LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp20 Na. 3 lup. 11
  • Emikisa Abo Abagondera Katonda Gye Bajja Okufuna

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Emikisa Abo Abagondera Katonda Gye Bajja Okufuna
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Subheadings
  • Similar Material
  • 1. BWE TUGONDERA KATONDA TUFUUKA ABANTU AB’AMAGEZI
  • 2. BWE TUGONDERA KATONDA TUBA BASANYUFU
  • Okwagala kwa Katonda kwa Lubeerera
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • ‘Okwagala Katonda kye Kitegeeza’
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Oli ‘Muwulize’?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • “Nze Ndi mu Kifo kya Katonda?”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
wp20 Na. 3 lup. 11
Ab’omu maka basanyufu. Maama afumba emmere n’omu ku bawala be. Taata ali n’omwana omulala mu ddiiro nga balaba ebifaananyi.

Tusobola okuba abasanyufu bwe tugondera Katonda

Emikisa Abo Abagondera Katonda Gye Bajja Okufuna

Nnabbi Musa yagamba nti bwe tugondera Katonda, Katonda ajja kutuwa emikisa. (Ekyamateeka 10:13; 11:27) Tetugondera Katonda olw’okuba tutya nti ajja kutubonereza. Engeri ennungi Katonda z’alina zituleetera okumugondera olw’okuba tumwagala era tetwagala kukola kintu kyonna kiyinza kumunyiiza. “Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye.”​—1 Yokaana 5:3.

Naye okugondera Katonda kiyinza kutuganyula kitya?

1. BWE TUGONDERA KATONDA TUFUUKA ABANTU AB’AMAGEZI

“Nze Yakuwa, nze Katonda wo, akuyigiriza osobole okuganyulwa, akukulembera mu kkubo ly’osaanidde okukwata.”​—ISAAYA 48:17.

Yakuwa, Omutonzi waffe, atumanyi bulungi era atuwa obulagirizi bwe twetaaga. Bwe tuba twagala ebyo by’atuyigiriza bituyambe okusalawo obulungi, tulina okusoma Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ne tumanya by’ayagala tukole era ne tubikola.

2. BWE TUGONDERA KATONDA TUBA BASANYUFU

“Abalina essanyu beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako!”​—LUKKA 11:28.

Leero, abantu bangi bakolera ku Kigambo kya Katonda era basanyufu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku musajja omu abeera mu Sipeyini, eyali omukambwe ennyo era eyayisanga obubi abalala, nga mw’otwalidde ne mukyala we. Lumu yasoma ku Yusufu mutabani wa Yakobo, mu kimu ku bitabo nnabbi Musa bye yawandiika. Yusufu yatundibwa mu buddu, baamuyisa bubi, era yasibibwa mu kkomera; kyokka, yasigala mukkakkamu, era yasonyiwa abo abaamuyisa obubi. (Olubereberye, essuula 37-45) Omusajja oyo yagamba nti: “Okufumiitiriza ku kyokulabirako kya Yusufu kyannyamba okuba omuntu omukkakkamu, ow’ekisa, era n’okuyiga okwefuga. Era kati ndi musanyufu.”

Mu Byawandiikibwa Ebitukuvu mulimu obulagirizi obulala obukwata ku ngeri gye tusaanidde okuyisaamu abalala. Ka tulabe ensonga eyo mu bujjuvu mu kitundu ekiddako.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share