Engeri Gye Tuyinza Okukozesaamu eby’Okuwuliriza Ebiri ku Mukutu Gwaffe
1. Ng’oggyeeko eby’okusoma, bintu ki ebirala ebiri ku mukutu gwaffe?
1 Abantu bangi bakozesa omukutu jw.org okusoma ebigambo ebituufu era eby’amazima. (Mub. 12:10) Naye, wali okozesezzaako eby’okuwuliriza ebiri ku mukutu ogwo? Waliwo bingi bye tusobola okuyiga bwe tukozesa eby’okuwuliriza ebiri ku mukutu gwaffe. Eby’okuwuliriza ebyo biyinza kutuganyula bitya?
2. Tuyinza tutya okukozesa eby’okuwuliriza nga twesomesa oba nga tuli mu kusinza kw’amaka?
2 Mu Kwesomesa Oba mu Kusinza kw’Amaka: Bwe tuwuliriza Bayibuli, magazini, oba ekitabo kyonna nga tuli ku lugendo oba nga tukola emirimu gyaffe tuba tukozesa bulungi ebiseera byaffe. (Bef. 5:15, 16) Mu kusinza kwaffe okw’amaka, tusobola okukyusakyusaamu ne tussaako ekitabo ekyasomebwa era ne tugoberera mu kopi zaffe. Okukozesa eby’okuwuliriza kya muganyulo nnyo nga twesomesa, naddala bwe tuba twagala okubeera abasomi abalungi oba nga tuyiga olulimi olulala.
3. Baani abasobola okuganyulwa mu by’okuwuliriza mu kitundu kye tubuuliramu?
3 Bye Tuyinza Okukozesa mu Buweereza: Abantu mu kitundu kye tubuuliramu abagamba nti tebalina budde bwa kusoma, bayinza okukkiriza ebintu eby’okuwuliriza. Oba tuyinza okusanga abantu aboogera olulimi lwe tutamanyi naye nga basobola okuwuliriza singa tubabuulira amawulire amalungi nga tukozesa eby’okuwuliriza ebiri mu ‘lulimi lwabwe.’ (Bik. 2:6-8) Mu bitundu ebimu, abantu bayiga nga bayitira mu kuwuliriza. Ng’ekyokulabirako, abantu b’eggwanga eriyitibwa Hmong bayamba abaana baabwe okumanya ebikwata ku buwangwa bwabwe nga babanyumiza ebyafaayo by’eggwanga lyabwe. Abaana abo tebatera kwerabira ebyo ebiba bibabuuliddwa. Mu mawanga mangi mu Afirika, abantu bayiga okuyitira mu ngero.
4. Tuyinza kukozesa tutya eby’okuwuliriza okuyamba abantu abali mu kitundu kye tubuuliramu?
4 Bw’oba obuulira n’osanga omuntu ayogera olulimi olulala, muteereko eky’okuwuliriza ekiri mu lulimi lwe. Oba oyinza okusindikira omuntu asiimye obubaka bwaffe ekitabo eky’okuwuliriza ng’okozesa e-mail. Ate era, osobola okuwanula ekitabo eky’okuwuliriza n’okissa ku CD n’ogiwa omuntu asiimye obubaka bwaffe, oboolyawo n’omuweerako n’ekitabo kyennyini. Ekitabo ekiramba, brocuwa, magazini, oba tulakiti eby’okuwuliriza oba okusoma by’owanula n’obiwa omuntu osobola okubiwandiika ku lipooti y’obuweereza. Ebintu eby’okuwuliriza bitegekebwa okutuyamba mu kwesomesa ne mu kusiga ensigo z’Obwakabaka.—1 Kol. 3:6.