LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g24 Na. 1 lup. 13-15
  • Lwaki Abantu Bangi Beenyooma?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Lwaki Abantu Bangi Beenyooma?
  • Zuukuka!—2024
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ENSONGA LWAKI KIKULU OBUTEENYOOMA
  • KY’OSOBOLA OKUKOLA
  • BYE TUKOLA
  • Waliwo Ekisobola Okukuyamba
    Zuukuka!—2020
  • Lwaki Abantu Tebakyawaŋŋana Kitiibwa mu Maka?
    Zuukuka!—2024
  • Enkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa Ziyinza Kukuganyula Zitya?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Funa Amagezi Agasobola Okukuyamba mu Bulamu Obwa Bulijjo ku JW.ORG
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
See More
Zuukuka!—2024
g24 Na. 1 lup. 13-15
Omukazi omunakuwavu nga yeeraba mu ndabirwamu.

Lwaki Abantu Bangi Beenyooma?

ENSONGA LWAKI KIKULU OBUTEENYOOMA

Abantu abateenyooma oba abekkiririzaamu banguyirwa okwaŋŋanga ebizibu bye bafuna mu bulamu. Tebapondooka mangu.

  • Okunoonyereza kulaga nti abantu abatekkiririzaamu batera okwennyamira, okweraliikirira, n’obutalya bulungi. Era batera okunywa ennyo omwenge oba okukozesa ebiragalalagala.

  • Abantu abekkiririzaamu beewala okwegeraageranya n’abalala, era kibanguyira okukolagana obulungi n’abantu be babeera nabo n’okukola emikwano eminywevu. Ku luuyi olulala, abantu abatekkiririzaamu batera okunoonya ensobi mu balala era ekyo kibalemesa okuba n’enkolagana ennungi n’abalala.

  • Abantu abekkiririzaamu ne bwe boolekagana n’ebizibu basigala banywevu. Tebakkiriza bizibu kubalemesa kutuuka ku biruubirirwa byabwe. Ku luuyi olulala, abantu abatekkiririzaamu, n’ebizibu ebitono babitunuulira ng’olusozi olunene olwekiise mu kkubo lyabwe. Ekyo kibaleetera okupondooka amangu.

KY’OSOBOLA OKUKOLA

Londa emikwano egizimba. Kolagana n’abantu abassa ekitiibwa mu balala, abakufaako, era abajja okukuzimba.

“Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ekiseera kyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.”—Engero 17:17.

Yamba abalala. Bw’obeera ow’ekisa era ng’okolera abalala ebintu ebirungi, omuli n’abo abatasobola kukukolera kye kimu, ojja kufuna essanyu erya nnamaddala eriva mu kugaba. Ojja kufuna essanyu ne bwe kiba nti abalala tebalabye ky’okoze.

“Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”—Ebikolwa 20:35.

Yamba abaana bo okuyiga okwekkiririzaamu. Engeri emu ekyo gy’oyinza okukikolamu kwe kubaleka okwegonjoolera ebizibu byabwe okusinziira ku busobozi bwabwe. Ekyo kiyamba abaana okuyiga okuvvuunuka ebizibu n’okubigonjoola. Bwe bayiga okukola ekyo, bajja kwekkiririzaamu mu kiseera kino era ne gye bujja nga bakuze.

“Yigiriza omwana ekkubo ly’asaanidde okutambuliramu; ne bw’aliba ng’akaddiye talirivaamu.”—Engero 22:​6, obugambo obuli wansi.

Omujulirwa wa Yakuwa ng’ayigiriza omuntu Bayibuli.
Omujulirwa wa Yakuwa ng’ayigiriza omuntu Bayibuli.

BYE TUKOLA

Enkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa awamu n’enteekateeka yaabwe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli, biyamba abantu okutereeza obulamu bwabwe ne kibasobozesa okwekkiririzaamu.

ENKUŊŊAANA ZAFFE EZA BULI WIIKI

Mu nkuŋŋaana zaffe eza buli wiiki tuwuliriza okwogera okwesigamiziddwa ku Bayibuli, era emirundi mingi kubaamu amagezi agatuyamba okuyiga okwekkiririzaamu. Teri kusolooza ssente, era abantu bonna baanirizibwa okuzibeeramu. Ng’ekyokulabirako, bw’onojja mu nkuŋŋaana zaffe ojja kumanya . . .

  • ensonga lwaki Katonda akutwala nti oli wa mugaso

  • engeri gy’osobola okufuna essanyu mu bulamu

  • engeri gy’oyinza okufuna emikwano egya nnamaddala

Ate era ojja kufuna ab’emikwano aba nnamaddala abakufaako.—1 Abakkolinso 12:​25, 26.

Okumanya ebisingawo ebikwata ku nkuŋŋaana zaffe, laba vidiyo Biki Ebikolebwa mu Kingdom Hall?, ku jw.org/lg.

ENTEEKATEEKA YAFFE EY’OKUYIGIRIZA BAYIBULI

Tuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere nga tukozesa ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Ekitabo kino kirimu ebyawandiikibwa, ebibuuzo ebikwata ku mutima gw’omuntu, vidiyo n’ebifaananyi ebirungi, era kinnyonnyola bulungi ensonga. Enteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli ebayamba okuyiga okwekkiririzaamu n’okulongoosa obulamu bwabwe.

Okumanya engeri okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa gye kiyinza okukuyamba, laba vidiyo erina omutwe Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli?, ku jw.org/lg.

Israel Martínez.

MANYA EBISINGAWO

Israel Martínez yali awulira nti wa wansi ku balala olw’okuba mwavu era olw’okuba teyasoma nnyo. Laba ekitundu, “Sikyenyooma” ku jw.org/lg omanye engeri okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa n’okuyiga Bayibuli gye kyamuyamba okulekera awo okwenyooma.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share