Ebizibu Bye Twolekaganye Nabyo Bituyambye Okwongera Okwesiga Yakuwa
Byayogerwa Ada Dello Stritto
Nnaakamaliriza okukoppolola ekyawandiikibwa ky’olunaku mu kitabo kyange. Nnina emyaka 36 egy’obukulu, naye okuwandiika ennyiriri ezo entono kintwalidde essaawa bbiri nnamba. Lwaki kintwalidde ekiseera kiwanvu? Ka maama abannyonnyole.—Joel
NZE n’omwami wange twabatizibwa ng’Abajulirwa ba Yakuwa mu 1968. Oluvannyuma lw’okuzaala abaana baffe ababiri, David ne Marc, abaali abalamu obulungi, twazaala n’omwana waffe ow’okusatu, Joel. Yazaalibwa mu 1973 mu ddwaliro eriri mu kibuga Binche ekya Bubirigi, ekisangibwa mayiro nga 40 mu bukiika ddyo bw’ekibuga Brussels. Naye yazaalibwa tannatuuka. Yali azitowa kiro ng’emu n’ekitundu. Bwe nnava mu ddwaliro, Joel nnamulekayo asobole okugejjagejjamu.
Bwe waayita wiiki nga ziizo nga tewali njawulo, nze n’omwami wange, Luigi, twamutwala ku musawo ajjanjaba abaana. Oluvannyuma lw’okukebera Joel, omusawo yagamba nti: “Mbabuulire, kirabika Joel alina ebizibu byonna baganda be bye batalina.” Waaliwo akasiriikiriro. Mu kaseera ako, nnakitegeera nti omwana waffe oyo yalina ekizibu eky’amaanyi. Oluvannyuma omusawo yazza omwami wange ebbali n’amugamba nti: “Omwana wammwe alina trisomy 21,” era obulwadde obwo butera okuyitibwa Down syndrome.a
Omusawo bye yatugamba byatumalamu amaanyi bwe tutyo ne tusalawo okulaba omusawo omulala. Yakebera Joel n’obwegendereza okumala essaawa nga nnamba nga tanyega kigambo. Essaawa eyo emu nze ne Luigi twagiraba ng’omwaka omulamba. Oluvannyuma omusawo yatunula waggulu n’atugamba nti, “Kijja kubeetaagisa okulabirira ennyo omwana wammwe ono.” Mu ddoboozi ery’ekisa yaggatako nti, “Naye Joel ajja kuba musanyufu kubanga bazadde be bamwagala!” Nga ffenna bitusobedde, nnasitula Joel ne tudda eka. Mu kiseera ekyo yali wa wiiki munaana.
Enkuŋŋaana n’Obuweereza bw’Ennimiro Byatuzzaamu Amaanyi
Abasawo bwe beeyongera okukebera Joel baakizuula nti yalina obulwadde bw’omutima n’amagumba. Olw’okuba omutima gwe gwali munene nnyo, gwanyigirizanga amawuggwe ge ne kiba nti kyali kyangu okufuna obulwadde obulala. Nga waakayita ekiseera kitono, bwe yali nga wa myezi ena, Joel yalwala obulwadde obuyitibwa bronchial pneumonia ne tumutwala mu ddwaliro gye baamujjanjabira nga tewali muntu yenna akkirizibwa kumukwatako. Kyatuyisanga bubi nnyo okumulaba ng’ali mu bulumi obw’amaanyi bwe butyo. Twayagalanga okumusitulako, kyokka okumala wiiki kumi nnamba, twali tetukkirizibwa kumukwatako. Nze ne Luigi tetwalina kya kukola okuggyako okumutunuulira obutunuulizi n’okusaba.
Mu kiseera ekyo ekizibu, tetwalekera awo kugenda mu nkuŋŋaana awamu ne batabani baffe, David eyalina emyaka mukaaga ne Marc eyalina emyaka esatu. Buli lwe twabanga ku Kizimbe ky’Obwakabaka, twawuliranga ng’abali mu mikono gya Yakuwa. Ekiseera kye twamalangayo, nga tuli n’ab’oluganda, twawuliranga nga tusobola bulungi okuteeka omugugu gwaffe ku Yakuwa, ekyo ne kituyamba okufuna ku buweerero. (Zab. 55:22) N’abasawo abaali bajjanjaba Joel baakiraba nti enkuŋŋaana ez’Ekikristaayo ze twagendangamu zaatuyamba obutaggwaamu maanyi.
Era mu kiseera ekyo, nnasaba Yakuwa ampe amaanyi okugenda mu buweereza bw’ennimiro. Mu kifo ky’okusigala awaka nga nkaaba, nnayagalanga nnyo okwogerako n’abalala n’okubabuulira ensonga lwaki ekisuubizo kya Katonda eky’ensi omutali bulwadde kyanzizaamu nnyo amaanyi. Buli lwe nnasobolanga okugenda mu buweereza bw’ennimiro, nnawuliranga nti Yakuwa azzeemu okusaba kwange.
“Kino Kyewuunyisa!”
Ng’olunaku lwe twakomyaawo Joel awaka okuva mu ddwaliro lwali lwa ssanyu nnyo! Kyokka olunaku olwaddirira, essanyu eryo lyonna lyaggwaawo. Mangu ddala embeera ya Joel yayonooneka era ne tumuddusa mu ddwaliro. Oluvannyuma lw’okumukebera, abasawo baatugamba nti: “Joel tasobola kuweza myezi mukaaga nga mulamu.” Nga wayise emyezi ebiri, bwe yali nga wa myezi munaana, omusawo kye yagamba kyalabika ng’ekituufu kubanga embeera ya Joel yeeyongera okwonooneka. Omusawo yatuulako wamu naffe era n’atugamba nti: “Kibi nnyo. Naye naffe tetukyalina kya kumukolera.” Yagattako nti: “Kati Yakuwa yekka y’asobola okumuyamba.”
Nnaddayo mu kisenge mwe baali bajjanjabira Joel. Wadde nga byali binsobedde era nga n’amaanyi gampeddemu, nnali mumalirivu okwongera okumujjanjaba. Baganda bange Abakristaayo bangi bajjanga mu mpalo okubeerako nange mu ddwaliro olw’okuba Luigi yalinanga okubeera awaka alabirire batabani baffe ababiri. Nnali nnaakamalayo wiiki emu, omutima gwa Joel ne gwesiba. Abasawo baayanguwa okujja mu kasenge mwe yali naye nga tebalina kye basobola kukola kumuyamba. Nga wayise eddakiika ntono, omu ku bo yayogera mu kaama nti, “Afudde . . .” Nnawunga, nnentulika ne nkaaba era ne nfuluma akasenge. Nnagezaako okusaba Yakuwa, naye n’ebigambo byambula. Nga wayise eddakiika nga 15, omusawo yajja n’ampita n’aŋŋamba nti, “Joel azze engulu!” Yankwata ku mukono n’aŋŋamba nti, “Jjangu omulabe.” Bwe nnaddayo eri Joel, nnasanga omutima gwe guzzeemu okukuba! Mangu ddala amawulire ago gaasaasaana. Abasawo baakuŋŋaana okumulaba era bangi baagamba nti, “Kino kyewuunyisa!”
Ku Myaka Ena, Yakola Ekintu Ekyatwewuunyisa
Mu mwaka gwa Joel ogusooka, omusawo we yakiddiŋŋananga nti, “Joel yeetaaga okulagibwa ennyo okwagala.” Olw’okuba nze ne Luigi Yakuwa yatulaga okwagala okw’amaanyi naddala oluvannyuma lw’okuzaala Joel, naffe twayagala okulaga omwana waffe okwagala ng’okwo. Kino twasobola bulungi okukikola okuva bwe kiri nti yali yeetaaga obuyambi bwaffe mu buli kimu.
Mu myaka gye omusanvu egyasooka, Joel yafunanga ebizibu kumpi bye bimu buli mwaka. Wakati wa Okitobba ne Maaki, obulwadde obumu bwabanga buwona ate obulala ne bumukwata, bwe kityo twalinanga okwewuuba mu ddwaliro. Mu kiseera kye kimu, nnalina okulaba nti nfuna ebiseera ebimala okubeerako awamu n’abaana baffe David ne Marc. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, nabo baatandika okutuyambako mu kulabirira Joel, era ekyo kyavaamu emiganyulo mingi. Ng’ekyokulabirako, abasawo abawerako baali batugambye nti Joel tajja kusobola kutambula. Naye lumu, nga Joel wa emyaka ena, mutabani waffe Marc yamugamba nti, “Joel, laga Maama nti osobola okukikola!” Kyaneewuunyisa nnyo okulaba nga Joel asimbula ekigere ekisooka! Kyatusanyusa nnyo, era twasabira wamu ng’amaka ne twebaza Yakuwa. Buli Joel lwe yabangako ekintu ky’akoze ka kibe kitono kitya, twamusiimanga.
Okumuyigiriza Ebikwata ku Katonda Okuva mu Buwere Kyavaamu Emiganyulo
Twakolanga kyonna ekisoboka okutwala Joel mu nkuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Okusobola okumukuuma obutafuna buwuka buleeta ndwadde, twamuteekanga mu kagaali ka baana akaaliko ekisaanikira ekya pulasitiika ekitangaala. Wadde nga yabeeranga munda mu kagaali, yanyumirwanga okubeerangawo mu nkuŋŋaana.
Ab’oluganda baatuzzangamu nnyo amaanyi, baatulaganga okwagala era baatuwanga amagezi agaatuyamba ennyo. Ow’oluganda omu yatujjukizanga ebigambo ebiri mu Isaaya 59:1, awagamba nti: “Laba, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n’okuyinza ne gutayinza kulokola; so n’okutu kwe tekumuggadde n’okuyinza ne kutayinza kuwulira.” Ebigambo ebyo byatuyamba okwesiga Yakuwa.
Joel bwe yagenda akula, twamuyamba okukiraba nti kikulu nnyo okuweereza Yakuwa. Twakozesanga buli kakisa ke twafunanga okubuulira Joel ebikwata ku Yakuwa, kimuyambe okufuna enkolagana ennungi ne Kitaawe ow’omu ggulu. Twegayiriranga Yakuwa awe omukisa okufuba kwaffe kusobole okuvaamu ebibala.
Bwe yayingira emyaka gy’obutiini, kyatusanyusa okulaba nti Joel yali ayagala nnyo okubuulirako abalala amazima agali mu Baibuli. Bwe yali alina emyaka 14, Joel yalongoosebwa. Nga tukyali mu ddwaliro, kyansanyusa nnyo bwe yambuuza nti, “Maama, omusawo ono muwe akatabo Okuba Omulamu?” Waayita emyaka mitono, Joel n’addamu okulongoosebwa. Kw’olwo twali tulowooza nti tajja kuwona. Kyokka bwe yali tannaba kulongoosebwa, Joel yawa abasawo ebbaluwa gye twali tuwandiise naye. Ebbaluwa eyo yali ennyonnyola ennyimirira ye ku nkozesa y’omusaayi. Omusawo eyali agenda okulongoosa Joel yamubuuza nti, “Byonna ebiri mu bbaluwa eno obikkiriza?” Joel yaddamu nti, “Yee, Musawo.” Kyatusanyusa nnyo okulaba nga mutabani waffe yeesiga Omutonzi we era nga mumalirivu okukola by’ayagala. Abasawo bonna baakolagana bulungi naffe, era ekyo twakisiima nnyo.
Joel Akulaakulana mu by’Omwoyo
Bwe yali wa myaka 17, Joel yabatizibwa. Ng’olunaku olwo tetugenda kulwerabira! Kituwa essanyu lya maanyi okumulaba nga yeeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Okuva olwo, okwagala kwe eri Yakuwa era n’amazima tebiddiriranga. Mu butuufu, buli muntu Joel gw’asanga ayagala okumugamba nti, “Amazima bwe bulamu bwange!”
Bwe yali anaatera okuva mu myaka gy’obutiini, Joel yayiga okusoma n’okuwandiika. Kino kyava mu kufuba kwa maanyi. Buli kigambo kye yasobolanga okuwandiika yabanga alina eddaala kkulu ly’atuuseeko. Okuva olwo n’okutuusa leero, buli lunaku alutandika ng’asoma ekyawandiikibwa eky’olunaku okuva mu katabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku. Bw’amala ekyo, afuba okukoppolola ekyawandiikibwa eky’olunaku mu kimu ku bitabo bye, era nga kati awezezza ebitabo bingi!
Ku nnaku z’enkuŋŋaana, Joel afuba okulaba nti tugenda bukyali ku Kizimbe ky’Obwakabaka asobole okwaniriza bonna abajja. Mu nkuŋŋaana, ayagala nnyo okubaako ky’addamu n’okulaga ebyokulabirako. Era ayambako mu kutambuza akazindaalo n’okukola emirimu emirala. Buli wiiki, bw’ataba mulwadde, tugenda naye mu buweereza bw’ennimiro. Mu 2007 kyalangirirwa nti Joel afuuse omuweereza mu kibiina. Kaabula kata tufe essanyu. Nga guno gwali mukisa gwa maanyi okuva era Yakuwa!
Yakuwa Atuwaniridde
Mu 1999 twafuna ekizibu ekirala. Omugoba w’emmotoka eyali avugisa ekimama yatomera emmotoka yaffe, era Luigi yafuna ebisago eby’amaanyi. Okugulu kwe okumu kwalina okusalibwaako, era yalina n’okulongoosebwa enkizi. Ne mu mbeera eno, okwesiga Yakuwa kyatuyamba okufuna amaanyi g’awa abaweereza be abali mu bizibu. (Baf. 4:13) Wadde nga Luigi kati mulema, tufuba okutunuulira ebintu mu ngeri ennuŋŋamu. Olw’okuba takyasobola kugenda kukola, kati alina ebiseera bingi okulabirira Joel. Kino nange kinnyambye okufuna ebiseera okwenyigira mu bintu eby’omwoyo. Luigi naye afunye ebiseera ebiwerako okulabirira amaka gaffe mu by’omwoyo awamu n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe mu kibiina, gy’aweeraza ng’omulabirizi akwanaganya akakiiko k’abakadde.
Embeera ze tuyiseemu zitusobozesezza okufuna ebiseera okubeerako awamu ng’amaka. Ekiseera bwe kigenze kiyitawo, tuyize okuba abamativu era n’obutasuubira kisukka ku busobozi bwaffe wamu n’obw’abalala. Buli lwe wabaawo ekintu kyonna ekyagala okutumalamu amaanyi, tukibuulira Yakuwa mu kusaba. Kya nnaku nti batabani baffe David ne Marc bwe baakula ne bava awaka, baagenda baddirira mpolampola n’ekyavaamu baalekera awo okuweereza Yakuwa. Tulina essuubi nti ekiseera kijja kutuuka bakomewo eri Yakuwa.—Luk. 15:17-24.
Bwe tulowooza ku bintu byonna bye tuyiseemu, tukiraba nti Yakuwa atuwaniridde era ekyo kituyambye okumwesiga nga tulina ekizibu kyonna kye twolekagana nakyo. Ebigambo bino ebiri mu Isaaya 41:13 bituyambye nnyo: “Nze Mukama Katonda wo n[n]aakwatanga ku mukono gwo ogwa ddyo nga nkugamba nti Totya; nze n[n]aakuyambanga.” Okukimanya nti Yakuwa atukwata ku mukono kituzzaamu nnyo amaanyi. Awatali kubuusabuusa, tusobola okugamba nti ebizibu bye twolekaganye nabyo bituyambye okwongera okwesiga Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa.
[Obugambo obuli wansi]
a Omuntu alina trisomy 21 aba yazaalibwa ng’obwongo bwe buliko obulemu. Abaana abazaalibwa nga balina trisomy baba ne chromosome emu okusinga ku ezo omuntu omulamu z’alina okuba nazo. Chromosome eyitibwa nnamba 21 y’eba ekwatiddwako.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16, 17]
Joel ne maama we, Ada
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]
Ada, Joel, ne Luigi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Joel ayagala nnyo okwaniriza ab’oluganda ku Kizimbe ky’Obwakabaka