LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 4/1 lup. 20
  • Omulamuzi Akola eby’Obutuukirivu Bulijjo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Omulamuzi Akola eby’Obutuukirivu Bulijjo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Similar Material
  • Yakuwa Yamuyita ‘Mukwano Gwe’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Katonda Agezesa Okukkiriza kwa Ibulayimu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Okukkiriza kwa Ibulayimu Kugezesebwa
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Ibulayimu ne Saala Baagondera Katonda
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 4/1 lup. 20

Semberera Katonda

Omulamuzi Akola eby’Obutuukirivu Bulijjo

Olubereberye 18:22-32

OBWENKANYA. Obutasaliriza. Obutabaamu kyekubiira. Engeri ng’ezo ennungi ggwe tezikusikiriza? Ffenna twatondebwa nga twagala nnyo okuyisibwa mu ngeri ey’obwenkanya. Eky’ennaku kiri nti ensi ya leero ejjudde obutali bwenkanya. Kyokka, waliwo Omulamuzi ffenna gwe tusaanidde okussaamu obwesige​—Yakuwa Katonda. Akola ekituufu bulijjo. Kino kyeyoleka bulungi Katonda bwe yali ayogera ne Ibulayimu, nga bwe tusoma mu Olubereberye 18:22-32.a

Yakuwa bwe yagamba Ibulayimu nti yali agenda kubonereza kibuga Sodomu ne Ggomola, Ibulayimu yalaga okufaayo olw’abatuukirivu abaali mu bibuga ebyo, omwali Lutti omwana wa muganda we. Ibulayimu yabuuza Yakuwa nti: ‘Olizikiriza abatuukirivu awamu n’ababi? Watya nga mu kibuga mulimu abatuukirivu ataano, tolikisonyiwa ku lw’abatuukirivu ataano abakirimu?’ (Olunyiriri 23, 24) Katonda yaddamu nti ekibuga yandikisonyiye bwe mwandibaddeemu abatuukirivu abawera 50. Ibulayimu yabuuza Yakuwa emirundi emirala etaano, nga buli mulundi omuwendo agukendeeza, okutuusiza ddala ku kkumi. Buli mulundi Katonda yamukakasa nti teyandizikirizza bibuga ebyo bwe mwandibaddeemu abatuukirivu abenkana awo.

Ibulayimu yali agezaako kukaayanya Katonda? Nedda! Okwo kwandibadde kwegulumiza okw’ekika ekya waggulu ennyo. Engeri Ibulayimu gye yayogeramu yali eraga obwetoowaze n’okuwa Katonda ekitiibwa. Yagamba nti yali “nfuufu bufuufu n’evvu.” Ate era ebigambo Ibulayimu bye yayogera byalaga nti yali akimanyi nti Yakuwa tasaliriza. Emirundi ebiri, Ibulayimu yagamba nti kyandibadde “tekisoboka” Katonda okuzikiriza abatuukirivu awamu n’ababi. Yee, omusajja oyo yalaga okukkiriza nti “Omulamuzi w’ensi zonna” yandikoze ‘eby’obutuukirivu.’​—Olunyiriri 25, NW.

Ibulayimu yali mutuufu mu byonna bye yayogera? Mu bimu yali mutuufu, ate mu birala teyali mutuufu. Teyali mutuufu kugamba nti mu Sodomu ne Ggomola mwali musobola okuweramu abatuukirivu ekkumi. Naye yali mutuufu okugamba nti Katonda ‘teyandizikirizza batuukirivu wamu n’ababi.’ Era Katonda bwe yazikiriza ebibuga ebyo, omusajja omutuukirivu Lutti ne bawala be ababiri baayambibwa bamalayika okuwonawo.​—2 Peetero 2:7-9.

Bino byonna bituyigiriza ki ku Yakuwa? Mu kutegeeza Ibulayimu nti yali agenda kubonereza ebibuga ebyo, Yakuwa yali ayagala kuwulira kye yali alowooza. Era yawuliriza n’obugumiikiriza nga mukwano gwe Ibulayimu ayogera ekyamuli ku mutima. (Isaaya 41:8) Kino kituyigiriza nti Yakuwa Katonda mwetoowaze, era nti awa abaweereza be ab’oku nsi ekitiibwa. Awatali kubuusabuusa, tusaanidde okussa obwesige bwaffe bwonna mu Yakuwa, Omulamuzi akola eby’obutuukirivu bulijjo.

[Obugambo obuli wansi]

a Ku mulundi ogwo, Yakuwa yayogera ng’ayitira mu malayika eyali amukiikiridde. Laba ekyokulabirako ekirala mu Olubereberye 16:7-11, 13.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Ibulayimu yeegayirira Yakuwa ku bikwata ku Sodomu ne Ggomola

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share