LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g20 Na. 2 lup. 8-9
  • 2. Ffe Tuvunaanyizibwa ku Kubonaabona Okuliwo?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 2. Ffe Tuvunaanyizibwa ku Kubonaabona Okuliwo?
  • Zuukuka!—2020
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Lwaki Kikulu
  • Eky’Okulowoozaako
  • Bayibuli ky’Egamba
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Ebirimu
    Zuukuka!—2020
  • 4. Twatondebwa nga Tuli ba Kubonaabona?
    Zuukuka!—2020
  • 1. Katonda y’Atuleetera Okubonaabona?
    Zuukuka!—2020
See More
Zuukuka!—2020
g20 Na. 2 lup. 8-9
Omusajja ng’atudde mu nnyumba ye nga mu mukono ogumu akutte ssigala ate nga mu mukono omulala akutte ecupa y’omwenge.

2. Ffe Tuvunaanyizibwa Ku Kubonaabona Okuliwo?

Lwaki Kikulu

Eky’okuddamu bwe kiba nti yee, kiba kitegeeza nti tusobola okukendeeza ku kubonaabona.

Eky’Okulowoozaako

Abantu bavunaanyizibwa kyenkana wa ku bintu bino ebiviirako abantu okubonaabona?

  • Ekifaananyi ky’ekikonde, kikiikirira okutulugunya.

    Okukabasanyizibwa n’Okutulugunyizibwa.

    Ekitongole ky’ensi yonna eky’eby’obulamu kigamba nti omuntu 1 ku buli bantu 4 yatulugunyizibwako ng’akyali muto, era nti omukazi 1 ku buli bakazi 3 yatulugunyizibwako oba yakabasanyizibwako oba yakolebwako ebintu ebyo byombi.

  • Ekifaananyi ky’amalaalo kikiikirira ebiggya.

    Okufiirwa Abantu.

    Lipoota eyafulumizibwa ekitongole ky’ensi yonna eky’eby’obulamu mu 2018, yagamba nti “Abantu nga 477,000 be baatemulwa mu nsi yonna mu 2016.” Ate era abantu nga 180,000 be bagambibwa okuba nga baafiira mu ntalo oba mu bukuubagano omwaka ogwo.

  • Ekifaananyi ky’omutima ekirimu obuyengo, kikiikirira endwadde.

    Endwadde.

    Mu kitundu ekimu ekyafulumira mu magazini eyitibwa National Geographic, Fran Smith yagamba nti: “Abantu abasukka mu kawumbi banywa ssigala, era kigambibwa nti ssigala kye kimu ku bintu ebiviirako ebintu bino ebisinga okutta abantu: obulwadde bw’omutima, okusannyalala, obulwadde obukwatagana n’okussa, ne kookolo w’amawuggwe.”

  • Ekifaananyi kya minzaani eyeewunzikidde ku ludda olumu kikiikirira obutali bwenkanya.

    Obutali Bwenkanya.

    Jay Watts, omukugu mu mbeera z’abantu, yagamba nti: “Okusosolwa olw’embeera y’eby’enfuna, olwa langi y’omuntu, oba olw’ekikula ky’omuntu awamu n’ebintu gamba ng’okugobaganya abantu n’okuvuganya okw’amaanyi okuliwo bye bimu ku bintu ebiviiriddeko abantu okwennyamira.”

    MANYA EBISINGAWO

    Laba vidiyo Lwaki Katonda Yatonda Ensi? ku jw.org/lg.

Bayibuli ky’Egamba

Omusajja abadde mu kifaananyi ekisooka nga kati ali mu ddwaliro ku kitanda. Mukyala we atambula okuvaawo ng’omusawo ababuulira amawulire amabi agakwata ku bulamu bw’omwami we.

Okubonaabona okusinga obungi okuliwo mu nsi kuleetebwa bantu.

Okusinga obungi ku kubonaabona kuleetebwa gavumenti ezinyigiriza abantu be zifuga.

‘Omuntu abadde n’obuyinza ku munne n’amuyisa bubi.’​—OMUBUULIZI 8:9.

Okubonaabona kusobola okukendeezebwa.

Amagezi agali mu Bayibuli gasobola okuyamba abantu okuba abalamu obulungi n’okuba mu mirembe n’abalala.

“Omutima omukkakkamu guwa omubiri obulamu, naye obuggya buvunza amagumba.”​—ENGERO 14:30.

“Mweggyeemu okusiba ekiruyi, okunyiiga, okusunguwala, okuyomba, okuvuma, awamu na buli kikolwa kyonna ekibi.”​—ABEEFESO 4:31.

Ffe tuvunaanyizibwa ku kubonaabona okuliwo?

Bayibuli egamba nti: “Omuntu ky’asiga, era ky’alikungula.” (Abaggalatiya 6:7) Okubonaabona okumu kuva ku ebyo bye tuba tusazeewo. Eyo ye nsonga lwaki abasawo bakubiriza abantu okulya emmere erimu ekiriisa, okukola dduyiro, n’okwewala ebintu ebikosa obulamu gamba ng’okunywa ssigala. Naye tekiba kituufu kugamba nti okubonaabona kwonna abantu be bakwereetera. Abantu bangi bafuna obubenje, bakosebwa obutyabaga, n’ebizibu ebirala.

Lwaki abantu abalungi babonaabona?

Laba ekibuuzo 3.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share