LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ijwbq ekitundu 149
  • Ebigambo “Eriiso olw’Eriiso” Birina Makulu Ki?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebigambo “Eriiso olw’Eriiso” Birina Makulu Ki?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli ky’egamba
  • Etteeka erigamba nti owangayo “eriiso olw’eriiso” lyalina kigendererwa ki?
  • Abakristaayo nabo basaanidde okugoberera etteeka eryo?
  • Endowooza enkyamu ezikwata ku tteeka erigamba nti owangayo “eriiso olw’eriiso”
  • Beera n’Eriiso Eriraba Awamu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Faayo ku Bantu —ng’Obatunuulira mu Maaso
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Okwekenneenya Ebikwata Ku Lukuŋŋaana Olw’enjawulo Olw’olunaku Olumu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Amateeka Katonda ge Yawa Abaisiraeri Gaali ga Bwenkanya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
See More
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 149
Eriiso ly’omuntu

Ebigambo “Eriiso olw’Eriiso” Birina Makulu Ki?

Bayibuli ky’egamba

Etteeka ery’okuwaayo “eriiso olw’eriiso” lyali mu mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri ab’edda ng’ayitira mu Musa, era ne Yesu yalyogerako mu kuyigiriza kwe okw’oku lusozi. (Matayo 5:38; Okuva 21:24, 25; Ekyamateeka 19:21) Litegeeza nti omuntu yandiweereddwa ekibonerezo ekyenkana n’omusango gw’azzizza.a

Etteeka eryo lyakolanga ku muntu eyabanga akoze munne ekibi mu bugenderevu. Lyali ligamba nti: “Amenya munne eggumba n’erirye linaamenyebwanga. Eriiso linaaweebwangayo olw’eriiso, n’erinnyo olw’erinnyo; ebisago omuntu by’anaatuusanga ku mulala, naye bye binaamutuusibwangako.”—Eby’Abaleevi 24:20.

  • Etteeka erigamba nti owangayo “eriiso olw’eriiso” lyalina kigendererwa ki?

  • Abakristaayo nabo basaanidde okugoberera etteeka eryo?

  • Endowooza enkyamu ezikwata ku tteeka erigamba nti owangayo “eriiso olw’eriiso”

  • Yesu yatereeza endowooza enkyamu

Etteeka erigamba nti owangayo “eriiso olw’eriiso” lyalina kigendererwa ki?

Etteeka eryo lyali teriwa bantu bbeetu kwesasuza. Wabula lyayambanga abalamuzi okusala emisango mu bwenkanya.

Ate era lyalabulanga abantu obutakola bannaabwe bintu bikyamu mu bugenderevu. Etteeka lyali ligamba nti: “Abanaabanga basigaddewo [abanaabanga balabye ng’omuntu aweebwa ekibonerezo ekimugwanira] banaakiwuliranga ne batya, era tebaliddamu kukola kibi ng’ekyo mu mmwe.”—Ekyamateeka 19:20.

Abakristaayo nabo basaanidde okugoberera etteeka eryo?

Nedda, Abakristaayo tebali wansi w’etteeka eryo. Lyali limu ku mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri agaggibwawo olw’okufa kwa Yesu.—Abaruumi 10:4.

Wadde kiri kityo, etteeka eryo lituyamba okumanya endowooza ya Katonda. Ng’ekyokulabirako, liraga nti Katonda ayagala nnyo obwenkanya. (Zabbuli 89:14) Ate era liraga omutindo gwe ogw’obwenkanya. Ayagala ababi babonerezebwe “ku kigero ekisaanira.”—Yeremiya 30:11.

Endowooza enkyamu ezikwata ku tteeka erigamba nti owangayo “eriiso olw’eriiso”

Endowooza enkyamu: Etteeka eryo lyali kkakali nnyo.

Ekituufu: Etteeka eryo lyali terikkiriza kubonereza muntu mu ngeri ey’obukambwe. Wabula okusinziira ku tteeka eryo, abalamuzi bandiwadde omuntu ekibonerezo nga bamaze kwetegereza ebizingirwa mu musango gwe yazza, era obanga omusango ogwo yaguzza mu bugenderevu. (Okuva 21:28-30; Okubala 35:22-25) N’olwekyo, etteeka eryo teryali kkakali wabula lyabayambanga okuwa omuntu ekibonerezo ekisaanira.

Endowooza enkyamu: Etteeka eryo lyaleeteranga abantu okwesasuza.

Ekituufu: Amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri mwalimu erigamba nti: “Towooleranga ggwanga wadde okusibira abaana b’abantu bo ekiruyi.” (Eby’Abaleevi 19:18) Mu kifo ky’okuleetera abantu okwesasuza bannaabwe, etteeka eryo lyayambanga abantu okwesiga Katonda era n’okwesiga amateeka ge yali ataddewo okugonjoola ensonga.—Ekyamateeka 32:35.

Yesu yatereeza endowooza enkyamu

Yesu yali akimanyi nti abantu abamu baali bategedde bubi etteeka ‘ly’eriiso olw’eriiso.’ Yatereeza endowooza yaabwe bwe yagamba nti: “Mwawulira bwe kyagambibwa nti: ‘Eriiso linaaweebwangayo olw’eriiso n’erinnyo olw’erinnyo.’ Naye nze mbagamba nti: Temulwanyisanga muntu mubi; buli akukuba oluyi ku ttama lyo erya ddyo, omukyusizanga n’erya kkono.”—Matayo 5:38, 39.

Weetegereze ebigambo “mwawulira bwe kyagambibwa nti.” Kirabika Yesu yali ayogera ku bakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abaali bayigiriza nti kikkirizibwa okwesasuza. Omwekenneenya wa Bayibuli eyitibwa Adam Clarke yagamba nti: “Kirabika etteeka lino [eriiso olw’eriiso], Abayudaaya baali balifudde. . . ng’ekintu eky’okwekwasa okukkiriza abantu okwesasuza, n’okusiba ekiruyi.” Bwe kityo, abakulembeze b’eddiini abo baalemesa abantu okutegeera ekigendererwa ky’etteeka lya Katonda eryo.—Makko 7:13.

Ku luuyi olulala, Yesu yakiraga nti Amateeka ga Katonda gonna geesigamye ku kwagala. Yagamba nti: “‘Oyagalanga Yakuwa Katonda wo . . .’ Lino lye tteeka erisinga obukulu mu gonna era lye lisooka. Ery’okubiri eririfaanana lye lino: ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala.’ Ku mateeka gano abiri Amateeka gonna ne Bannabbi kwe byesigamye.” (Matayo 22:37-40) Yesu yayigiriza nti abagoberezi be ab’amazima bandibategeeredde ku kwagala kwe balina.—Yokaana 13:34, 35.

a Etteeka eryo oluusi eriyitibwa lex talionis mu Lulattini, era lyakozesebwa ne mu mawanga amalala mu biseera eby’edda.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share