EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | DDALA KATONDA TUMWETAAGA?
Kiki Ekireetawo Ekibuuzo Ekyo?
‘Abantu bukadde na bukadde bali bulungi wadde nga tebakkiririza mu Katonda.’ Ebyo bye bigambo abantu abatakkiririza mu Katonda bye baateeka ku kipande eky’oku luguudo mu nsi emu. Abantu ng’abo muli bawulira nti tebeetaaga Katonda.
Ku luuyi olulala, abantu bangi abagamba nti bakkiririza mu Katonda beeyisa ng’abatamukkiririzaamu. Ssaabalabirizi Omukatuliki ayitibwa Salvatore Fisichella, yagamba abantu b’omu kkanisa ye nti: “Omuntu ayinza okulowooza nti tetuli Bakristaayo olw’okuba tweyisa ng’abatali bakkiriza.”
Abamu tebeefiirayo ku Katonda. Balowooza nti tatuukirikika era nti si wa mugaso gye bali. Kyokka bwe bafuna ekizibu oba bwe baba ne kye beetaaga, lwe bamusaba nga baagala abayambe.
Abalala tebakolera ku ebyo eddiini zaabwe bye zibayigiriza, oboolyawo olw’okuba balowooza nti tebibagasa. Ng’ekyokulabirako, okunoonyereza okwakolebwa kulaga nti Abakatuliki 76 ku buli kikumi mu Bugirimaani balowooza nti si kikyamu omusajja n’omukazi okubeera awamu nga tebannafumbiriganwa, ekikontana n’ekyo eddiini yaabwe ky’eyigiriza era ne Bayibuli ky’eyigiriza. (1 Abakkolinso 6:18; Abebbulaniya 13:4) Abakulembeze b’eddiini y’Ekikatuliki si be bokka abakiraba nti abagoberezi baabwe tebakolera ku ebyo bye babayigiriza. Abakulembeze b’amadiini mangi bagamba nti abagoberezi baabwe beeyisa ng’abantu abatakkiririza mu Katonda.
Ebyokulabirako ng’ebyo bireetawo ekibuuzo kino: Ddala twetaaga Katonda? Ensonga eyo si mpya. Ekitabo ekisooka mu Bayibuli kiraga nti yasooka kubalukawo mu lusuku Adeni. Okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo, ka twetegereze ensonga eziwerako ezoogerwako mu kitabo ky’Olubereberye.