Omwagalwa Wo bw’Afa
Ku Lwokubiri nga Jjulaayi 17, 2007, ku ssaawa ng’emu ey’akawungeezi, ennyonyi y’abasaabaze yawaba bwe yali egwa ku kisaawe ekiri wakati mu kibuga São Paulo mu Brazil. Ennyonyi yasala oluguudo olunene n’eyingirira ekizimbe omuterekebwa emigugu. Abantu nga 200 be baafiira mu kabenje ako.
ABANTU abaafiirwa abaagalwa baabwe tebagenda kwerabira kabenje ako akagambibwa okuba nti ke kabenje k’ennyonyi akakyasinze okuba ak’amaanyi mu Brazil. Claudete yali omu ku bo. Yawulira amawulire agakwata ku kabenje k’ennyonyi ako bwe yali ng’alaba ttivi. Mutabani we Renato yali mu nnyonyi eyo. Yalina emyaka 26 gyokka. Yali ateekateeka kuwasa mu Okitobba. Claudete yagezaako okumukubira essimu naye nga teri kanyego. Yagwa wansi n’atema emiranga.
Mu Jjanwali 1986, omusajja Antje gwe yali agenda okufumbirwa yafiira mu kabenje ka mmotoka. Antje yafuna ensisi bwe yawulira amawulire ago. Yagamba nti: “Mu kusooka ssaakikkiriza. Nnali ng’aloota obuloosi nga ndowooza nti nja kuzuukuka nkizuule nti si kituufu. Nnakankana era nnawulira obulumi obw’amaanyi nga nninga gwe bakubye ekikonde ku lubuto.” Antje yamala emyaka esatu miramba nga mwennyamivu. Wadde nga kati wayise emyaka egissuka mu 20 bukya kabenje ako kabaawo, akankana buli lw’akajjukira.
Ennaku n’okulumwa by’obaamu ng’ofiiriddwa omwagalwa wo tosobola kubinnyonnyola. Kyokka, ne bw’oba ng’obadde osuubira omwagalwa wo okufa, gamba ng’amaze ekiseera nga mulwadde, ennaku eyinza okukuyitirirako. Eky’okufiirwa omwagalwa tewali muntu n’omu ayinza kugamba nti akyetegekedde. Maama wa Nanci yafa mu 2002 oluvannyuma lw’okulwalira ebbanga ddene. Naye nnyina bwe yafa, Nanci yatuula wansi ku seminti mu ddwaliro nga takyategeera. Yawulira ng’obulamu bwe tebukyali bwa makulu n’akamu. Kati waakayita emyaka etaano, naye akaaba buli lw’ajjukira maama we.
Dr. Holly G. Prigerson yagamba nti: “Ennaku y’okufiirwa teyinza kuggwa bantu ku mitima wabula bagimanyiira bumanyiizi.” Omwagalwa wo k’abe nga yafiira mu kabenje oba nga yafa asoose kulwala, oyinza okwebuuza, ‘Kya bulijjo okunakuwala? Nnyinza okugumira ennaku y’okufiirwa? Omwagalwa wange ndiddamu okumulaba nate?’ Ekitundu ekiddako kiddamu ebibuuzo ebyo n’ebirala by’oyinza okuba nabyo.
[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
EVERTON DE FREITAS/AFP/Getty Images