Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
© 2022 Christian Congregation of Jehovah’s Witnesses
JJANWALI 2-8
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 BASSEKABAKA 22-23
“Lwaki Tusaanidde Okuba Abeetoowaze?”
w00-E 9/15 lup. 29-30
Yakuwa Yasaasira Yosiya olw’Okuba Yali Mwetoowaze
Okuviira ddala ku makya abantu babadde bakola n’obunyiikivu omulimu gw’okuddaabiriza yeekaalu. Awatali kubuusabuusa, Yosiya ateekwa okuba ng’asiimye nnyo Yakuwa olw’okusobozesa abantu abo okuddaabiriza ebyo bajjajjaabe bye baali boonoonye. Ng’omulimu gugenda mu maaso, Safani agenda eri Kabaka Yosiya okumutegeeza engeri gye gutambulamu. Kyokka waliwo ekintu ky’akutte. Kiki ekyo? Akutte omuzingo, era ategeeza kabaka nti Kirukiya, Kabona Asinga Obukulu, azudde “ekitabo ky’Amateeka ga Yakuwa agaaweebwa okuyitira mu Musa.” (2 Byom. 34:12-18) Omuzingo ogw’Amateeka Musa ge yawandiika mu ddungu gwe guzuuliddwa!
Yosiya ayagala nnyo okuwulira ebigambo ebiri mu kitabo ekyo. Safani bw’aba asoma, Kabaka Yosiya agezaako okulaba engeri buli tteeka gye limukwatako ye, n’abantu be. Okusingira ddala akwatibwako nnyo bw’awulira engeri Amateeka gye gakkaatirizaamu obukulu bw’okusinza okw’amazima. Amateeka ago era gakiraga nti abantu bandifunye ebizibu bingi bwe bandyenyigidde mu kusinza okw’obulimba, era nti banditwaliddwa mu buwaŋŋanguse. Yosiya bw’akitegeera nti agamu ku mateeka ga Katonda gabadde tegakwatibwa, ayuza ebyambalo bye era n’agamba Kirukiya, Safani, n’abalala nti: ‘Mwebuuze ku Yakuwa ku bikwata ku bigambo ebiri mu kitabo ekizuuliddwa, kubanga obusungu bwa Yakuwa obutwolekedde bungi olw’okuba bajjajjaffe tebaakwata bigambo bya Yakuwa okukola byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.’—2 Bassek. 22:11-13; 2 Byom. 34:19-21.
w00-E 9/15 lup. 30 ¶2
Yakuwa Yasaasira Yosiya olw’Okuba Yali Mwetoowaze
Ababaka Yosiya b’atuma bagenda eri nnabbi omukazi ayitibwa Kuluda abeera mu Yerusaalemi era oluvannyuma bakomyawo obubaka okuva eri nnabbi oyo. Kuluda addamu okuggumiza ebigambo bya Yakuwa n’akiraga nti ebibonerezo ebyawandiikibwa mu kitabo ekyo ekizuuliddwa, bijja kutuuka ku ggwanga eryo eryewaggula. Kyokka akiraga nti olw’okuba Yosiya yeetoowazza mu maaso ga Yakuwa Katonda, tajja kulaba kabi kajja kutuuka ku ggwanga eryo. Ajja kugoberera bajjajjaabe, era ajja kugalamizibwa mu ntaana ye mirembe.—2 Bassek. 22:14-20; 2 Byom. 34:22-28.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
w01-E 4/15 lup. 26 ¶3-4
Osobola Okuweereza Yakuwa n’Obwesigwa k’Obe nga Wakulira mu Mbeera Ki
Wadde ng’embeera Yosiya gye yakuliramu teyali nnyangu, yakola ebirungi mu maaso ga Yakuwa. Ng’eyogera ku bufuzi bwe, Bayibuli egamba nti: “Waali tewabangawo kabaka alinga ye mu abo abaamusooka, eyadda eri Yakuwa n’omutima gwe gwonna n’obulamu bwe bwonna n’amaanyi ge gonna, n’atuukiriza byonna ebyali mu Mateeka ga Musa; era tewaddawo kabaka mulala alinga ye.”—2 Bassek. 23:19-25.
Yosiya yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo eri abo be bataateerawo kyakulabirako kirungi mu buto bwabwe! Kiki kye tuyinza okumuyigirako? Kiki ekyamuyamba okusalawo okukola ebirungi mu maaso ga Yakuwa?
JJANWALI 9-15
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 BASSEKABAKA 24-25
“Sigala ng’Oli Bulindaala”
Olunaku lwa Yakuwa olw’Omusango Luli Kumpi!
2 Awatali kubuusabuusa obunnabbi bwa Zeffaniya bwaleetera Yosiya okulaba obwetaavu obw’okuggya mu Yuda okusinza okutali kulongoofu. Kyokka, kabaka bye yakola okuggya mu Yuda okusinza okw’obulimba tebyamalawo bintu bibi abantu bye baali bakola, wadde okutangirira ebibi bya jjajjaawe Kabaka Manase eyali “ajjuzizza Yerusaalemi omusaayi gw’abantu abataaliko musango.” (2 Bassekabaka 24:3, 4; 2 Ebyomumirembe 34:3) N’olwekyo, olunaku lwa Yakuwa olw’okusala omusango lwali luteekwa okujja.
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yeremiya
Omwaka 607 E.E.T. gwe mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Zeddeekiya. Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni yali amaze emyezi 18 ng’azingizza Yerusaalemi. Mu mwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obufuzi bwa Nebukadduneeza, mu mwezi ogw’okutaano nga musanvu, Nebuzaladaani, omukulu w’abambowa, ‘ajja,’ oba atuuka e Yerusaalemi. (2 Bassekabaka 25:8) Oboolyawo ng’asinziira mu lusiisira lwe wabweru w’ekibuga, Nebuzaladaani yekkaanya embeera era n’asalawo eky’okukola. Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, nga kkumi omwezi ogwo, ‘ajja,’ oba ayingira mu Yerusaalemi, era ayokya ekibuga.—Yeremiya 52:12, 13.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Bassekabaka eky’Okubiri
24:3, 4.Olw’okuba Manase yali ayiye omusaayi mungi, Yakuwa ‘teyasonyiwa’ Yuda. Katonda atwala omusaayi gw’abatalina musango nga gwa muwendo nnyo. Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kuzikiriza abo abayiwa omusaayi gw’abantu abatalina musango.—Zabbuli 37:9-11; 145:20.
JJANWALI 16-22
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 EBYOMUMIREMBE 1-3
“Ebiri mu Bayibuli Bituufu, Tebyayiiyizibwa Buyiiyizibwa”
w09-E 9/1 lup. 14 ¶1
Ddala Adamu ne Kaawa Baaliyo?
Ng’ekyokulabirako, lowooza ku nkalala z’ennyiriri z’obuzaale bw’Abayudaaya eziri mu kitabo ky’Ebyomumirembe ekisooka essuula 1 okutuuka ku 9 ne mu njiri ya Lukka essuula 3. Enkalala z’ennyiriri z’obuzaale ez’abantu abaaliwo mu mirembe 48 egy’enjawulo ze ziragibwa mu kitabo ky’Ebyomumirembe. Ate mu njiri ya Lukka, enkalala z’ennyiriri z’obuzaale ez’abantu abaaliwo mu mirembe 75 egy’enjawulo ze ziragibwa. Enjiri ya Lukka eraga olunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu Kristo, ate ekitabo ky’Ebyomumirembe kiraga ennyiriri z’obuzaale bwa bakabaka ne bakabona b’eggwanga lya Isirayiri. Ennyiriri ezo zoogera ku mannya g’abantu abamanyiddwa obulungi gamba nga Sulemaani, Dawudi, Yakobo, Isaaka, Ibulayimu, Nuuwa, ne Adamu. Amannya gonna agali mu nkalala z’ennyiriri z’obuzaale ezo ga bantu abaaliwo ddala era bonna baasibuka mu Adamu, omuntu eyaliwo ddala.
Ebikwata ku Nuuwa ne ku Mataba Byaliwo, So Si Lugero Bugero
Ennyiriri z’obuzaale bbiri eziri mu Bayibuli ziraga nti Nuuwa yali muntu wa ddala. (1 Ebyomumirembe 1:4; Lukka 3:36) Ezera ne Lukka abaawandiika ennyiriri z’obuzaale zino baali banoonyereza n’obwegendereza. Lukka yalondoola olunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu Kristo okutuukira ddala ku Nuuwa.
w09-E 9/1 lup. 14-15
Ddala Adamu ne Kaawa Baaliyo?
Ng’ekyokulabirako, lowooza ku njigiriza ey’ekinunulo abantu bangi abatwalibwa okuba abagoberezi ba Yesu gye baagala ennyo. Okusinziira ku njigiriza eyo, Yesu Kristo yawaayo obulamu bwe obutuukiridde ng’ekinunulo, okusobola okununula abantu okuva mu bibi byabwe. (Mat. 20:28; Yok. 3:16) Nga bwe tukimanyi, ekinunulo gwe muwendo ogusasulwa okusobola okununula oba okuzzaawo ekintu ky’oba ofiiriddwa oba ekiba kibuze, era ng’omuwendo ogwo gwenkanankana n’ekintu ekyo. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli eraga nti ekinunulo kya Yesu kyali kyenkanankana n’ekyo ekyali kibuze. (1 Tim. 2:6, obugambo obuli wansi) Kiki ekyali kibuze? Bayibuli egamba nti: “Nga bonna bwe bafiira mu Adamu, era bonna bajja kufuulibwa balamu mu Kristo.” (1 Kol. 15:22) Obulamu obutuukiridde Yesu bwe yawaayo okusobola okununula abantu abawulize, bwenkanankana n’obulamu obutuukiridde Adamu bwe yafiiriza abantu olw’ekibi kye yakola mu lusuku Edeni. (Bar. 5:12) Kyeyoleka lwatu nti bwe kiba nti Adamu teyaliiyo, ekinunulo kya Kristo tekyandibadde na makulu.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 911 ¶3-4
Ennyiriri z’Obuzaale
Amannya g’Abakazi. Amannya g’abakazi googerwako mu bifo bimu na bimu mu nkalala z’ennyiriri z’obuzaale, olwo lwokka nga waliwo ekintu ekikulu ekyaliwo ekibakwatako. Erinnya lya Salaayi (Saala) lyogerwako mu Olubereberye 11:29, 30, olw’ensonga nti ezzadde eryasuubizibwa lyali lya kuyita mu ye, so si mu mukazi omulala yenna owa Ibulayimu. Mirika naye ayogerwako mu lunyiriri olwo, kirabika olw’okuba yali jjajja wa Lebbeeka, mukyala wa Isaaka. Ekyo kituyamba okukiraba nti Lebbeeka yava mu lunyiriri lw’ab’eŋŋanda za Ibulayimu, okuva Isaaka bwe yali talina kuwasa mukazi okuva mu mawanga malala. (Lub 22:20-23; 24:2-4) Olubereberye 25:1, lwogera ku Ketula, omukazi Ibulayimu gwe yawasa oluvannyuma. Ekyo kiraga nti oluvannyuma lwa ssaala okufa, Ibulayimu yaddamu n’awasa era nti yali akyalina obusobozi bw’okuzaala Yakuwa bwe yali azzizza obuggya mu ngeri ey’ekyamagero emyaka egisukka mu 40 emabega. (Bar 4:19; Lub 24:67; 25:20) Olunyiriri olwo era lulaga akakwate akaliwo wakati wa Isirayiri, ne Midiyaani, n’amawanga g’Abawalabu amalala.
Ate era enkalala z’obuzaale zoogera ku Leeya, Laakeeri, ne ku bazaana ba Yakobo ababiri, awamu n’abaana ab’obulenzi be baamuzaalira. (Lub 35:21-26) Ekyo kituyamba okutegeera engeri oluvannyuma Katonda gye yakolaganamu n’abaana abo. Ate era amannya g’abakazi abalala googerwako mu nkalala z’obuzaale olw’ensonga ezo ze zimu. Obusika bwe bwafunibwanga okuyitira mu bo amannya gaabwe oluusi gassibwa mu nkalala z’obuzaale. (Kbl 26:33) Kya lwatu nti Tamali, Lakabu, ne Luusi balina ekintu eky’enjawulo ekibakwatako. Buli omu ku bakazi abo okutuuka okuba mu lunyiriri lw’obuzaale bwa Masiya, Yesu Kristo, waliwo ekintu eky’enjawulo ekibakwatako ekyaliwo. (Lub 38; Lus 1:3-5; 4:13-15; Mat 1:1-5) Ezimu ku ssuula endala ezoogera ku mannya g’abakazi mu nkalala z’obuzaale ze zino 1 Ebyomumirembe 2:35, 48, 49; 3:1-3, 5.
JJANWALI 23-29
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 EBYOMUMIREMBE 4-6
“Essaala Ze Nsaba Ziraga nti Ndi Muntu wa Ngeri Ki?”
w10-E 10/1 lup. 23 ¶3-7
Oyo “Awulira Okusaba”
Yabezi yali atwala okusaba nga kukulu nnyo. Yatandika essaala ye nga yeegayirira Katonda amuwe omukisa. Oluvannyuma yasaba ebintu bisatu ebyoleka nti yalina okukkiriza okw’amaanyi.
Ekisooka, Yabezi yasaba Katonda ‘okugaziya ekitundu kye.’ (Olunyiriri 10) Omusajja ono ow’ekitiibwa teyali muntu eyezza ettaka eritali lirye. Okusaba Yakuwa okugaziya ekitundu kye ayinza okuba nga yali alowooza nnyo ku bantu, so si ku kufuna ettaka. Ayinza okuba nga yasaba Yakuwa agaziye ekitundu kye kisobole okubaamu abantu bangi abasinza Katonda ow’amazima.
Ekyokubiri, Yabezi yasaba nti “omukono” gwa Katonda gubeere naye. Omukono gwa Katonda ogw’akabonero ge maanyi g’akozesa okuyamba abaweereza be. (1 By 29:12) Okusobola okufuna ekyo kye yali ayagala, Yabezi yeesiga Katonda ng’akimanyi nti omukono gwe si mumpi. Ayamba abo abamwesiga.—Is 59:1.
Ekyokusatu, Yabezi yasaba Yakuwa ‘amukuume’ aleme ‘okutuukibwako akabi.’ Mu kusaba bw’atyo, kirabika yali tategeeza nti Yakuwa amukuume aleme kufuna buzibu bwonna, wabula yali ategeeza nti Yakuwa amukuume aleme okufuna obulumi obuva mu bikolwa ebibi.
Essaala ya Yabezi eraga nti yali afaayo nnyo ku kusinza okw’amazima, nti yalina okukkiriza okw’amaanyi, era nti yali yeesiga Oyo Awulira okusaba. Yakuwa yaddamu atya essaala ye? Bayibuli egamba nti: “Bw’atyo Katonda n’amuwa kye yasaba.”
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ebyomumirembe Ekisooka
5:10, 18-22. Mu biseera bya Kabaka Sawulo, ebika ebyali ebuvanjuba bwa Yoludaani byawangula Abakaguli wadde nga baali babasinga obungi emirundi ebiri n’okusingawo. Kino kyali bwe kityo kubanga abalwanyi baabwe beesiga Yakuwa era ne bamusaba abayambe. Naffe ka tubeere bakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba mu lutalo lwaffe olw’eby’omwoyo nga tumeggana n’abo abatusinga obungi.—Abeefeso 6:10-17.
JJANWALI 30–FEBWALI 5
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 EBYOMUMIREMBE 7-9
“Yakuwa Asobola Okukuyamba Okutuukiriza Obuvunaanyizibwa Obutali Bwangu”
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ebyomumirembe Ekisooka
9:26, 27. Abaleevi abaggalanga enzigi baalina obuvunaanyizibwa bwa maanyi. Baali baweereddwa ebisumuluzo ebiggulawo enzigi z’ebisenge ebitukuvu mu yeekaalu. Buli lunaku baggulangawo enzigi ezo era baalinga beesigwa mu kukola omulimu ogwo. Naffe tukwasiddwa obuvunaanyizibwa obw’okubuulira abantu mu bitundu byaffe n’okubayamba okwegatta ku kibiina kya Yakuwa. Tetwandibadde beesigwa mu kukola omulimu ogwo ng’Abaleevi bwe baakolanga omulimu gwabwe?
Osobola Okuba nga Fenekaasi ng’Oyolekagana n’Embeera Enzibu?
Fenekaasi yalina obuvunaanyizibwa bwa maanyi mu Isirayiri ey’edda, naye olw’okuba yali muvumu, yali wa magezi, era yali yeesiga Katonda, yasobola okubutuukiriza wadde nga yayolekagana n’embeera enzibu. Yakuwa yasiima nnyo Fenekaasi olw’okuba yafuba nnyo okulabirira ekibiina kya Katonda. Nga wayise emyaka nga 1,000, Ezera yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Fenekaasi mutabani wa Eriyazaali edda ye yabakuliranga. Yakuwa yali naye.” (1 Byom. 9:20) Kikulu abo bonna abatwala obukulembeze mu bantu ba Katonda awamu n’Abakristaayo bonna okutwalira awamu okufuba okukoppa ekyokulabirako kya Fenekaasi.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Muyimbire Yakuwa!
6 Yee, okuyitira mu bannabbi be, Yakuwa yalagira abaweereza be okumutendereza nga bayimba ennyimba. Abaleevi abayimbi baggibwako emirimu emirala Baleevi bannaabwe gye baakolanga basobole okufuna ebiseera ebimala okuyiiya era oboolyawo n’okwegezaamu mu nnyimba.—1 Byom. 9:33.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Yamba Abayizi Bo aba Bayibuli Okubatizibwa
3 Nga tannabatizibwa, omuyizi wa Bayibuli alina okusooka okukolera ku ebyo by’ayiga. (Soma Matayo 28:19, 20.) Bw’akolera ku ebyo by’ayiga, aba “ng’omusajja ow’amagezi” Yesu gwe yayogerako eyazimba ennyumba ye ku lwazi. (Mat. 7:24, 25; Luk. 6:47, 48) Tuyinza tutya okuyamba omuyizi wa Bayibuli okukolera ku ebyo by’ayiga? Ka tulabe ebintu bisatu bye tusobola okukola.
4 Yamba omuyizi wo okweteerawo ebiruubirirwa. Lwaki ekyo tusaanidde okukikola? Lowooza ku kyokulabirako kino: Bw’oba ng’ogenda ku lugendo oluwanvu ennyo, oyinza okusalawo okugenda ng’oyimirirako mu bifo ebitali bimu ebirabika obulungi, bw’okola bw’otyo olugendo terukumenya nnyo. Mu ngeri y’emu omuyizi wa Bayibuli bwe yeeteerawo ebiruubirirwa ebyangu okutuukako era n’abituukako, kiyinza okumuleetera okukiraba nti asobola okutuuka ku kiruubirirwa eky’okubatizibwa. Kozesa ebyo ebiri wansi w’ekitundu “Eky’okukolako” ekiri mu katabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! okuyamba omuyizi wo okukulaakulana. Ku buli nkomerero y’essomo, kubaganya naye ebirowoozo ku ngeri ekiruubirirwa ekyo gye kijja okumuyamba okukolera ku ebyo by’aba yaakayiga. Bw’oba olina ekiruubirirwa ekirala eky’enjawulo ky’oyagala omuyizi wo atuukeko, kiwandiike mu mabanga agali wansi w’ekigambo “Ekirala.” Kozesa ekitundu kino okwejjukanyanga ebiruubirirwa omuyizi wo by’asobola okutuukako amangu n’ebyo by’asobola okutuukako oluvannyuma lw’ekiseera.
5 Yamba omuyizi wo okukola enkyukakyuka mu bulamu bwe. (Soma Makko 10:17-22.) Yesu yali akimanyi nti tekyandibadde kyangu eri omusajja omugagga okutunda ebintu bye. (Mak. 10:23) Naye Yesu yagamba omusajja oyo okukola enkyukakyuka eyo ey’amaanyi mu bulamu bwe. Lwaki? Kubanga Yesu yali amwagala. Oluusi tuyinza obutakubiriza muyizi wa Bayibuli kukola nkyukakyuka emu nga tulowooza nti ekiseera tekinnatuuka kugikola. Abamu kiyinza okubatwalira ekiseera okulekayo ebikolwa ebibi era n’okwambala omuntu omuggya. (Bak. 3:9, 10) Bw’oyanguwa okubuulira omuyizi wo enkyukakyuka gye yeetaaga okukola, ajja kwanguwa okugikola. Bw’omubuulira kye yeetaaga okukolako, kiba kiraga nti omufaako.—Zab. 141:5; Nge. 27:17.
6 Kikulu okubuuza omuyizi ky’alowooza ku nsonga emu. Ekyo kijja kukuyamba okumanya omuyizi wo ky’ategedde, ne ky’akkiriza. Ekyo bwe weemanyiiza okukikola, kijja kukwanguyira okukubaganya naye ebirowoozo ku nsonga endala eziyinza okumuzibuwalira okukkiriza. Ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! kirimu ebibuuzo bingi ebireetera omuyizi okuwa endowooza ye. Ng’ekyokulabirako, essomo 04 lirimu ekibuuzo ekigamba nti: “Olowooza Yakuwa awulira atya bw’okozesa erinnya lye?” Ate essomo 09 lirimu ekibuuzo ekigamba nti: “Ebimu ku bintu bye wandyagadde okusaba bye biruwa?” Mu kusooka omuyizi kiyinza obutamwanguyira kuddamu bibuuzo ebimwetaagisa okuwa endowooza ye. Osobola okumuyamba ng’omuyigiriza okufumiitiriza ku byawandiikibwa ne ku bifaananyi ebiri mu kitabo.
7 Omuyizi bw’amanya kye yeetaaga okukola, kozesa ebyokulabirako by’abantu abalala okumukubiriza okukikola. Ng’ekyokulabirako, singa omuyizi wo tekimwanguyira kujja mu nkuŋŋaana, oyinza okumulaga Vidiyo erina omutwe Yakuwa Yandabirira eri wansi w’ekitundu “Laba Ebisingawo” mu ssomo 14. Mu masomo mangi agali mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! ojja kusanga ebyokulabirako ng’ebyo wansi w’omutwe “Yiga Ebisingawo” oba “Laba Ebisingawo.” Weewale okugeraageranya omuyizi wo n’abantu abalala, oboolyawo ng’omugamba nti, “Bwe kiba nti oyo asobola okukikola, naawe osobola okukikola.” Leka omuyizi wo ekyo akyerabire yekka. Nokolayo ebimu ku bintu ebikulu ebyayamba omuntu ali mu vidiyo okukolera ku ebyo ebiri mu Bayibuli. Oboolyawo osobola okunokolayo ekyawandiikibwa kimu ekikulu oba ekintu ekirala ekyakolebwa ekisobola okuyamba omuyizi wo. Buli lwe kiba kituukirawo, laga engeri Yakuwa gye yayambamu omuntu oyo.
8 Yamba omuyizi wo okwagala Yakuwa. Ekyo oyinza kukikola otya? Kozesa buli kakisa k’ofuna okumuyamba okulaba engeri za Yakuwa. Yamba omuyizi wo okukiraba nti Yakuwa ye Katonda omusanyufu era ayamba abo abamwagala. (1 Tim. 1:11; Beb. 11:6) Muyambe okukiraba nti ajja kuganyulwa nnyo singa akolera ku ebyo by’ayiga, era nti emiganyulo egyo giraga okwagala Yakuwa kw’alina gy’ali. (Is. 48:17, 18) Omuyizi wo gy’akoma okwagala Yakuwa, gy’ajja okukoma okwagala okukola enkyukakyuka ezeetaagisa.—1 Yok. 5:3.
FEBWALI 6-12
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 EBYOMUMIREMBE 10-12
“Weeyongere Okwagala Okukola Katonda by’Ayagala”
“Njigiriza Okukola by’Oyagala”
12 Waliwo ekintu ekirala kye tuyigira ku Dawudi. Yali ategeera bulungi emisingi egiri mu Mateeka era yafubanga okugikolerako. Ng’ekyokulabirako, lumu Dawudi yali ayagala okunywa ku ‘mazzi ag’omu luzzi olw’e Besirekemu.’ Mu kiseera ekyo, ekibuga Besirekemu kyali mu mikono gy’Abafirisuuti. Kyokka abasajja be basatu baateeka obulamu bwabwe mu kabi ne bagenda mu kibuga ekyo ne baleetera Dawudi amazzi. Naye ‘Dawudi yagaana okuganywa, wabula yagafuka eri Yakuwa.’ Lwaki? Dawudi yagamba nti: “Kikafuuwe nze okukola kino, kubanga nzisaamu Katonda ekitiibwa! Ddala nnywe omusaayi gw’abasajja bano abatadde obulamu bwabwe mu kabi? Kubanga batadde obulamu bwabwe mu kabi okusobola okuleeta amazzi gano.”—1 Byom. 11:15-19.
13 Dawudi yali akimanyi nti Amateeka gaali gagamba nti omusaayi tegwalina kuliibwa, wabula gwalina kuyiibwa eri Yakuwa. Era yali amanyi n’ensonga lwaki Amateeka gaali gagamba bwe gatyo. Dawudi yali akimanyi nti “obulamu buli mu musaayi.” Naye ago gaali mazzi, so si musaayi. Kati olwo lwaki Dawudi yagaana okuganywa? Yagaana okuganywa olw’okuba yali ategeera bulungi omusingi oguli mu tteeka erikwata ku musaayi. Dawudi yakitwala nti amazzi ago gaali ga muwendo nnyo ng’omusaayi gw’abasajja abo abasatu. N’olwekyo, yali tasobola kunywa mazzi ago. Mu kifo ky’okuganywa, yasalawo okugayiwa ku ttaka.—Leev. 17:11; Ma. 12:23, 24.
Kkiriza Amateeka ga Katonda n’Emisingi Gye Okutendeka Omuntu Wo ow’Omunda
5 Okusobola okuganyulwa mu mateeka ga Katonda, tetulina kukoma bukomi ku kugasoma na kugamanya. Tulina n’okugaagala era n’okugakolerako. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Mukyawe ekibi, mwagale ekirungi.” (Am. 5:15) Ekyo tukikola tutya? Tulina okuyiga okutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira. Lowooza ku kyokulabirako kino: Watya singa teweebaka bulungi era n’ogenda okulaba omusawo. Omusawo abaako amagezi g’akuwa ku mmere gy’osaanidde okulya n’okwewala, era n’akugamba okukolanga dduyiro, n’okubaako enkyukakyuka endala z’okola mu bulamu. Oluvannyuma lw’okukolera ku magezi g’aba akuwadde, okiraba nti gakola! Kya lwatu nti osiima nnyo omusawo oyo olw’okukuwa amagezi agakuyambye.
6 Mu ngeri y’emu, Omutonzi waffe yatuwa amateeka agatukuuma ne tutatuukibwako bintu ebibi ebiva mu kukola ekibi era agatuyamba okuba n’obulamu obulungi. Lowooza ku ngeri gye tuganyulwa mu kukolera ku mateeka agali mu Bayibuli agakwata ku kwewala okulimba, okubba, ebikolwa eby’obugwenyufu, ebikolwa eby’obukambwe, n’eby’obusamize. (Soma Engero 6:16-19; Kub. 21:8) Bwe tulaba emiganyulo egiva mu kugondera Katonda, tweyongera okumwagala n’okwagala amateeka ge.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 1058 ¶5-6
Omutima
Okuweereza Yakuwa “n’Omutima Gwo Gwonna.” Omutima okusobola okukola obulungi gulina okuba nga tegweyawuddemu bitundu bibiri, naye omutima ogw’akabonero gusobola okweyawulamu. Dawudi yasaba Yakuwa nti: “Gatta wamu omutima gwange nsobole okutya erinnya lyo.” Ebigambo ebyo biraga nti omutima gw’omuntu gusobola okuba nga gweyawuddemu okusinziira ku ebyo by’ayagala ne by’atya. (Zb 86:11) Omuntu ng’oyo ayinza okuba nga tasinza Yakuwa na mutima gwe gwonna. (Zb 119:113, obugambo obuli wansi; Kub 3:16) Ate era omuntu asobola okuba ‘n’emitima ebiri’ (obutereevu, omutima n’omutima), ng’agezaako okuweereza abaami babiri, oba nga ky’ayogera si kye kimuli ku mutima. (1By 12:33; Zb 12:2, obugambo obuli wansi) Yesu yavumirira nnyo obunnanfuusi ng’obwo.—Mat 15:7, 8.
Omuntu ayagala okusanyusa Katonda alina okuba ng’amuweereza n’omutima gwe gwonna. (1By 28:9) Ekyo kyetaagisa okufuba ennyo okuva bwe kiri nti omutima mulimba era nga gwekubidde ku kukola bintu bibi. (Yer 17:9, 10; Lub 8:21) Ekintu ekisobola okutuyamba okuba n’omutima oguteeyawuddemu kwe kusaba (Zb 119:145; Kuk 3:41), okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku (Ezr 7:10; Nge 15:28), okubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu (geraageranya Yer 20:9), n’okubeeranga wamu n’abo abaweereza Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna.—Geraageranya 2Sk 10:15, 16.
FEBWALI 13-19
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 EBYOMUMIREMBE 13-16
“Okukolera ku Bulagirizi Kivaamu Emikisa”
Obuuza Nti ‘Yakuwa Ali Ludda Wa?’
12 Oluvannyuma lw’essanduuko y’endagaano okukomezebwawo mu Isirayiri, era ng’okumala emyaka yali eterekeddwa e Kiriyasuyalimu, Kabaka Dawudi yayagala okugitwala e Yerusaalemi. Yeebuuza ku baami n’abakulu b’ebika n’abagamba nti Essanduuko yanditwaliddwa singa kyali kirungi gye bali era nga Yakuwa Katonda waabwe akikkiriza. Naye teyanoonyereza kimala okuzuula Yakuwa kye yali ayagala ku nsonga eyo. Singa yali akikoze, Essanduuko teyanditeekeddwa ku ggaali. Yandibadde esitulibwa Abaleevi Abakokasi ku bibegabega byabwe nga Katonda bwe yali alagidde. Wadde ng’emirundi mingi Dawudi yeebuuzanga ku Yakuwa, ku mulundi guno yalemererwa okukikola. Ebyavaamu byali bibi nnyo. Oluvannyuma Dawudi yagamba nti: ‘Obusungu bwa Yakuwa bwatubuubuukira olw’okuba tetwanoonyereza kumanya nkola ntuufu bw’eri.’—1 Ebyomumirembe 13:1-3; 15:11-13; Okubala 4:4-6, 15; 7:1-9
Obuuza Nti ‘Yakuwa Ali Ludda Wa?’
13 Oluvannyuma, Essanduuko bwe yasitulibwa Abaleevi okuva mu nnyumba ya Obededomu okugitwala e Yerusaalemi, oluyimba olwayiiyizibwa Dawudi lwayimbibwa. Lwalimu okujjukizibwa okuva mu mutima: “Munoonye Yakuwa n’amaanyi ge. Mumunoonyenga bulijjo. Mujjukire ebikolwa eby’ekitalo bye yakola, ebyamagero bye n’emisango gye yalangirira.”—1 Ebyomumirembe 16:11, 12.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Sinza Yakuwa, Kabaka ow’Emirembe n’Emirembe
14 Dawudi yatwala ssanduuko y’endagaano e Yerusaalemi. Ekyo bwe kyaliwo, Abaleevi baayimba oluyimba ne batendereza Yakuwa era oluyimba olwo lwalimu ebigambo ebiri mu 1 Ebyomumirembe 16:31, awagamba nti: “Abantu mu mawanga ka boogere nti, ‘Yakuwa afuuse kabaka!’” Kati oyinza okwebuuza, ‘Okuva bwe kiri nti Yakuwa ye Kabaka ow’emirembe n’emirembe, ate kijja kitya okuba nti yafuuka Kabaka mu kiseera ekyo?’ Yakuwa afuuka Kabaka bw’ayoleka obuyinza bwe oba bw’abaako gw’aba alonze okumukiikirira. Kikulu okutegeera engeri Yakuwa gy’afuukamu Kabaka. Dawudi bwe yali tannafa, Yakuwa yamusuubiza nti obwakabaka bwe bwandibaddewo emirembe n’emirembe. Yamugamba nti: “Ndissaawo ezzadde lyo eririddawo eririva munda yo, era ndinyweza obwakabaka bwe.” (2 Sam. 7:12, 13) Ekisuubizo ekyo kyatuukirira “ezzadde” lya Dawudi bwe lyalabika nga wayiseewo emyaka egisukka mu 1,000. Ezzadde eryo y’ani, era yandifuuse ddi Kabaka?
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Okwagala kwa Kristo Kutusindiikiriza
7 Okusookera ddala, okwagala okwo kwanditukubirizza okweyisa mu ngeri eweesa Yesu ekitiibwa. Omutume Pawulo yagamba nti: “Okwagala kwa Kristo kutusindiikiriza.” (Soma 2 Abakkolinso 5:14, 15.) Pawulo yali akimanyi nti bwe tuba nga tusiima okwagala Kristo kwe yatulaga kijja kutukubiriza okumwagala n’okumuwa ekitiibwa. Bwe tutegeera ekyo Yakuwa kye yatukolera, okwagala kwe yatulaga kujja kutukubiriza okutambuza obulamu bwaffe mu ngeri esanyusa Kristo. Ekyo tuyinza kukikola tutya?
8 Abo abaagala Yakuwa bafuba okukoppa Kristo nga batambulira mu bigere bye. (1 Peet. 2:21; 1 Yok. 2:6) Tukiraga nti twagala Katonda ne Kristo nga tuba bawulize. Yesu yagamba nti: “Oyo akkiriza ebiragiro byange era abikwata, anjagala. Era oyo anjagala Kitange ajja kumwagala, nange nja kumwagala era nneeyoleke gy’ali.”—Yok. 14:21; 1 Yok. 5:3.
9 Mu kiseera ky’Ekijjukizo tusaanidde okufumiitiriza ku ngeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe. Weebuuze: ‘Nkiraze ntya nti nkoppa Yesu? Wa we nneetaaga okwongera okutereeza?’ Kikulu okwebuuza ebibuuzo ng’ebyo kubanga buli kiseera tupikirizibwa okugoberera emitindo gy’ensi ya Sitaani. (Bar. 12:2) Bwe tutaba beegendereza, tuyinza okwesanga nga tufuuse bagoberezi b’abantu abatwalibwa okuba abagezi mu nsi oba abantu abatutumufu. (Bak. 2:8; 1 Yok. 2:15-17) Kiki ekiyinza okutuyamba obutatwalirizibwa nsi ya Sitaani?
10 Mu kiseera ky’Ekijjukizo kiba kirungi okutunula mu bintu byaffe, gamba ng’engoye zaffe, firimu n’ennyimba ze tulina, ebintu ebiri ku kompyuta zaffe, ku ssimu zaffe, ne ku bukompyuta bwaffe obw’omu ngalo. Bw’oba ng’otunula mu ngoye zo, weebuuze nti: ‘Singa mbadde ŋŋenda mu kifo Yesu gy’agenda okubeera, nnandiwulidde bulungi nga nnyambadde olugoye luno?’ (Soma 1 Timoseewo 2:9, 10.) ‘Bwe ndwambala, ddala abalala bakiraba nti ndi mugoberezi wa Yesu Kristo?’ Ate bwe kituuka ku firimu oba ennyimba ze tulina, tusobola okwebuuza nti: ‘Yesu yandisanyuse okulaba firimu zino oba okuwuliriza ennyimba zino? Nnandiwulidde nga nswadde ng’alabye ebyo ebiri ku ssimu yange oba ku kompyuta yange?’ Ate bwe kituuka ku mizannyo egiri ku kompyuta yo, weebuuze: ‘Kyandibeeredde kizibu okunnyonnyola Yesu ensonga lwaki nnyumirwa okuzannya emizannyo gino?’ Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kujja kutukubiriza okweggyako ekintu kyonna omugoberezi wa Kristo ky’atasaanidde kuba nakyo, ka kibe nti ekyo kizingiramu okwefiiriza okw’amaanyi. (Bik. 19:19, 20) Bwe twali twewaayo eri Yakuwa, twamusuubiza nti tugenda kulekera awo okuba abalamu ku lwaffe wabula ku lwa Kristo. N’olwekyo, tusaanidde okweggyako ekintu kyonna ekiyinza okutulemesa okutambulira mu bigere bya Yesu.—Mat. 5:29, 30; Baf. 4:8.
FEBWALI 20-26
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 EBYOMUMIREMBE 17-19
“Sigala ng’Oli Musanyufu Wadde ng’Ebintu Tebigenze nga Bwe Wandyagadde”
Ssa Ebirowoozo Byo ku Bulungi bw’Ekibiina kya Yakuwa
DAWUDI ow’omu Isirayiri ey’edda y’omu ku bantu abaali basingayo okuba abatutumufu aboogerwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Omusumba ono, omuyimbi, nnabbi, era kabaka, yeesiga Yakuwa Katonda n’omutima gwe gwonna. Enkolagana ey’oku lusegere Dawudi gye yalina ne Yakuwa yamuleetera okwagala okumuzimbira ennyumba. Ennyumba eyo oba yeekaalu, ye yandibadde ekifo eky’okusinza okw’amazima mu Isirayiri. Dawudi yakimanya nti yeekaalu n’emirimu egyandikoleddwamu byandireetedde abantu ba Katonda essanyu n’emikisa. N’olwekyo, Dawudi yagamba: “Alina essanyu oyo gw’olonda era n’omusembeza okubeera mu mpya zo. Tujja kuba bamativu n’ebirungi eby’omu nnyumba yo, yeekaalu yo entukuvu.”—Zabbuli 65:4.
Funa Essanyu mu Ebyo by’Osobola Okukola mu Buweereza Bwo
11 Mu ngeri y’emu, naffe tusobola okwongera ku ssanyu lyaffe nga tukola n’obunyiikivu mu buweereza bwaffe eri Yakuwa. ‘Weemalire’ ku mulimu gw’okubuulira era weenyigire mu mirimu egitali gimu egikolebwa mu kibiina kyo. (Bik. 18:5; Beb. 10:24, 25) Weetegekerenga bulungi enkuŋŋaana osobole okuddamu mu ngeri ezzaamu abalala amaanyi. Buli kitundu ky’oba oweereddwa okukolako mu lukuŋŋaana olwa wakati mu wiiki kitwale nga kikulu era kitegeke bulungi. Bw’obaako ekintu ky’oweereddwa okukola mu kibiina, fuba okukikola mu budde era beera muntu eyeesigika. Ekintu kyonna ky’oba oweereddwa okukola tokitwala nti si kikulu era nti teweetaaga kukiwa budde. Fuba okweyongera okufuna obumanyirivu mu ekyo ekiba kikuweereddwa okukola. (Nge. 22:29) Bw’onooba omunyiikivu, enkolagana yo ne Yakuwa ejja kweyongera okunywera era ojja kweyongera okuba omusanyufu. (Bag. 6:4) Era kijja kukwanguyira okusanyukira awamu n’abalala nga bafunye enkizo gye wandyagadde okufuna.—Bar. 12:15; Bag. 5:26.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
w20.02 lup. 12, akasanduuko
Twagala Nnyo Kitaffe Yakuwa
Yakuwa Andowoozaako?
Wali obaddeko awo ne weebuuza nti, ‘Mu nsi mulimu abantu bukadde na bukadde, ddala kisoboka okuba nti Yakuwa andowoozaako?’ Bwe kiba kityo, toli wekka. Kabaka Dawudi yawandiika nti: “Ai Yakuwa, omuntu kye ki ggwe okumulowoozaako, omwana w’omuntu kye ki ggwe okumufaako?” (Zab. 144:3) Dawudi yali mukakafu nti Yakuwa yali amumanyi bulungi. (1 Byom. 17:16-18) Era okuyitira mu Kigambo kye ne mu kibiina kye, Yakuwa akukakasa nti alaba okwagala kw’omulaga. Lowooza ku bigambo bino ebiri mu Bayibuli ebisobola okukukakasa ekyo:
• Yakuwa yakulaba nga tonnaba na kuzaalibwa.—Zab. 139:16.
• Yakuwa amanyi ekiri mu mutima gwo era amanyi ne ky’olowooza.—1 Byom. 28:9.
• Yakuwa awuliriza buli emu ku ssaala zo.—Zab. 65:2.
• By’okola bikwata ku nneewulira ya Yakuwa.—Nge. 27:11.
• Yakuwa ye yakusembeza gy’ali.—Yok. 6:44.
• Bw’ofa, Yakuwa akumanyi bulungi ne kiba nti ajja kusobola okukuzuukiza. Ajja kuzzaawo omubiri gwo, ebirowoozo byo, n’ebintu ebitali bimu ebikufuula ow’enjawulo ku balala.—Yok. 11:21-26, 39-44; Bik. 24:15.
FEBWALI 27–MAAKI 5
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 EBYOMUMIREMBE 20-22
“Yamba Abavubuka Okukulaakulana”
Ebintu Bino “Bitegeeze Abasajja Abeesigwa”
8 Soma 1 Ebyomumirembe 22:5. Dawudi yali asobola okulowooza nti Sulemaani yali tagwana kukola mulimu ogwo ogwali omukulu ennyo. Yeekaalu eyali egenda okuzimbibwa yali egenda kuba “matiribona,” kyokka ng’ate mu kiseera ekyo Sulemaani yali ‘akyali muto era nga talina bumanyirivu.’ Naye, Dawudi yali mukakafu nti Yakuwa yandiyambye Sulemaani okukola omulimu gwe yali amukwasizza. Bwe kityo, essira Dawudi yalissa ku kubaako ky’akolawo okuwagira omulimu gw’okuzimba yeekaalu. Dawudi yakuŋŋaanya mu bungi ebintu ebyali bigenda okukozesebwa mu kuzimba.
Ebintu Bino “Bitegeeze Abasajja Abeesigwa”
7 Dawudi yali ayagala nnyo okuzimbira Yakuwa ennyumba, era okuba nti yali tagenda kugizimba kiteekwa okuba nga kyamunakuwaza nnyo. Wadde kyali kityo, yawagira omulimu gw’okuzimba yeekaalu mutabani we Sulemaani gwe yali agenda okukola. Dawudi yateekateeka abakozi, era n’akuŋŋaanya zzaabu, ffeeza, ekikomo, ekyuma, n’emiti ebyali bigenda okukozesebwa. Dawudi teyadda awo kulowooza ku ani eyandiweereddwa ekitiibwa olw’okuzimba yeekaalu. Mu butuufu yeekaalu eyo yayitibwa yeekaalu ya Sulemaani, so si yeekaalu ya Dawudi. Wadde kyali kityo, Dawudi yagamba Sulemaani nti: “Kaakano mwana wange, Yakuwa k’abeere naawe era buli kimu kikugendere bulungi ozimbe ennyumba ya Yakuwa Katonda wo nga bwe yakwogerako.”—1 Byom. 22:11, 14-16.
Abazadde, Muyamba Omwana Wammwe Okukulaakulana Atuuke Okubatizibwa?
14 Abakadde mu kibiina basobola okuyambako abazadde nga boogera bulungi ku biruubirirwa eby’omwoyo abaana bye basobola okweteerawo. Mwannyinaffe omu eyaweereza nga payoniya okumala emyaka egisukka mu 70, yagamba nti ebigambo Ow’oluganda Charles T. Russell bye yayogera ng’anyumyako naye byamukwatako nnyo, wadde nga yalina emyaka mukaaga gyokka. Yagamba nti, “Russell yamala eddakiika 15 ng’ayogera nange ku biruubirirwa eby’omwoyo bye nnali nsobola okweteerawo.” Mu butuufu ebigambo ebirungi era ebizzaamu amaanyi, bisobola okukwata ku muntu obulamu bwe bwonna. (Nge. 25:11) Abakadde era basobola okuyamba abazadde n’abaana baabwe okwenyigira mu mirimu egikolebwa ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Basobola okuwa abaana emirimu okusinziira ku myaka gyabwe n’obusobozi bwabwe.
15 N’abalala mu kibiina, basobola okuyamba ku bazadde nga bafaayo ku baana abali mu kibiina. Basaanidde okufaayo ku bubonero obulaga nti omwana akula mu by’omwoyo. Waliwo omuvubuka mu kibiina kyo alina ekintu kye yazzeemu mu nkuŋŋaana okuviira ddala ku mutima oba eyabadde n’ekitundu mu lukuŋŋaana olubaawo wakati mu wiiki? Waliwo omuvubuka eyasobola okuziyiza ekikemo oba eyakozesa akakisa ke yafuna okuwa obujulirwa ku ssomero? Bwe kiba kityo tolonzalonza kumwebaza. Ate era lwaki tofuba okwogerako waakiri n’omwana omu buli luvannyuma lw’enkuŋŋaana, oba nga tezinnatandika? Bwe tukola bwe tutyo, tuyinza okuyamba abaana okukiraba nti ba mugaso nnyo mu “kibiina.”—Zab. 35:18.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ebyomumirembe Ekisooka
21:13-15. Yakuwa bwe yagamba malayika okulekera awo okuzikiriza, kyalaga nti awulira bubi ng’abantu be babonaabona. Mu butuufu ‘musaasizi nnyo.’
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Abaana—Muyinza Mutya Okwetegekera Okubatizibwa?
10 Bayibuli egamba nti: “Okukkiriza bwe kutaba na bikolwa kuba kufu.” (Yak. 2:17) N’olwekyo, bw’oba n’okukkiriza okw’amaanyi ekyo kijja kweyolekera mu bikolwa byo. Bikolwa ki? Bayibuli eyogera ku ‘mpisa entukuvu n’ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda.’—Soma 2 Peetero 3:11.
11 Okusobola okwoleka “empisa entukuvu,” olina okuba nga weeyisa bulungi. Ddala weeyisa bulungi? Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri gy’obadde weeyisaamu mu myezi omukaaga egiyise. Okyolese otya nti ‘obusobozi bwo obw’okutegeera’ butendekeddwa okwawulawo ekituufu n’ekikyamu? (Beb. 5:14) Olinayo embeera gy’ojjukira mwe waziyiza ekikemo oba bwe wagaana okwekkiriranya ng’opikirizibwa banno okukola ekikyamu? Ku ssomero omanyiddwa ng’omwana eyeeyisa obulungi? Onywerera ku ekyo ky’omanyi nti kituufu mu kifo ky’okukoppa enneeyisa ya bayizi banno baleme okukusekerera? (1 Peet. 4:3, 4) Kyo kituufu nti ffenna tetutuukiridde. N’abaweereza ba Yakuwa abamu abamaze ebbanga eddene nga bamuweereza oluusi batya okulwanirira enzikiriza yaabwe mu lujjudde. Naye omuntu eyeewaayo eri Yakuwa aba yeenyumiririza mu kuyitibwa erinnya lya Katonda era ekyo akyoleka mu ngeri gye yeeyisaamu.
12 Ate byo “ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda” bizingiramu ki? Bizingiramu ebintu gamba ng’okubeerawo mu nkuŋŋaana n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Era bizingiramu n’ebintu ebimu abalala bye batalaba, gamba ng’essaala z’osaba awamu n’okwesomesa. Omuntu eyeewaayo eri Yakuwa ebintu ebyo tabikola kutuusa butuusa luwalo. Mu kifo ky’ekyo, aba n’endowooza ng’eya Kabaka Dawudi eyagamba nti: “Ai Katonda wange, nsanyukira okukola by’oyagala, era amateeka go gali munda mu nze.”—Zab. 40:8.
13 Okusobola okukuyamba okweteerawo ebiruubirirwa, laba ekipande ekiri lupapula 308 okutuuka ku lupapula 309 mu katabo Questions Young People Ask—Answers That Work, Omuzingo 2. Ekipande ekyo kiriko ebibuuzo nga, “Bw’oba osaba Yakuwa, omutegeereza ddala ekyo ekikuli ku mutima? Essaala zo ziraga nti oyagala nnyo Yakuwa?” “Bintu ki by’osomako nga weesomesa?” “Ogenda okubuulira bazadde bo ne bwe baba nga tebagenda?” Ekipande ekyo kirina n’amabanga w’osobola okuwandiika ebiruubirirwa by’olina ebikwata ku kusaba, okwesomesa, n’okubuulira.
14 Waliwo abaana bangi abalowooza ku ky’okubatizibwa abaganyuddwa mu kipande ekyo. Mwannyinaffe omuto ayitibwa Tilda yagamba nti: “Ekipande ekyo kyannyamba okweteerawo ebiruubirirwa. Mpolampola nnagenda ntuuka ku biruubirirwa ebyo era mu mwaka gumu nnali mwetegefu okubatizibwa.” Ow’oluganda omuto ayitibwa Patrick naye yaganyulwa mu kipande ekyo. Yagamba nti: “Nnali nneeteerawo dda ebiruubirirwa naye bwe nnabiwandiika kyannyamba okuba omumalirivu okubituukako.”
15 Ekimu ku bibuuzo ebikulu ennyo ebiri ku kipande ekyo kye kino: “Oneeyongera okuweereza Yakuwa ne bwe kiba nti bazadde bo oba mikwano gyo balekedde awo okumuweereza?” Kijjukire nti bwe weewaayo eri Yakuwa era n’obatizibwa, ojja kuba ovunaanyizibwa kinnoomu mu maaso ge. Olina okuweereza Yakuwa ku lulwo nga tosinziira ku muntu yenna, k’abe muzadde wo. Bw’oba n’empisa entukuvu era ng’okola ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda kiba kiraga nti amazima ogafudde gago era nti oyolekedde okubatizibwa.