OLUYIMBA 99
Ab’Oluganda Bukadde na Bukadde
Printed Edition
	- 1. Obukadde n’obukadde - Obw’ab’oluganda, - Bajulirwa banywevu - Ate nga beesigwa. - Tuli bangi nnyo ddala - Ng’ate tweyongera. - Mu mawanga gonna ’g’omu nsi, - Tutenda Katonda. 
- 2. ’B’oluganda tuli bangi; - Tubuulira wonna - ’Mawulire ’malungi - Agayaayaanirwa. - Tubuulira n’essanyu - Wadde nga tukooye. - Yesu atuzzaamu amaanyi; - Tulin’e mirembe. 
- 3. ’B’oluganda tuli bangi; - Katonda ’tukuuma - Era ’tulabirira - Nga tumuweereza. - Tuli bangi nnyo ddala; - Tubunyis’e njiri. - Katonda tukola naye nga - Tuweereza ku nsi. 
(Laba ne Is. 52:7; Mat. 11:29; Kub. 7:15.)