ESSOMO 8
Ebyokulabirako Ebiyigiriza
Matayo 13:34, 35
MU BUFUNZE: Longoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu ng’okozesa ebyokulabirako ebyangu okutegeera, ebisikiriza, era ebiyamba abakuwuliriza okutegeera ensonga enkulu.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
Kozesa ebyokulabirako ebyangu okutegeera. Kozesa ebintu ebyangu okunnyonnyola ebintu ebizibu okutegeera, nga Yesu bwe yakola. Ekyokulabirako tokikalubya ng’okyongeramu ebintu ebiteetaagisa. Kakasa nti ekyokulabirako ky’okozesa kikwatagana n’ekyo ky’oyogerako, abakuwuliriza baleme kubuzaabuzibwa.
Lowooza ku biyinza okuganyula abakuwuliriza. Kozesa ebyokulabirako ebikwata ku bintu abakuwuliriza bye bakola oba bye banyumirwa. Weegendereze oleme kukozesa byakulabirako ebiyinza okubayisa obubi.
Essira lisse ku nsonga enkulu. Kozesa ebyokulabirako ebinaakuyamba okuggyayo ensonga enkulu, so si ezo ezitali nkulu. Kakasa nti abakuwuliriza tebakoma ku kujjukira kyakulabirako ky’owadde, wabula n’ensonga lwaki owadde ekyokulabirako ekyo.