OBADDE OKIMANYI?
Lwaki Nineeve eky’edda kyayitibwanga “ekibuga eky’omusaayi”?
Ekifaananyi ekiraga ng’abajaasi batuuma wamu emitwe gy’abalabe baabwe
Nineeve kye kyali ekibuga ekikulu eky’Obwakabaka bwa Bwasuli. Kyali kibuga kya maanyi nnyo, nga kirimu embiri ne yeekaalu ezirabika obulungi, enguudo engazi, era nga kyetooloddwa bbugwe ow’amaanyi. Nnabbi Nakkumu yakiyita “ekibuga eky’omusaayi.”—Nakkumu 3:1.
Yali mutuufu okukiyita bw’atyo, kubanga ebifaananyi ebyaggibwa mu lubiri lwa kabaka Sennakeribu bikiraga bulungi. Ekimu ku byo kiraga ng’omu ku basibe bamukwatidde wansi era nga bamusikamu olulimi. Ebigambo ebyayolebwanga ku mayinja biraga nti abawambe baafumitibwanga amalobo mu nnyindo oba ku mimwa ne babasika. Bwe baawambanga abakungu, baabambazanga mu bulago emitwe gya bakabaka baabwe, ne baba ng’abambadde emikuufu.
Omukugu mu byafaayo bya Bwasuli ayitibwa Archibald Henry Sayce, alaga engeri abantu b’omu kitundu ekyabanga kiwambiddwa gye baatulugunyizibwangamu. Agamba nti: “Buli kitundu kye baawambanga baatuumanga wamu emitwe gy’abantu be baabanga basse; abalenzi n’abawala baabasuulanga mu muliro nga bakyali balamu oba nga babatulugunya mu ngeri embi ennyo; abasajja baabakomereranga ku miti, baabaggyangamu amaaso, baabatemangako emikono n’ebigere, oba okubasalako ennyindo n’amatu.”
Lwaki Abayudaaya baazimbanga omuziziko waggulu ku mayumba gaabwe?
Katonda yalagira Abayudaaya nti: “Bw’ozimbanga ennyumba empya, onookolanga omuziziko ku ntikko, ng’omuntu yenna ayimye okwo n’agwa, olemenga okuleeta omusaayi ku nnyumba yo.” (Ekyamateeka 22:8) Ekyo kyabanga kya bukuumi gye bali, kubanga waliwo ebintu bye baakoleranga waggulu ku mayumba gaabwe.
Amayumba g’Abaisiraeri agasinga obungi gaabanga n’akasolya akaseeteevu. Baayoterangayo akasana, baawummulirangayo, era baakolerangayo emirimu egy’awaka. Mu biseera eby’ebbugumu, baasulanga eyo. (1 Samwiri 9:26) Ate era abalimi baayanikangayo ezzabbibu n’ettiini, oba ebirime ebirala.—Yoswa 2:6.
Okugatta ku ebyo, waggulu ku mayumba baasinzizangayo; abamu baasinzizangayo bakatonda ab’obulimba, abalala baasinzizangayo Katonda ow’amazima. (Yeremiya 19:13; Nekkemiya 8:16-18) Ng’ekyokulabirako, omutume Peetero yagenda waggulu ku nnyumba ku ssaawa nga mukaaga ez’emisana okusaba. (Ebikolwa 10:9-16) Ate era, baakolangayo ekidaala ne bakissaako ebikoola by’emizabbibu basobole okufuna ekisiikirize eky’okuwummuliramu.
Ekitabo ekiyitibwa The Land and the Book kigamba nti amayumba g’Abaisiraeri gaabangako amadaala “ebweru” agaabasobozesanga okulinnya waggulu ku mayumba. N’olwekyo omuntu yabanga asobola okukka okuva ku kasolya nga tayitidde mu nnyumba. Kino kituyamba okumanya ensonga lwaki Yesu bwe yali alabula abantu okudduka mu kibuga nga kinaatera okuzikirizibwa yagamba nti: “Oyo aliba waggulu ku nnyumba tavangayo okuggyayo ebintu mu nnyumba ye.”—Matayo 24:17.