LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g19 Na. 2 lup. 8-9
  • Obutapondooka

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obutapondooka
  • Zuukuka!—2019
  • Subheadings
  • Similar Material
  • KITEGEEZA KI OBUTAPONDOOKA?
  • LWAKI KIKULU OBUTAPONDOOKA?
  • ENGERI GY’OYINZA OKUYIGIRIZA OMWANA WO OBUTAPONDOOKA
  • Okuyigiriza Abaana Obwetoowaze
    Zuukuka!—2017
  • Yamba Omwana Wo Okugumira Ennaku
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Abazadde​—⁠Muyambe Abaana Bammwe Okunyweza Okukkiriza Kwabwe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Tendeka Omwana Wo Okuva mu Buwere
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
Zuukuka!—2019
g19 Na. 2 lup. 8-9
Maama ng’ayamba muwala we awulira obubi olw’okuba afumbye keeki n’etavaamu bulungi

EKY’OKUYIGA 3

Obutapondooka

KITEGEEZA KI OBUTAPONDOOKA?

Omuntu atapondooka taggwaamu maanyi ne bwe waba nga waliwo ebitamugendedde bulungi. Ekyo omuntu agenda ayiga kiyige. Omwana bw’aba ayiga okutambula agwa enfunda n’enfunda. Mu ngeri y’emu, omuntu okusobola okutuuka ku buwanguzi mu bulamu, aba alina okwolekagana n’ebizibu ebitali bimu.

LWAKI KIKULU OBUTAPONDOOKA?

Abaana abamu bwe balemererwa okukola ekintu ekimu, bwe boolekagana n’ekizibu, oba bwe wabaawo abanenyezzaako, baggwaamu amaanyi. Abalala babiviirako ddala. Naye abaana balina okumanya ebintu bino ebikulu:

  • Ffenna wabaawo ebintu ebitulema.​—Yakobo 3:2.

  • Buli muntu wabaawo lw’ayolekagana n’ebizibu.​—Omubuulizi 9:11.

  • Twetaaga okuwabulwa okusobola okulongoosa mu bye tukola.​—Engero 9:9.

Obutapondooka kiyamba omwana obutatya kwaŋŋanga bizibu.

ENGERI GY’OYINZA OKUYIGIRIZA OMWANA WO OBUTAPONDOOKA

Bwe wabaawo ekirema omwana wo.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Omutuukirivu ayinza okugwa emirundi musanvu, naye addamu n’ayimuka.”​—Engero 24:16.

Yamba omwana wo okutunuulira ebintu mu ngeri ennuŋŋamu. Ng’ekyokulabirako, kiki ky’anaakola singa agwa ekigezo ku ssomero? Ayinza okubivaako n’agamba nti, “Nze sisobola kukola bulungi!”

Okusobola okuyigiriza omwana wo obutapondooka, muyambe okumanya engeri gy’ayinza okukola obulungi. Mu ngeri eyo ajja kufuba okugonjoola ekizibu mu kifo ky’okudda mu kwekubagiza.

Ate era weewale okugonjoolera omwana ekizibu. Mu kifo ky’ekyo, muyambe okulowooza ku ngeri gy’ayinza okukyegonjooleramu. Oyinza okumubuuza nti, “Kiki ky’oyinza okukola okusobola okutegeera obulungi essomo lye wagudde?”

Bw’afuna ekizibu.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Temumanyi kijja kutuuka ku bulamu bwammwe enkya.”​—Yakobo 4:14.

Embeera eyinza okukyuka ekiseera kyonna. Omuntu omugagga leero, ayinza okuba omwavu enkya, omuntu omulamu leero, ayinza okuba omulwadde enkya. Bayibuli egamba nti: “Abawenyuka emisinde, bulijjo si be bawangula empaka, ab’amaanyi, bulijjo si be bawangula olutalo, . . . kubanga ebiseera ebizibu n’ebintu ebitasuubirwa bibatuukako bonna.”​—Omubuulizi 9:11.

Ng’omuzadde, awatali kubuusabuusa ofuba okukuuma omwana wo aleme kutuukibwako kabi. Wadde kiri kityo, waliwo ebizibu ebimu ebijja okutuuka ku mwana wo.

Kyo kituufu nti omwana wo ayinza obutafuna bizibu gamba ng’okufiirwa omulimu. Wadde kiri kityo, oyinza okumuyamba okwaŋŋanga ebizibu gamba nga, okulekebwawo mikwano gye, oba okufiirwa omu ku b’eŋŋanda zammwe.a

Omwana wo bw’awabulwa.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Wulirizanga okubuulirirwa . . . olyoke obe wa magezi gye bujja.”​—Engero 19:20.

Okuwabula omwana tekuba kumumalako mirembe, wabula kimuyamba okumanya we yeetaaga okulongoosaamu.

Bw’oyigiriza omwana wo okukkiriza okuwabulwa, ggwe n’omwana wo muganyulwa nnyo. Taata omu ayitibwa John agamba nti: “Abaana bwe batayambibwa kutereeza nsobi zaabwe, tebayiga. Baba bajja kugwa mu bizibu bingi, era ne bwe bakula, ojja kuba nga buli kiseera obeera mu kugonjoola bizibu bye baba beeretedde. Ekyo kireetera omuzadde n’omwana ennaku.”

Oyinza otya okuyamba omwana wo okuganyulwa mu kuwabulwa okumuweebwa? Omwana wo k’abe ng’awabuliddwa ku ssomero oba awantu awalala wonna, weewale okugamba nti okuwabula okwo kubadde tekusaana. Mu kifo ky’ekyo, oyinza okubuuza omwana wo nti:

  • “Olowooza lwaki baakuwabudde?”

  • “Oyinza otya okulongoosaamu?”

  • “Kiki ky’onookola omulundi omulala ng’oyolekaganye n’embeera ng’eyo?”

Kijjukire nti okuwabula kujja kuyamba omwana wo kati ne gye bujja ng’akuze.

a Laba ekitundu “Yamba Omwana Wo Okugumira Ennaku,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 1, 2008.

Maama ng’ayamba muwala we awulira obubi olw’okuba afumbye keeki n’etavaamu bulungi

MUTENDEKE KATI

Omwana atapondooka nga waliwo ebitamugendedde bulungi oba ng’alina ensobi gy’akoze, emirundi mingi aba asobola okuyiga okukola ebintu ebitali bimu ne bwe biba nga bizibu okuyiga

Bateerewo Ekyokulabirako

  • Nzikiriza ensobi zange, oba nziteeka ku balala?

  • Njogera ku ebyo ebiba binnemye ne kye mba mbiyigiddeko?

  • Nsekerera abalala olw’ensobi ze baba bakoze?

Abazadde Abamu Kye Bagamba

“Tetwakugira baana baffe kuyita mu bizibu ebimu oba mu kusoomooza okumu. Bwe nnali omuto, nnaganyulwa nnyo mu kuyita mu bizibu ng’ebyo. Olw’okuba tetwaginya baana baffe, baakula nga balina endowooza ennuŋŋamu.”​—Jeff.

“Bwe twasobyanga abaana baffe, nze ne mukyala wange twetondanga. Abazadde basaanidde okubuulira abaana baabwe ku nsobi ezimu ze baba baakola kiyambe abaana baabwe okukiraba nti kya bulijjo omuntu okukola ensobi.”​—James.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share