EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Engeri Gye Tuyinza Okufuna Emikisa gya Yakuwa
Weewale okusinza bakatonda abatalina mugaso (Lev 26:1; w08 4/15 lup. 4 ¶8)
Sinza Yakuwa mu ngeri gy’ayagala (Lev 26:2; it-1-E lup. 223 ¶3)
Gondera amateeka ge (Lev 26:3, 12; w91-E 3/1 lup. 17 ¶10)
Abayisirayiri abaafubanga okukwata amateeka ga Yakuwa baabanga n’emirembe era yabawanga emikisa emirala mingi.
Ku bintu bino wammanga biruwa Yakuwa by’akusobozesezza okufuna?
Okumanya amazima agali mu Bayibuli
Emirembe mu mutima
Essanyu mu maka
Essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso