LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 9/1 lup. 4-5
  • Lwaki Waliwo Okubonaabona Kungi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Lwaki Waliwo Okubonaabona Kungi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Similar Material
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Lwaki Tubonaabona, Tukaddiwa, era Tufa?
    Zuukuka!—2021
  • Lwaki Katonda Aleseewo Okubonaabona?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Ani Avunaanyizibwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 9/1 lup. 4-5
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]

Lwaki Waliwo Okubonaabona Kungi?

Okusobola okumanya ensonga lwaki waliwo okubonaabona kungi era na lwaki abantu balemereddwa okukumalawo, twetaaga okutegeera ebyo byennyini ebiviirako abantu okubonaabona. Wadde ng’abantu bangi tebabimanyi, tuli basanyufu nti Bayibuli etuyamba okubimanya. Mu kitundu kino tugenda kwetegereza ebintu ebikulu bitaano ebiviirako abantu okubonaabona. Tukukubiriza weetegereze engeri Ekigambo kya Katonda, Bayibuli, gye kituyambamu okubimanya.​—2 Timoseewo 3:16.

GAVUMENTI EMBI

Bayibuli egamba nti: “Omuntu omubi bw’afuga, abantu basinda.”​—Engero 29:2.

Wazze wabaawo abafuzi bannaakyemalira, ekiviiriddeko abantu be bafuga okubonaabona. Kyo kituufu nti abafuzi bonna si babi. Abamu bayinza okuba n’ekigendererwa eky’okuyamba abantu. Kyokka bwe bajja mu buyinza, abo be bakola nabo oba abo ababavuganya babalemesa okutuukiriza ebigendererwa byabwe. Oba abafuzi bayinza okukozesa obubi obuyinza bwabwe ne kiviirako abantu okubonaabona. Henry Kissinger eyali minisita wa Amerika ow’ensonga ez’ebweru yagamba nti: “Ebyafaayo biraga nti abafuzi bangi bafubye okutuukiriza ebigendererwa byabwe naye ne balemererwa.”

Bayibuli nayo egamba nti: “Tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.” (Yeremiya 10:23) Abantu abatatuukiridde tebalina busobozi na magezi ebyetaagisa okusobola okugonjoola ebizibu byabwe. Abantu abatasobola kugonjoola bizibu byabwe ku bwabwe, ddala basobola okugonjoola ebizibu by’abantu be bafuga? Olaba ensonga lwaki abafuzi b’ensi tebasobola kuggyawo kubonaabona? Mu butuufu, emirundi mingi gavumenti embi ze zireetera abantu okubonaabona!

AMADIINI AG’OBULIMBA

Yesu yagamba nti: “Ku kino bonna kwe bajja okutegeerera nti muli bayigirizwa bange bwe munaayagalananga.”​—Yokaana 13:35.

Abakulembeze ba buli ddiini babuulira ku bikwata ku kwagalana n’okuba obumu. Naye ekituufu kiri nti balemereddwa okuyamba abagoberezi baabwe okuba n’okwagala okwa nnamaddala okwandibayambye obutaba basosoze. Amadiini galeetedde abagoberezi baago awamu n’amawanga okuba n’enjawukana, obukyayi, n’obukuubagano. Mu kitabo kye ekiyitibwa Christianity and the World Religions, Hans Küng anoonyereza ku by’eddiini yawandiika nti: “Entalo ezikyasinze okuba ez’omutawaana z’ezo eziwagiddwa amadiini.”

Okugatta ku ekyo, abakulembeze b’amadiini bangi bakiraze nti bawagira obwenzi n’okulya ebisiyaga. Kino kiviiriddeko endwadde okusaasaana, abantu okufuna embuto ze bateeyagalidde, okuggyamu embuto, amaka okusasika, n’ebizibu ebirala bingi.

ABANTU TEBATUUKIRIDDE ERA BALINA OKWEGOMBA OKUBI

“Buli muntu agezesebwa ng’atwalirizibwa era ng’asendebwasendebwa okwegomba kwe. Oluvannyuma okwegomba bwe kuba olubuto kuzaala ekibi.”​—Yakobo 1:14, 15.

Olw’okuba tetutuukiridde, ffenna tukola ensobi era tulina okufuba ennyo okusobola okwewala ‘okukola ebintu omubiri bye gwagala.’ (Abeefeso 2:3) Kiyinza okutubeerera ekizibu okuziyiza ekikemo naddala bwe tuba tufunye akakisa okukola ekintu kye tubadde twegomba okukola. Singa tukola ekintu ekibi, ebivaamu tebiba birungi.

Omuwandiisi w’ebitabo ayitibwa P. D. Mehta yawandiika nti: “Okubonaabona kungi kuvudde ku kwegomba kwaffe okubi, okwagala ennyo eby’amasanyu, omululu, n’okwefaako.” Emize emibi gamba ng’okunywa ennyo omwenge, okukozesa ebiragalalagala, okukuba zzaala, n’obuseegu, byonoonye abantu bangi ab’obuvunaanyizibwa era biviiriddeko ab’omu maka gaabwe, mikwano gyabwe, n’abantu abalala okubonaabona. Bayibuli egamba nti: “Buli omu asobola okukiraba obulungi nti mu kiseera kino ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu.”​—Abaruumi 8:22, The New Testament in Modern English, eyavvuunulwa J. B. Phillips.

EMYOYO EMIBI

Bayibuli eraga nti Sitaani ye “katonda ow’enteekateeka y’ebintu eno” era nti akolera wamu n’emwoyo emibi era egy’amaanyi egiyitibwa dayimooni.​—2 Abakkolinso 4:4; Okubikkulirwa 12:9.

Okufaananako Sitaani, dayimooni nazo zibuzaabuza abantu. Omutume Pawulo yakakasa ensonga eyo bwe yagamba nti: “Tetumeggana na musaayi na mubiri, naye tumeggana n’obufuzi, n’obuyinza, n’abafuzi b’ensi ab’ekizikiza kino, n’emyoyo emibi egiri mu bifo eby’omu ggulu.”​—Abeefeso 6:12.

Wadde nga dayimooni zinyumirwa nnyo okubonyaabonya abantu, ekigendererwa kyazo ekikulu kwe kuggya abantu ku Yakuwa Katonda, oyo Ali Waggulu Ennyo. (Zabbuli 83:18) Obufuusa, obulogo, n’obulaguzi bye bimu ku bintu dayimooni bye zikozesa okubuzaabuza abantu. Yakuwa ky’ava atulabula obuteenyigira mu bintu ng’ebyo eby’akabi era n’asuubiza okuwa obukuumi abo bonna abaziyiza Sitaani ne dayimooni.​—Yakobo 4:7.

TULI MU “NNAKU EZ’OLUVANNYUMA”

Emyaka ng’enkumi bbiri emabega, Bayibuli yagamba nti: “Tegeera kino nti mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo ebiseera ebizibu.”

Ng’eraga ekyandifudde ebiseera bino okuba ebizibu, yagattako nti: “Kubanga abantu baliba beeyagala bokka, nga baagala nnyo ssente, nga beepanka, nga ba malala, . . . nga tebaagala ba luganda, nga tebakkiriza kukkaanya, nga bawaayiriza, nga tebeefuga, nga bakambwe, nga tebaagala bulungi, nga ba nkwe, nga bakakanyavu, nga beegulumiza, nga baagala eby’amasanyu okusinga Katonda.” Mu butuufu, ensonga esinga obukulu lwaki waliwo okubonaabona eri nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma.”​—2 Timoseewo 3:1-4.

Okusinziira ku nsonga ze tulabye, tekyeyoleka kaati nti abantu ne bwe baba n’ebigendererwa ebirungi tebasobola kumalawo kubonaabona? Kati olwo, ani asobola okukomya okubonaabona? Ye mutonzi waffe asuubizza “okuggyawo ebikolwa by’Omulyolyomi” n’abo abali ku ludda lw’Omulyolyomi. (1 Yokaana 3:8) Ekitundu ekiddako kigenda kulaga ekyo Katonda ky’ajja okukola okusobola okuggyawo ebintu byonna ebireetera abantu okubonaabona.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share