Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
© 2022 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
MAAKI 6-12
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 EBYOMUMIREMBE 23-26
“Okusinza mu Yeekaalu Kwali Kutegekeddwa Bulungi Nnyo”
it-2-E lup. 241
Abaleevi
Mu kiseera ky’obufuzi bwa Kabaka Dawudi, omulimu gw’Abaleevi gwali gwategekebwa bulungi nnyo. Yalonda abaali bakulira abakozi, abaami, abalamuzi, abakuumi b’oku miryango, abawanika, era yalonda n’abo abaayambangako bakabona mu Yeekaalu, mu luggya lwa Yeekaalu, mu bisenge ebiriirwamu, okukola emirimu egikwata ku biweebwayo, ssaddaaka, okutukuza, okupima, era n’okukola emirimu egy’okukuuma. Abaleevi abayimbi baategekebwa mu bibinja 24, ebifaananako n’ebibinja bya bakabona, era nabo baaweerezanga mu mpalo. Baakubanga bululu okumanya abaalinanga okuweereza. Ate era, n’ebibinja by’abo abaakuumanga ku miryango byalondebwanga mu ngeri y’emu.—1By 23, 25, 26; 2By 35:3-5, 10.
it-2-E lup. 686
Kabona
Bakabona abaaweerezanga mu yeekaalu baaweebwanga obuvunaanyizibwa obw’enjawulo. Emirimu egimu gyabaweebwanga oluvannyuma lw’okukuba akalulu. Buli kimu ku bibinja 24 kyaweerezanga okumala wiiki emu, era buli kibinja kyaweerezanga emirundi ebiri buli mwaka. Kirabika bakabona bonna baaweerezanga mu biseera by’embaga, abantu nkumi na nkumi we baaweerangayo ebiweebwayo nga bwe kyali nga yeekaalu etongozebwa. (1By 24:1-18, 31; 2By 5:11; geraageranya 2By 29:31-35; 30:23-25; 35:10-19.) Kabona yabanga asobola okuweereza mu biseera ebirala, kasita kyabanga nti tayingiridde mirimu gya bakabona abalala abaabanga balina okuweereza. Okusinziira ku biwandiiko ebimu ebya Balabbi, mu kiseera Yesu we yabeerera ku nsi, bakabona baali bangi nnyo ne kiba nti emirimu egya wiiki gyagabanyizibwangamu ne giweebwa amaka ga bakabona ab’enjawulo, era buli maka gaaweerezanga olunaku lumu oba ezisingawo okusinziira ku muwendo gwabwe.
it-2-E lup. 451-452
Ennyimba
Dawudi bwe yali ateekateeka obuweereza bw’oku yeekaalu, yalonda Abaleevi 4,000 okubeera abayimbi. (1By 23:4, 5) Ku Baleevi abo, 288 baali ‘baatendekebwa okuyimbira Yakuwa, era bonna baali bakugu.’ (1By 25:7) Enteekateeka eyo yonna yali ekulirwa abayimbi basatu abakugu, Asafu, Kemani, ne Yedusuni (era kirabika y’ayitibwa Esani). Okuva bwe kiri nti buli omu ku basajja abo abasatu yali muzzukulu w’omu ku batabani ba Leevi abasatu, Gerusomu, Kokasi, ne Merali, buli lumu ku mpya z’Abaleevi esatu enkulu zaakiikirirwa mu nteekateeka y’okuyimba mu yeekaalu. (1By 6:16, 31-33, 39-44; 25:1-6) Batabani b’abasajja abo abasatu bonna awamu baali 24, era bonna baali mu kibinja ky’abayimbi abakugu 288. Buli omu ku batabani baabwe abo yalondebwa nga bakuba kalulu, okukulira ekimu ku bibinja by’abayimbi. Buli omu ku abo 24, yakuliranga ekibinja ky’abayimbi abalala 11 “abakugu” abaalondebwanga okuva mu batabani baabwe awamu n’Abaleevi abalala. Mu ngeri eyo, okufaananako bakabona, abayimbi Abaleevi abakugu 288 nabo baayawulwamu ebibinja 24. Bwe kiba nti abayimbi abalala abayiga 3,712 nabo baayawulwangamu, ekyo kiraga nti ku buli kimu ku bibinja 24 eby’abayimbi abakugu kwayongerwangako abayimbi abayiga nga 155. Ate era kiraga nti buli omu ku bayimbi abakugu yalinanga Abaleevi abayimbi nga 13 ab’okutendeka ku buli mutendera. (1By 25:1-31) Okuva bwe kiri nti bakabona be baafuuwanga amakondeere, nabo baagattibwa ku Baleevi abayimbi.—2By 5:12; geraageranya Kbl 10:8.
it-1-E lup. 898
Omukuumi w’Oku Mulyango
Ku Yeekaalu. Kabaka Dawudi bwe yali anaatera okufa, yateekateeka Abaleevi n’abakozi b’oku yeekaalu, nga mwe mwali n’abakuumi b’oku miryango, abaali 4,000. Baaweererezanga mu bibinja era buli kibinja kyakolanga ennaku musanvu. Obuvunaanyizibwa bwabwe bwali bwa kukuuma nnyumba ya Yakuwa era n’okukakasa nti emiryango giggulwawo era ne giggalwawo mu kiseera ekituufu. (1By 9:23-27; 23:1-6) Ng’oggyeeko okukola omulimu gw’okukuuma, abamu ku bo baalabiriranga ebiweebwayo abantu bye baaleetanga ku yeekaalu. (2Sk 12:9; 22:4) Nga wayiseewo ekiseera, Yekoyaada kabona asinga obukulu bwe yafuka amafuta ku Yekowaasi okubeera Kabaka, waateekebwawo abakuumi b’oku miryango okusobola okukuuma Yekowaasi eyali akyali omuto, aleme kuttibwa Nnaabakyala Asaliya eyali yeddiza Obwakabaka. (2Sk 11:4-8) Kabaka Yosiya bwe yali asaanyaawo okusinza ebifaananyi, abakuumi b’oku miryango baayambako mu kuggya mu yeekaalu ebintu ebyali bikozesebwa mu kusinza Bbaali. Oluvannyuma ebintu ebyo byatwalibwa wabweru w’ekibuga ne byokebwa.—2Sk 23:4.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okusinza okw’Amazima Kujja Kukuyamba Okweyongera Okuba Omusanyufu
10 Bwe tuyimbira awamu ne bakkiriza bannaffe tuba tusinza Yakuwa. (Zab. 28:7) Abayisirayiri baatwalanga okuyimba nga kikulu nnyo mu kusinza kwabwe. Kabaka Dawudi yalonda Abaleevi 288 okuyimbanga ku yeekaalu. (1 Byom. 25:1, 6-8) Leero tukiraga nti twagala Yakuwa nga tuyimba ennyimba ezimutendereza. Engeri eddoboozi lyaffe gye liwulikikamu si kye kikulu. Lowooza ku kino: Bwe tuba twogera, “emirundi mingi ffenna tusobya,” naye ekyo tekitulemesa kubaako bye twogera mu nkuŋŋaana oba nga tukola omulimu gw’okubuulira. (Yak. 3:2) Mu ngeri y’emu, tetusaanidde kulekayo kuyimba nnyimba zitendereza Yakuwa, olw’okuba tulowooza nti tetuyimba bulungi.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
w11-E 6/1 lup. 14-15
Katonda Alina Ekibiina?
Abakristaayo Abaasooka Baali Bategekeddwa Bulungi
Olw’okuba abatume n’abayigirizwa baabuulira n’obunyiikivu, ebibiina Ebikristaayo byatandikibwawo mu bitundu bingi eby’omu Asiya ne mu Bulaaya, mu kyasa ekyasooka. Wadde ng’ebibiina bino byali byesudde, buli kimu kyali tekyetwala kyokka. Mu kifo ky’ekyo, byali byategekebwa bulungi era nga birabirirwa abatume. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yatuma Tito mu Kuleete asobole “okutereeza ebintu” mu kibiina ekyo. (Tito 1:5) Ate era, omutume Pawulo yawandiikira ekibiina ky’e Kkolinso nti waaliwo ab’oluganda abamu ‘abaalina obusobozi bw’okukulembera.’ (1 Abakkolinso 12:28) Naye ani eyasobozesa ebibiina ebyo okuba ebiteeketeeke obulungi? Omutume Pawulo yagamba nti: ‘Katonda ye yateekateeka’ ekibiina.—1 Abakkolinso 12:24; The Riverside New Testament.
Abo abaali balondeddwa okuba abalabirizi mu kibiina si be baali bafuga bakkiriza bannaabwe. Mu kifo ky’ekyo, baali ‘bakozi bannaabwe’ nga bagoberera obulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda, era baali basuubirwa okuba ‘ebyokulabirako eri ekisibo.’ (2 Abakkolinso 1:24; 1 Peetero 5:2, 3) Yesu Kristo gwe “mutwe gw’ekibiina,” so si muntu oba ekibiina ky’abantu abatatuukiridde.—Abeefeso 5:23.
Ekibiina ky’e Kkolinso bwe kyatandika okukola ebintu mu ngeri eyawukana ku y’ebibiina ebirala, Omutume Pawulo yabawandiikira nti: “Ekigambo kya Katonda kyava mu mmwe oba kyakoma ku mmwe mmwekka?” (1 Abakkolinso 14:36) Pawulo yababuuza ekibuuzo ekyo okusobola okutereeza endowooza yaabwe n’okubajjukiza nti baali tebasaanidde kwetwala bokka. Ebibiina bwe byagobereranga obulagiriza bw’omutume Pawulo, byeyongera okunywera era n’omuwendo gw’abakkiriza ne gweyongera.—Ebikolwa 16:4, 5.
Ekintu Ekiraga Okwagala kwa Katonda
Ate kiri kitya leero? Abamu bayinza obutayagala kubaako kibiina kya ddiini kye beegattako. Kyokka Bayibuli eraga nti Katonda abaddenga akozesa ekibiina kye okutuukiriza ekigendererwa kye. Yateekateeka Abayisirayiri mu biseera eby’edda, era yateekateeka n’Abakristaayo abasooka okusobola okumusinza.
N’olwekyo, kikola amakulu okugamba nti ne leero Yakuwa awa abantu be obulagirizi nga bwe yakolanga mu biseera eby’edda. Yakuwa okuteekateeka obulungi abo abamusinza n’okubagatta awamu kiraga nti abaagala nnyo. Leero, Yakuwa akozesa ekibiina kye okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye eri abantu. Oyinza otya okumanya ekibiina ky’akozesa? Lowooza ku bino wammanga.
▪ Abakristaayo ab’amazima baategekebwa okubaako omulimu gwe bakola. (Matayo 24:14; 1 Timoseewo 2:3, 4) Yesu yalagira abagoberezi be okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu mawanga gonna. Ekyo tekyandisobose singa tewaliiwo kibiina eky’ensi yonna. Ng’ekyokulabirako, kiba kyangu okuliisa omuntu omu ng’oli wekka, naye bw’oba n’abantu nkumi na nkumi oba bukadde na bukadde ab’okuliisa, oba weetaaga abantu abategekeddwa obulungi ab’okukola okulimu ogwo mu ngeri entegeke obulungi. Abakristaayo okusobola okutuukiriza obulungi omulimu ogwabaweebwa, baweereza Katonda “nga bali bumu.” (Zeffaniya 3:9) Omulimu ogukolebwa mu nsi yonna mu mawanga ag’enjawulo era mu bantu aboogera ennimi ez’enjawulo, gwandisobodde okukolebwa awatali kibiina ekitegeke obulungi? Tekyandisobose.
▪ Abakristaayo ab’amazima bategekeddwa okuyambagana n’okuzziŋŋanamu amaanyi. Omuntu alinnya olusozi ng’ali yekka asobola okwesalirawo w’ayagala okulinnyira olusozi olwo, era aba teyeetaaga kuyamba abo abatalina bumanyirivu mu kulinnya ensozi. Kyokka bw’afuna akabenje oba ekizibu ekirala, obulamu bwe buba mu kabi kubanga tewabaawo muntu n’omu ayinza kumuyamba. Si kya magezi kweyawula ku balala. (Engero 18:1) Abakristaayo okusobola okukola omulimu Yesu gwe yabalagira, balina okuyambagana. (Matayo 28:19, 20) Ekibiina Ekikristaayo kituwa obulagirizi obwesigamiziddwa ku Bayibuli era n’okutendekebwa, ebituzzaamu amaanyi era ebituyamba obutalekulira. Omuntu yandigenze wa okusobola okufuna obulagirizi obuva eri Yakuwa n’okumusinza, singa tewaliiwo nkuŋŋaana z’Ekikristaayo ezitegekeddwa obulungi?—Abebbulaniya 10:24, 25.
▪ Abakristaayo ab’amazima bategekeddwa okusobola okuweereza Katonda nga bali bumu. Endiga za Yesu bwe ziwuliriza eddoboozi lye, zifuuka ‘ekisibo kimu’ ekiri wansi w’obukulembeze bwe. (Yokaana 10:16) Tebasangibwa mu makanisa ga njawulo ageetwala gokka, era tebeeyawuddeyawuddeemu olw’enzikiriza ez’enjawulo. Mu kifo ky’ekyo, bonna bali ‘bumu mu bye boogera.’ (1 Abakkolinso 1:10) Okusobola okuba obumu, twetaaga okuba nga tutegekeddwa bulungi. Ekyo kyetaagisa okuba nga tuli mu kibiina, era abantu abali obumu be basobola okufuna emikisa gya Katonda.—Zabbuli 133:1, 3.
Okwagala Katonda n’amazima agali mu Bayibuli kireetedde abantu bukadde na bukadde okujja mu kibiina ekituukiriza ebisaanyizo ebyo n’ebirala ebiri mu Bayibuli. Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna bategekeddwa bulungi era bali bumu, era bafuba okukola Katonda by’ayagala. Katonda yabasuubiza nti: “Nnaabeeranga mu bo, ne ntambuliranga mu bo, era nnaabeeranga Katonda waabwe nabo banaabeeranga bantu bange.” (2 Abakkolinso 6:16) Naawe osobola okufuna omukisa ogwo singa osalawo okusinza Yakuwa ng’oli wamu n’ekibiina kye.
MAAKI 13-19
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 EBYOMUMIREMBE 27-29
“Okubuulirira Okwoleka Okwagala Taata kw’Awa Mutabani We”
Okunywerera ku Ekyo Kye Tuli ng’Abakristaayo
9 Ggwe kennyini kakasa amazima g’omu Bayibuli. Singa tetwesigama ku kumanya okutuufu okw’Ebyawandiikibwa, tuyinza okulemererwa okunywerera ku kye tuli ng’Abakristaayo. (Abafiripi 1:9, 10) Buli Mukristaayo, omuto n’omukulu, alina okukakasa ku lulwe nti by’akkiririzaamu ge mazima agali mu Bayibuli. Pawulo yakubiriza bakkiriza banne nti: “Mwekenneenyenga ebintu byonna okukakasa nti bituufu; munywererenga ku kirungi.” (1 Abassessalonika 5:21) Abavubuka Abakristaayo abava mu maka agatya Katonda, bateekeddwa okukimanya nti okukkiriza kwa bazadde baabwe si kwe kubafuula Abakristaayo ab’amazima. Dawudi yakubiriza mutabani we Sulemaani nti: “Manya Katonda wa kitaawo omuweereze n’omutima gwo gwonna.” (1 Ebyomumirembe 28:9) Kyandibadde tekimala Sulemaani okulaba obulabi engeri kitaawe gye yali amuyambamu okukkiririza mu Yakuwa. Ye kennyini yalina okumanya Yakuwa, era mu butuufu yamumanya. Sulemaani bwe yali asaba Yakuwa, yagamba nti: “Nkusaba ompe amagezi n’okumanya nsobole okukulembera abantu bano.”—2 Ebyomumirembe 1:10.
Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna
13 Ekyokulabirako Yesu kye yawa kituyigiriza ki? Ng’oggyeeko okubeerawo mu nkuŋŋaana n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira, waliwo n’ebintu ebirala bye twetaaga okukola okulaga nti tuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna. (2 Byom. 25:1, 2, 27) Singa Omukristaayo yeeyongera okwagala ebintu bye yaleka “emabega,” kwe kugamba, ebintu ebiri mu nsi, asobola okufiirwa enkolagana ye ne Yakuwa. (Luk. 17:32) N’olwekyo, bwe tuba ab’okuweereza Katonda n’omutima gwaffe gwonna, tulina ‘okukyawa ekibi, ne tunywerera ku kirungi.’ (Bar. 12:9; Luk. 9:62) Wadde ng’ebintu ebimu ebiri mu nsi ya Sitaani biyinza okulabika ng’ebirungi oba eby’omugaso, tetusaanidde kubikkiriza kutulemesa kuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna.—2 Kol. 11:14; soma Abafiripi 3:13, 14.
“Beera Muvumu . . . Okole Omulimu”
20 Kabaka Dawudi yagamba Sulemaani nti Yakuwa yandibadde naye okutuusa lwe yandimalirizza omulimu gw’okuzimba yeekaalu. (1 Byom. 28:20) Sulemaani ateekwa okuba nga yafumiitiriza ku bigambo bya kitaawe ebyo, bw’atyo n’atakkiriza kya kuba nti yali muvubuka era nga talina bumanyirivu kumulemesa kukola mulimu ogwamuweebwa. Sulemaani yayoleka obuvumu n’azimba yeekaalu amatiribona, era Yakuwa yamuyamba n’amaliriza okugizimba mu myaka musanvu n’ekitundu gyokka.
21 Nga Yakuwa bwe yayamba Sulemaani, naffe asobola okutuyamba ne twoleka obuvumu ne tutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe tulina awaka ne mu kibiina. (Is. 41:10, 13) Bwe twoleka obuvumu nga tuweereza Yakuwa, ajja kutuwa emikisa mu kiseera kino ne mu biseera eby’omu maaso. N’olwekyo, “beera muvumu . . . okole omulimu.”
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okunywerera ku Mukwano Gwo ne mu Mbeera Enzibu
Dawudi yalina mikwano gye emirala egyamunywererako ng’ali mu buzibu. Omu ku bo yali Kusaayi, Bayibuli gw’eyogerako nga “mukwano gwa Dawudi.” (2 Sam. 16:16; 1 Byom. 27:33) Kusaayi ayinza okuba nga yali mukungu mu lubiri era yali mukwano gwa Dawudi ow’oku lusegere gwe yabuulirangako ebyama bye.
Abusaalomu mutabani wa Dawudi bwe yagezaako okweddiza entebe y’obwakabaka, Abayisirayiri bangi baamwegattako. Naye ye Kusaayi teyamwegattako. Dawudi bwe yali adduka Abusaalomu, Kusaayi yagenda n’amusisinkana. Dawudi kyamuyisa bubi nnyo okuba nti mutabani we awamu n’abantu abamu be yali yeesiga baali bamuliddemu olukwe. Naye Kusaayi yasigala nga mwesigwa eri Dawudi era n’ateeka obulamu bwe mu kabi okusobola okugootaanya enteekateeka za Abusalomu. Ekyo Kusaayi teyakikola lwa kuba nti yali mukungu mu lubiri, wabula yakikola olw’okuba yali mukwano gwa Dawudi owa nnamaddala.—2 Sam. 15:13-17, 32-37; 16:15–17:16.
MAAKI 20-26
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 EBYOMUMIREMBE 1-4
“Kabaka Sulemaani Asalawo mu Ngeri Etali ya Magezi”
it-1-E lup. 174 ¶5
Eggye
Mu bufuzi bwa Sulemaani waliwo enkyukakyuka empya eyaliwo mu ggye lya Isirayiri. Obufuzi bwe okutwalira awamu bwalimu emirembe, kyokka yakuŋŋaanya embalaasi nnyingi n’amagaali g’olutalo. (laba EGGAALI.) Embalaasi ezo ezisinga obungi zaagulibwa okuva e Misiri. Ebibuga byalina okuzimbibwa mu bitundu bya Isirayiri ebitali bimu okusobola okuteekebwamu eggye eryo eddene. (1Sk 4:26; 9:19; 10:26, 29; 2By 1:14-17) Kyokka, Yakuwa teyawa mukisa nteekateeka ya Sulemaani eyo era Sulemaani bwe yafa, Obwakabaka bwa Isirayiri bwayawulwamu ebitundu bibiri, eggye lya Isirayiri ne likendeera. Oluvannyuma nnabbi Isaaya yawandiika nti: “Zibasanze abo abagenda e Misiri okufunayo obuyambi, abo abeesiga embalaasi, abeesiga amagaali g’olutalo olw’okuba mangi, era abeesiga embalaasi z’olutalo olw’okuba za maanyi. Naye tebeesiga Mutukuvu wa Isirayiri, era tebanoonya Yakuwa.”—Is 31:1.
it-1-E lup. 427
Eggaali
Eggye lya Isirayiri teryalina magaali mangi ag’olutalo okutuusa mu kiseera kya Kabaka Sulemaani. Ekyo kyali bwe kityo, olw’okuba Katonda yali yabalabula nti Kabaka teyalina kukuŋŋaanya magaali mangi ag’olutalo nga gy’obeera nti ge gaali gayamba eggwanga okubaamu emirembe. Ekyo kyakendeeza ku bwetaavu bw’amagaali g’olutalo, okuva bwe kiri nti gaali geetaagisa embalaasi okugasika. (Ma 17:16) Nnabbi Samwiri bwe yali alabula abantu ku kabi akali mu kufugibwa bantu bannaabwe, yabagamba nti: “Ajja kutwala batabani bammwe abateeke ku magaali ge.” (1Sa 8:11) Abusaalomu ne Adoniya bwe baali bagezaako okweddiza Obwakabaka, buli omu ku bo yafuna eggaali era n’abasajja 50 okuddukiranga mu maaso ge. (2Sa 15:1; 1Sk 1:5) Kabaka Dawudi bwe yawangula Kabaka w’e Zoba, yalekawo amagaali 100 ag’olutalo.—2Sa 8:3, 4; 10:18.
Kabaka Sulemaani bwe yali azimba eggye lya Isirayiri, yayongera ku muwendo gw’amagaali g’olutalo ne gawera 1,400. (1Sk 10:26, 29; 2By 1:14, 17) Ng’oggyeeko Yerusaalemi, ebibuga ebirala ebyamanyibwa ng’ebibuga by’amagaali byazimbibwa okusobola okuteekebwamu amagaali ago.—1Sk 9:19, 22; 2By 8:6, 9; 9:25.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ebyomumirembe eky’Okubiri
1:11, 12. Okusaba kwa Sulemaani kwalaga Yakuwa nti kabaka oyo yali ayagala nnyo okufuna amagezi n’okumanya. Naffe bye tusaba Katonda byoleka ekiri ku mitima gyaffe. N’olwekyo, kiba kya magezi okufumiitiriza ku ebyo bye tusaba.
MAAKI 27–APULI 2
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 EBYOMUMIREMBE 5-7
“Omutima Gwange Gunaabeeranga Eyo Bulijjo”
w02-E 11/15 lup. 5 ¶1
Temulekangayo Kukuŋŋaana Wamu
Oluvannyuma Dawudi bwe yatandika okufuga nga kabaka mu Yerusaalemi, yayagala nnyo okuzimbira Yakuwa ennyumba. Kyokka olw’okuba Dawudi yalwana nnyo entalo, Yakuwa yamugamba nti: “Tojja kuzimbira linnya lyange nnyumba.” Mu kifo ky’ekyo, Yakuwa yalonda Sulemaani mutabani wa Dawudi okuzimba yeekaalu. (1 Ebyomumirembe 22:6-10) Sulemaani yatongoza yeekaalu mu mwaka gwa 1026 E.E.T., oluvannyuma lwa yeekaalu eyo okumala emyaka musanvu n’ekitundu ng’ezimbibwa. Yakuwa yakiraga nti yali asiimye yeekaalu eyo bwe yagamba nti: “Ntukuzza ennyumba eno gy’ozimbye ne nteeka omwo erinnya lyange libeere omwo emirembe gyonna, era amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga eyo bulijjo.” (1 Bassekabaka 9:3) Abayisirayiri bwe bandisigadde nga beesigwa eri Yakuwa, emikisa gya Yakuwa gyandibadde ku nnyumba eyo. Kyokka Abayisirayiri bwe bandivudde ku Yakuwa, Yakuwa yandibaabulidde era ‘ennyumba eyo yandifuuse ntuumu ya bifunfugu.’—1 Bassekabaka 9:4-9; 2 Ebyomumirembe 7:16, 19, 20.
it-2-E lup. 1077-1078
Yeekaalu
Ebyafaayo. Yeekaalu eno yaliwo okutuukira ddala mu mwaka gwa 607 E.E.T., eggye lya Babulooni lwe lyagizikiriza nga likulemberwa Kabaka Nebukadduneeza. (2Sk 25:9; 2By 36:19; Yer 52:13) Olw’okuba Abayisirayiri baava ku Yakuwa ne batandika okusinza bakatonda ab’obulimba, Yakuwa yaleka amawanga okunyigiriza Yuda ye Yerusaalemi era emirundi egimu amawanga ago gaanyaganga ebintu by’omu yeekaalu. Ate era waliwo ebiseera Abayisirayiri lwe bataalabiriranga yeekaalu eyo. Kabaka Sisaki owa Misiri yanyaga ebintu bya yeekaalu (993 E.E.T.) mu kiseera ky’obufuzi bwa Yerobowaamu mutabani wa Sulemaani, nga waakayita emyaka 33 gyokka bukya yeekaalu eyo etongozebwa. (1Sk 14:25, 26; 2By 12:9) Kabaka Asa (977-937 E.E.T.) yali awa ennyumba ya Yakuwa ekitiibwa, naye okusobola okukuuma ekibuga Yerusaalemi, yagulirira Kabaka Beni-kadadi I owa Busuuli n’amuwa ffeeza ne zzaabu ebyali mu mawanika ga yeekaalu, Beni-kadadi asobole okumenya endagaano gye yali akoze ne Kabaka Baasa owa Isirayiri eyali alumbye Yuda.—1Sk 15:18, 19; 2By 15:17, 18; 16:2, 3.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
w10-E 12/1 lup. 11 ¶7
Amanyi “Emitima gy’Abantu”
Essaala ya Sulemaani esobola okutuzzaamu amaanyi. Bantu bannaffe bayinza obutamanya ‘nnaku gye tuyitamu n’obulimu bwe tulina.’ (Engero 14:10) Naye Yakuwa amanyi ekiri mu mutima gwaffe era atufaako nnyo. Bwe tumusaba ne tumubuulira ebituli ku mutima, asobola okutuyamba okugumira ekizibu kye tuba twolekagana nakyo. Bayibuli egamba nti: ‘Mumukwase byonna ebibeeraliikiriza kubanga abafaako.’—1 Peetero 5:7.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
w93-E 2/1 lup. 31
Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Omukristaayo bw’aba nga mulwadde oba ng’ali ku lugendo, bw’atyo n’atasobola kubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo, asobola okukwata omukolo ogwo omwezi oguddako?
Mu Isirayiri ey’edda, embaga ey’Okuyitako yakwatibwanga buli mwaka ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi ogusooka ogwa Nisaani (oba, Abibu). Kyokka mu Okubala 9:10, 11, Yakuwa yagamba Musa nti: “Gamba Abayisirayiri nti: ‘Omuntu yenna mu mmwe oba mu bazzukulu bammwe abaliddawo ne bw’ataabenga mulongoofu olw’okukwata ku mulambo, oba ne bw’anaabanga ku lugendo ewala, anaakwatanga Okuyitako eri Yakuwa. Bajja kukukwatanga mu mwezi ogw’okubiri ku lunaku olw’ekkumi n’ennya akawungeezi. Banaaliirangako emigaati egitali mizimbulukuse n’enva endiirwa ezikaawa.’”
Weetegereze nti ekyo tekitegeeza nti waali wateekeddwawo ennaku bbiri ez’enjawulo ez’okukwatirako embaga ey’Okuyitako (Nisaani 14 oba Ziivu 14), nga buli Muyisirayiri wa ddembe okweronderako olunaku olumwanguyira. Okukwata embaga ey’Okuyitako mu mwezi ogw’okubiri kyaliko akakwakkulizo. Abayisirayiri abakkirizibwanga okugikwata mu mwezi ogw’okubiri beebo bokka abataabanga balongoofu nga Nisaani 14 oba abo abaabanga ewala okuva mu kifo we baateranga okukwatira embaga eyo.
Omulundi gwokka ogulagibwa mu byawandiikibwa ekyo lwe kyakolebwa, gwegwo Kabaka Keezeekiya eyali omwesigwa lwe yazzaawo Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse. Tewaaliwo biseera bimala kweteekerateekera mbaga eyo mu mwezi ogusooka (bakabona baali tebanneeteekateeka era nga n’abantu tebannakuŋŋaana), bwe kityo embaga eyo yakwatibwa ku lunaku olw’ekkumi n’enya mu mwezi ogw’okubiri.—2 Ebyomumirembe 29:17; 30:1-5.
Ng’oggyeeko embeera ng’ezo ezaali ziteebeereka, Abayudaaya baakwatanga embaga ey’Okuyitako ku lunaku Katonda lwe yabalagira. (Okuva 12:17-20, 41, 42; Eby’Abaleevi 23:5) Yesu n’abayigirizwa be nabo baakwatanga embaga eyo ng’amateeka bwe gaali galagira, era olunaku olwo tebaalutwalanga ng’olutali lukulu. Lukka yawandiika nti: “Awo olunaku lw’Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, kwe baaweerangayo ssaddaaka ey’embaga ey’Okuyitako, ne lutuuka; awo Yesu n’atuma Peetero ne Yokaana n’abagamba nti: ‘Mugende mututegekere embaga ey’Okuyitako, tugirye.’”—Lukka 22:7, 8.
Ku lunaku olwo Yesu yatandikawo omukolo ogulina okukwatibwanga buli mwaka, Abakristaayo gwe bayita eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Kikulu nnyo Abakristaayo okubaawo ku mukolo ogwo. Olwo lwe lunaku olusingayo obukulu mu mwaka eri Abajulirwa ba Yakuwa. Yesu yalaga ensonga lwaki olunaku olwo lukulu nnyo. Yagamba nti: “Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.” (Lukka 22:19) Buli omu ku Bajulirwa ba Yakuwa asaanidde okukola enteekateeka nga wabulayo emyezi egiwera, olunaku olw’okujjukira okufa kwa Yesu lutuuke nga talutaddeeko nteekateeka ndala yonna. Omukolo gw’okukwata eky’Ekiro kya Mukama Waffe gujja kubaawo ku Lwokubiri, Apuli 6, 1993, oluvannyuma lw’enjuba okugwa.
Wayinza okubaawo embeera eziteebeereka, gamba ng’okulwala oba omuntu okufuna obuzibu ng’ali ku lugendo, ebiyinza okumulemesa okubaawo ku mukolo ogwo nga bwe yali ateeseteese. Mu mbeera ng’ezo, kiki ekisaanidde okukolebwa?
Ku mukolo gwo, omugaati ogutali muzimbulukuse n’envinnyo biyisibwa, era abo abaafukibwako amafuta abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu balya ku mugaati era banywa ne ku nvinnyo. (Matayo 26:26-29; Lukka 22:28-30) Bwe kiba nti oyo abaddenga alya ku mugaati oba anywa ku nvinnyo taasobole kubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo olw’okuba mulwadde nga tasobola kuva waka oba ng’ali mu ddwaliro, abakadde basaanidde okukola enteekateeka okumutwalira omugaati n’envinnyo, ne bamusomera ebyawandiikibwa ebituukirawo ebikwata ku mukolo ogwo, era ne bamuwa omugaati n’envinnyo. Ate singa oyo eyafukibwako amafuta taasobole kubeera mu kibiina kye ku lunaku lw’Ekijjukizo, asaanidde okukola enteekateeka okugenda mu kibiina ekiri mu kitundu gy’anaabeera ku lunaku olwo.
N’olw’ensonga eyo, embeera eteekwa okuba nga ddala teyeebeereka ereetera Omukristaayo eyafukibwako amafuta okukwata eky’Ekiro kya Mukama Waffe nga wayiseewo ennaku 30 (omwezi gumu), ng’agoberera ekiragiro ekiri mu Okubala 9:10, 11 n’ekyokulabirako ekiri mu 2 Ebyomumirembe 30:1-3, 15.
‘Ab’endiga endala’ abalina essuubi ery’okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi tebalya ku mugaati era tebanywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo. (Yokaana 10:16) Wadde kiri kityo, kiba kikulu nnyo nabo okubaawo ku mukolo ogwo. N’olwekyo, bwe kiba nti omu ku bo mulwadde oba ng’ali ku lugendo n’aba nga taasobole kubaawo ku mukolo ogwo, asobola okusoma ebyawandiikibwa ebituukirawo (nga mw’otwalidde n’ebyo ebikwata ku ebyo ebyaliwo ku lunaku Yesu lwe yatandikawo omukolo ogwo), era n’asaba Yakuwa awe omukisa omukolo ogwo mu nsi yonna. Kiba tekimwetaagisa kukola nteekateeka ndala ey’okukuŋŋaana ekwata ku mukolo ogwo oba okukubaganya ebirowoozo ku byawandiikibwa ebikwata ku mukolo ogwo oluvannyuma lw’omwezi gumu.
APULI 10-16
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 EBYOMUMIREMBE 8-9
“Amagezi Yagatwala nga ga Muwendo”
w99-E 11/1 lup. 20 ¶4
Abantu Lwe Baayolekanga Ennyo Omwoyo Omugabi
Kyo kituufu nti ne kabaka omukazi ow’e Seba yawaayo ebiseera okugenda okukyalira Sulemaani. Kirabika Seba kyali mu nsi kati eyitibwa Yemen. Bwe kityo kabaka oyo yatambula olugenda lwa mayiro ezisukka mu 1,000 okutuuka e Yerusaalemi. Nga Yesu bwe yagamba, “yava wala nnyo.” Kiki ekyaleetera kabaka omukazi ow’e Seba okutindigga olugendo olwo lwonna olutaali lwangu? Ekyamutwala e Yerusaalemi kwe kugenda “okuwulira amagezi ga Sulemaani.”—Lukka 11:31.
w99-E 7/1 lup. 30 ¶4-5
Okukyala Okwavaamu Emikisa Emingi
Bayibuli egamba nti kabaka omukazi ow’e Seba “yatuuka e Yerusaalemi n’abantu bangi nnyo, n’eŋŋamira nga zeetisse amafuta ga basamu, ne zzaabu mungi nnyo, n’amayinja ag’omuwendo.” (1 Bassekabaka 10:2a) Abamu bagamba nti yajja n’abakuumi abaalina eby’okulwanyisa. Ekyo kitegeerekeka, naddala bwe tulowooza ku ky’okuba nti yali kabaka ow’amaanyi era yalina ebintu bingi nnyo eby’omuwendo.
Kyokka weetegereze nti kabaka omukazi ow’e Seba yali yawulira ku ttutumu Sulemaani lye yalina “olw’erinnya lya Yakuwa.” N’olwekyo, yali tagenze lwa bya busuubuzi. Okusingira ddala kabaka oyo yali agenze kuwuliriza magezi ga Sulemaani, era oboolyawo n’okubaako by’ayiga ebikwata ku Yakuwa Katonda wa Sulemaani. Ate era okuva bwe kiri nti ayinza okuba nga yali yasibuka mu Seemu oba Kaamu abaasinzanga Yakuwa, ayinza okuba nga yali ayagala kumanya ebikwata ku ddiini ya bajjajjaabe.
w99-E 7/1 lup. 30-31
Okukyala Okwavaamu Emikisa Emingi
Kabaka omukazi ow’e Seba yakwatibwako nnyo era “n’awuniikirira” olw’amagezi ga Sulemaani n’ekitiibwa ky’obwakabaka bwe. (1 Bassekabaka 10:4, 5) Abamu bagamba nti ekigambo ‘okuwuniikirira’ ekyakozesebwa mu lunyiriri olwo kiyinza okutegeeza nti “yalekera awo okussa.” Omwekenneenya omu owa Bayibuli yatuuka n’okugamba nti yazirika. Ka kibe ki ekyaliwo, kabaka omukazi ow’e Seba yeewuunya nnyo olw’ebyo bye yalaba ne bye yawulira. Yagamba nti abaweereza ba Sulemaani beesimye olw’okuwuliranga amagezi ga kabaka oyo era yatendereza Yakuwa olw’okulonda Sulemaani okuba kabaka. Oluvannyuma yawa Sulemaani ebirabo eby’omuwendo ennyo, era nga kati bibalirirwamu ddoola za Amerika obukadde nga 40. Sulemaani naye alina ebirabo bye yawa kabaka omukazi ow’e Seba. Yamuwa “byonna ebyamusanyusa bye yasaba.”—1 Bassekabaka 10:6-13.
it-2-E lup. 990-991
Sulemaani
Kabaka omukazi ow’e Seba bwe yalaba obulungi bwa yeekaalu n’ennyumba Sulemaani bye yali azimbye, n’emmere eyagabulwanga ku mmeeza ye, n’engeri abaaweereza ba Sulemaani gye baayambalangamu, ne ssaddaaka ezookebwa ezaaweebwangayo buli lunaku ku yeekaalu, ‘yawuniikirira’ era n’agamba nti: “Tebambuulira byonna. Amagezi go n’obugagga bwo bisukkulumye nnyo ku ebyo bye nnawulira.” Ate era yagamba nti abaweereza ba Kabaka Sulemaani baali beesiimye. Oluvannyuma yatendereza Yakuwa Katonda olw’okulaga Isirayiri okwagala n’alonda Sulemaani okuba kabaka n’okulamula abantu be.—1Sk 10:4-9; 2By 9:3-8.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-2-E lup. 1097
Entebe ey’Obwakabaka
Entebe y’obwakabaka Sulemaani gye yakola ye yokka ennyonnyolwa mu bujjuvu ku ntebe za bakabaka ba Isirayiri bonna. (1Sk 10:18-20; 2By 9:17-19) Kirabika entebe eyo yali yateekebwa mu “Kigango ky’Entebe ey’Obwakabaka,” ekimu ku bizimbe ebyali ku Lusozi Moliya mu Yerusaalemi. (1Sk 7:7) Entebe eyo ‘eyakolebwa mu masanga yali nnene nnyo era yabikkibwako zzaabu alongooseddwa, era emabega waayo waggulu waaliyo ekibikkirira ekyetooloovu.’ Amasanga g’enjovu ge gaasinga okukozesebwa okukola entebe eyo, naye okusinziira ku ngeri ebintu bya yeekaalu gye byakolebwamu, kirabika n’entebe eyo yasooka kukolebwa mu mbaawo n’ebikkibwako zzaabu omulongoofu, oluvannyuma kungulu ne bagibikka amasanga. Kungulu entebe eyo yalabikanga ng’eyakolebwa mu masanga g’enjovu ne zzaabu byokka. Oluvannyuma lw’okwogera ku madaala omukaaga agaali gagenda ku ntebe eyo, Bayibuli egattako nti: “Ku buli ludda lw’awateekebwa emikono waaliwo ekibumbe ky’empologoma eyimiridde. Waaliwo ebibumbe by’empologoma 12 nga biyimiridde eruuyi n’eruuyi ku madaala omukaaga.” (2By 9:17-19) Ekyo kituukirawo, kubanga empologoma ekiikirira obuyinza kabaka bw’aba nabwo. (Lub 49:9, 10; Kub 5:5) Ebibumbe by’empologoma 12 biyinza okuba nga byali bikiikirira ebika 12 ebya Isirayiri okulaga nti ebika ebyo byali bigondera era nga biwagira kabaka eyali afuga. Akatebe kabaka kwe yateekanga ebigere kaali kaakolebwa mu zzaabu. Entebe eyo eyali yakolebwa mu masanga g’enjovu ne mu zzaabu era eyaliko ebibumbe by’empologoma eruuyi n’eruuyi, yali esinga entebe zonna ez’obwakabaka ezaaliwo mu kiseera ekyo, ka zibe ezo abayiikuula eby’omu ttaka ze baazuula, ezo ezikolebwa ng’ebijjukizo, oba ezo ezinnyonnyolwa mu biwandiiko eby’edda. Bayibuli egamba nti: “Tewaali bwakabaka bulala obwali bwakola entebe eringa eyo.”—2By 9:19.
APULI 17-23
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 EBYOMUMIREMBE 10-12
“Ganyulwa mu Magezi Amalungi”
Yandibadde Asiimibwa Katonda
Lekobowaamu ayinza okuba nga yawulira ng’asobeddwa! Bwe yandikoledde ku ekyo abantu kye baali bamusabye kyandibadde kitegeeza nti ye n’ab’omu maka ge awamu n’abakungu be bandibadde bakendeeza ku bintu eby’okwejalabya bye baali bafuna, ekyo ne kiwewula ku mugugu abantu gwe baali beetisse. Ate bwe yandigaanye okukola ekyo abantu kye baali bamusabye, abantu abo bandimwewagguddeko. Kiki kye yandikoze? Lekobowaamu yasooka ne yeebuuza ku basajja abakulu abaali abawi b’amagezi ba Sulemaani. Kyokka oluvannyuma Lekobowaamu yeebuuza ne ku bavubuka ab’emyaka gye. Lekobowaamu yakolera ku magezi abavubuka ge baamuwa n’asalawo okuyisa obubi abantu. Yabagamba nti: “Ekikoligo kyammwe nja kukifuula kizito era nja kukyongerako. Kitange yabakubisanga mbooko eza bulijjo naye nze nja kubakubisa embooko eziriko obufumita.”—2 Byom. 10:6-14.
w01-E 9/1 lup. 28-29
Ebinaakuyamba Okusalawo Obulungi
Ate era Yakuwa atuwa bakkiriza bannaffe abakulu mu by’omwoyo mu kibiina be tusobola okwebuuzaako nga tulina bye twagala okusalawo. (Abeefeso 4:11, 12) Kyokka bwe tuba twebuuza ku balala, tetusaanidde kuba ng’abo abeebuuza ku bantu ab’enjawulo okutuusa lwe bafuna omuntu ababuulira ebyo bye baagala okuwulira. Tetusaanidde kubeera nga Lekobowaamu. Bwe yali alina ekintu ekikulu ky’ayagala okusalawo, yeebuuza ku basajja abakulu abaawanga kitaawe amagezi. Kyokka mu kifo ky’okukolera ku magezi abasajja abo ge baamuwa, yeebuuza ku basajja ab’emyaka gye. Bwe yakolera ku magezi ge baamuwa, yasalawo mu ngeri etaali ya magezi ne kimuviirako okufiirwa ekitundu kinene eky’obwakabaka bwe.—1 Bassekabaka 12:1-17.
Bw’oba olina b’oyagala okwebuuzaako, weebuuze ku abo abalina obumanyirivu mu bulamu, abamanyi obulungi ebyawandiikibwa, era nga bassa ekitiibwa mu mitindo gya Yakuwa. (Engero 1:5; 11:14; 13:20) Oluvannyuma, fumiitiriza ku misingi egizingirwamu era ne ku magezi gonna agaba gakuweereddwa. Bw’onoolowooza ku misingi egiri mu Kigambo kya Katonda nga tonnasalawo, ojja kusalawo bulungi.—Abafiripi 4:6, 7.
it-2-E lup. 768 ¶1
Lekobowaamu
Olw’okuba Lekobowaamu yalina amalala, abantu abasinga obungi baamuvaako. Ebika byokka ebyeyongera okuwagira ab’ennyumba ya Dawudi kye kika kya Yuda n’ekya Benyamini. Ate era bakabona n’Abaleevi ab’omu bwakabaka bwombi, nga kw’otadde n’abantu abatonotono abaali mu bwakabaka obw’ebika ekkumi, nabo beeyongera okuwagira Lekobowaamu.—1Sk 12:16, 17; 2By 10:16, 17; 11:13, 14, 16.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 966-967
Dayimooni Ezaakula ng’Embuzi
Ebigambo bya Yoswa ebiri mu Yoswa 24:14 biraga nti Abayisirayiri baali baatwalirizibwa okusinza okw’obulimba okwali mu Misiri bwe baali bakyali mu nsi eyo. Ne nnabbi Ezeekyeri yalaga nti baali bakyenyigira mu kusinza okwo okw’obulimba oluvannyuma lw’emyaka mingi. (Ezk 23:8, 21) N’olw’ensonga eyo, abeekenneenya ba Bayibuli bagamba nti etteeka Katonda lye yawa Abayisirayiri mu ddungu, eryali libagaana “okuwaayo ssaddaaka zaabwe eri dayimooni ezifaanana ng’embuzi” (Lev 17:1-7, obugambo obuli wansi) era n’ekya Yerobowaamu okussaawo bakabona “ku bifo ebigulumivu okuweerezanga dayimooni ezaakula ng’embuzi n’ennyana ze yali akoze” (2By 11:15), biraga nti Abayisirayiri abamu baali bakyenyigira mu kusinza embuzi nga bakoppa okusinza okwali kucaase ennyo e Misiri, naddala mu maserengeta ga Misiri. Munnabyafaayo ayitibwa Herodotus (II, 46) agamba nti Abayonaani nabo baakoppa okusinza kw’Abamisiri nabo ne batandika okusinza katonda ayitibwa Pan ne bakatonda ab’ebibira, abaali baagala ennyo ebikolwa eby’okwegatta. Bakkirizanga nti bakatonda abo baalina amayembe, emikira, n’ebigere ebyakula ng’eby’embuzi. Abamu bagamba nti bakatonda abo ab’obulimba abaalina ebimu ku bitundu by’ebisolo be baaviirako abamu okutandika okukuba Sitaani mu bifaananyi ng’alina omukira, amayembe, n’ebigere by’ensolo ebiriko ebinuulo, era ng’ekyo kyacaaka nnyo mu abo abaali beeyita Abakristaayo mu biseera eby’edda.
Engeri yennyini bakatonda abo gye baali baakulamu temanyiddwa. Wadde ng’abamu bagamba nti ziyinza kuba nga zaali mbuzi zennyini, oba ebibumbe ebyakolebwa nga biringa embuzi, tekimanyiddwa era n’ebyawandiikibwa ebirala tebikiraga. Ebigambo ebyakozesebwa biraga nti abo abaasinzanga bakatonda abo ab’obulimba bayinza okuba nga mu mitima gyabwe baali bakkiriza nti bakatonda abo baakula ng’embuzi oba nti baalina ebyoya. Oba, ekigambo “embuzi” ekikozesebwa mu nnyiriri ezo kiyinza okuba nga kitegeeza ebintu byonna ebyenyinyaza ebyakozesebwanga mu kusinza okw’obulimba, ng’era n’ekigambo ekyavvuunulwa nti “ebifaananyi” mu nnyiriri ezimu bwe kyava mu kigambo ekitegeeza “obusa.” Kyokka ekyo tekitegeeza nti ebifaananyi ebyo byali byakolebwa mu busa.—Lev 26:30; Ma 29:17.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Manya Engeri gy’Osaanidde Okuddamu Ebibuuzo
Bye Tusalawo Kinnoomu era n’Ensonga Ezikwata ku Muntu ow’Omunda
Singa omuyizi wa Bayibuli oba mukkiriza munno akubuuza ky’asaanidde okukola mu mbeera emu, wandimuzzeemu otya? Ggwe oyinza okumanya kye wandikoze. Naye buli muntu alina okwettika obuvunaanyizibwa obw’okwesalirawo. (Bag. 6:5) Omutume Pawulo yakubiriza abantu be yabuulira okuba ‘abawulize olw’okukkiriza.’ (Bar. 16:26) Ekyo kyakulabirako kirungi eky’okugoberera. Omuntu asalawo ekintu kyonna ng’ayagala kusanyusa busanyusa oyo amuyigiriza Bayibuli oba omuntu omulala yenna, aba aweereza bantu, era taba na kukkiriza. (Bag. 1:10) N’olwekyo, okuddamu obutereevu omuntu oyo ng’omutegeeza ky’asaanidde okukola kiyinza obutamuganyula.
Kati olwo wandimuzzeemu otya mu ngeri etuukagana n’obulagirizi bwa Bayibuli? Oyinza okumutegeeza emisingi n’ebyokulabirako ebituukirawo okuva mu Bayibuli. Mu mbeera ezimu, oyinza n’okumulaga engeri y’okunoonyerezaamu asobole okwezuulira emisingi n’ebyokulabirako ebyo. Muyinza n’okukubaganya ebirowoozo ku misingi egyo n’omugaso gw’ebyokulabirako bye muzudde naye nga tobikwataganya na ky’abuuzizza. Mubuuze obanga mu byo alabamu ekiyinza okumuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Mukubirize okulowooza ku misingi egyo n’ebyokulabirako ebyo asobole okusalawo ekyo ekinaasanyusa Yakuwa. Mu ngeri eyo, oba ‘omutendeka okwawulangawo ekituufu n’ekikyamu.’—Beb. 5:14.
APULI 24-30
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 EBYOMUMIREMBE 13-16
“Ddi lw’Osaanidde Okwesiga Yakuwa?”
Ab’oluganda Abavubuka—Muyinza Mutya Okuleetera Abalala Okubeesiga?
12 Kabaka Asa bwe yali ng’akyali muvubuka, yali mwetoowaze era nga muvumu. Ng’ekyokulabirako, bwe yadda mu bigere bya kitaawe Abiya nga kabaka, yalwanyisa okusinza ebifaananyi. Era yagamba abantu ab’omu Yuda “okunoonya Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe era n’okukwata Amateeka n’ebiragiro.” (2 Byom. 14:1-7) Ate era Zeera Omwesiyopiya bwe yalumba Yuda ng’alina abasirikale 1,000,000, Asa yakola eky’amagezi n’anoonya obuyambi okuva eri Yakuwa. Yagamba nti: “Ai Yakuwa, eky’okuba nti b’oyamba bangi oba nti tebalina maanyi, si kikulu gy’oli. Tuyambe Ai Yakuwa Katonda waffe, kubanga twesiga ggwe.” Ebigambo ebyo biraga nti Asa yali yeesiga Yakuwa nti asobola okumununula n’abantu be. Asa yeesiga Yakuwa Kitaawe ow’omu ggulu, era yamuyamba “okuwangula Abeesiyopiya.”—2 Byom. 14:8-12.
Ab’oluganda Abavubuka—Muyinza Mutya Okuleetera Abalala Okubeesiga?
13 Tewali kubuusabuusa nti okwaŋŋanga eggye ery’abasirikale 1,000,000 kyali kizibu kya maanyi, naye Asa yasobola okukivvuunuka olw’okuba yeesiga Yakuwa. Naye Asa bwe yafuna ekizibu ekirala ekitaali kya maanyi nnyo teyeebuuza ku Yakuwa. Kabaka omubi owa Isirayiri ayitibwa Baasa bwe yamulumba, Asa obuyambi yabunoonya okuva eri kabaka wa Busuuli. Ekyo kye yasalawo kyavaamu ebizibu! Okuyitira mu nnabbi Kanani, Yakuwa yagamba Asa nti: “Olw’okuba weesize kabaka wa Busuuli n’oteesiga Yakuwa Katonda wo, eggye lya kabaka wa Busuuli lisimattuse mu mukono gwo.” Mu butuufu okuva olwo, Asa yabeeranga n’entalo. (2 Byom. 16:7, 9; 1 Bassek. 15:32) Ekyo kituyigiriza ki?
Ab’oluganda Abavubuka—Muyinza Mutya Okuleetera Abalala Okubeesiga?
14 Sigala ng’oli mwetoowaze era weeyongere okwesiga Yakuwa. Bwe wabatizibwa, wayoleka okukkiriza okw’amaanyi era wakiraga nti weesiga Yakuwa, era Yakuwa yakuwa enkizo ey’okuba omu ku b’omu maka ge. Naye olina okweyongera okumwesiga. Kiyinza okukwanguyira okwesiga Yakuwa bw’oba ng’olina ebintu ebikulu ennyo by’ogenda okusalawo, naye ate kiri kitya ku bintu ebirala? Kikulu nnyo okwesiga Yakuwa ng’ogenda okusalawo ne ku bintu gamba nga, eby’okwesanyusaamu, omulimu gw’onookola, n’ebiruubirirwa by’oyagala okweteerawo! Teweesigama ku magezi go. Mu kifo ky’ekyo, noonya amagezi okuva mu Bayibuli agakwata ku mbeera yo era ogakolereko. (Nge. 3:5, 6) Bw’okola bw’otyo, ojja kusanyusa Yakuwa era abalala mu kibiina bajja kukussaamu ekitiibwa.—Soma 1 Timoseewo 4:12.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna!
7 Buli omu ku ffe asaanidde okwekebera okulaba obanga omutima gwe gwemalidde ku Katonda. Weebuuze, ‘Ndi mumalirivu okusanyusa Yakuwa, okulwanirira okusinza okw’amazima, n’okukuuma abantu be baleme kwonoonebwa bikolwa bibi?’ Lowooza ku buvumu Asa bwe yayoleka okusobola okugoba jjajjaawe Maaka ku bwa “nnamasole.” Oboolyawo tolina muntu yenna gw’omanyi eyeeyisa nga Maaka, naye waliwo embeera mw’oyinza okwetaagira okukoppa Asa. Ng’ekyokulabirako, watya singa omu ku b’eŋŋanda zo oba mukwano gwo akola ekibi eky’amaanyi era n’agaana okwenenya n’agobebwa mu kibiina? Onooba mumalirivu okulekera awo okukolagana n’omuntu oyo? Kiki omutima gwo kye gunaakukubiriza okukola?