LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 9/1 lup. 13
  • “Katonda Ayagala Oyo Agaba n’Essanyu”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Katonda Ayagala Oyo Agaba n’Essanyu”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Similar Material
  • Bayibuli Eyogera Ki ku Kugaba?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Kirage Nti Oyagala Katonda
    Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
  • Yakuwa Ayagala Oyo Agaba n’Essanyu
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Okunoonya Ekirabo Ekisinga Obulungi
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 9/1 lup. 13

SEMBERERA KATONDA

“Katonda Ayagala Oyo Agaba n’Essanyu”

Kirabo kya ngeri ki ekiyinza okukusanyusa ennyo? Awatali kubuusabuusa, ffenna tusanyuka nnyo singa omuntu atuwa ekirabo nga yeeyagalidde so si lwa kuba awaliriziddwa buwalirizibwa. Ekigendererwa omuntu ky’aba nakyo ng’atuwa ekirabo kiba kikulu nnyo gye tuli. N’okusingira ddala, kiba kikulu nnyo eri Katonda. Weetegereze ebigambo omutume Pawulo bye yaluŋŋamizibwa okuwandiika ebiri mu 2 Abakkolinso 9:7.

Lwaki Pawulo yawandiika ebigambo ebiri mu kyawandiikibwa ekyo? Yali akubiriza Abakristaayo ab’omu Kkolinso okuwaayo basobole okuyamba bakkiriza bannaabwe abaali mu bwetaavu. Yabakaka okuwaayo? Nedda, kubanga yabawandiikira nti: “Buli muntu akole nga bw’amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaku oba olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.” Ka twetegereze ebigambo ebyo.

“Nga bw’amaliridde mu mutima gwe.” Pawulo alaga nti Omukristaayo ow’amazima agaba olw’okuba aba asazeewo “mu mutima gwe.” Takoma bukomi ku kumanya obwetaavu bakkiriza banne bwe balimu. Omuwandiisi w’ebitabo omu agamba nti ekigambo ekyavvuunulwa “nga bw’amaliridde” kiyinza okutegeeza “okulowooza ku ky’okukola nga bukyali.” N’olwekyo Omukristaayo ng’oyo alowooza nnyo ku bakkiriza banne abali mu bwetaavu era ne yeebuuza engeri gy’ayinza okubayambamu.​—1 Yokaana 3:17.

“Si lwa nnaku oba olw’okuwalirizibwa.” Pawulo ayogera ku ngeri bbiri ez’okugaba Abakristaayo ab’amazima ze balina okwewala; okugaba nga si basanyufu, n’okugaba nga bawaliriziddwa.” Ekitabo ekimu ekinnyonnyola amakulu g’ebigambo ebiri mu Bayibuli kigamba nti omuntu agaba olw’ennaku agaba “ng’alina enyiike ku mutima olw’okuba agenda kuwaayo ssente ze.” Ate oyo agaba ng’awaliriziddwa akikola nga teyeeyagalidde. Ani ku ffe eyandyagadde omuntu ng’oyo amuwe ekirabo?

“Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.” Omutume Pawulo agamba nti Omukristaayo bw’asalawo okugaba, asaanidde okugaba nga musanyufu. Mu butuufu, omuntu bw’agaba ng’alina ekigendererwa ekirungi, afuna essanyu. (Ebikolwa 20:35) Omuntu bw’agaba nga musanyufu, abalala basobola okukiraba. Takoma ku kuwulira mu mutima gwe nti musanyufu, naye essanyu lye lyeyoleka ne ku maaso. Omuntu ng’oyo atusanyusa, era asanyusa ne Katonda. Enkyusa endala eya Bayibuli egamba nti: “Katonda ayagala nnyo abantu abaagala okugaba.”​—Contemporary English Version.

Ebigambo by’omutume Pawulo ebyo ebyaluŋŋamizibwa biyamba Abakristaayo okumanya endowooza gye basaanidde okuba nayo ku kugaba. Ka kibe nti tuwaayo biseera byaffe, amaanyi gaffe, oba ebintu byaffe, ka tukikole nga tuli basanyufu, era olw’okuba twagala okuyamba abalala, naddala abo abali mu bwetaavu. Okugaba okw’engeri eyo kujja kutuleetera essanyu lingi era kujja kutufuula mikwano gya Katonda, kubanga Katonda “ayagala oyo agaba n’essanyu.”

Essuula za Bayibuli z’Oyinza Okusoma mu Ssebutemba

1 ne 2 Abakkolinso

“Katonda ayagala nnyo abantu abaagala okugaba”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share