LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 1/15 lup. 31-32
  • Okutereka Ebintu Byaffe eby’Omuwendo eby’Edda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okutereka Ebintu Byaffe eby’Omuwendo eby’Edda
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • “ALUBBAAMU Y’AMAKA” GAFFE ‘N’EBY’OBUSIKA’ BYAFFE
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 1/15 lup. 31-32

Etterekero Lyaffe

Okutereka Ebintu Byaffe eby’Omuwendo eby’Edda

ABANTU ba Yakuwa bamaze ekiseera kiwanvu nga bamuweereza era balina ebintu bingi bye bayiseemu. Ng’oggyeko okusoma ebitabo byaffe, okwekenneenya ebintu ebirala, gamba ng’ebifaananyi, amabaluwa, ebyafaayo by’abantu ssekinnoomu, n’ebintu ebyakozesebwanga edda mu kusinza Yakuwa ne mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira, kisobola okutuyamba okumanya ebyafaayo by’Abajulirwa ba Yakuwa. Naye muganyulo ki oguli mu kutereka ebintu ng’ebyo n’okumanya ebyafaayo byaffe? Kijjukire nti emitwe gy’amaka mu Isiraeri ey’edda baalinanga okuyigiriza abaana baabwe amateeka ga Yakuwa n’okubabuulira ebikolwa bye eby’ekitalo kiyambe abaana baabwe okwesiga Katonda.​—Zab. 78:1-7.

Okwekenneenya ebiwandiiko oba ebintu ebirala ebikwata ku bintu ebyaliwo edda kiyambye nnyo mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda. Ng’ekyokulabirako, abalabe bwe baagezaako okulemesa abantu ba Katonda okuddamu okuzimba yeekaalu mu Yerusaalemi, waaliwo okunoonyereza mu biwandiiko ebyali mu tterekero eryali mu kibuga ky’Abameedi ekikulu Ekubatana (Yakumesa) ne bazuula omuzingo ogwali gulaga nti Kabaka Kuulo yakkiriza Abayudaaya okuddamu okuzimba yeekaalu. (Ezer. 6:1-4, 12) Bwe kityo, yeekaalu yaddamu okuzimbibwa ng’ekigendererwa kya Katonda bwe kyali. Bwe yali awandiika Enjiri ye, Lukka naye yakozesa ebiwandiiko ebyali biterekeddwa. Yagamba nti: ‘Nnanoonyereza n’obwegendereza ebintu byonna okuviira ddala ku ntandikwa yaabyo.’​—Luk. 1:1-4.

Akakiiko Akafuzi katwala ebyafaayo ebikwata ku buweereza bwaffe eri Yakuwa ng’ekintu eky’omuwendo ennyo. Ng’ayogera ku nsonga lwaki kikulu okukuuma, okussa mu buwandiike, n’okubuulira abalala ebikwata ku byafaayo byaffe, omu ku b’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi yagamba nti, “Okusobola okumanya wa gye tulaga, twetaaga okumanya wa gye tuvudde.” N’olw’ensonga eyo, gye buvuddeko awo, ku kitebe kyaffe ekikulu ekiri e Brooklyn mu New York, waatandikibwawo ekitongole ekikola ku kutereka ebiwandiiko n’ebintu ebirala ebikwata ku byafaayo byaffe, era kiri wansi w’Akakiiko Akawandiika.

“ALUBBAAMU Y’AMAKA” GAFFE ‘N’EBY’OBUSIKA’ BYAFFE

Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, tugenda twerabira ebintu ebyaliwo edda, era tuyinza n’okwejjusa lwaki tetwaterekayo bintu ebiyinza okutujjukiza ebintu ebyo. Ekitongole ekitereka ebiwandiiko n’ebintu ebirala ebikwata ku byafaayo byaffe, kifuba okulaba nti ebyafaayo byaffe bikuumibwa bulungi. Ebifaananyi ebiri mu Tterekero Lyaffe tuyinza okubitwala nga “alubbaamu y’amaka” gaffe. Ebitabo byaffe ebyasooka okufulumizibwa, ebintu ebikwata ku byafaayo by’ab’oluganda abaaliwo mu myaka gy’edda, n’ebintu ebyakozesebwanga mu kuweereza Yakuwa bye bimu ku ebyo ebisangibwa mu Tterekero Lyaffe. Ebintu ebyo bya ‘busika’ ebituyamba okumanya ebyafaayo byaffe, era bituyamba okukiraba nti Yakuwa ajja kweyongera okutuyamba mu biseera eby’omu maaso.

Okusobola okumanya ebyo ebiri mu Tterekero ly’Akakiiko Akawandiika, tukukubiriza okusomanga ekitundu kino ekipya ekirina omutwe ogugamba nti “Okuva mu Tterekero Lyaffe.” Ekitundu kino kijja kufulumiranga mu Omunaala gw’Omukuumi ogw’okusoma mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, mu Omunaala gw’Omukuumi ogunaddako, mujja kubaamu ekitundu ekijja okuddamu ebibuuzo bino: Dawn Mobile kye ki? Baani abaagikozesanga? Yakozesebwa ddi, era yakozesebwanga etya?

Okufaananako alubbaamu y’amaka, ebintu ebiri mu Tterekero Lyaffe bituyamba okumanya ebintu bingi ebitukwatako awamu n’ebyo ebikwata ku bakkiriza bannaffe abaatusookawo​—okukkiriza n’obuvumu bakkiriza bannaffe abo abaatusookawo bye baayoleka, essanyu n’ebizibu abaweereza ba Katonda bye bafuna nga bamuweereza, engeri Katonda gy’awaamu abantu be obulagirizi n’engeri gy’abayambamu. (Ma. 33:27) Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa emikisa nga tufuba okukuuma ebyafaayo by’ekibiina kyaffe kituyambe okweyongera okuba obumu n’okuba abanywevu nga tukola by’ayagala.

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Engeri Ebintu Byaffe Gye Biterekebwamu

Mu kuteekateeka ebitabo byaffe, DVD, n’ebintu ebirala ebikozesebwa mu kunnyonnyola Bayibuli, abawandiisi baffe, ab’oluganda abasiiga ebifaananyi, ab’oluganda abanoonyereza, awamu n’abalala, bakozesa ebintu ebiri mu Tterekero Lyaffe. Bwe kityo, ab’oluganda abakola mu Tterekero Lyaffe bafuba okukuŋŋaanya ebintu ebitali bimu okuva ku ofiisi z’amatabi, mu bibiina, ku bantu ssekinnoomu, n’okuva mu bitongole by’ensi, era ne bafuba okubitereka obulungi. Lowooza ku ngeri kino gye bakikolamu:

Babifuna era ne Babyekenneenya: Buli lukya wabaawo ebintu ebipya ebyongerwa mu Tterekero Lyaffe. Ebisinga obungi ku bintu ebyo biweebwayo ab’oluganda abava mu maka agalimu abantu abamaze ebbanga eddene nga baweereza Yakuwa n’obwesigwa ate ebirala byeyazikibwa bweyazikibwa okuva ku b’oluganda ng’abo. Okwekenneenya ebintu ebyo n’okubigeraageranya n’ebintu ebirala, kituyamba okwongera okutegeera ebyafaayo byaffe.

Babitegeka Bulungi: Mu Tterekero Lyaffe mulimu ebintu nkumi na nkumi, nga n’ebimu ku byo biwezezza emyaka kikumi n’okusingawo. Ebintu ebyo bigwa mu biti bya njawulo, era biba birina okutegekebwa obulungi bisobole okukozesebwa mu biseera eby’omu maaso.

Babiddaabiriza era ne Babikuuma Bulungi: Ebitabo ebikadde ennyo n’ebintu ebirala ebyetaaga okudaabirizibwa, babiddaabiriza era ne babikuuma bulungi. Ebiwandiiko, ebifaananyi, obutundu obwafulumira mu mpapula z’amawulire, vidiyo, n’ebintu ebirala ebyakwatibwa ku ntambi biteekebwa ku kompyuta, ekyo ne kiyamba ebiwandiiko n’ebintu ebirala eby’omuwendo obutayonooneka mangu.

Babitereka Bulungi: Ebintu byaffe eby’omuwendo biterekebwa bulungi ne bitayonoonebwa kitangaala oba mazzi. Waliwo programu ya komputya eyakolebwa eyamba mu kunoonyereza n’okuzuula amangu ebintu eby’omuwendo ebikwata ku byafaayo byaffe.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 32]

1. Ekipande ekyali kiranga omuzannyo “Photo-Drama of Creation.” 2. Amannya g’abantu abaalagirizanga ebitabo. 3. Emmotoka okwabanga emizindaalo. 4. Eddiba lya Watch Tower eya Apuli 15, 1912. 5. Foomu y’ekkomera okuli ebikwata ku J. F. Rutherford. 6. Omuzindaalo gwa rediyo WBBR. 7. Gramufomu. 8. Ssanduuko omwatwalirwanga ebitabo. 9. Ebintu omu ku b’oluganda bye yawandiika. 10. Ebbaluwa eyawandiikirwa J. F. Rutherford.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share