LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 12/1 lup. 8-10
  • Nnasalawo Okukozesa Ebiseera Byange Byonna Okuweereza Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Nnasalawo Okukozesa Ebiseera Byange Byonna Okuweereza Yakuwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • NNALINA OKUSALAWO
  • NGA NDI MU KKOMERA
  • NVA MU KKOMERA, ERA NTANDIKA OKUWEEREZA NG’OMUMINSANI
  • BAZADDE BANGE NE MUKYALA WANGE BALWALA
  • ENKYUKAKYUKA ENDALA MU BUWEEREZA BWANGE
  • Nfunye Emikisa Mingi mu Kuweereza Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 12/1 lup. 8-10
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

EBYAFAAYO

Nnasalawo Okukozesa Ebiseera Byange Byonna Okuweereza Yakuwa

Byayogerwa Bill Walden

Mu Jjanwali 1937 nnamaliriza sekendule, ne ŋŋenda ku Yunivasite ey’omu ssaza lya Iowa eyali okumpi ne we twali tubeera mu Amerika. Olw’okuba nnalina okusoma n’okunoonya ssente ez’okusasula ebisale bya Yunivasite, ssaafunanga budde kukola bintu birala. Okuviira ddala mu buvubuka nnalina ekiruubirirwa eky’okufuuka yinginiya mu by’okuzimba kkalina n’entindo.

Ku ntandikwa y’omwaka gwa 1942, nga Amerika yaakayingira mu Ssematalo II, nnali mu mwaka gwange ogw’okutaano ku yunivasite era oluvannyuma lw’emyezi mitono nnafuna diguli ey’obwayinginiya mu by’okuzimba. Nnali mbeera n’abantu babiri awaka. Lumu, omu ku bo yaŋŋamba njogereko n’Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa John O. (Johnny) Brehmer eyajjanga okukubaganya ebirowoozo ku Bayibuli n’abavubuka abaabeeranga ku mwaliiro ogwa wansi. Nnagendayo ne mmubuuza ebibuuzo, naye buli kibuuzo yakiddamu ng’akozesa Bayibuli. Ekyo kyansikiriza okutandika okusoma naye Bayibuli. Oluvannyuma lw’ekiseera, buli lwe nnabanga nsobodde nnamuwerekerangako ng’agenda okubuulira.

Taata wa Johnny ayitibwa Otto, eyali maneja wa banka emu mu Walnut ekiri mu ssaza lya Iowa, yali afuuse Mujulirwa wa Yakuwa. Otto yaleka omulimu ogwo n’afuuka omubuulizi ow’ekiseera kyonna. Ekyokulabirako kye ekirungi n’eky’ab’omu maka ge byannyamba okusalawo obulungi.

NNALINA OKUSALAWO

Bwe nnali nkyasoma, lumu omukulu wa yunivasite yaŋŋamba nti nnali ntandise okuddirira mu misomo gyange era n’ankubiriza okwongeramu amaanyi bwe mba ow’okutikkirwa. Nnasaba nnyo Yakuwa ampe obulagirizi. Nga mmaze okutikkirwa, profesa eyali ansomesa obwayinginiya yampita n’aŋŋamba nti waaliwo abaali baagala yinginiya era nti yali amaze n’okubagamba nti nja kukkiriza omulimu ogwo. Nnamwebaza, naye ne mmunnyonnyola ensonga lwaki nnali nsazeewo okukozesa ebiseera byange byonna okuweereza Yakuwa. Nga Jjuuni 17, 1942, nnabatizibwa era oluvannyuma lw’ekiseera kitono ne nnondebwa okuweereza nga payoniya (Abajulirwa ba Yakuwa ababuulira ekiseera kyonna bwe bayitibwa).

Nga wayiseewo ekiseera kitono, nnafuna ebbaluwa nga bampita okuyingira amagye. Nnagenda eri akakiiko akampeereza ebbaluwa eyo ne mbannyonnyola lwaki nnali sisobola kwenyigira mu lutalo. Nnabalaga amabaluwa ag’enjawulo baprofesa ge baawandiika nga bansiima olw’empisa zange ennungi n’obukugu bwe nnalina mu by’okuzimba. Wadde kyali kityo, bampeesa engassi ya doola za Amerika 10,000 era ne bansalira n’ekibonerezo eky’okusibibwa emyaka etaano mu kkomera ly’e Leavenworth, mu ssaza lya Kansas.

NGA NDI MU KKOMERA

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Ekkomera ly’e Leavenworth bwe lifaanana leero. Abajulirwa ba Yakuwa nga 230 twasibibwa mu kkomera eryo

Mu kkomera mwe nnasibibwa nnasangamu abavubuka abalala Abajulirwa ba Yakuwa nga 230 era lyaliko faamu. Twakolanga mu faamu eyo era waaliwo abasirikale abaatukuumanga. Abamu ku bo baali bakimanyi nti tetulina ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi era tebaatuyisanga bubi.

Abamu ku basirikale abo baatukkirizanga okuba n’enkuŋŋaana ez’okuyiga Bayibuli mu kkomera. Ate era baatukkirizanga okuyingiza mu kkomera ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli. Omukulu w’ekkomera yasaba n’okusaba aweebwenga akatabo akaayitibwanga Consolation (kati akayitibwa Awake!).

NVA MU KKOMERA, ERA NTANDIKA OKUWEEREZA NG’OMUMINSANI

Nga Febwali 16, 1946, nnateebwa nga nnaakamala emyaka esatu mu kkomera, era waali waakayitawo emyezi mitono nga Ssematalo II awedde. Nnaddamu okuweereza nga payoniya, era nnasindikibwa okubuulira mu kibuga kye kimu gye nnali nsibiddwa. Nnasooka kutya okuddayo kubanga Abajulirwa ba Yakuwa baali basosolwa nnyo mu kitundu ekyo, era tekyannyanguyira kufuna mulimu n’aw’okusula.

Lumu bwe nnali mbuulira nnyumba ku nnyumba, nnatuuka mu maka g’omu ku basirikale abaatukumanga mu kkomera. Bwe yandaba yamboggolera nti “Nva mu maaso!” Bwe nnalaba ng’akutte akabaawo, nnatya ne mmuviira mangu. Bwe nneeyongera okubuulira, nnatuuka ku nnyumba emu omukyala gwe nnasangawo n’aŋŋamba nti, “Lindako katono,” n’aggalawo oluggi. Nnagenda okuwulira ng’anjiira amazzi ge yali ayozezzaamu ebintu. Wadde kyali kityo, obuweereza bwange bwavaamu ebirungi. Abamu ku abo be nnawa ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli baafuuka Abajulirwa ba Yakuwa.

Mu 1943, Abajulirwa ba Yakuwa baatandikawo essomero eritendeka abaminsani mu kibuga New York eriyitibwa Watchtower Bible School of Gilead. Nnayitibwa mu ssomero ery’omulundi ogw’ekkumi era nnamaliriza emisomo gyange nga Febwali 8, 1948. Nnasindikibwa okuweereza ng’omuminsani mu nsi eyali emanyiddwa nga Gold Coast, kati eyitibwa Ghana.

Bwe nnatuuka mu Gold Coast, nnaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okubuulira abakungu ba gavumenti n’abazungu. Ku wiikendi nnabulirangako n’Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kibiina mwe nnakuŋŋaaniranga era nnabayambanga okufuna obumanyirivu mu kubuulira nnyumba ku nnyumba. Ate era nnakyaliranga Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu bitundu ebirala, ne mbatendeka mu mulimu gw’okubuulira. Okugatta ku ekyo, nnaweereza ng’omulabirizi nga nkyalira ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa mu Ivory Coast, kati eyitibwa Côte d’Ivoire.

Bwe nnali mu bitundu ebyo, nnayiga okukola ebintu ng’abantu baayo. Nnasulanga mu busiisira, nnaliisanga ngalo, era bwe nnayagalanga okugendako mu kaabuyonjo, nnasimanga ekinnya ng’Abaisiraeri bwe baakolanga nga bali mu ddungu. (Ekyamateeka 23:12-14) Okufuba okutuukana n’embeera y’omu kitundu, kyaleetera abantu okutwagala nze ne baminsani bannange era abamu ku bakyala b’abakulembeze b’ebitundu ebyo mwe twali bakkiriza tubayigirize Bayibuli. Abo abaali batuziyiza bwe baapikiriza abakulembeze okusazaamu viza zaffe, bakyala b’abakulembeze abo baabeegayirira ne batazisazaamu!

Nange nnatandika okulwala omusujja ng’abaminsani abalala abaali mu Afirika, era gwampisanga bubi nnyo. Wadde kyali kityo, nneeyongera okufuna essanyu mu buweereza bwange.

Mu myaka ena egyasooka nga ndi mu Afirika, nnawuliziganyanga ne Eva Hallquist, gwe nnali nnasisinkanako nga sinnava mu Amerika. Yali agenda kumaliriza emisomo gye mu ssomero erya Gireyaadi ery’omulundi 21. Omukolo gwali gugenda kubaawo nga Jjulaayi 19, 1953, ku lukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa olw’ensi yonna olwali lugenda okuba mu kisaawe ekiyitibwa Yankee Stadium eky’omu New York. Olw’okuba saalina ssente za ntambula, nnasaba omugoba w’emmeeri ampe emirimu ku mmeeri ye asobole okuntwalako mu Amerika.

Ennaku ezimu empewo y’okunnyanja yabanga ya maanyi nnyo era nga yeeraliikiriza. Oluvannyuma lw’ennaku 22 twatuuka mu Amerika, era nnagenda ne nsisinkana Eva ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa mu Brooklyn. Nnamusaba tufumbiriganwe era n’akkiriza. Oluvannyuma, nnaddayo naye e Gold Coast ne tuweerereza wamu.

BAZADDE BANGE NE MUKYALA WANGE BALWALA

Oluvannyuma lw’okuweereza ne Eva mu Afirika okumala emyaka egiwera, maama yampandiikira ebbaluwa ng’antegeeza nti taata yali alwadde kookolo. Twategeeza ekitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa ne tuddayo mu Amerika okujjanjaba taata. Eby’embi, taata yamala ekiseera kitono n’afa.

Nga wayiseewo emyaka ng’ena oluvannyuma lw’okuddayo e Ghana, maama naye yalwala. Abamu ku mikwano gyaffe baatukubiriza okuleka obuminsani tuddeyo tumujjanjabe. Tekyambeerera kyangu kuva mu buminsani mwe nnali mmaze emyaka 15, nga 11 ku gyo nnali mpeereza ne mukyala wange. Twasalawo okuddayo mu Amerika.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

MNga tuli n’omu ku bakulembeze b’ebitundu mu Gold Coast, kati eyitibwa Ghana

Twamala emyaka egiwera nga tulabirira maama era twagendanga naye okusinza buli lwe yabanga asobodde. Nga Jjanwali 17, 1976, yafa ng’awezezza emyaka 86 egy’obukulu. Naye ekyasingira ddala okunnakuwaza kwe kuba nti oluvannyuma lw’emyaka mwenda, Eva yalwala kookolo. Twakola kyonna ekisoboka okulwanyisa ekirwadde ekyo, naye nga Jjuuni 4, 1985, Eva yafa nga wa myaka 70 egy’obukulu.

ENKYUKAKYUKA ENDALA MU BUWEEREZA BWANGE

Mu 1988, nnayitibwa okubaawo ku mukolo gw’okuggulawo ofiisi empya ez’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa e Ghana. Olunaku olwo sirirwerabira! We nnagendera e Ghana nga nnaakava mu ssomero lya Gireyaadi emyaka nga 40 emabega, waaliyo Abajulirwa ba Yakuwa batono ddala. Naye mu 1988, baali baweze 34,000, era kati bakunukkiriza mu 114,000!

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Nga wayiseewo emyaka ebiri oluvannyuma lw’okukyalako e Ghana, nnawasa Betty Miller nga Agusito 6, 1990. Baali ba mukwano nnyo ne Eva. Tukyeyongera okuweerereza wamu Yakuwa. Twesunga olunaku lwe tuliddamu okulaba bajjajjaffe, bazadde baffe, ne Eva nga bazuukidde mu lusuku lwa Katonda wano ku nsi.​—Ebikolwa 24:15.

Yakuwa ansobozesezza okumuweereza okumala emyaka kati egisukka mu 70, era ekyo buli lwe nkirowozaako mpulira essanyu. Mmwebaza nnyo olw’okunnyamba okusalawo okumuweereza obulamu bwange bwonna. Wadde nga kati ntemera mu myaka 90 egy’obukulu, Yakuwa, yinginiya asingiridde akyeyongera okumpa amaanyi n’obuvumu nsobole okweyongera okumuweereza.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share