Katonda Muntu wa Ddala?
Abantu bye batera okuddamu:
◼ “Ali buli wantu, mu buli kintu. Alinga mpewo.”
◼ “Wa magezi nnyo era wa maanyi, naye si muntu.”
Yesu yayogera ki?
◼ “Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby’okubeeramu.” (Yokaana 14:2) Yesu bwe yayogera ku Katonda, yamwogerako ng’alina ennyumba, oba ekifo w’abeera.
◼ “Nnava eri Kitange, ne njija mu nsi: nate ensi ngireka, ŋŋenda eri Kitange.” (Yokaana 16:28) Okusinziira ku Yesu, Katonda Muntu wa ddala era alina w’abeera.
YESU teyayogerako kintu kyonna kiraga nti Katonda si muntu. Mu kifo ky’ekyo, yayogeranga ne Katonda era yamusabanga. Emirundi mingi yayita Yakuwa Kitaawe ow’omu ggulu, ekyali kiraga nti alina enkolagana ey’okulusegere ne Katonda.—Matayo 6:14, 26, 32.
Kituufu nti “tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna,” era nti ‘Katonda Mwoyo.’ (Yokaana 1:18; 4:24) Naye ekyo tekitegeeza nti talina mubiri. Baibuli egamba nti: “Obanga waliwo omubiri ogw’omukka, era waliwo n’ogw’omwoyo.” (1 Abakkolinso 15:44) Kati olwo Yakuwa alina omubiri gwa mwoyo?
Yee. Yesu bwe yazuukizibwa, ‘yayingira mu ggulu mwennyini, okulabika mu maaso ga Katonda ku lwaffe.’ (Abaebbulaniya 9:24) Kino kituyigiriza ebintu ebikulu bibiri ku Katonda. Ekisooka, alina ekifo w’abeera. Ekyokubiri, Muntu wa ddala, so si maanyi bwanyi agasangibwa buli wantu.
Kati olwo Katonda asobola atya okukola kyonna ky’aba ayagala buli wantu? Katonda asobola okusindika omwoyo gwe omutukuvu, oba amaanyi ge agakola, mu kifo kyonna w’aba ayagala. Nga taata bw’ayinza okukozesa omukono gwe okuyamba n’okubabudaabuda abaana be, ne Katonda akozesa omwoyo gwe omutukuvu okutuukiriza ebigendererwa bye.—Zabbuli 104:30; 139:7.
Olw’okuba Katonda Muntu wa ddala, alina ebimusanyusa n’ebitamusanyusa. Baibuli etugamba nti ayagala abantu be, asanyuka olw’ebintu bye yakola, akyawa okusinza ebifaananyi, era ayisibwa bubi okulaba nti waliwo obubi. (Olubereberye 6:6; Ekyamateeka 16:22; 1 Bassekabaka 10:9; Zabbuli 104:31) Mu 1 Timoseewo 1:11 (NW) ayitibwa “Katonda omusanyufu.” Tekyewuunyisa Yesu okugamba nti tusobola okuyiga okwagala Katonda oyo n’omutima gwaffe gwonna!—Makko 12:30.a
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo ku nsonga eno, laba essuula 1 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 5]
Nga taata bw’akozesa omukono gwe, ne Katonda akozesa omwoyo gwe omutukuvu okutuukiriza ebigendererwa bye