Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Kiba kirungi Abajulirwa ba Yakuwa okubunyisa emboozi ze baakwata ku butambi oba ebyo bye baawandiika nga baziwuliriza?
Bwe tuwuliriza okwogera okwesigamiziddwa ku Baibuli tunywezebwa nnyo era ne tuzzibwamu amaanyi. (Bik. 15:32) N’olwekyo, tuyinza okuwulira nga twagala okugabanako n’abalala abataaliwo obubaka obwo. Olw’okuba waliwo ebintu eby’enjawulo ebikwata amaloboozi ebikoleddwa, okwogera kuyinza okukwatibwa ku butambi era ne kusaasaanyizibwa mu kaseera katono nnyo. Abamu balina emboozi ezitali zimu ezaakwatibwa ku butambi nga mw’otwalidde n’ezo ezaaweebwa emyaka mingi egiyise, era obutambi obwo babwazika oba okukoleramu mikwano gyabwe bu kopi obulala nga tebalina kigendererwa kibi. Abalala bagguddewo emikutu gya internet era ne bateekako emboozi ng’ezo omuntu yenna kw’asobola okuzifuna.
Awatali kubuusabuusa, si kibi okukwata emboozi ku butambi bwe kiba nti ffe ffennyini oba ab’omu maka gaffe be bagenda okuzikozesa. Okugatta ku ekyo, abakadde bayinza okukola enteekateeka emboozi ne zikwatiibwa ku butambi olw’abo abatasobola kubaawo mu nkuŋŋaana olw’obulwadde. Kyokka, waliwo ensonga nnyingi lwaki tetusaanidde kubunyisa mboozi ezaakwatibwa ku butambi oba ebyo bye twawandiika nga tuziwuliriza.
Olw’okuba emboozi zitera okuweebwa okusinziira ku byetaago by’ekibiina oba eby’ekitundu, kyangu nnyo okutegeera mu bukyamu bye tuba tuwuliriza ku butambi, olw’okuba tuba tetumanyi nsonga lwaki okwogera okwo kwaweebwa. Okugatta ku ekyo, kiyinza obutatubeerera kyangu kumanya oyo yennyini eyawa emboozi na ddi lwe yagiwa, okusobola okukakasa nti obubaka obwo butuufu. (Luk. 1:1-4) N’ekirala, okubunyisa emboozi ezaakwatibwa ku butambi oba ebyo bye twawandiika nga tuziwuliriza kiyinza okuleetera abamu okwegulumiza oba okugulumizibwa.—1 Kol. 3:5-7.
Omuddu omwesigwa era ow’amagezi akola butaweera okutuwa emmere ey’eby’omwoyo ‘etumala’ era mu “kiseera ekituufu.” (Luk. 12:42) Kino kizingiramu enteekateeka z’emboozi eziweebwa mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa n’ebyo ebyakwatibwa ku butambi ebisobola okufunibwa okuva ku mukutu gwabwe ogwa internet omutongole oguyitibwa jw.org. Tuli bakakafu nti omuddu omwesigwa era ow’amagezi awamu n’Akakiiko Akafuzi akamukiikirira, ajja kutuwa bye twetaaga okusobola okubeera abanywevu mu kukkiriza.—Bik. 16:4, 5.