EBINAAKUYAMBA MU KWESOMESA
Ebinaakuyamba Okusoma Bayibuli Buli Lunaku
Oluusi kikuzibwalira okusoma Bayibuli buli lunaku olw’eby’okukola ebingi by’oyinza okuba nabyo? (Yos. 1:8) Bwe kiba kityo, ebintu bino wammanga bisobola okukuyamba:
Ssaawo ebikujjukiza buli lunaku. Tega alamu mu ssimu yo ekujjukize okusoma Bayibuli.
Teeka Bayibuli yo w’osobola okugirabira. Bw’oba okozesa Bayibuli enkube mu kyapa, giteeke w’osobola okugirabira buli lunaku.—Ma. 11:18.
Wuliriza Bayibuli eyasomebwa mu maloboozi. Wuliriza Bayibuli eyasomebwa ng’okola emirimu gyo. Mwannyinaffe Tara akola mu budde bw’ekiro, alina abaana, era aweereza nga payoniya agamba nti: “Bwe mba nkola emirimu gyange egy’awaka, mpuliriza Bayibuli eyasomebwa. Ekyo kinnyamba okuganyulwa mu ebyo ebiri mu Bayibuli buli lunaku.”
Toggwaamu maanyi. Embeera bw’etakusobozesa kusoma Bayibuli nga bwe wateekateeka, somayo waakiri ennyiriri ntonotono nga tonneebaka. Ne bw’osoma ennyiriri ntono buli lunaku, ojja kuganyulwa nnyo.—1 Peet. 2:2.