ESSOMO 27
Okuwa Emboozi nga by’Oyogera Tosoma Bisome
OYINZA okuba ng’ofubye nnyo okutegeka emboozi yo era nga n’eby’ogenda okwogerako bya muganyulo. Ensonga zo eziri mu mboozi oyinza okuba ng’ozisengese bulungi era ng’emboozi eyo osobola n’okugiwa obulungi. Naye singa ebirowoozo by’abakuwuliriza tebiba wamu, kwe kugamba nga bawulirizaako bimu na bimu ate oluvannyuma ebirowoozo byabwe ne bidda ku bintu ebirala, by’oyogera binaabaganyula bitya? Singa kibazibuwalira okussaayo omwoyo ku mboozi yo, ddala onoosobola okutuuka ku mitima gyabwe?
Kiki ekiyinza okuviirako ekyo? Waliwo ensonga ez’enjawulo eziyinza okuvaako ekizibu ekyo. Ebiseera ebisinga obungi, kiva ku kuwa emboozi ng’ebyogerwa bisomwa busomwa. Kwe kugamba, buli kiseera omwogezi aba atunula mu bye yawandiise, era nga tayogera ng’alinga anyumya. Kyokka, ebizibu ebyo biva ku ngeri emboozi gy’eba etegekeddwamu.
Singa emboozi yo osooka kugiwandiika yonna, ate oluvannyuma n’oggya mu by’owandiise ensonga enkulu kw’onoosinziira okugiwa, kijja kukubeerera kizibu okugiwa nga toli ng’asoma ensome. Lwaki? Kubanga oba omaze okulonda ebigambo byennyini by’oyagala okukozesa. Ne bwe weeyambisa ensonga enkulu ze waggye mu bye wawandiise okuwa emboozi yo, ojja kugezaako okujjukira ebigambo bye wakozesezza ng’ogiwandiika. By’ogenda okwogera singa biba biwandiike, kiba kikwetaagisa okubigoberera butiribiri era ne sentensi ziyinza okuba empanvuko okusinga bwe kiba mu kwogera. Ekyo kijja kweyoleka ng’owa emboozi yo.
Mu kifo ky’okuwandiika emboozi yo yonna, gezaako okukola bino ebiddirira: (1) Londa omutwe n’ensonga enkulu eziri mu eby’ogenda okwogerako. Emboozi bw’eba ennyimpimpi, eyinza okubaamu ensonga enkulu nga bbiri. Bw’eba empanvuko eyinza okubaamu ensonga nnya oba ttaano. (2) Wansi wa buli nsonga nkulu, wandiikawo ebyawandiikibwa ebikulu by’oyagala okukozesa; era wandiika n’ebyokulabirako oba ebirowoozo ebirala ebikulu ebiyinza okukuyamba okunnyonnyola. (3) Lowooza ku nnyanjula gy’onookozesa. Oyinza n’okuwandiika ebigambo ebitonotono by’onooyogera mu nnyanjula. Era teekateeka n’engeri gy’ojja okufundikiramu.
Kikulu nnyo okweteekerateekera engeri gy’onoowaamu emboozi. Naye togiyitamu nfunda na nfunda ng’olina ekiruubirirwa eky’okugikwata obukusu. Mu kutegeka emboozi etali ya kusoma busomi essira wandiritadde ku nsonga z’ojja okwogerako, so si ku bigambo. Ensonga ezo wandiziyiseemu enfunda n’enfunda okutuusa lw’oba ng’ozitegeera bulungi. Emboozi yo bw’oba ng’ogitegese bulungi, ekyo tekijja kukubeerera kizibu, era ensonga zo zijja kuvaayo bulungi.
Lowooza ku Miganyulo Egirimu. Bw’owa emboozi nga by’oyogera tosoma bisome, ojja kusobola okwogera mu ngeri abantu gye bategeera obulungi. Emboozi yo ejja kunyumira nnyo abakuwuliriza.
Bw’owa emboozi mu ngeri eno, oba osobola bulungi okutunuulira abakuwuliriza, era ekyo kikusobozesa okwogera obulungi gye bali. Olw’okuba oba tosoma busomi by’oyogera, abakuwuliriza bajja kumanya nti by’oyogerako obitegeera bulungi era obikkiririzaamu. Okuwa emboozi mu ngeri eno kikusobozesa okwogera n’ebbugumu n’okutuuka ku mitima gy’abo abakuwuliriza.
Emboozi yo bw’oba tosoma nsome, kiba kyangu okukyusaamu we kyetaagisiza. Ka tugambe nti ku lunaku lw’ogenda okuweerako emboozi, wabaawo ekyogerwa mu mawulire ekikwata ku nsonga gy’ogenda okwogerako. Tekyandibadde kirungi okukyogerako? Oba ng’owa emboozi oyinza okulaba nti mu bakuwuliriza mulimu abaana b’essomero bangi. Nga kyandibadde kirungi nnyo okukozesa ebyokulabirako ebituukana n’abaana abo osobole okubayamba okutegeera engeri by’oyogerako gye bibakwatako!
Omuganyulo omulala oguli mu kuwa emboozi nga togisoma busomi, kwe kuba nti kikuyamba okulowooza ku by’oyogerako. Abawuliriza bwe balaga nti basiima by’oyogera, naawe kennyini kikuleetera okuba n’ebbugumu era ne kikusobozesa okugaziya ku by’oyogera oba n’okuddamu okuggumiza ensonga ezimu enkulu. Singa okitegeera nti ebirowoozo by’abakuwuliriza bitandise okuwuguka, baako ky’okolawo okubayamba okussaayo omwoyo mu kifo ky’okwogera obwogezi eri abantu abatataddeyo mwoyo ku by’oyogera.
Weegendereze. Osaanidde okumanya nti waliwo by’osaanidde okwegendereza bw’owa emboozi nga togisoma busomi. Ebimu ku byo, kwe kusussa mu biseera ebikuweereddwa. Singa oyongeramu ensonga endala nnyingi, oyinza okulemererwa okukwata ebiseera. Kino osobola okukyewala singa owandiika ekiseera ky’olina okumala ku buli kitundu ate era n’ofuba okukwata ebiseera ebyo.
Ekizibu ekirala aboogezi abalina obumanyirivu kye batera okuba nakyo, kwe kwekakasa ekisukkiridde. Olw’okuba balina obumanyirivu mu kwogera eri abantu abangi, abamu tekibazibuwalira kufuna nsonga za kwogerako era ne bawa emboozi mu kiseera ekiba kibaweereddwa wadde nga tebaateeseteese bulungi. Okubeera abawombeefu era ne tumanya nti twenyigidde mu nteekateeka ey’okuyigiriza nga Yakuwa kennyini ye Muyigiriza Omukulu, kyanditukubiriza okusaba era n’okuteekateeka obulungi emboozi zaffe.—Is. 30:20; Bar. 12:6-8.
Oboolyawo ekisinga okweraliikiriza aboogezi bangi abatalina bumanyirivu mu kuwa emboozi ey’ekika kino, kwe kulowooza nti bajja kwerabira eby’okwogera. Ekyo tokyeraliikirira. Tegeka bulungi era saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu.—Yok. 14:26.
Aboogezi abamu ekibalemesa okuwa emboozi nga tebasoma busomi, kwe kweraliikirira ennyo ebigambo bye banaayogera. Kyo kituufu nti emboozi gy’owa nga tolina w’osoma teba na bigambo bisengekeddwa bulungi nga bwe kiba ng’olina w’osoma, naye olw’okuba yo ogiwa ng’olinga anyumya, ennyumira nnyo abawuliriza. Abantu bategeera mangu ensonga ezinnyonnyoddwa mu bigambo bye basobola okutegeera amangu. Singa otegeka bulungi, ebigambo eby’oy’okwogera bijja kujja byokka, si lwa kuba nti obikutte bukusu, naye lwa kuba nti ensonga zo waziyiseemu enfunda n’enfunda. Era singa oyogera bulungi bulijjo ng’onyumya, ne bw’onooba ku pulatifoomu ojja kwogera bulungi.
By’Osaanidde Okuwandiika. Oluvannyuma lw’okugezaako enkola eno emirundi egiwera, ojja kuba osobola okuwandiika mu bufunze ensonga enkulu eziri mu mboozi yo. Ensonga ezo awamu n’ebyawandiikibwa by’oteekateeka okukozesa, oyinza okubiwandiika ku kapapula. Ebiseera ebisinga obungi, kiyinza okukwetaagisa okukwata obukusu by’onooyogera ng’ogenda mu buweereza bw’ennimiro. Bw’oba olina by’onoonyerezaako ku nsonga gy’onooyogerako ng’ozzeeyo okukyalira omuntu gwe wayogerako naye, oyinza okubaako ebigambo ebitonotono by’owandiika ku kapapula era n’okateeka mu Baibuli yo. Oba oyinza okukozesa emitwe egiri mu “Bible Topics for Discussion” mu nkyusa ya New World Translation oba ebyo ebiri mu katabo Reasoning From the Scriptures okusobola okukubaganya ebirowoozo n’omuntu oyo.
Kyokka, bw’oba n’ebitundu ebiwerako eby’okukubiriza mu nkuŋŋaana ezinaabaawo mu maaso awo, era oboolyawo ng’olina n’okuwa emboozi za bonna, kiyinza okukwetaagisa okuwandiika ebiwerako. Lwaki? Kikusobozese okwejjukanya by’ogenda okwogerako nga tonnaba kukubiriza bitundu ebyo oba okuwa emboozi za bonna. Naye ate, singa weemalira nnyo ku by’owandiise ng’oyogera, ojja kuba ng’asoma obusomi. Singa oba owandiise biwerako, lamba ebigambo ebimu n’ebyawandiikibwa by’onoojuliza.
Wadde ng’omwogezi alina obumanyirivu teyandiwadde mboozi nga by’ayogera asoma bisome, waliwo lwe kiyinza okuba eky’omuganyulo okubaako by’asoma. Mu nnyanjula ne mu kufundikira we kyetaagisiza ennyo okutunuulira abawuliriza era n’okukozesa ebigambo ebisengekeddwa obulungi, kiyinza okuba ekirungi okukwata obukusu sentensi ezimu. Bwe kiba kikwetaagisa okuwa obukakafu, emiwendo, okujuliza oba okusoma ekyawandiikibwa, kiba kisaanira okubisoma obusomi.
Bwe Wabaawo Abaagala Okubannyonnyola. Oluusi tusabibwa okunnyonnyola enzikiriza yaffe nga tetufunye kakisa kusooka kweteekateeka. Kino kiyinza okubaawo singa omuntu gwe tusanze mu buweereza bw’ennimiro abaako ekintu ky’atakkiriziganya naffe. Ekintu kye kimu kiyinza okubaawo nga tuli n’ab’eŋŋanda, nga tuli ku mulimu, oba nga tuli ku ssomero. Abakungu ba gavumenti nabo bayinza okutusaba okunnyonnyola enzikiriza zaffe ne bye tukola. Ebyawandiikibwa bitukubiriza: ‘Mweteeketeekenga bulijjo okuddamu buli muntu ababuuzanga ensonga ey’okusuubira okuli mu mmwe, naye n’obuwombeefu n’okutya.’—1 Peet. 3:15.
Weetegereze ebyo Peetero ne Yokaana bye baayogera nga bali mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, nga bwe kiri mu Ebikolwa 4:19, 20. Mu bigambo bitono nnyo baayoleka endowooza yaabwe. Bye baayogera byali bituukirawo bulungi eri abo abaali babawuliriza—nga bakiraga nti ensonga gye baali boolekaganye nayo yali ekwata ne ku abo abaali babavunaana. Nga wayiseewo ekiseera, Suteefano yavunaanibwa eby’obulimba, era n’atwalibwa mu kkooti y’emu eyo. Soma ebigambo bye yayogera nga tamaze kweteekateeka ebiri mu Ebikolwa 7:2-53. Yasengeka atya bye yayogera? Yayogera ebintu ng’abisengeka nga bwe byajja biddiriŋŋana mu byafaayo. Era n’abaako w’atuuka, n’atandika okwogera ku mwoyo gw’obujeemu ogwayolesebwa eggwanga lya Isiraeri. Ng’afundikira, yakiraga nti Olukiiko Olukulu nalwo lwali lwolese omwoyo gwe gumu bwe lwawaayo Omwana wa Katonda okuttibwa.
Singa osabibwa okunnyonnyola ebikwata ku nzikiriza yo nga tomaze kweteekateeka, kiki ekiyinza okukuyamba okubinnyonnyola obulungi? Koppa Nekkemiya eyasaba mu kasirise nga tannaba kuddamu kibuuzo ekyali kimubuuziddwa Kabaka Alutagizerugizi. (Nek. 2:4) Oluvannyuma, sengeka mu birowoozo byo by’ogenda okwogera. Ekyo oyinza okukikola ng’ogoberera emitendera gino: (1) Londayo ensonga emu oba bbiri z’onoonnyonnyola (oyinza okuziggya mu katabo Reasoning From the Scriptures). (2) Londa ebyawandiikibwa by’onookozesa. (3) Teekateeka engeri gy’onootandikamu okunnyonnyola omuntu oyo akubuuzizza asobole okuwuliriza. Bw’omala, tandika okwogera.
Ng’oli mu mbeera enzibu, onoomanya eky’okwogera? Yesu yagamba abagoberezi be: “Temweralikiriranga nti Tunaagamba tutya? nti Tunaayogera ki? kubanga muliweebwa mu kiseera ekyo bye mulyogera. Kubanga si mmwe mwogera. Wabula [o]mwoyo gwa Kitammwe ye ayogerera mu mmwe.” (Mat. 10:19, 20) Ekyo tekitegeeza nti mu ngeri ey’eky’amagero ojja kufuna ‘eby’okwogera eby’amagezi’ nga Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka. (1 Kol. 12:8) Naye singa obeerawo bulijjo nga Yakuwa ayigiriza abaweereza be, omwoyo omutukuvu gujja kukujjukiza ebintu bye wayiga mu kiseera w’obyetaagira.—Is. 50:4.
Awatali kubuusabuusa, okuwa emboozi nga by’oyogera tosoma bisome, kya muganyulo nnyo. Singa ofuba okukozesa engeri ng’eyo ng’owa emboozi zo, tekijja kukuzibuwalira kuddamu bibuuzo nga tomaze kwetegeka, kubanga enkola y’emu y’egobererwa. Tolonzaalonza kwemanyiiza enkola eyo. Bw’oyiga okwogera nga tosoma busomi by’oyogera, engeri gy’obuuliramu mu buweereza ejja kulongooka. Ate bw’oweebwa enkizo ey’okuwa emboozi mu kibiina, ojja kusobozesa abakuwuliriza okussaayo omwoyo ku by’oyogera era ojja kutuuka ku mitima gyabwe.