LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 1/15 lup. 26-30
  • Bakabona era Bakabaka Abajja Okuganyula Abantu Bonna

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bakabona era Bakabaka Abajja Okuganyula Abantu Bonna
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EKISUUBIZO EKIKWATA KU BAKABONA ABAWEEREZA NGA BAKABAKA
  • ENDAGAANO EMPYA ESOBOZESA ABANTU OKUFUUKA BAKABONA ABAWEEREZA NGA BAKABAKA
  • BAKABONA ABAWEEREZA NGA BAKABAKA BAGANYULA ABANTU BONNA
  • BAKABONA ABAWEEREZA NGA BAKABAKA BAMALIRIZA OMULIMU GWABWE
  • Mujja Kuba ‘Obwakabaka bwa Bakabona’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 1/15 lup. 26-30

Bakabona era Bakabaka Abajja Okuganyula Abantu Bonna

“Mmwe muli ‘ggwanga ddonde, bakabona abaweereza nga bakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu Katonda be yeetwalidde.’”​—1 PEET. 2:9.

OSOBOLA OKUNNYONNYOLA?

Ddi Yakuwa lwe yasooka okusuubiza obwakabaka bwa bakabona?

Endagaano empya esobozesa etya abantu okufuuka bakabona abaweereza nga bakabaka?

Bakabona abaweereza nga bakabaka banaaganyula batya abantu?

1. Lwaki ‘eky’ekiro kya Mukama waffe’ kiyitibwa Ekijjukizo, era lwaki tukwata omukolo ogwo?

KU LUNAKU lwa Nisaani 14 mu mwaka gwa 33 E.E. akawungeezi, Yesu Kristo n’abatume be 12 baakwata Embaga y’Ekiyudaaya ey’Okuyitako omulundi ogwasembayo. Oluvannyuma lw’okulagira Yuda Isukalyoti, eyali anaatera okumulyamu olukwe, okufuluma, Yesu yatandikawo omukolo ogw’enjawulo, oluvannyuma ogwayitibwa ‘eky’ekiro kya Mukama waffe.’ (1 Kol. 11:20) Yesu emirundi ebiri yagamba nti: “Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga nze.” Omukolo ogwo era guyitibwa Ekijjukizo. Ku mukolo ogwo tujjukira ebyo Kristo bye yatukolera, naddala okuba nti yatufiirira. (1 Kol. 11:24, 25) Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna bagondera ekiragiro ekyo nga bajjukira okufa kwa Yesu buli mwaka. Okusinziira ku kalenda y’Ekiyudaaya, mu 2012, olunaku lwa Nisaani 14 lujja kutandika ku Lwokuna nga Apuli 5 oluvannyuma lw’enjuba okugwa.

2. Kiki Yesu kye yayogera ku mugaati n’envinnyo bye yakozesa ku mukolo gw’Ekijjukizo?

2 Omuyigirizwa Lukka atubuulira ebyo Yesu bye yayogera ne bye yakola ku mukolo ogwo: “[Y]atoola omugaati, ne yeebaza, n’agumenyamu, n’agubawa ng’agamba nti: ‘Guno gukiikirira omubiri gwange ogugenda okuweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga nze.’ Mu ngeri y’emu, bwe baamala okulya eky’ekiro, n’akwata ekikopo, n’agamba nti: ‘Ekikopo kino kikiikirira endagaano empya ekoleddwa olw’omusaayi gwange ogugenda okuyiibwa ku lwammwe.’” (Luk. 22:19, 20) Abatume baategeera batya ebigambo ebyo?

3. Abatume baategeera batya ebigambo bya Yesu ebikwata ku mugaati n’envinnyo?

3 Olw’okuba baali Bayudaaya, abatume bateekwa okuba nga baali bamanyi bulungi ebikwata ku ssaddaaka z’ensolo bakabona ze baawangayo eri Yakuwa mu yeekaalu e Yerusaalemi. Abayudaaya baawangayo ssaddaaka okusobola okusiimibwa Yakuwa, era nnyingi ku ssaddaaka ezo baaziwangayo okusobola okusonyiyibwa ebibi byabwe. (Leev. 1:4; 22:17-29) N’olwekyo, Yesu bwe yagamba nti omubiri gwe gwali gugenda ‘kuweebwayo ku lwabwe’ era nti n’omusaayi gwe gwali gugenda ‘kuyiibwa ku lwabwe,’ abatume baategeera nti Yesu yali agenda kuwaayo obulamu bwe obutuukiridde nga ssaddaaka. Ssaddaaka ye yandibadde ya muwendo nnyo okusinga ssaddaaka z’ensolo.

4. Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti: “Ekikopo kino kikiikirira endagaano empya ekoleddwa olw’omusaayi gwange”?

4 Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti: “Ekikopo kino kikiikirira endagaano empya ekoleddwa olw’omusaayi gwange”? Abatume baali bamanyi bulungi obunnabbi obukwata ku ndagaano empya, obuli mu Yeremiya 31:31-33. (Soma.) Ebigambo bya Yesu byalaga nti yali atandikawo endagaano eyo empya eyali egenda okudda mu kifo ky’endagaano y’Amateeka Yakuwa gye yali akoze ne Isiraeri okuyitira mu Musa. Naye waliwo akakwate konna wakati w’endagaano ezo zombi?

5. Okusinziira ku ndagaano y’Amateeka, nkizo ki Abaisiraeri gye baali baweereddwa?

5 Endagaano ezo zombi zaalina ekigendererwa kumpi kye kimu. Bwe yali atandikawo endagaano y’Amateeka, Yakuwa yagamba Abaisiraeri nti: “Bwe munaawuliranga eddoboozi lyange ddala, ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo munaabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna: kubanga ensi yonna yange: nammwe mulimbeerera o[b]wakabaka bwa bakabona, n’eggwanga ettukuvu.” (Kuv. 19:5, 6) Ebigambo ebyo byalina makulu ki eri Abaisiraeri?

EKISUUBIZO EKIKWATA KU BAKABONA ABAWEEREZA NGA BAKABAKA

6. Endagaano y’Amateeka yandiyambye kutuukiriza kisuubizo ki?

6 Abaisiraeri baali bamanyi amakulu g’ekigambo “endagaano,” kubanga Yakuwa yali yakolako endagaano ne bajjajjaabwe gamba nga Nuuwa ne Ibulayimu. (Lub. 6:18; 9:8-17; 15:18; 17:1-9) Mu ndagaano gye yakola ne Ibulayimu, Yakuwa yasuubiza Ibulayimu nti: “Mu zzadde lyo amawanga gonna ag’omu nsi mwe galiweerwa omukisa.” (Lub. 22:18) Okusobola okutuukiriza ekisuubizo ekyo, Yakuwa yakola endagaano y’Amateeka. Okuyitira mu ndagaano eyo, Abaisiraeri baali basobola okufuuka ‘ekintu kya Yakuwa ekiganzi mu mawanga gonna.’ Ekyo kyandibasobozesezza ‘okuba obwakabaka bwa bakabona’ eri Yakuwa.

7. Ebigambo “obwakabaka bwa bakabona” byali bitegeeza ki?

7 Abaisiraeri baali bamanyi bulungi emirimu gya bakabaka ne bakabona. Naye Merukizeddeeki ye musajja yekka eyaliwo mu biseera by’edda Yakuwa gwe yakkiriza okuweereza nga kabaka ate nga mu kiseera kye kimu aweereza nga kabona. (Lub. 14:18) Okuyitira mu ndagaano y’Amateeka, Yakuwa yawa eggwanga lya Isiraeri enkizo okuvaamu “obwakabaka bwa bakabona.” Ng’Ebyawandiikibwa oluvannyuma bwe byalaga, kino kyali kitegeeza nti mu ggwanga eryo mwe mwandivudde bakabona abaweereza nga bakabaka.​—1 Peet. 2:9.

8. Mirimu ki bakabona abalondebwa Katonda gye bakola?

8 Kya lwatu nti omulimu gwa kabaka kuba kufuga. Naye ate ye kabona aba na mulimu ki? Abebbulaniya 5:1 wagamba nti: “Buli kabona asinga obukulu alondebwa mu bantu okuweereza Katonda ku lwabwe asobole okuwaayo ebirabo n’ebiweebwayo olw’ebibi.” Bwe kityo, kabona aba alondeddwa Yakuwa akiikirira abantu aboonoonyi mu maaso ga Katonda. Yeegayirira Katonda okusonyiwa ebibi by’abantu ng’awaayo ssaddaaka. Ate era, kabona akiikirira Yakuwa eri abantu, ng’abayigiriza amateeka ga Katonda. (Leev. 10:8-11; Mal. 2:7) Mu kukola atyo, kabona aba ayamba abantu aboonoonyi okutabagana ne Katonda.

9. (a) Kiki Abaisiraeri kye baalina okukola okusobola okuba “obwakabaka bwa bakabona”? (b) Lwaki Yakuwa yalonda abantu abamu mu Isiraeri okuweereza nga bakabona? (c) Lwaki Abaisiraeri abaali wansi w’endagaano y’Amateeka tebaasobola kuvaamu ‘bwakabaka bwa bakabona’?

9 Endagaano y’Amateeka yawa Abaisiraeri enkizo okuvaamu bakabaka era bakabona abandiganyudde abantu ‘b’amawanga gonna.’ Naye okusobola okufuna enkizo eyo ey’ekitalo, waliwo ekintu kye baalina okukola. Baalina ‘okuwulira eddoboozi lya Katonda n’okukwata endagaano ye.’ Naye ddala Abaisiraeri bandisobodde ‘okuwulira eddoboozi’ lya Yakuwa? Yee, naye si mu ngeri etuukiridde. (Bar. 3:19, 20) Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa yalonda abantu abamu mu Isiraeri okuweereza nga bakabona. Bakabona abo tebaaweerezanga nga bakabaka. Baawangayo ssaddaaka z’ensolo okutangirira ebibi by’Abaisiraeri. (Leev. 4:1–6:7) Mu bibi ebyo mwe mwali n’ebibi bya bakabona. (Beb. 5:1-3; 8:3) Yakuwa yakkirizanga ssaddaaka ezo, naye ssaddaaka ezo zaali tezisobola kuggirawo ddala bibi by’abantu. Bakabona abaali baweerereza wansi w’endagaano y’Amateeka baali tebasobola kuyamba Baisiraeri kutabagana ne Katonda mu bujjuvu. Omutume Pawulo yagamba nti: “Omusaayi gw’ente ennume n’ogw’embuzi tegusobola kuggyawo bibi.” (Beb. 10:1-4) Olw’okuba Abaisiraeri baalemererwa okutuukiriza ebintu byonna ebyali mu Mateeka, ekyo kyabaviirako okukolimirwa. (Bag. 3:10) Bwe kityo, baali tebasobola kuweereza bantu ab’amawanga gonna nga bakabaka era bakabona.

10. Endagaano y’Amateeka yalina kigendererwa ki?

10 Kati olwo ekisuubizo kya Yakuwa ekya Isiraeri okuvaamu “obwakabaka bwa bakabona” kyali tekikyasobola kutuukirira? Nedda. Singa Abaisiraeri baafuba okugondera Yakuwa, bandisobodde okufuna enkizo eyo—naye si wansi w’Amateeka. Lwaki? (Soma Abaggalatiya 3:19-25.) Amateeka gaayamba Abaisiraeri abeesigwa obuteenyigira mu kusinza okw’obulimba. Era gaabayamba okukimanya nti baali boonoonyi era nti baali beetaaga ssaddaaka esinga ku ezo bakabona baabwe abakulu ze baawangayo. Amateeka gaali mutwazi eyandibatutte eri Kristo oba Masiya, ekitegeeza “Eyafukibwako Amafuta.” Kyokka Masiya bwe yandizze, yanditandiseewo endagaano empya nnabbi Yeremiya gye yayogerako. Abo abandikkirizza Kristo bandiyingidde mu ndagaano empya era bandifuuse “obwakabaka bwa bakabona.” Ekyo kyandisobose kitya?

ENDAGAANO EMPYA ESOBOZESA ABANTU OKUFUUKA BAKABONA ABAWEEREZA NGA BAKABAKA

11. Yesu yafuuka atya omusingi gw’obwakabaka bwa bakabona?

11 Mu mwaka gwa 29 E.E., Yesu ow’e Nazaaleesi yafuuka Masiya. Yabatizibwa nga wa myaka nga 30, era okubatizibwa kwe kwalaga nti yali mwetegefu okukola ebyo Yakuwa bye yali ayagala akole. Yakuwa yamuyita ‘Omwana we omwagalwa gw’asanyukira,’ era n’amufukako omwoyo omutukuvu. (Mat. 3:13-17; Bik. 10:38) Ekyo kyalaga nti Katonda yali amulonze okuba Kabona Asinga Obukulu ow’abantu abamukkiririzaamu n’okuba Kabaka waabwe mu biseera eby’omu maaso. (Beb. 1:8, 9; 5:5, 6) Oluvannyuma Yesu yandifuuse omusingi gw’obwakabaka bwa bakabona.

12. Miganyulo ki egyava mu ssaddaaka ya Yesu?

12 Nga Kabona Omukulu, ssaddaaka ki Yesu gye yandiwaddeyo eyandisobozesezza abantu abamukkiririzaamu okusonyiyibwa ebibi byabwe? Ebyo Yesu bye yayogera ng’atandikawo omukolo gw’okujjukira okufa kwe byalaga nti ssaddaaka eyo bwandibadde bulamu bwe obutuukiridde. (Soma Abebbulaniya 9:11, 12.) Oluvannyuma lw’okufuuka Kabona Asinga Obukulu mu 29 E.E., Yesu yakkiriza okugezesebwa era n’okutendekebwa okutuusa lwe yattibwa. (Beb. 4:15; 5:7-10) Oluvannyuma lw’okuzuukira, yagenda mu ggulu n’awaayo omuwendo gwa ssaddaaka ye eri Yakuwa. (Beb. 9:24) Okuva olwo, Yesu yali asobola okwegayirira Yakuwa ku lw’abantu abakkiririza mu ssaddaaka ye, era yali asobola okubayamba okuweereza Katonda nga balina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Beb. 7:25) Ssaddaaka ye era yasobozesa endagaano empya okutongozebwa.​—Beb. 8:6; 9:15.

13. Ssuubi ki abo abali mu ndagaano empya lye bandibadde nalyo?

13 Abo abali mu ndagaano empya nabo bandifukiddwako omwoyo omutukuvu. (2 Kol. 1:21) Mu bano mwandibaddemu Abayudaaya abeesigwa awamu n’Ab’amawanga. (Bef. 3:5, 6) Ssuubi ki abo abali mu ndagaano empya lye bandibadde nalyo? Bandisonyiyiddwa ebibi byabwe. Yakuwa yali yagamba nti: “Ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n’ekibi kyabwe sirikijjukira nate.” (Yer. 31:34) Oluvannyuma lw’okusonyiyibwa ebibi byabwe, bandisobodde okufuuka “obwakabaka bwa bakabona.” Peetero yagamba Abakristaayo abaafukibwako amafuta nti: “Mmwe muli ‘ggwanga ddonde, bakabona abaweereza nga bakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu Katonda be yeetwalidde, musobole okulangirira obulungi’ bw’oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala eky’ekitalo.” (1 Peet. 2:9) Mu lunyiriri olwo, Peetero ajuliza ebigambo Yakuwa bye yayogera eri Abaisiraeri bwe yali atandikawo endagaano y’Amateeka era n’alaga nti bikwata ne ku Bakristaayo abali mu ndagaano empya.​—Kuv. 19:5, 6.

BAKABONA ABAWEEREZA NGA BAKABAKA BAGANYULA ABANTU BONNA

14. Bakabona abaweereza nga bakabaka baweerereza wa?

14 Abo abali mu ndagaano empya baweerereza wa? Bwe baba bakyali ku nsi, ng’ekibiina, baweereza nga bakabona. Bakiikirira Yakuwa nga ‘balangirira obulungi bwe’ era nga bawa abantu be emmere ey’eby’omwoyo. (Mat. 24:45; 1 Peet. 2:4, 5) Oluvannyuma lw’okufa n’okuzuukira, baba basobola okuweereza mu bujjuvu nga bakabaka era nga bakabona nga bali wamu ne Kristo mu ggulu. (Luk. 22:29; 1 Peet. 1:3-5; Kub. 1:6) Mu kwolesebwa, omutume Yokaana yalaba ebitonde bingi eby’omwoyo nga biri kumpi n’entebe ya Yakuwa mu ggulu. Ebitonde ebyo byali biyimbira “Omwana gw’Endiga” “oluyimba oluggya,” nga bigamba nti: “N’omusaayi gwo wagulira Katonda abantu okuva mu buli kika n’olulimi n’abantu n’eggwanga, n’obafuula obwakabaka era bakabona ba Katonda waffe, era bajja kufuga ensi nga bakabaka.” (Kub. 5:8-10) Mu kwolesebwa okulala Yokaana ayogera bw’ati ku bafuzi abo: “Baliba bakabona ba Katonda era ba Kristo, era balifugira wamu naye nga bakabaka okumala emyaka lukumi.” (Kub. 20:6) Abafuzi abo awamu ne Kristo, be bakabona abaweereza nga bakabaka abajja okuganyula abantu bonna.

15, 16. Bakabona abaweereza nga bakabaka banaaganyula batya abantu?

15 Abaafukibwako amafuta 144,000 banaaganyula batya abantu abaliba ku nsi? Mu Okubikkulirwa essuula 21 boogerwako ng’ekibuga eky’omu ggulu, Yerusaalemi Ekiggya, era bayitibwa ‘omukazi w’Omwana gw’Endiga.’ (Kub. 21:9) Olunyiriri 2 okutuuka ku 4 wagamba nti: “Ne ndaba n’ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi Ekiggya, nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda nga kitegekeddwa ng’omugole alungiyiziddwa olwa bba. Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka okuva ku ntebe ey’obwakabaka nga ligamba nti: ‘Laba! Eweema ya Katonda eri wamu n’abantu, era anaabeeranga wamu nabo, era baliba bantu be. Katonda yennyini aliba wamu nabo. Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era tewalibaawo kufa nate, newakubadde kukungubaga, newakubadde okukaaba newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.’” Ng’emikisa egyo gya kitalo nnyo! Wajja kuba tewakyaliwo maziga, kukungubaga, kukaaba, na bulumi kubanga okufa kujja kuba kuweddewo. Olwo nno, abantu abeesigwa bajja kufuuka abatuukiridde era batabaganyizibwe ne Katonda mu bujjuvu.

16 Okubikkulirwa 22:1, 2 walaga emikisa emirala bakabona abo abaweereza nga bakabaka gye banaaleetera abantu. Wagamba nti: “N’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu, agatangaala ng’ejjinja erimasamasa, nga gava mu ntebe ya Katonda ey’obwakabaka n’ey’Omwana gw’Endiga ne gukulukutira mu makkati g’oluguudo olugazi [olwa Yerusaalemi Ekiggya]. Eruuyi n’eruuyi w’omugga waaliyo emiti egy’obulamu egibala ebibala emirundi kkumi n’ebiri buli mwaka, nga gibala buli mwezi. Era ebikoola by’emiti byali bya kuwonya mawanga.” Okwolesebwa okwo kulaga engeri ‘amawanga,’ oba abantu bonna gye bajja okuwonyezebwamu obutali butuukirivu bwe baasikira okuva ku Adamu. Mazima ddala, ‘ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.’

BAKABONA ABAWEEREZA NGA BAKABAKA BAMALIRIZA OMULIMU GWABWE

17. Kiki bakabona abaweereza nga bakabaka kye banaaba bamaze okukola emyaka 1,000 we ginaggwerako?

17 Emyaka 1,000 egy’obuweereza bwabwe we ginaggwerako, bakabona abaweereza nga bakabaka bajja kuba bamaze okuyamba abantu bonna okufuuka abatuukiridde. Nga Kabona Asinga Obukulu era Kabaka, Kristo ajja kuwaayo abantu abatuukiridde eri Yakuwa. (Soma 1 Abakkolinso 15:22-26.) Bakabona abaweereza nga bakabaka bajja kuba bamalirizza omulimu gwabwe.

18. Oluvannyuma lw’emyaka 1,000, Yakuwa anaakozesa atya abo abaweerereza awamu ne Kristo nga bakabona era bakabaka?

18 Oluvannyuma lw’emyaka 1,000, Yakuwa anaakozesa atya abo abaweerereza awamu ne Kristo nga bakabona era bakabaka? Okubikkulirwa 22:5 wagamba nti: “Balifuga nga bakabaka emirembe n’emirembe.” Baliba bafuga baani? Ekyo Bayibuli tekitubuulira. Naye olw’okuba bajja kuba n’obulamu obutasobola kuzikirizibwa n’omubiri ogutasobola kuvunda, era olw’okuba bajja kuba bafunye obumanyirivu oluvannyuma lw’okuyamba abantu abatatuukiridde, bajja kweyongera okuba bakabaka era Yakuwa ajja kubakozesa okutuukiriza ebigendererwa bye emirembe gyonna.

19. Kiki abo abanaabaawo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu kye bajja okujjukizibwa?

19 Bwe tunaakuŋŋaana ku Lwokuna nga Apuli 5, 2012 okujjukira okufa kwa Yesu, tujja kujjukizibwa ebintu ebyo ebikulu bye tuyize okuva mu Bayibuli. Abakristaayo abaafukibwako amafuta abakyasigaddewo ku nsi bajja kukyoleka nti bali mu ndagaano empya nga balya ku mugaati ogutazimbulukusiddwa era nga banywa ne ku nvinnyo emmyufu. Ekyo kijja kubajjukiza enkizo ez’ekitalo n’obuvunaanyizibwa bwe balina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda eky’emirembe n’emirembe. Ka ffenna tufube okubeerawo ku mukolo ogwo tusobole okulaga nti tusiima Yakuwa olwa bakabona abaweereza nga bakabaka b’alonze okuganyula abantu bonna.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Bakabona abaweereza nga bakabaka bajja kuganyula abantu emirembe gyonna

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share