Yakuwa Kye Kiddukiro Kyaffe
“Kubanga wagamba nti: ‘Yakuwa kye kiddukiro kyange,’ . . . Tewali kabi akalikubaako.”—ZABBULI 91:9, 10, NW.
1. Lwaki tuyinza okugamba nti Yakuwa kye kiddukiro kyaffe?
YAKUWA ye kiddukiro ekya nnamaddala eri abantu be. Singa tumussaako omutima gwaffe gwonna, tuyinza ‘okutaayizibwa eruuyi n’eruuyi, naye ne tutanyigirizibwa; ne tweraliikirira, ne tusoberwa naye ne tutaggwaamu ssuubi: ne tuyigganyizibwa, naye ne tutalekebwa; ne tumeggebwa, naye ne tutazikirira.’ Lwaki? Kubanga Yakuwa atuwa ‘amaanyi agasinga ku ga bulijjo.’ (2 Abakkolinso 4:7-9) Yee, Kitaffe ow’omu ggulu atuyamba okumwemalirako, era tuyinza okukkiriza ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli: “Kubanga wagamba nti ‘Yakuwa kye kiddukiro kyange,’ ofudde oyo Ali Waggulu Ennyo ekigo kyo w’otuula; tewali kabi akalikubaako, so tewali kibonoobono ekirisemberera eweema yo.”—Zabbuli 91:9, 10, NW.
2. Kiki ekiyinza okwogerwa ku Zabbuli 91 ne by’esuubiza?
2 Ebigambo ebiri mu Zabbuli 91 biyinza okuba byawandiikibwa Musa. Obugambo obwanjula Zabbuli 90 bulaga nti ye yagiyiiya, ate Zabbuli 91 n’egiddirira nga tewali bugambo bulala obulaga omuwandiisi omulala. Kyandiba nti mu kuyimba Zabbuli 91, omuntu yasooka n’ayimba (91:1, 2), ate abalala ne baddamu nga bayimba (91:3-8). Oboolyawo omuyimbi omu yayimba (91:9a) era abalala ne baddamu (91:9b-13). Ate olwo omuyimbi omu n’alyoka ayimba ebigambo ebyakomererayo (91:14-16). K’ebe nga yayimbibwa bw’etyo oba nedda, Zabbuli 91 esuubiza Abakristaayo abaafukibwako amafuta ng’ekibiina obukuumi obw’eby’omwoyo era n’esuubiza kye kimu bannaabwe abeewaddeyo eri Katonda ng’ekibiina.a Ka twekenneenye zabbuli eno okusinziira ku ndowooza y’abaweereza ba Yakuwa ng’abo.
Balina Obukuumi mu ‘Kifo kya Katonda eky’Ekyama’
3. (a) “[E]kifo eky’ekyama eky’oyo ali waggulu ennyo” kye kiruwa? (b) Kiki kye tufuna bwe ‘tubeera wansi w’ekisiikirize ky’Omuyinza w’Ebintu Byonna’?
3 Omuwandiisi wa Zabbuli ayimba: ‘Atuula mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo ye anaabeeranga wansi w’ekisiikirize eky’Omuyinza w’ebintu byonna. Nnaayogeranga ku Mukama nti Oli kiddukiro kyange, era ekigo kyange: Katonda wange gwe nneesiga.’ (Zabbuli 91:1, 2) Mu ngeri ey’akabonero, ‘ekifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo,” kye kifo eky’obukuumi gye tuli, naddala eri abaafukibwako amafuta, Setaani baalumba mu ngeri ey’enjawulo. (Okubikkulirwa 12:15-17) Yandituzikirizza ffenna singa tetwalina bukuumi ng’abagenyi ba Katonda ab’eby’emwoyo. Bwe tubeera wansi w’ekisiikirize ky’Omuyinza w’ebintu byonna,’ tufuna obukuumi bwe. (Zabbuli 15:1, 2; 121:5) Tewali kiddukiro oba kigo kya maanyi kusinga Mukama Afuga Byonna, Yakuwa.—Engero 18:10.
4. Biki ‘omuyizzi,’ Setaani, by’akozesa, era tuwonawo tutya?
4 Omuwandiisi wa Zabbuli agattako: “Kubanga [Yakuwa ] ye anaakulokolanga mu mutego ogw’omuyizzi, ne mu kawumpuli [aleeta okubonaabona].” (Zabbuli 91:3) Omuyizzi mu Isiraeri ey’edda yakwatanga ebinyonyi ng’akozesa emitego. Mu mitego ‘gy’omuyizzi,’ Setaani, mwe muli ekibiina kye ekibi era ‘n’enkwe ze.’ (Abaefeso 6:11) Emitego egikwekeddwa giteekebwa mu kkubo lyaffe gituleetere okwenyigira mu bikolwa ebibi era n’okuddirira mu by’omwoyo. (Zabbuli 142:3) Kyokka, olw’okuba twesambye obutali butuukirivu, ‘emmeeme yaffe ebanga ekinnyonyi ekiwonye omutego.’ (Zabbuli 124:7, 8) Nga tuli basanyufu nnyo nti Yakuwa atununula okuva ku ‘muyizzi’ omubi!—Matayo 6:13.
5, 6. “Kawumpuli” ki aleese ‘okubonaabona,’ naye lwaki abantu ba Yakuwa tebatwalirizibwa kawumpuli oyo?
5 Omuwandiisi wa Zabbuli ayogera ku ‘kawumpuli aleeta okubonaabona.’ Okufaananako endwadde esaasaana, waliwo ekintu ekireetera olulyo lw’omuntu n’abawagira obufuzi bwa Yakuwa ‘okubonaabona.’ Ku nsonga eno, munnabyafaayo Arnold Toynbee yawandiika bw’ati: “Okuva Ssematalo II bwe yakoma, ensi ezifunye obwetwaze zeeyongedde emirundi ebiri . . . Abantu beeyongedde okweyawulayawula.”
6 Mu byasa byonna ebizze biyitawo, abafuzi abamu bongedde okuleetawo obukuubagano mu nsi. Era balagidde okuweebwa ekitiibwa eky’okusinzibwa oba okukiwa ebifaananyi oba obubonero. Naye Yakuwa talekanga bantu be beesigwa kutwalirizibwa “kawumpuli,” ng’oyo. (Danyeri 3:1, 2, 20-27; 6:7-10, 16-22) Ng’oluganda olwagazi olw’ensi yonna, tusinza Yakuwa yekka, tetulina ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi, era awatali kusosola tumanyi nti ‘mu buli ggwanga lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.’ (Ebikolwa 10:34, 35; Okuva 20:4-6; Yokaana 13:34, 35; 17:16; 1 Peetero 5:8, 9) Wadde ‘tubonaabona’ olw’okuyigganyizibwa ng’Abakristaayo, tuli basanyufu era tulina obukuumi mu by’omwoyo mu ‘kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo.’
7. Yakuwa atukuuma atya ‘n’ebiwaawaatiro bye’?
7 Olw’okuba Yakuwa kye kiddukiro kyaffe, tubudaabudibwa ebigambo bino: “Anaakubikkangako n’ebiwaawaatiro bye, era wansi w’ebyoya bye w’onoddukiranga: amazima ge ye ngabo, ge gakuuma.” (Zabbuli 91:4) Katonda atukuuma, ng’era ekinyonyi bwe kikuuma abaana baakyo. (Isaaya 31:5) ‘Atubikkako ebiwaawaatiro bye.’ Nga kikozesa ebiwaawaatiro byakyo, ekinyonyi kibikka abaana baakyo era ne kibakuuma okuva ku balabe. Okufaananako ebinyonyi ebito, tuba n’obukuumi wansi w’ebiwaawaatiro bya Yakuwa eby’akabonero kubanga tufudde ekibiina kye eky’Abakristaayo ab’amazima ekiddukiro kyaffe.—Luusi 2:12; Zabbuli 5:1, 11.
8. “Amazima” ga Yakuwa gali gatya ng’engabo ennene era ng’ekigo eky’amaanyi?
8 Tuteeka obwesige mu ‘mazima ge,’ oba obwesigwa bwe. Galinga engabo ennene ey’omu biseera eby’edda, efaanana ng’oluggi era nga nnene ekimala okusiikiriza omuntu yenna. (Zabbuli 5:12) Okwesiga bukuumi ng’obwo kituleetera obutatya. (Olubereberye 15:1; Zabbuli 84:11) Okufaananako okukkiriza kwaffe, amazima ga Katonda galinga engabo eziyiza obusaale bwa Setaani era etukuuma okuva ku mulabe. (Abaefeso 6:16) Galinga buggwe, ekigo eky’amaanyi ekituwa obukuumi.
‘Tetulitya’
9. Lwaki ekiro kiyinza okuba ekiseera eky’entiisa, naye lwaki tetwanditidde?
9 Olw’obukuumi bwa Katonda, omuwandiisi wa Zabbuli agamba: “Tootyenga lwa ntiisa ya kiro newakubadde akasaale akagenda emisana; olw’olumbe olutambulira mu kizikiza, newakubadde olw’okuzikiriza okufaafaaganya mu ttuntu.” (Zabbuli 91:5, 6) Okuva ebikolobero bingi bwe bikolebwa ekiro, ekiro kiyinza okuba ekiseera eky’entiisa. Mu kizikiza eky’eby’omwoyo kati ekiri mu nsi, abalabe baffe bakola enkwe nga bagezaako okutunafuya mu by’omwoyo era n’okuyimiriza omulimu gwaffe ogw’okubuulira. Naye ‘tetutya kintu kyonna ekiro’ kubanga Yakuwa atukuuma.—Zabbuli 64:1, 2; 121:4; Isaaya 60:2.
10. (a) “Akasaale akagenda emisana” kategeeza ki, era ekyo tukitwala tutya? (b) ‘Olumbe olutambulira mu kizikiza’ kye ki, era lwaki tetulutya?
10 Kirabika “akasaale akagenda emisana” kategeeza okuvumibwa. (Zabbuli 64:3-5; 94:20) Nga tunyiikirira okubuulira obubaka obw’amazima, abo abatuziyiza mu buweereza bwaffe obutukuvu mu ngeri eyo balemererwa. Ate era, tetutya ‘lumbe olutambulira mu kizikiza.’ Luno lumbe olw’akabonero oluli mu nsi eri mu buyinza bwa Setaani era ebuutikiddwa ekizikiza mu by’eddiini ne mu mpisa. (1 Yokaana 5:19) Lwonoona ebirowoozo by’abantu era ne lubaleka mu kizikiza ku bikwata ku Yakuwa, ebigendererwa bye, n’enteekateeka ze ez’okwagala. (1 Timoseewo 6:4) Nga tuli mu kizikiza kino, tetutya, okuva bwe tulina ekitangaala eky’eby’omwoyo mu bungi.—Zabbuli 43:3.
11. Kiki ekituuka ku abo ‘abafaafaaganyizibwa mu ttuntu’?
11 ‘Okuzikiriza okufaafaaganya mu ttuntu’ nakwo tekututiisa. ‘Ettuntu’ liyinza okutegeeza ekitwalibwa ng’okukulaakulana mu nsi. Abo abatwalirizibwa endowooza y’omu nsi ey’okuluubirira eby’obugagga balagajjalira eby’omwoyo. (1 Timoseewo 6:20, 21) Nga tulangirira obubaka bw’Obwakabaka n’obuvumu, tetutya balabe baffe, kubanga Yakuwa y’Atukuuma.—Zabbuli 64:1; Engero 3:25, 26.
12. Enkumi n’enkumi ‘bagwa’ ku ludda lw’ani era mu ngeri ki?
12 Omuwandiisi wa zabbuli yeeyongera n’agamba: “Abantu olukumi baligwira ku lubiriizi lwo, era akakumi ku mukono gwo ogwa ddyo; tekulikusemberera ggwe. Naye olitunula n’amaaso go, oliraba empeera y’ababi.” (Zabbuli 91:7, 8) Olw’okulemererwa okufuula Yakuwa ekiddukiro kyabwe, bangi ‘bagwa’ nga bafa mu by’omwoyo ku ‘lubiriizi lwaffe.’ Kwe kugamba, “akakumi” bagudde ku ‘mukono ogwa ddyo’ ogw’Abaisiraeri ab’omwoyo. (Abaggalatiya 6:16) Naye ka kibe nti tuli Bakristaayo abaafukibwako amafuta, oba bannaabwe abeewaayo, tulina obukuumi mu ‘kifo kya Katonda eky’ekyama.’ ‘Tutununula butunuzi ne tulaba empeera y’ababi,’ abo abakungula ebibi mu by’obusuubuzi, eby’eddiini ne mu ngeri endala.—Abaggalatiya 6:7.
‘Tewali Kabi Kalikubaako’
13. Butyabaga ki obutatutuukako, era lwaki?
13 Wadde ng’embeera mu nsi yeeyongedde okwonooneka, tukulembeza Katonda era ne tuzzibwamu amaanyi ebigambo bino eby’omuwandiisi wa Zabbuli: “Kubanga wagamba, ‘Yakuwa kye kiddukiro kyange,’ ofudde oyo Ali Waggulu Ennyo ekigo kyo w’otuula; tewali kabi akalikubaako, so tewali kibonoobono ekirisemberera eweema yo.” (Zabbuli 91:9, 10, NW) Mazima ddala, Yakuwa kye kiddukiro kyaffe. Era, tufuula Katonda Ali Waggulu Ennyo ‘ekifo kyaffe eky’okutuulamu,’ gye tusanga obukuumi. Tutendereza Yakuwa ng’Omufuzi w’Obutonde Bwonna, ne ‘tumufuula ekifo ky’okutuulamu’ ng’Ensibuko y’obukuumi bwaffe, era ne tulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwe. (Matayo 24:14) N’olwekyo, ‘tewali kabi akalitutuukako,’ kwe kugamba obutyabaga obwayogeddwako ku ntandikwa ya zabbuli eno. Ne bwe tutuukibwako obutyabaga nga musisi, embuyaga ez’amaanyi, amataba, enjala, n’entalo, ebyo tebimalaawo kukkiriza kwaffe oba obukuumi obw’eby’omwoyo.
14. Ng’abaweereza ba Yakuwa, lwaki tetukwatibwa ndwadde ez’akabi?
14 Abakristaayo abaafukibwako amafuta balinga abagenyi ababeera mu weema ezeeyawudde ku nsi eno. (1 Peetero 2:11) ‘Tewali na kibonoobono ekisemberera eweema yaabwe.’ Ka kibe nti essuubi lyaffe lya mu ggulu oba ku nsi, tetuli kitundu kya nsi, era tetukwatibwa ndwadde ng’ezo ez’akabi mu by’omwoyo gamba ng’empisa ez’obugwenyufu, okuluubirira eby’obugagga, eddiini ez’obulimba, n’okusinza ‘ensolo’ ‘n’ekifaananyi,’ kyayo, Ekibiina ky’Amawanga Amagatte.—Okubikkulirwa 9:20, 21; 13:1-18; Yokaana 17:16.
15. Mu ngeri ki gye tulina obuyambi bwa bamalayika?
15 Ku bikwata ku bukuumi bwe tulina, omuwandiisi wa Zabbuli agattako: “Kubanga [Yakuwa] alikulagiririza bamalayika be, bakukuume mu makubo go gonna. Balikuwanirira mu mikono gyabwe, oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.” (Zabbuli 91:11, 12) Bamalayika baweereddwa obuyinza okutukuuma. (2 Bassekabaka 6:17; Zabbuli 34:7-9; 104:4; Matayo 26:53; Lukka 1:19) Batukuuma ‘mu makubo gaffe gonna.’ (Matayo 18:10) Tufuna obulagirizi n’obukuumi bwa bamalayika ng’ababuulizi b’Obwakabaka era tetuddirira mu bya mwoyo. (Okubikkulirwa 14:6, 7) ‘N’amayinja,’ gamba ng’okuwerebwa kw’omulimu gwaffe, tekituleetedde kuddirira ne kituviirako obutasiimibwa Katonda.
16. Okulumba ‘kw’empologoma’ ne “ssalambwa” kwawukana kutya, era tukolawo ki nga tulumbiddwa bwe tutyo?
16 Omuwandiisi wa Zabbuli ayongerezaako: “Olirinnya ku mpologoma ne ku ssalambwa; olisamba empologoma ento n’omusota wansi w’ebigere byo.” (Zabbuli 91:13) Ng’empologoma bw’erumba obutereevu, abamu ku balabe baffe nabo batuziyiza mu lujjudde nga bayisa amateeka agalina ekigendererwa eky’okuyimiriza omulimu gwaffe ogw’okubuulira. Ng’oggyeko okulumbibwa obutereevu, tuyinza okubojjebwa essalambwa okuva mu kifo ekyekusifu mu ngeri etasuubirwa. Mu ngeri enneekusifu, bannaddiini oluusi batulumba nga bayitira mu bateesi b’amateeka, abalamuzi, n’abalala. Naye, nga tuyambibwako Yakuwa, twewozaako mu kkooti mu ngeri ey’emirembe, bwe kityo ‘ne tulwanirira amawulire amalungi mu mateeka.’—Abafiripi 1:7; Zabbuli 94:14, 20-22.
17. Tulinnyirira tutya ‘empologoma’?
17 Omuwandiisi wa Zabbuli ayogera ku kulinnyirira ‘empologoma n’omusota.’ Empologoma eyinza okuba enkambwe ennyo, era n’omusota guyinza okuba omunene ddala. (Isaaya 31:4) Kyokka, empologoma k’ebeere nkambwe kwenkana wa ng’erumba, mu ngeri y’akabonero tugirinnyirira nga tugondera Katonda mu kifo ky’abantu oba ebibiina byabwe. (Ebikolwa 5:29) N’olwekyo, ‘empologoma’ enkambwe tetutuusaako kabi mu bya mwoyo.
18. “Omusota” gutujjukiza ani, era twetaaga kukola ki nga gutulumbye?
18 Mu nkyusa ya Baibuli ey’Oluyonaani eyitibwa Septuagint, “omusota” guyitibwa ‘ogusota.’ Kino kitujjukiza, ‘ogusota ogunene, omusota ogw’edda, oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani.’ (Okubikkulirwa 12:7-9; Olubereberye 3:15) Setaani alinga ogusota oguyinza okumenyaamenya n’okumira omuyiggo gwagwo. (Yeremiya 51:34) Setaani bw’aba agezaako okutwezingirira, atumenyemenye n’ebizibu by’ensi, era atumire, tumwetagguluzeeko era mu ngeri eyo tulinnyirire ‘omusota,’ ogwo. (1 Peetero 5:8) Ensigalira y’abaafukibwako amafuta balina okukola kino bwe baba ab’okwenyigira mu kutuukirizibwa kwa Abaruumi 16:20.
Yakuwa—Ensibuko y’Obulokozi Bwaffe
19. Lwaki tufuula Yakuwa ekiddukiro kyaffe?
19 Ku bikwata ku musinza ow’amazima, omuwandiisi wa zabbuli akiikirira Katonda ng’agamba: “Kubanga antaddeko okwagala kwe, kyendiva mmuwonya: ndimugulumiza waggulu, kubanga amanyi erinnya lyange.” (Zabbuli 91:14) Ebigambo “kyendiva mmuwonya” obutereevu bitegeeza, “Ndimugulumiza waggulu,” kwe kugamba, nga tasobola kutuusibwako kabi. Ng’abasinza ba Yakuwa tumufuula ekiddukiro kyaffe naddala lwa kuba ‘tumwagala.’ (Makko 12:29, 30; 1 Yokaana 4:19) N’ekiva mu ekyo, Katonda ‘atuwonya’ okuva ku balabe baffe. Tetugenda kuzikirizibwa kuva ku nsi, wabula tujja kuwonyezebwawo kubanga tumanyi erinnya lya Katonda era tulikaabirira mu kukkiriza. (Abaruumi 10:11-13) Era tuli bamalirivu ‘okutambulira mu linnya lya Yakuwa emirembe gyonna.’—Mikka 4:5; Isaaya 43:10-12.
20. Nga Zabbuli 91 ekomekkereza, kiki Yakuwa ky’asuubiza abaweereza be abeesigwa?
20 Nga Zabbuli 91 ekomekkereza, Yakuwa ayogera bw’ati ku muweereza we omwesigwa: “Alinkaabira, nange ndimuyita; n[n]aabeeranga wamu naye bw’anaanakuwalanga: ndimuwonya, ndimuwa ekitiibwa. Ndimuwangaaza nnyo, ndimukkusa obulamu, era ndimulaga obulokozi bwange.” (Zabbuli 91:15, 16) Bwe tusaba Katonda nga bw’ayagala, atuddamu. (1 Yokaana 5:13-15) Tuyise mu nnaku nnyingi olw’obukyayi Setaani bw’aleeseewo. Naye ebigambo ‘ndibeera naye ng’anakuwadde’ bituyamba okweteekerateekera okugezesebwa mu biseera eby’omu maaso, era ne bitukakasa nti Katonda ajja kutukuuma ng’embeera y’ebintu eno ezikirizibwa.
21. Mu ngeri ki abaafukibwako amafuta gye bamaze okugulumizibwa?
21 Wadde nga Setaani atuziyiza n’amaanyi, omuwendo omujjuvu ogw’abo abaafukibwako amafuta abali mu ffe, gujja kugulumizibwa mu ggulu mu kiseera kya Yakuwa ekigereke—oluvannyuma ‘lw’okuwangaala’ ku nsi. Kyokka, engeri Katonda gy’awonyezzaamu abantu be, ereetedde abaafukibwako amafuta ekitiibwa eky’eby’omwoyo. Nga balina enkizo ya maanyi okutwala obukulembeze ng’Abajulirwa ba Yakuwa ab’oku nsi mu nnaku zino ez’enkomerero! (Isaaya 43:10-12) Yakuwa ajja kununula abantu be mu ngeri etabangawo mu lutalo lwe olukulu olwa Kalumagedoni mw’aliragira obutuufu bw’obufuzi bwe era n’atukuza erinnya lye.—Zabbuli 83:18; Ezeekyeri 38:23; Okubikkulirwa 16:14, 16.
22. Ani ‘aliraba obulokozi obulireetebwa Yakuwa’?
22 Ka tubeere Bakristaayo abaafukibwako amafuta oba bannaabwe abeewaayo, twesiga Katonda okutuwa obulokozi. Ku ‘lunaku lwa Yakuwa olukulu era olw’entiisa,’ abo abaweereza Katonda n’obwesigwa bajja kulokolebwa. (Yoweeri 2:30-32) Abamu ku ffe ‘ab’ekibiina ekinene’ abaliwonawo ne batuuka mu nsi ya Katonda empya era ne basigala nga beesigwa mu kugezesebwa okw’enkomerero bajja ‘kuwangaala’—balifuna obulamu obutalikoma. Era Yakuwa ajja kuzuukiza nnamungi w’abantu. (Okubikkulirwa 7:9; 20:7-15) Mazima ddala Yakuwa ajja kufuna essanyu lingi ‘okutulokola’ okuyitira mu Yesu Kristo. (Zabbuli 3:8) Nga tulina essuubi eryo, ka twesigenga Katonda okutuyamba okubala ennaku zaffe mu ngeri emuweesa ekitiibwa. Mu bigambo ne mu bikolwa, ka tweyongere okulaga nti Yakuwa kye kiddukiro kyaffe.
[Obugambo obuli wansi]
a Abawandiisi b’Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo mu Luyonaani tebaayogera Zabbuli 91 nga basinziira ku bunnabbi obukwata ku Masiya. Kya lwatu, Yakuwa ye yali ekiddukiro era ekigo kya Yesu Kristo, era nga bwali ekiddukiro ky’abagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta ne bannaabwe abeewaayo eri Katonda mu ‘kiseera kino eky’enkomerero.’—Danyeri 12:4.
Wandizzeemu Otya?
• Ekifo ‘eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo’ kye kiruwa?
• Lwaki tetutya?
• Mu ngeri ki ‘akabi gye katalitutuukako’?
• Lwaki tuyinza okugamba nti Yakuwa y’Ensibuko y’obulokozi bwaffe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Omanyi engeri amazima ga Yakuwa gye gali engabo ennene gye tuli?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]
Yakuwa ayamba abaweereza be okwenyigira mu buweereza bwe wadde nga balumbibwa mu ngeri etasuubirwa era nga baziyizibwa butereevu
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Enswera: A. N. Jagannatha Rao, Trustee, Madras Snake Park Trust