yayavuwalanga yali asobola okwetunda mu buddu asobole okufuna ebyetaago bye n’eby’ab’omu maka ge. Naye Amateeka gaalaga nti mu mwaka ogw’omusanvu yalinanga okuweebwa eddembe lye n’ava mu buddu. (Kuv 21:2) Omwaka gwa Jjubiri (buli mwaka ogwa 50), emirembe gyalangirirwanga mu nsi eri abantu bonna abagibeeramu. Buli muddu Omwebbulaniya yaweebwanga eddembe lye n’addayo ku butaka bwe.​—Lev 25:10-19.

it-1-E lup. 1200 ¶2

Obusika

Okuva bwe kiri nti ettaka lyabanga lya kika era nga lya nsikirano, teryatundibwanga lubeerera. Okutunda ettaka kwabeeranga nga kugaba liizi, nga basinziira ku muwendo gw’ebirime ebyandikunguddwa mu ttaka eryo, era n’okusinziira ku myaka egyabanga gisigaddeyo okutuuka ku Jjubiri eddako. Mu mwaka gwa Jjubiri ettaka lyaddizibwanga nnyini lyo bwe yabanga tasobodde kulinunula ng’omwaka gwa Jjubiri tegunnatuuka. (Lev 25:13, 15, 23, 24) Etteeka eryo era lyali likwata ne ku mayumba agaabanga mu bibuga ebitaaliko bbugwe agaabalibwanga awamu n’ebibanja. Naye omuntu bwe yatundanga ennyumba ye eri mu kibuga ekiriko bbugwe yabanga asobola okuginunula mu bbanga lya mwaka gumu okuva lwe yagitunda, era bw’ataasobolanga kuginunula yafuukanga y’oyo eyabanga agiguze. Naye amayumba agaabanga mu bibuga by’Abaleevi, gaali gasobola okununulwa ebbanga lyonna kubanga Abaleevi tebaalina busika mu nsi.​—Lev 25:29-34.

it-2-E lup. 122-123

Jjubiri

Abayisirayiri bwe baagobereranga etteeka lya Jjubiri, kyayambanga abantu obutaba mu mbeera mbi eriwo mu mawanga mangi leero, omuli abantu ab’ebiti ebibiri; ng’abagagga bagagga nnyo ate ng’abaavu baavu nnyo. Emiganyulo egyali mu tteeka eryo gyayamba nnyo eggwanga lya Isirayiri, kubanga tewali n’omu eyeesanganga mu mbeera embi ennyo mu by’enfuna era bonna baali basobola okukolera awamu okuzimba eggwanga lyabwe. Olw’okuba Yakuwa yawanga ettaka lyabwe emikisa ne libaza emmere era olw’okuba yabayigirizanga amateeka amalungi, Abayisirayiri bwe baabanga abawulize baabanga mu bulamu obulungi ng’abantu bwe bandibadde nga bafugibwa gavumenti ya Katonda.​—Is 33:22.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w09 10/1 lup. 18 ¶3

Nga Waliwo Akunyiizizza

Omuyisirayiri bwe yalwananga ne Muyisirayiri munne n’amuggyamu eriiso, naye yalinanga okuggibwamu eriiso. Naye tekyali eri oyo gwe baabanga baggyeemu eriiso oba ab’omu maka ge okwesasuza. Okusinziira ku tteeka eryo, yalinanga okutwala ensonga eyo mu b’obuyinza, kwe kugamba eri abalamuzi bagigonjoole. Eky’okuba nti oyo eyabanga atuusizza obulabe ku muntu munne mu bugenderevu naye yalinanga okufuna ekibonerezo kye kimu, kyakugiranga abantu okwesasuza. Naye waliwo n’ebirala ebyali bizingirwamu.

FEBWALI 1-7

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBY’ABALEEVI 26-27

“Engeri Gye Tuyinza Okufuna Emikisa gya Yakuwa”

w08 4/15 lup. 4 ¶8

Weesambe “Ebintu Ebitaliimu”

‘Eby’obugagga’ biyinza bitya okufuuka katonda? Lowooza ku mayinja agaabanga mu nnimiro mu Isirayiri ey’edda. Amayinja ng’ago gaali gasobola okukozesebwa mu kuzimba ennyumba oba ebisenge. Ku luuyi olulala, bwe baagasimbanga ‘ng’empagi’ okugavunnamira, olwo nga gafuuka ekyesittaza eri abantu ba Yakuwa. (Leev. 26:1) Mu ngeri y’emu, ssente za mugaso. Tuzeetaaga okweyimirizaawo, era tuyinza okuzikozesa mu kuweereza Yakuwa. (Mub. 7:12; Luk. 16:9) Naye singa tukulembeza okunoonya ssente mu kifo ky’okwenyigira mu buweereza bwaffe obw’Ekikristaayo, olwo ssente ziba zifuuse katonda waffe. (Soma 1 Timoseewo 6:9, 10.) Mu nsi eno eteeka ennyo essira ku kunoonya eby’obugagga, tulina okulaba nti tetugwa lubege mu nsonga eno.​—1 Tim. 6:17-19.

it-1-E lup. 223 ¶3

Okutya

Olw’engeri Yakuwa gye yakolaganangamu ne Musa, n’ebintu bye yamusobozesa okukola, Musa yayoleka amaanyi ag’ekitalo (mu Lwebbulaniya, moh·raʼʹ) mu maaso g’abantu ba Katonda. (Ma 34:10, 12; Kuv 19:9) Abo abaalina okukkiriza baatyanga Musa, oba baamuwanga ekitiibwa ekimugwanira. Baali bakimanyi nti Katonda yayogeranga ng’ayitira mu Musa. Ate era Abayisirayiri baalina okutya ekifo kya Yakuwa ekitukuvu. (Lev 19:30; 26:2) Ekyo kitegeeza nti baalina okussa ekitiibwa mu kifo kya Yakuwa ekitukuvu, nga bamusinza nga bw’ayagala era nga bagondera amateeka ge.

w91-E 3/1 lup. 17 ¶10

“Emirembe gya Katonda” Gikuume Omutima Gwo

Yakuwa yagamba eggwanga eryo nti: “Bwe muneeyongera okutambulira mu mateeka gange n’okukwata ebiragiro byange, nnaabawanga enkuba mu kiseera kyayo ekituufu, n’ensi eneebalanga emmere, era n’emiti egy’omu nnimiro ginaabalanga ebibala. Nja kuleeta emirembe mu nsi, era mujja kugalamira awatali n’omu abatiisa; nja kumalawo ensolo enkambwe mu nsi, era ekitala ky’olutalo tekiriyita mu nsi yammwe. Nja kutambuliranga mu mmwe era nja kubeeranga Katonda wammwe, era nammwe mubeerenga bantu bange.” (Eby’Abaleevi 26:3, 4, 6, 12) Abayisirayiri bandibadde mu mirembe mu ngeri nti tebandirumbiddwa balabe baabwe, bandibadde ne bye beetaaga era bandibadde n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Naye ekyo kyandisobose nga bagoberedde Amateeka ga Yakuwa.​—Zabbuli 119:165.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-2-E lup. 617

Endwadde

Ezaava ku Butagoberera Mateeka ga Katonda. Katonda yalabula Abayisirayiri nti singa baamenya endagaano gye yakola nabo, ‘yandibasindikidde endwadde.’ (Lev 26:14-16, 23-25; Ma 28:15, 21, 22) Mu Byawandiikibwa, okuba omulamu obulungi mu by’omubiri oba mu by’omwoyo, kikwataganyizibwa n’emikisa gya Katonda (Ma 7:12, 15; Zb 103:1-3; Nge 3:1, 2, 7, 8; 4:21, 22; Kub 21:1-4), ate endwadde zikwataganyizibwa n’ekibi era n’obutali butuukirivu. (Kuv 15:26; Ma 28:58-61; Is 53:4, 5; Mat 9:2-6, 12; Yok 5:14) N’olwekyo, wadde ng’emirundi egimu Yakuwa Katonda yaleeteranga abantu endwadde, gamba ng’ebigenge ebyakwata Miriyamu, Uzziya, ne Gekazi (Kbl 12:10; 2By 26:16-21; 2Sk 5:25-27), emirundi egisinga endwadde zajjanga olw’abantu oba eggwanga obutagondera mateeka ga Katonda. Baakungulanga kye baabanga basize; baabonaabonanga olw’okukwata ekkubo ekyamu. (Bag 6:7, 8) Ng’ayogera ku abo abaali beenyigidde mu bikolwa eby’obugwenyufu, omutume Pawulo yagamba nti Katonda “yabaleka mu butali bulongoofu bwabwe, emibiri gyabwe gisobole okuweebuulwa . . . ne basasulwa mu bujjuvu ekyo ekigwanira okwonoona kwabwe.”​—Bar 1:24-27.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

w09-E 8/1 lup. 30

Abasomi Baffe Babuuza

Mpeeyo Kyenkana Wa?

“Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.” (2 Abakkolinso 9:7) Abantu bukadde na bukadde bamanyi ebigambo ebyo. Kyokka, abantu abamu abagenda mu makanisa bayinza okuwulira nti balina okuwaayo ekisukka ku busobozi bwabwe. Mu butuufu, amadiini agamu gagerekera abagoberezi baago omuwendo gwe balina okuwaayo. Enkola eyo bagiyita okuwaayo ekimu eky’ekkumi, kwe kugamba, okuwaayo ebitundu kkumi ku buli kikumi ku ssente omuntu z’afuna.

Ddala Bayibuli etulagira okuwaayo omuwendo omugereke? Wali weebuuzizzaako nti mpeeyo kyenkana wa?

Ebiweebwayo Ebyali Biteekeddwa Okuweebwayo n’Ebyaweebwangayo Kyeyagalire

Bayibuli erimu amateeka agategeerekeka obulungi Katonda ge yawa Abayisirayiri agakwata ku ebyo bye baalina okuwaayo gy’ali. (Eby’Abaleevi 27:30-32; Okubala 18:21, 24; Ekyamateeka 12:4-7, 11, 17, 18; 14:22-27) Amateeka ago tegaali mazibu kugoberera. Yakuwa yasuubiza Abayisirayiri nti singa baakwata amateeka ge, ‘yandibawadde emikisa mingi nnyo.’​—Ekyamateeka 28:1, 2, 11, 12.

Mu mbeera endala, Abayisirayiri baali basobola okuwaayo kyeyagalire, ekyo kyonna kye baali basobola. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Dawudi bwe yali ateekateeka okuzimbira Yakuwa yeekaalu, abantu baawaayo “ttalanta za zzaabu 5,000.” (1 Eby’Omumirembe 29:7) Geraageranya ekyo ne Yesu kye yalaba bwe yali wano ku nsi. Yalaba ‘nnamwandu omwavu ng’asuula obusente bubiri obw’omuwendo omutono ennyo’ mu kasanduuko akaali mu yeekaalu. Wadde ng’obusente obwo bwali bwa muwendo mutono nnyo, Yesu yalaga nti bwali bukkirizibwa mu maaso ga Katonda.​—Lukka 21:1-4.

Abakristaayo Balina Okuwaayo Omuwendo Omugereke?

Abakristaayo tebali wansi w’amateeka agaaweebwa Abayisirayiri. N’olwekyo, tebasaanidde kugerekerwa ssente ze balina kuwaayo eri Katonda. Mu kibiina Ekikristaayo, okugaba kulimu essanyu lingi. Yesu Kristo yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”​—Ebikolwa 20:35.

Omulimu gw’okubuulira Abajulirwa ba Yakuwa gwe bakola mu nsi yonna guyimirizibwawo ssente eziweebwayo kyeyagalire. Ssente ezo zikozesebwa okukuba ebitabo, gamba nga magazini eno gy’osoma, awamu n’okuzimba n’okuddaabiriza ebifo mwe basinziza ebiyitibwa Kingdom Hall. Ssente eziweebwayo tezikozesebwa kusasula misaala. Abamu ku abo abeewaayo okubuulira ekiseera kyonna baweebwayo ssente entonotono ezikola ku by’entambula n’ebyetaago byabwe ebirala. Naye tewali n’omu awulira nti ateekeddwa okufuna ssente ezo. Mu butuufu, Abajulirwa ba Yakuwa abasinga obungi tebaweebwa buyambi bwonna obwa ssente okukola omulimu gw’okubuulira. Mu kifo ky’ekyo, abasinga obungi balina emirimu gyabwe egibasobozesa okweyimirizaawo, okufaananako omutume Pawulo eyakolanga weema okusobola okweyimirizaawo.​—2 Abakkolinso 11:9; 1 Abassessalonika 2:9.

Omuntu bw’aba nga yandyagadde okuwaayo ssente okuwagira omulimu ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa, ssente mmeka z’asaanidde okuwaayo? Omutume Pawulo yagamba nti: “Buli muntu akole nga bw’amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaakola ntya oba olw’okukakibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.”​—2 Abakkolinso 8:12; 9:7.

FEBWALI 8-14

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBALA 1-2

“Yakuwa Ategeka Abantu Be”

w94-E 12/1 lup. 9 ¶4

Ekifo Ekituufu Okusinza Yakuwa Kye Kulina mu Bulamu Bwaffe

Singa wali mu bbanga n’otunuulira Abayisirayiri nga basiisidde mu ddungu, kiki kye wandirabye? Wandirabye weema nnyingi nnyo, entegeke obulungi, ezaalimu abantu ng’obukadde busatu n’okusingawo, abaali bategekeddwa mu bibinja bya bika bisatu bisatu mu bukiikakkono, mu bukiikaddyo, ebuvanjuba n’ebugwanjuba. Bwe wandyeyongedde okwetegereza, wandisobodde okulaba ekibinja ekirala mu makkati g’olusiirira. Weema ezo ezaali zaawuddwamu obubinja obutonotono bwa mirundi ena mwe mwasulanga ab’ekika kya Leevi. Mu makkati g’olusiisira, mu kifo ekyetooloddwa olukomera olw’olugoye, waaliwo weema ey’enjawulo. Eno ye yali “weema ey’okusisinkaniramu,” Abayisirayiri “abakugu” gye baazimba nga bagoberera pulaani Yakuwa gye yali abawadde.​—Okubala 1:52, 53; 2:3, 10, 17, 18, 25; Okuva 35:10.

it-1-E lup. 397 ¶4

Olusiisira

Olusiisira lw’Abayisirayiri lwali lunene nnyo. Mu lwo mwalimu abasajja 603,550 abalwanyi abaabalibwa, nga kw’ogasse abakazi n’abaana, abaaliko obulemu, Abaleevi 22,000, era “n’ekibiina ekinene eky’abantu abataali Bayisirayiri”​—oboolyawo abantu bonna awamu baali 3,000,000 n’okusingawo. (Kuv 12:38, 44; Kbl 3:21-34, 39) Obunene bw’ekifo abantu abo bonna we baasiisiranga tebumanyiddwa. Abantu bwe baasiisira okumpi n’e Yeriko mu ddungu lya Mowaabu ebyawandiikibwa biraga nti olusiisira lwali ‘luva e Besu-yesimosi okutuuka mu Aberu-sitimu.’​—Kbl 33:49.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-2-E lup. 764

Okubala Abantu

Abantu baabalibwanga nga bawandiika amannya gaabwe okusinziira ku bika byabwe n’empya zaabwe. Kyali kisingawo ku kubala obubazi abantu okumanya omuwendo gwabwe. Okubala abantu okwogerwako mu Bayibuli kwakolebwanga olw’ebigendererwa eby’enjawulo, gamba ng’okuwa omusolo, okuweereza mu magye, oba (okwazingirangamu okubala Abaleevi) okuweebwa emirimu ku weema entukuvu.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

w08-E 7/1 lup. 21

Obadde Okimanyi?

Lwaki Bayibuli Eyogera ku Bika 12 eby’Abayisirayiri Ate nga Byali 13?

Ebika by’Abayisirayiri byava mu batabani ba Yakobo eyatuumibwa Isirayiri. Yakobo yalina batabani be 12​—Lewubeeni, Simiyoni, Leevi, Yuda, Ddaani, Nafutaali, Gaadi, Aseri, Isakaali, Zebbulooni, Yusufu, ne Benyamini. (Olubereberye 29:32–30:24; 35:16-18) Batabani ba Yakobo ekkumi n’omu baalina ebika ebyatuumibwa amannya gaabwe, naye tewali kika kyatuumibwa linnya lya Yusufu. Mu kifo ky’ekyo, ebika ebibiri byatuumibwa mannya ga batabani ba Yusufu, Efulayimu ne Manase, era be baali abakulu b’ebika ebyo. N’olwekyo, ebika by’Abayisirayiri byali 13. Kati olwo, lwaki Bayibuli eyogera ku bika 12?

Ku bika by’Abayisirayiri, abasajja ab’omu kika kya Leevi baayawulibwawo okuweereza ku weema entukuvu n’oluvannyuma ku yeekaalu, era tebaaweerezanga mu magye. Yakuwa yagamba Musa nti: “Ab’ekika kya Leevi bo tobawandiika, era omuwendo gwabwe togugatta ku gw’Abayisirayiri abalala. Abaleevi bawe obuvunaanyizibwa ku weema ey’Obujulirwa ne ku bintu byayo byonna era ne ku byonna ebigenderako.”​—Okubala 1:49, 50.

Ate era, Abaleevi tebaaweebwa ttaka mu Nsi Ensuubize. Mu kifo ky’ekyo, baaweebwa ebibuga 48 ebyali mu bitundu ebitali bimu mu Isirayiri.​—Okubala 18:20-24; Yoswa 21:41.

Olw’ensonga ezo ebbiri, ekika kya Leevi tekyabalibwanga ng’ebika ebirala bibalibwa era ebika by’Abayisirayiri 12 bye byasinganga okwogerwako.​—Okubala 1:1-15.

FEBWALI 15-21

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBALA 3-4

“Obuweereza bw’Abaleevi”

it-2-E lup. 683 ¶3

Kabona

Wansi w’Endagaano y’Amateeka. Abayisirayiri bwe baali mu buddu e Misiri, Yakuwa yeeyawulirawo abaana ababereberye ab’Abayisirayiri bwe yali azikiriza abaana ababereberye ab’Abamisiri mu kibonyoobonyo eky’ekkumi. (Kuv 12:29; Kbl 3:13) Abaana ababereberye abo baafuuka ba Yakuwa mu ngeri nti yali ajja kubakozesa okumuweereza mu ngeri ey’enjawulo. Katonda yali asobola okukozesa abaana ababereberye abo bonna okuba bakabona n’okulabirira ekifo ekitukuvu. Mu kifo ky’ekyo, yasalawo okukozesa abasajja ab’omu kika kya Leevi okumuweereza mu buweereza obwo, mu kifo ky’abaana ababereberye ab’ebika ebirala ekkumi n’ebibiri (bazzukulu ba Efulayimu ne Manase batabani ba Yusufu baabalibwamu ebika bibiri). Abantu bwe baabalibwa, abaana ababereberye ab’obulenzi ab’ebika ebirala abaasukka ku muwendo gw’Abaleevi baali 273. Katonda yagamba Abayisirayiri okuwaayo sekeri ttaano (ddoola 11) ku lwa buli omu ku baana abo okusobola okubanunula, era ssente ezo zaaweebwa Alooni ne batabani be. (Kbl 3:11-16, 40-51) Ng’ekyo tekinnabaawo, Yakuwa yali amaze okwawulawo abasajja ab’omu nnyumba ya Alooni ow’omu kika kya Leevi okuweereza nga bakabona mu Isirayiri.​—Kbl 1:1; 3:6-10.

it-2-E lup. 241

Abaleevi

Emirimu gyabwe. Abaleevi baali baayawulwamu empya ssatu ezaava mu batabani ba Leevi abasatu, Gerusoni (Gerusomu), Kokasi, ne Merali. (Lub 46:11; 1By 6:1, 16) Buli lumu ku mpya ezo lwaweebwa ekifo okuliraana weema entukuvu mu ddungu. Ab’omu maka ga Alooni okuva mu luggya lwa Kokasi be baasiisiranga mu maaso ga weema entukuvu ku luuyi olw’ebuvanjuba. Abakokasi abalala baasiisiranga ku luuyi olw’ebukiikaddyo, Abagerusoni ku luuyi olw’ebugwanjuba, ate Abamerali ku luuyi olw’ebukiikakkono. (Kbl 3:23, 29, 35, 38) Emirimu gy’Abaleevi gyali gizingiramu okusimba weema, okugipangulula, awamu n’okugisitula. Ekiseera bwe kyatuukanga eky’okusitula okweyongerayo, Alooni ne batabani be be baavunaanyizibwanga ku kuggyayo olutimbe olwawula Awatukuvu n’Awasinga Obutukuvu, okubikka ku ssanduuko y’endagaano, ebyoto, n’ebintu ebirala ebitukuvu. Abakokasi be baasitulanga ebintu ebyo. Abagerusoni be baasitulanga emitanda gya weema entukuvu, eky’okubikkako kyayo, entimbe, entimbe z’oluggya, n’emiguwa gyazo (nga kirabika gye miguwa gya weema entukuvu), ate Abamerali be baasitulanga fuleemu za weema entukuvu, empagi zaayo, obutoffaali bwayo obulimu ebituli, enninga zaazo, emiguwa gyazo (nga gye miguwa gy’oluggya olwali lwetoolodde weema entukuvu).​—Kbl 1:50, 51; 3:25, 26, 30, 31, 36, 37; 4:4-33; 7:5-9.

it-2-E lup. 241

Abaleevi

Mu kiseera kya Musa, Omuleevi yatandikanga okukola emirimu gye mu bujjuvu, gamba ng’okusitula weema entukuvu n’ebintu byayo, ng’awezezza emyaka 30. (Kbl 4:46-49) Emirimu egimu baatandikanga okugikola nga ba myaka 25, naye si mirimu egy’amaanyi gamba ng’okusitula weema entukuvu. (Kbl 8:24) Mu kiseera kya Kabaka Dawudi, Abaleevi baatandikanga okuweereza nga ba myaka 20. Ensonga Dawudi gye yawa eri nti yeekaalu (eyali egenda okudda mu kifo kya weema entukuvu) yali teyeetaaga kusitulibwa. Omuleevi bwe yawezanga emyaka 50, yalekeranga awo okuweerereza mu kibinja ekiweereza. (Kbl 8:25, 26; 1By 23:24-26; laba AGE.) Abaleevi kyabeetaagisanga okuba nga bamanyi bulungi Amateeka, era baayitibwanga okugasoma mu lujjudde n’okugayigiriza abantu aba bulijjo.​—1By 15:27; 2By 5:12; 17:7-9; Nek 8:7-9.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w06 8/1 lup. 25 ¶13

Beera wa Magezi​—Tya Katonda!

Olw’okuba Yakuwa yayambanga Dawudi ng’ayolekaganye n’ebizibu, kyaleetera Dawudi okweyongera okumutya era n’okumwesiga. (Zabbuli 31:22-24) Kyokka, emirundi esatu, okutya Dawudi kwe yalina eri Katonda kwaddirira, era ebyavaamu byali bibi nnyo. Ku mulundi ogwasooka, yakola enteekateeka essanduuko y’endagaano n’etwalibwa e Yerusaalemi ku kigaali mu kifo ky’okugitwalira ku bibegaabega by’Abaleevi ng’Amateeka ga Katonda bwe gaali galagira. Uzza bwe yakwata ku Ssanduuko okugitereeza, yafiirawo “olw’obutawa tteeka lya Katonda kitiibwa.” Awatali kubuusabuusa, Uzza yakola ekibi eky’amaanyi, kyokka, akabi ako kaava ku kuba nti Dawudi teyagoberera Mateeka ga Katonda. Okutya Katonda kitegeeza okukola ebintu nga tugoberera obulagirizi bwe.​—2 Samwiri 6:2-9; Okubala 4:15; 7:9.

FEBWALI 22-28

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBALA 5-6

“Oyinza Otya Okukoppa Abanaziri?”

it-2-E lup. 477

Omunaziri

Waaliwo amateeka ga mirundi esatu oyo eyabanga yeeyamye okuba Omunaziri ge yalinanga okugoberera: (1) Teyalina kunywa kintu kyonna kitamiiza, oba okulya n’okunywa ekintu kyonna ekikoleddwa mu zzabbibu; k’ebe zzabbibu mbisi, eyengedde oba enkalu. (2) Teyalina kusalako nviiri za ku mutwe gwe. (3) Teyalina kukwata ku mulambo gwa muntu yenna, ka gube ogw’omuntu gw’alinako oluganda olw’oku lusegere, gamba nga taata we, maama we, muganda we, oba mwannyina.​—Kbl 6:1-7.

Obweyamo obw’Enjawulo. Omuntu eyakolanga obweyamo buno obw’enjawulo yalinanga “okubeera Omunaziri [kwe kugamba, eyeewaddeyo; ayawuliddwawo] eri Yakuwa” era ekyo teyakikolanga olw’okuba ayagala abantu bamulabe era bamutendereze. Mu kifo ky’ekyo, ‘ennaku zonna ze yamalanga nga Munaziri yabanga mutukuvu eri Yakuwa.’​—Kbl 6:2, 8; geraageranya Lub Ge 49:26.

N’olwekyo, amateeka Abanaziri ge baalinanga okugoberera gaali makulu nnyo mu buweereza bwabwe eri Yakuwa. Okufaananako kabona asinga obukulu, ataalina kukwata ku mulambo gwa muntu yenna, ka gube ogw’oyo gw’alinako oluganda olw’oku lusegere, n’Omunaziri bw’atyo bwe yalinanga okukola. Olw’obukulu bw’obuvunaanyizibwa bwabwe kabona asinga obukulu ne bakabona abalala, tebaalinanga kunywa kintu kyonna ekitamiiza nga bagenda okuweereza mu buweereza obutukuvu.​—Lev 10:8-11; 21:10, 11.

Ate era, Omunaziri (mu Lwebbulaniya, na·zirʹ) yalinanga ‘okuba omutukuvu ng’aleka enviiri z’oku mutwe gwe okukula’ ng’akabonero abalala kwe baalabiranga nti Munaziri. (Kbl 6:5) Ekigambo na·zirʹ eky’Olwebbulaniya era kye kyakozesebwanga ku bibala by’emizabbibu “egitali misalire” egitaalinanga kukuŋŋaanyizibwa oba kukungulwa ku Ssabbiiti ne mu myaka gya Jjubiri. (Lev 25:5, 11) Ate era, akabaati aka zzaabu akaali ku kiremba kya kabona asinga obukulu akaali kooleddwako ebigambo “Obutukuvu bwa Yakuwa,” kaali kayitibwa “akabonero akatukuvu ak’okwewaayo [mu Lwebbulaniya, neʹzer, ekiva mu kigambo na·zirʹ].” (Kuv 39:30, 31) Engule bakabaka ba Isirayiri gye baayambalanga ku mutwe gwabwe nayo yali eyitibwa neʹzer mu Lwebbulaniya. (2Sa 1:10; 2Sk 11:12; laba CROWN; DEDICATION.) Omutume Pawulo yagamba nti omukazi yaweebwa enviiri mu kifo ky’ekitambaala eky’oku mutwe. Ako kabonero Katonda ke yawa omukazi akamulaga nti ekifo kye kya njawulo ku ky’omusajja, era nti asaanidde okugondera enteekateeka ya Katonda ey’obukulembeze. N’olwekyo, ebiragiro gamba ng’obutasala nviiri (ekintu ekitali kya mu butonde eri omusajja), okwewalira ddala ebitamiiza, n’okusigala nga muyonjo era nga mulongoofu, byajjukizanga Omunaziri nti yalina okwefiiriza n’okwemalira ku kuweereza Yakuwa.​—1Ko 11:2-16; laba HAIR; HEAD COVERING; NATURE.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w05-E 1/15 lup. 30 ¶2

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Samusooni yali Munaziri wa njawulo. Samusooni bwe yali tannazaalibwa, malayika wa Yakuwa yagamba maama we nti: “Laba! ojja kuba olubuto ozaale omwana ow’obulenzi era akamweso tekayitanga ku mutwe gwe, kubanga omwana oyo ajja kuba Munaziri wa Katonda okuviira ddala lw’alizaalibwa, era y’alikulemberamu okulokola Isirayiri mu mukono gw’Abafirisuuti.” (Ekyabalamuzi 13:5) Samusooni teyakola bweyamo kufuuka Munaziri. Katonda ye yamulonda okuba Omunaziri era yali wa kubeera Munaziri obulamu bwe bwonna. Etteeka eryali ligaana Abanaziri okukwata ku mirambo lyali terikola mu mbeera ye. Singa etteeka eryo lyali limukwatako, n’akwata ku mulambo mu butanwa, yandizzeemu atya okuba Omunaziri ng’ate yali Munaziri okuviira ddala nga yaakazaalibwa? N’olwekyo, amateeka agaalina okugobererwa abo abaalina okuba Abanaziri obulamu bwabwe bwonna, gaali gaawukanamuko ku ago agaalina okugobererwa abo abeeyama ku lwabwe okuba Abanaziri.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

w06-E 1/15 lup. 32

“Ekintu Ekisinga Obukadde Ekiriko Ebyawandiikibwa Okuva mu Bayibuli”

EMYAKA 25 emabega, abanoonyereza ku bintu eby’edda Abayisirayiri baazuula ekintu ekikulu ennyo. Mu mpuku esangibwa mu Kiwonvu Kinomu mu Yerusaalemi, baazuulamu emizingo emitono egya ffeeza ebiri egyaliko ebyawandiikibwa okuva mu Bayibuli. Emizingo egyo gyali gya mu kiseera ng’Abababulooni tebannazikiriza kibuga Yerusaalemi mu 607 E.E.T. Gyaliko ebimu ku bigambo ebiri mu Okubala 6:24-26, era erinnya lya Katonda, Yakuwa, lirabika emirundi mingi mu mizingo gyombi. Emizingo egyo gyayogerwako ng’ebintu “ebikyasinze okuba ebikadde ku bintu eby’edda ebyawandiikibwako ennyiriri okuva mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya.”

Kyokka, abeekenneenya ba Bayibuli abamu bawakanya ekiseera emizingo egyo lwe gyawandiikibwa, era bagamba nti gyawandiikibwa mu kyasa eky’okubiri E.E.T. Ensonga emu gye bawa eri nti ebifaananyi ebyasookera ddala okukubibwa eby’emizingo egyo egyali emitono ennyo tebyavaayo bulungi okusobola okubayamba okwekenneenya kalonda yenna agiriko. Okusobola okukakasiza ddala ekiseera kyennyini emizingo egyo lwe gyawandiikibwa, abeekenneenya abalala baddamu okugyekenneenya. Baakozesa tekinologiya ali ku mulembe okufulumya ebifaananyi ebiggyayo kalonda yenna ali ku mizingo egyo. Gye buvuddeko awo, abeekenneenya abo baafulumya bye baazuula. Biki bye baazuula?

Ekisookera ddala, abeekenneenya abo bagamba nti bye baazuula bikakasa nti emizingo egyo gyawandiikibwa mu kiseera ng’Abayudaaya tebannatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni. Ate era, engeri emizingo egyo gye gyakolebwamu n’empandiika bisonga ku kiseera kye kimu, kwe kugamba, ku nkomerero y’ekyasa eky’omusanvu E.E.T. N’ekisembayo, abeekenneenya abo baagamba nti, “engeri gye baasengekamu ebigambo mu mizingo egyo ekwatagana n’engeri gye byasengekebwangamu mu biseera ebyo.”

Ekitabo ekiyitibwa Bulletin of the American Schools of Oriental Research kyogera bwe kiti ku ebyo ebyazuulibwa mu mizingo egyo era egiyitibwa Ketef Hinnom inscriptions: “N’olwekyo, tukkiriziganya n’ebyo abeekenneenya abasinga obungi bye bagamba nti emizingo egyo bye bintu ebikyasinzeeyo okuba ebikadde ebiriko ebyawandiikibwa okuva mu Bayibuli.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share