OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okozesa Bulungi Bayibuli ey’Okuwuliriza Eri ku Mukutu?
Bayibuli ey’okuwuliriza eri ku mukutu. Ku mukutu gwaffe kuliko Bayibuli, Enkyusa ey’Ensi Empya, ey’okuwuliriza. Mu nnimi nnyingi egenda efulumizibwa ku mukutu gwaffe mu bitundutundu. Ekimu ku bintu ebirungi ekiri ku Bayibuli eyo kiri nti, abantu ab’enjawulo baakozesebwa okusoma ebyo ebyayogerwa oba ebyakolebwa abantu abatali bamu aboogerwako mu Bayibuli. Yasomebwa mu ngeri eggyayo enneewulira n’amakulu g’ebyo ebyogerwako.
Bangi baganyuddwa batya mu kuwuliriza Bayibuli eri ku mukutu? Bangi bakwatiddwako nnyo olw’engeri gye yasomebwamu. Bwe bagiwuliriza ng’esomebwa mu maloboozi ag’enjawulo, kibayamba okukuba akafaananyi n’okutegeerera ddala amakulu g’ebyo ebyogerwako. (Nge 4:5) Ate abalala bagamba nti bwe bagiwuliriza nga balina ebibeeraliikiriza, kibaleetera okuwulira obulungi.—Zb 94:19.
Tukwatibwako nnyo bwe tuwulira Ekigambo kya Katonda nga kisomebwa mu ddoboozi eriwulikika. (2By 34:19-21) Bwe kiba nti waliwo Bayibuli ey’okuwuliriza eri mu lulimi lwo, lwaki tokifuula kiruubirirwa kyo okugiwulirizanga?
MULABE EKITUNDU EKYAGGIBWA MU VIDIYO OKUFULUMIZIBWA KWA BAYIBULI EY’OKUWULIRIZA, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU KIBUUZO KINO:
Kiki ekikukutteko ku ngeri omulimu gw’okufulumya Bayibuli ey’okuwuliriza gye gukolebwamu?