LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 22
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Obubaka eri bakabaka ababi (1-30)

        • Eri Salumu (10-12)

        • Eri Yekoyakimu (13-23)

        • Eri Koniya (24-30)

Yeremiya 22:3

Footnotes

  • *

    Oba, “ajja kuwonawo.”

Marginal References

  • +Lev 19:15; Is 1:17; Ezk 22:7; Mi 2:2
  • +2Sk 24:3, 4; Yer 7:6, 7

Yeremiya 22:4

Marginal References

  • +1Sk 2:12
  • +Yer 17:24, 25

Yeremiya 22:5

Marginal References

  • +Yer 39:8; Mi 3:12

Yeremiya 22:6

Marginal References

  • +Is 6:11; Yer 7:34

Yeremiya 22:7

Footnotes

  • *

    Oba, “omwana yenna enfuuzi.”

Marginal References

  • +Ezk 9:1
  • +Yer 21:14

Yeremiya 22:8

Marginal References

  • +Ma 29:24-26; 1Sk 9:8, 9; Kuk 2:15

Yeremiya 22:9

Marginal References

  • +2Sk 22:16, 17

Yeremiya 22:11

Footnotes

  • *

    Obut., “kutukuza.”

Marginal References

  • +1By 3:15; 2By 36:1
  • +2Sk 23:29, 30

Yeremiya 22:12

Marginal References

  • +2Sk 23:34; 2By 36:4

Yeremiya 22:13

Marginal References

  • +Lev 19:13; Mi 3:9, 10

Yeremiya 22:15

Marginal References

  • +2Sk 22:1, 2; 23:23, 25

Yeremiya 22:18

Marginal References

  • +2Sk 23:34; 2By 36:4

Yeremiya 22:19

Marginal References

  • +Yer 36:30
  • +2By 36:5, 6

Yeremiya 22:20

Marginal References

  • +Ma 32:49
  • +2Sk 24:7

Yeremiya 22:21

Marginal References

  • +Yer 2:31; 6:16
  • +Ma 9:7; Bal 2:11

Yeremiya 22:22

Marginal References

  • +Yer 23:1; Ezk 34:2

Yeremiya 22:23

Footnotes

  • *

    Era ayitibwa Yekoyakazi.

Marginal References

  • +Yer 22:6
  • +Is 2:12, 13
  • +Yer 4:31; 6:24

Yeremiya 22:24

Footnotes

  • *

    Obut., “Ebisa.”

Marginal References

  • +2Sk 24:6; Yer 22:28; 37:1; Mat 1:11
  • +2Sk 23:34

Yeremiya 22:25

Footnotes

  • *

    Era ayitibwa Yekoyakini oba Yekoniya.

Marginal References

  • +2Sk 24:12, 15; 2By 36:9, 10; Yer 24:1; 29:1, 2

Yeremiya 22:27

Marginal References

  • +Yer 52:31-34

Yeremiya 22:28

Marginal References

  • +1By 3:17, 18

Yeremiya 22:30

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.

Marginal References

  • +2By 36:9, 10; Yer 36:30; Mat 1:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 10-11

General

Yer. 22:3Lev 19:15; Is 1:17; Ezk 22:7; Mi 2:2
Yer. 22:32Sk 24:3, 4; Yer 7:6, 7
Yer. 22:41Sk 2:12
Yer. 22:4Yer 17:24, 25
Yer. 22:5Yer 39:8; Mi 3:12
Yer. 22:6Is 6:11; Yer 7:34
Yer. 22:7Ezk 9:1
Yer. 22:7Yer 21:14
Yer. 22:8Ma 29:24-26; 1Sk 9:8, 9; Kuk 2:15
Yer. 22:92Sk 22:16, 17
Yer. 22:111By 3:15; 2By 36:1
Yer. 22:112Sk 23:29, 30
Yer. 22:122Sk 23:34; 2By 36:4
Yer. 22:13Lev 19:13; Mi 3:9, 10
Yer. 22:152Sk 22:1, 2; 23:23, 25
Yer. 22:182Sk 23:34; 2By 36:4
Yer. 22:19Yer 36:30
Yer. 22:192By 36:5, 6
Yer. 22:20Ma 32:49
Yer. 22:202Sk 24:7
Yer. 22:21Yer 2:31; 6:16
Yer. 22:21Ma 9:7; Bal 2:11
Yer. 22:22Yer 23:1; Ezk 34:2
Yer. 22:23Yer 22:6
Yer. 22:23Is 2:12, 13
Yer. 22:23Yer 4:31; 6:24
Yer. 22:242Sk 24:6; Yer 22:28; 37:1; Mat 1:11
Yer. 22:242Sk 23:34
Yer. 22:252Sk 24:12, 15; 2By 36:9, 10; Yer 24:1; 29:1, 2
Yer. 22:27Yer 52:31-34
Yer. 22:281By 3:17, 18
Yer. 22:302By 36:9, 10; Yer 36:30; Mat 1:12
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 22:1-30

Yeremiya

22 Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Genda mu lubiri lwa kabaka wa Yuda omutuuseeko obubaka buno. 2 Mugambe nti, ‘Wulira ekigambo kya Yakuwa, ggwe kabaka wa Yuda atuula ku ntebe ya Dawudi, ggwe n’abaweereza bo, n’abantu bo, abo abayingirira mu miryango gino. 3 Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Mukole eby’obwenkanya n’eby’obutuukirivu. Mununule anyagiddwa mu mukono gw’omunyazi. Temuyisa bubi mugwira yenna, era temukola kabi ku nnamwandu wadde omwana yenna atalina kitaawe.*+ Ate era temuyiwa musaayi gw’abantu abatalina musango mu kifo kino.+ 4 Bwe munaafuba okukolera ku kigambo kino, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi+ bajja kuyingirira mu miryango gy’olubiri luno, nga bali mu magaali era nga beebagadde embalaasi, bo n’abaweereza baabwe n’abantu baabwe.”’+

5 “‘Naye bwe mutaakolere ku bigambo bino,’ Yakuwa bw’agamba, ‘ndayira nti olubiri luno lujja kufuuka matongo.’+

6 “Kubanga bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku lubiri lwa kabaka wa Yuda,

‘Olinga Gireyaadi gye ndi,

Olinga entikko ya Lebanooni.

Naye nja kukufuula ddungu;

Tewali kibuga kyo na kimu kijja kubeeramu muntu.+

 7 Ate era nja kussaawo* abanaakuzikiriza,

Nga buli omu alina eby’okulwanyisa bye.+

Bajja kutema emiti gyo egy’entolokyo egisingayo obulungi

Bagisuule mu muliro.+

8 “‘Abantu ab’amawanga mangi bajja kuyita ku kibuga kino buli omu abuuze munne nti: “Lwaki ekibuga kino ekikulu Yakuwa yakituusa ku kino?”+ 9 Bajja kuddamu nti: “Olw’okuba baava ku ndagaano ya Yakuwa Katonda waabwe ne bavunnamira bakatonda abalala era ne babaweereza.”’+

10 Temukaabira afudde,

Era temumulumirirwa.

Wabula oyo agenda mu buwaŋŋanguse gwe muba mukaabira ennyo,

Olw’okuba tajja kudda kulaba nsi mwe yazaalibwa.

11 “Kubanga bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku Salumu*+ kabaka wa Yuda, mutabani wa Yosiya, eyasikira kitaawe Yosiya+ ku bwakabaka, era eyava mu kifo kino n’agenda: ‘Si wa kudda. 12 Ajja kufiira gye bamututte mu buwaŋŋanguse, era tajja kuddamu kulaba nsi eno.’+

13 Zimusanze oyo azimba ennyumba ye ng’ayitira mu makubo amakyamu

Era azimba ebisenge bye ebya waggulu mu butali bwenkanya,

Akozesa munne ku bwereere,

Era agaana okumusasula empeera ye;+

14 Oyo agamba nti, ‘Nja kwezimbira ennyumba ennene

Ng’erina ebisenge ebya waggulu ebigazi.

Nja kugiwangamu amadirisa

Era ngikubeko embaawo ez’entolokyo ngisiige langi emmyufu.’

15 Oneeyongera okufuga olw’okuba osinga abalala okukozesa emiti gy’entolokyo?

Kitaawo naye yalyanga era yanywanga,

Naye yakolanga eby’obwenkanya n’eby’obutuukirivu,+

Era ebintu byamugendera bulungi.

16 Yakola ku nsonga z’ababonyaabonyezebwa n’abaavu,

Ebintu ne bigenda bulungi.

‘Ekyo si kye kitegeeza okummanya?’ Yakuwa bw’agamba.

17 ‘Naye amaaso go n’omutima gwo byemalidde ku kwefunira ebintu mu makubo amakyamu,

Ku kuyiwa omusaayi ogutaliiko musango

Ne ku kukumpanya n’okunyaga.’

18 “Kale bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku kabaka wa Yuda Yekoyakimu,+ mutabani wa Yosiya,

‘Tebajja kumukungubagira nga bagamba nti:

“Woowe mwannyinaze! Woowe muganda wange!”

Tebajja kumukungubagira nga bagamba nti:

“Woowe mukama wange! Woowe ow’ekitiibwa!”

19 Bajja kumuziika ng’endogoyi bw’eziikibwa,+

Bajja kumuwalula bamukasuke

Ebweru w’emiryango gya Yerusaalemi.’+

20 Genda ku Lebanooni okaabe,

Leekaanira mu Basani,

Era kaabira mu Abalimu,+

Kubanga baganzi bo bazikiriziddwa.+

21 Bwe wali ng’owulira nti tewali kikweraliikiriza, nnayogera naawe.

Naye wagamba nti, ‘Sijja kukugondera.’+

Bw’otyo bw’obadde okola okuva mu buvubuka bwo,

Era togondedde ddoboozi lyange.+

22 Omuyaga gujja kutwala abasumba bo bonna,+

Era baganzi bo bonna bajja kuwambibwa,

Olyoke oswale era ofeebezebwe olw’akabi akanaakutuukako.

23 Mmwe ababeera mu Lebanooni,+

Abeeyagalira mu miti egy’entolokyo,+

Nga mujja kusinda ng’obulumi bubajjidde,

Okulumwa* ng’okw’omukazi azaala!”+

24 “‘Nga bwe ndi omulamu,’ Yakuwa bw’agamba, ‘Koniya*+ kabaka wa Yuda, mutabani wa Yekoyakimu,+ ne bwe yandibadde nga ye mpeta eramba eri ku mukono gwange ogwa ddyo, nnandimunaanuddeko! 25 Nja kukuwaayo mu mukono gw’abo abaagala okukutta, ne mu mukono gw’abo b’otya, ne mu mukono gwa kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni, ne mu mukono gw’Abakaludaaya.+ 26 Ggwe ne nnyoko eyakuzaala nja kubakasuka mu nsi endala gye mutaazaalibwa, era mujja kufiira eyo. 27 Tebajja kudda mu nsi gye baagala ennyo.+

28 Omusajja ono Koniya nsuwa emenyese enyoomebwa,

Kibya ekitalina akyagala?

Lwaki ye ne bazzukulu be bakasukibwa

Ne basuulibwa mu nsi gye batamanyi?’+

29 Ggwe ensi, ensi, ensi, wulira ekigambo kya Yakuwa.

30 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:

‘Muwandiike nti omusajja ono talina baana,

Era nti tajja kutuuka ku buwanguzi mu bulamu bwe,*

Kubanga tewali muzzukulu we n’omu

Ajja kutuula ku ntebe ya Dawudi era ajja kuddamu kufuga mu Yuda.’”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share