Yoswa
16 Ekitundu ekyaweebwa bazzukulu ba Yusufu+ okuyitira mu kukuba akalulu,+ ensalo yaakyo yava ku Yoludaani okumpi ne Yeriko n’etuuka ku mazzi agali ebuvanjuba wa Yeriko, n’eyita mu ddungu eriri mu maaso ga Yeriko, n’etuuka mu kitundu kya Beseri eky’ensozi.+ 2 Yeeyongerayo okuva e Beseri ekiriraanye Luuzi, n’egendera ddala okutuuka ku nsalo y’Abaluki e Atalosi, 3 n’eserengeta ku luuyi olw’ebugwanjuba n’egenda ku nsalo y’Abayefuleti n’etuukira ddala ku nsalo ya Besu-kolooni+ ow’eky’Emmanga n’e Gezeri,+ n’ekoma ku nnyanja.
4 Awo ekika kya Manase n’ekika kya Efulayimu, bazzukulu ba Yusufu,+ ne bafuna ekitundu kyabwe.+ 5 Ensalo y’abazzukulu ba Efulayimu ng’empya zaabwe bwe zaali yali bw’eti: Ensalo y’obusika bwabwe ku luuyi olw’ebuvanjuba yali Atalosu-addali+ okutuukira ddala e Besu-kolooni ow’eky’Engulu,+ 6 ne yeeyongerayo n’etuuka ku nnyanja. Mikumesasi+ kyali mu bukiikakkono, era ensalo yeetooloola ku luuyi olw’ebuvanjuba n’etuuka e Taanasu-siro, ne yeeyongerayo ku luuyi olw’ebuvanjuba n’etuuka e Yanowa. 7 Yaserengeta okuva e Yanowa n’egenda e Atalosi n’e Naala n’etuuka e Yeriko+ ne yeeyongerayo ku Yoludaani. 8 Okuva e Tappuwa+ ensalo yeeyongerayo ebugwanjuba n’etuuka ku Kiwonvu* kya Kana n’ekoma ku nnyanja.+ Obwo bwe busika bw’ekika kya Efulayimu ng’empya zaabwe bwe zaali; 9 obusika obwo bwali buzingiramu ebibuga awamu n’ebyalo ebibyetoolodde, bazzukulu ba Efulayimu bye baalina mu busika bwa Manase.+
10 Naye tebaagoba Bakanani abaali babeera mu Gezeri,+ era Abakanani bakyabeera wamu n’Abefulayimu n’okutuusa leero,+ era bakozesebwa emirimu egy’obuddu.+