Biki Bye Tuyiga Mu Bayibuli?
Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
ABANTU ABAMU BAGAMBA NTI Obwakabaka bwa Katonda buli mu mitima gy’abantu; ate abalala balowooza nti abantu bwe banaaleeta emirembe ku nsi, awo bujja kuba bufuga. Ggwe olowooza otya?
BAYIBULI KY’EGAMBA
“Mu biseera bya bakabaka abo, Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa. . . . Bulibetenta era bulizikiriza obwakabaka [bw’abantu] bwonna.” (Danyeri 2:44) Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya ddala.
EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI
- Obwakabaka bwa Katonda bufugira mu ggulu.—Matayo 10:7; Lukka 10:9. 
- Katonda akozesa Obwakabaka obwo okutuukiriza by’ayagala mu ggulu ne ku nsi.—Matayo 6:10. 
Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?
OLOWOOZA OTYA?
- Tewali amanyi 
- Bunaatera okujja 
- Tebulijja 
BAYIBULI KY’EGAMBA
“Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14) Amawulire amalungi bwe ganaamala okubuulirwa mu bujjuvu, Obwakabaka bwa Katonda bujja kujja buggyewo omulembe guno omubi.
EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI
- Tewali muntu yenna amanyi kiseera Obwakabaka bwa Katonda lwe bunajja.—Matayo 24:36. 
- Obunnabbi obuli mu Bayibuli bulaga nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okujja.—Matayo 24:3, 7, 12.