ESSUULA 16
Abantu ba Katonda Abali Obumu
OKUMALA emyaka 1,500, Abayisirayiri be baali abantu abayitibwa erinnya lya Katonda. Oluvannyuma Yakuwa “yakyukira ab’amawanga okulondamu abantu ab’okuyitibwa erinnya lye.” (Bik. 15:14) Abantu abo bandibadde bajulirwa be, era yonna gye bandibadde, bandibadde bumu mu ndowooza ne mu bikolwa. Abantu abo bandibadde bakuŋŋaanyizibwa okuyitira mu mulimu Yesu gwe yawa abagoberezi be. Yabagamba nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, n’ery’Omwana, n’ery’omwoyo omutukuvu, nga mubayigiriza okukwata ebintu byonna bye nnabalagira.”—Mat. 28:19, 20.
Weegatta ku kibiina kya Yakuwa ekirimu abantu abali obumu, era abatakkiriza mawanga, bika, oba eby’enfuna okubaawula
2 Bwe wasalawo okwewaayo eri Yakuwa era n’obatizibwa, wafuuka muyigirizwa wa Yesu Kristo. Weegatta ku kibiina kya Yakuwa ekirimu abantu abali obumu, era abatakkiriza mawanga, bika, oba eby’enfuna okubaawula. (Zab. 133:1) N’olw’ensonga eyo, oyagala nnyo baganda bo mu kibiina era obawa ekitiibwa. Abamu bayinza okuba nga si ba langi yo oba nga si ba ggwanga lyo oba nga balina obuyigirize bwa njawulo ku bubwo, era ng’oyinza okuba ng’edda wali tosobola kukolagana na bantu abalinga bo. Kyokka kati mwagalana nnyo n’okusinga ab’emikwano, ab’oluganda, oba abantu abalala ab’enzikiriza emu.—Mak. 10:29, 30; Bak. 3:14; 1 Peet. 1:22.
OKUKYUSA ENDOWOOZA GYE TULINA KU BANTU ABALALA
3 Abo abaasosolanga abantu abatali ba langi yaabwe, ggwanga lyabwe, oba olw’ensonga endala, bayinza okulowooza ku Bayudaaya abaafuuka Abakristaayo. Abantu abo baalina okulekera awo okusosola abantu ab’amawanga amalala. Yakuwa bwe yali agenda okutuma Peetero eri omusirikale Omuruumi ayitibwa Koluneeriyo, yasooka kumuyamba kukyusa ndowooza gye yalina ku bantu ab’amawanga amalala.—Bik., sul. 10.
4 Mu kwolesebwa, Peetero yagambibwa okulya ensolo Abayudaaya ze baali batwala nti si nnongoofu. Peetero bwe yagaana, yawulira eddoboozi okuva mu ggulu nga limugamba nti: “Ebintu Katonda by’alongoosezza lekera awo okubiyita ebitali birongoofu.” (Bik. 10:15) Mu ngeri eyo, Yakuwa yateekateeka Peetero, n’asobola okugenda mu nnyumba y’omusajja ataali Muyudaaya. Bwe yatuukayo, yagamba abo abaali bakuŋŋaanye nti: “Mumanyi bulungi nti tekikkirizibwa mu Mateeka g’Abayudaaya Omuyudaaya okukolagana n’omuntu ow’eggwanga eddala oba okumusemberera; naye Katonda andaze nti sirina kutwala muntu yenna nti si mulongoofu oba nti si muyonjo. N’olwekyo, bwe nnayitiddwa saagaanye kujja.” (Bik. 10:28, 29) Oluvannyuma Peetero yalaba obukakafu obw’enkukunala obulaga nti Koluneeriyo n’ab’omu nnyumba ye baali basiimibwa mu maaso ga Yakuwa.
5 Sawulo ow’e Taluso, eyali Omufalisaayo omuyivu ennyo, naye yalina okwetoowaza okusobola okutandika okukolagana n’abantu edda be yayisangamu amaaso. Yatandika n’okukolera ku bulagirizi obwavanga gye bali. (Bik. 4:13; Bag. 1:13-20; Baf. 3:4-11) Abantu nga Serugiyo Pawulo, Diyonusiyo, Damali, Firemooni, Onesimo, n’abalala, nabo bateekwa okuba nga baalina okukyusa endowooza gye baalina ku balala bwe baafuuka abayigirizwa ba Yesu Kristo.—Bik. 13:6-12; 17:22, 33, 34; Fir. 8-20.
OKUSIGALA NGA TULI BUMU
6 Awatali kubuusabuusa, okwagala ab’oluganda kwe baakulaga kwakuleetera okwagala okusemberera Yakuwa n’okwegatta ku kibiina kye. Walaba okwagala okwa nnamaddala okwawulawo Abakristaayo ab’amazima. Yesu Kristo yagamba nti: “Mbawa etteeka eriggya, mwagalanenga; nga bwe mbadde mbaagala, nammwe bwe muba mwagalana. Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange–bwe munaayagalananga.” (Yok. 13:34, 35) Weeyongera okwagala Yakuwa n’ekibiina kye bwe wakitegeera nti ab’oluganda mu nsi yonna balina okwagala ng’okwo kw’olaba mu kibiina kyo. Kati olaba okutuukirizibwa kw’obunnabbi obulaga nti mu nnaku ez’enkomerero abantu okuva mu mawanga mangi bandikuŋŋaanyiziddwa okusinza Yakuwa nga bali mu mirembe era nga bali bumu.—Mi. 4:1-5.
7 Waliwo ebintu bingi nnyo leero ebireetawo enjawukana mu bantu, ne kirabika ng’ekitasoboka abantu okuva mu mawanga ag’enjawulo okuba obumu. (Kub. 7:9) Lowooza ku njawulo eriwo wakati w’abantu abali mu nsi ezaakulaakulana edda n’abo abali mu nsi ezikyakula. Lowooza ne ku bukuubagano obubaawo wakati w’abantu aba langi y’emu oba ab’omu ggwanga lye limu nga buva ku kuba nti bali mu ddiini za njawulo. Mwoyogwaggwanga nagwo guleeseewo enjawukana mu bantu. Ate era bw’olowooza ne ku bintu ebirala ebireetawo enjawukana, oba okiraba nti kyamagero kyennyini abantu abava mu mawanga ag’enjawulo okuba obumu. Ekyamagero ekyo Yakuwa, Omuyinza w’Ebintu Byonna, y’akisobozesa okubaawo.—Zek. 4:6.
8 Bwe wasalawo okwewaayo n’obatizibwa, weegatta ku bantu ba Yakuwa abali obumu era oganyuddwa nnyo. N’olwekyo, naawe olina okufuba okulaba nti okola ebintu ebinyweza obumu. Ekyo okusobola okukikola, oba olina okukolera ku bigambo by’omutume Pawulo ebiri mu Abaggalatiya 6:10, awagamba nti: “Buli lwe tuba tufunye akakisa, ka tukolerenga bonna ebirungi, naye okusingira ddala bakkiriza bannaffe.” Ate era tulina n’okukolera ku kubuulirira kuno: “Temukola kintu kyonna mu kuyomba, oba mu kwetwala ng’ab’ekitalo, wabula nga mukola ebintu byonna mu buwombeefu nga mukitwala nti abalala babasinga, era nga temufaayo ku byammwe byokka naye nga mufaayo ne ku by’abalala.” (Baf. 2:3, 4) Bwe tufuba okutunuulira baganda baffe nga Yakuwa bw’abatunuulira, tujja kweyongera okuba n’enkolagana ennungi nabo.—Bef. 4:23, 24.
BULI OMU AFEEYO KU MUNNE
9 Omutume Pawulo yageraageranya ekibiina ku bitundu by’omubiri era n’alaga nti buli omu mu kibiina alina okufaayo ku munne. (1 Kol. 12:14-26) Baganda baffe abamu bayinza okuba nga batuli wala, naye tubalowoozaako nnyo. Bwe wabaawo baganda baffe abayigganyizibwa, ffenna tulumwa. Ate era bwe wabaawo baganda baffe abali mu bwetaavu, oba abakoseddwa olw’akatyabaga akaba kaguddewo, oba abali mu bitundu ebirimu entalo, tufuba okubayamba mu by’omwoyo ne mu ngeri endala.—2 Kol. 1:8-11.
10 Ffenna tusaanidde okusabira baganda baffe buli lunaku. Abamu boolekagana n’ebikemo eby’amaanyi. Abalala balina ebizibu eby’amaanyi ebimanyiddwa buli omu. Ate abalala bayinza okuba nga bayigganyizibwa ku mulimu oba awaka, era nga kino batono abakimanyi. (Mat. 10:35, 36; 1 Bas. 2:14) Tukwatibwako nnyo bwe tumanya ebizibu baganda baffe bye bayitamu. (1 Peet. 5:9) Waliwo baganda baffe abalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina. Ate era waliwo n’abo abalabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna. Tusobola okusabira baganda baffe abo bonna, era eyo y’emu ku ngeri gye tukiragamu nti tubaagala. Oluusi eyo ye ngeri yokka gye tuyinza okubayambamu.—Bef. 1:16; 1 Bas. 1:2, 3; 5:25.
11 Olw’okuba wagwawo obutyabaga bungi mu nnaku zino ez’enkomerero, abantu ba Yakuwa balina okuba abeetegefu okuyambagana. Ebiseera ebimu bwe wagwawo akatyabaga, gamba nga musisi oba amataba, abo ababa bakoseddwa baba beetaaga obuyambi bw’ebintu ebyetaagisa mu bulamu. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. Bwe waagwawo enjala mu Buyudaaya, ab’oluganda mu Antiyokiya baakolera ku kubuulirira kwa Yesu ne baweereza ab’oluganda mu Buyudaaya obuyambi bwe baali beetaaga. (Bik. 11:27-30; 20:35) Oluvannyuma omutume Pawulo yakubiriza n’ab’oluganda ab’omu Kkolinso okuwaayo obuyambi, era ekyo kyakolebwa mu ngeri entegeke obulungi. (2 Kol. 9:1-15) Mu kiseera kyaffe, bwe wagwawo akatyabaga baganda baffe ne bakosebwa, ekibiina kya Yakuwa n’ab’oluganda kinnoomu banguwa okubayamba.
TWAWULIDDWAWO OKUKOLA YAKUWA BY’AYAGALA
12 Abantu ba Yakuwa bategekeddwa okukola by’ayagala. Mu kiseera kino, Yakuwa ayagala amawulire amalungi ag’Obwakabaka gabuulirwe mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna. (Mat. 24:14) Bwe tuba tukola omulimu guno, Yakuwa ayagala tweyise mu ngeri etuukana n’emitindo gye egy’obutuukirivu. (1 Peet. 1:14-16) Buli omu ku ffe asaanidde okuba omwetegefu okukolera awamu n’abalala era n’okukola kyonna ekisoboka okulaba nti omulimu gw’okubuulira gugenda mu maaso. (Bef. 5:21) Kino si kiseera kya kwenoonyeza byaffe, wabula kya kukulembeza Bwakabaka bwa Katonda. (Mat. 6:33) Bwe tuneeyongera okukulembeza obwakabaka n’okukolera awamu omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi, tujja kuba basanyufu kati era tujja kufuna obulamu obutaggwaawo.
13 Abajulirwa ba Yakuwa tuli ba njawulo nnyo ku bantu abalala olw’okuba tusinza Yakuwa Katonda era tumuweereza n’obunyiikivu. (Tit. 2:14) Ng’oggyeeko okuba nti tuli bumu, twogera olulimi lumu olulongoofu, era enneeyisa yaffe etuukana n’amazima ge tuyigiriza. Kino Yakuwa yali yakyogerako dda okuyitira mu nnabbi Zeffaniya. Yagamba nti: “Ndikyusa olulimi lw’amawanga ne ngawa olulimi olulongoofu, gonna gasobole okukoowoola erinnya lya Yakuwa, era gamuweereze nga gali bumu.”—Zef. 3:9.
14 Ate era Yakuwa yaluŋŋamya nnabbi Zeffaniya n’ayogera ku mbeera ennungi abantu ba Yakuwa gye balimu leero. Yagamba nti: “Abantu ba Isirayiri abalisigalawo tebalikola bitali bya butuukirivu; tebalirimba, era mu kamwa kaabwe temulibaamu lulimi lukuusa; balirya ne bagalamira, era tewaliba abatiisa.” (Zef. 3:13) Olw’okuba twategeera amazima agali mu Kigambo kya Katonda ne tufuna endowooza empya era obulamu bwaffe ne tubutuukanya n’emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu, tusobola okumuweereza nga tuli bumu. Tukola ebintu ebirabika ng’ebitasoboka mu ndaba ey’obuntu. Mazima ddala tuli bantu ba njawulo nnyo, era ffe tuweesa Katonda ekitiibwa mu nsi yonna.—Mi. 2:12.