LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w02 6/1 lup. 15-20
  • Laga Ekisa eri Abo Abali mu Bwetaavu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Laga Ekisa eri Abo Abali mu Bwetaavu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekisa Abantu Kye Batera Okulaga n’Ekisa Baibuli ky’Etukubiriza Okulaga
  • Taata Alaga Ekisa
  • Ekisa Omwana Kye Yalaga
  • Ekisa kya Muka Mwana
  • Kiragibwa mu Bikolwa
  • Kiragibwa Kyeyagalire
  • Laga Ekisa eri Abo Abali mu Bwetaavu
  • Okuganyulwa mu Kisa kya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Leka “Etteeka Ery’ekisa” Lifuge Olulimi Lwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • ‘Omukazi Omwegendereza’
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Luusi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 6/1 lup. 15-20

Laga Ekisa eri Abo Abali mu Bwetaavu

“Buli muntu alagenga munne ekisa.”​—ZEKKALIYA 7:9.

1, 2. (a) Lwaki twandiraze ekisa? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?

EKIGAMBO kya Yakuwa Katonda kitukubiriza “okwagala eby’ekisa.” (Mikka 6:8) Era kituwa n’ensonga lwaki tusaanidde okukikola. Ensonga emu eri nti, “omuntu ow’ekisa akola bulungi emmeeme ye ye.” (Engero 11:17, NW) Ekyo nga kituufu nnyo! Okulaga ekisa kuleetawo enkolagana ennungi wakati waffe n’abantu abalala. N’ekivaamu, tusobola okubeera n’emikwano emirungi. Ekyo nga kirabo kya muwendo nnyo!​—Engero 18:24.

2 Ate era, Ebyawandiikibwa bitugamba: “Agoberera obutuukirivu n’okusaasira [“n’ekisa,” NW] alaba obulamu.” (Engero 21:21) Yee, bwe tubeera ab’ekisa, kijja kutuleetera okubeera mikwano gya Katonda, era kijja kutuleetera okufuna emikisa mu biseera eby’omu maaso, nga mw’otwalidde n’obulamu obutaggwaawo. Naye tuyinza tutya okulaga ekisa? Baani be tusaanidde okukiraga? Era ekisa ekyo kyawukana kitya ku ekyo abantu kye batera okulaga?

Ekisa Abantu Kye Batera Okulaga n’Ekisa Baibuli ky’Etukubiriza Okulaga

3. Ekisa Baibuli ky’etukubiriza kyawukana kitya ku kisa abantu kye batera okulaga?

3 Waliwo enjawulo nnyingi wakati w’ekisa abantu kye batera okulaga n’ekyo Baibuli ky’etukubiriza okulaga. Ng’ekyokulabirako, mu mbeera eza bulijjo omuntu bw’alaga ekisa, tekimwetaagisa kukola mukwano n’oyo gw’alaze ekisa. Kyokka, singa tulaga omuntu ekisa Baibuli ky’etukubiriza, tussaawo enkolagana ennungi wakati waffe n’omuntu oyo. Mu Baibuli, ebikolwa eby’ekisa wakati w’abantu biyinza okwesigama ku nkolagana ennungi eriwo wakati waabwe. (Olubereberye 20:13; 2 Samwiri 3:8; 16:17) Oba biyinza okwesigama ku bikolwa eby’ekisa ebyalagibwa omuntu oyo abalaze ekisa emabegako. (Yoswa 2:1, 12-14; 1 Samwiri 15:6; 2 Samwiri 10:1, 2) Okuwaayo ekyokulabirako ku njawulo eriwo wakati w’ekisa abantu kye batera okulaga n’ekyo Baibuli ky’etukubiriza, ka tugeraageranye ebyokulabirako bibiri okuva mu Baibuli.

4, 5. Ebyokulabirako bibiri eby’omu Baibuli ebiweereddwa waggulu biraga bitya enjawulo eriwo wakati w’ekisa Baibuli ky’etukubiriza n’ekisa abantu kye batera okulaga?

4 Ekyokulabirako kimu eky’ekisa abantu kye batera okulaga kikwata ku kibinja ky’abantu, nga mw’otwalidde n’omutume Pawulo, abaafuna ekizibu nga bali ku nnyanja eryato lyabwe bwe lyamenyeka. Amazzi gaabakulugusa ne gabatwala ku kizinga ky’e Merita. (Ebikolwa 27:37–28:1) Wadde ng’abantu b’omu Merita baali tebalina kye bamanyi ku bantu abo abaali bafunye ekizibu, era nga baali tebalina nkolagana yonna nabo, baabasembeza era ne babalaga ‘ekisa eky’amaanyi.’ (Ebikolwa 28:2, 7, NW) Okubasembeza kyali kikolwa kya kisa, naye kyagwaawo bugwi, era baakiraga abantu be baali batamanyi. N’olwekyo, kyali kisa ekya bulijjo.

5 Mu kugeraageranya, lowooza ate ku ngeri Kabaka Dawudi gye yasembezaamu Mefibosesi, mutabani wa mukwano gwe, Yonasaani. Dawudi yagamba Mefibosesi: “Onoolyanga emmere ku mmeeza yange ennaku zonna.” Bwe yali amunnyonnyola ensonga lwaki yali amukolera enteekateeka eyo, Dawudi yamugamba: “Siireme kukukola bya kisa ku lwa Yonasaani kitaawo.” (2 Samwiri 9:6, 7, 13) Mazima ddala, Dawudi okusembeza Mefibosesi bw’atyo, kyali kikolwa kya kisa ekigenda ewala, so si kisa ekya bulijjo, kubanga yakikola ng’asinziira ku nkolagana ennungi eyaliwo edda ne Yonasaani. (1 Samwiri 18:3; 20:15, 42) Mu ngeri y’emu leero, abaweereza ba Katonda balaga ekisa eri abantu bonna okutwalira awamu. Naye ate balaga ekisa ekigenda ewala eri basinza bannaabwe nabo abalina enkolagana ennungi ne Katonda.​—Matayo 5:45; Abaggalatiya 6:10.

6. Okusinziira ku Kigambo kya Katonda, ekisa ekigenda ewala abantu kye balaga bannaabwe kyeyoleka mu ngeri ki?

6 Okulagayo engeri endala ezoolesebwa mu kisa kino Baibuli ky’etukubiriza okulaga, tujja kwekenneenya ebyokulabirako bisatu mu Baibuli. Mu byokulabirako ebyo, tujja kulaba nti abantu basobola okulaga ekisa kino nga (1) babaako kye bakolawo, (2) kyeyagalire, era (3) okusingira ddala eri abo ababa mu bwetaavu. Ate era, ebyokulabirako ebyo biraga engeri gye tuyinza okulagamu ekisa ekyo leero.

Taata Alaga Ekisa

7. Biki omuddu wa Ibulayimu bye yabuulira Bessweri ne Labbani, era kiki omuddu oyo kye yabasaba?

7 Olubereberye essuula 24:28-67 zimalayo ebyafaayo ebikwata ku muddu wa Ibulayimu, eyayogerwako mu kitundu ekisooka. Ng’amaze okusisinkana Lebbeeka, omuddu oyo yasembezebwa mu nnyumba ya Bessweri, kitaawe wa Lebbeeka. (Olunyiriri 28-32) Ng’ali eyo, omuddu yayogera mu bujjuvu ku kigendererwa kye eky’okunoonyeza mutabani wa Ibulayimu omukazi. (Olunyiriri 33-47) Yakiggumiza nti ebirungi byonna bye yali atuuseeko, yali abitwala okuba akabonero akava eri Yakuwa, ‘eyamuluŋŋamya mu kkubo lyennyini okuwasiza Isaaka omwana wa mukama we omukyala.’ (Olunyiriri 48) Awatali kubuusabuusa, omuddu oyo yalowooza nti okuttottolera Bessweri ne mutabani we Labbani ebyo byonna, kyandibaleetedde okukakasa nti ddala Yakuwa yali awadde omukisa omulimu gwe. Mu nkomerero, omuddu yagamba: “Bwe munakkiriza okukolera mukama wange eby’ekisa n’eby’amazima, mumbuulire; bwe mutakkirize, mumbuulire; ndyoke nkyukire ku mukono ogwa ddyo, oba ku gwa kkono.”​—Olunyiriri 49.

8. Bessweri yakola atya ku nsonga ezaali zikwata ku Lebbeeka?

8 Yakuwa yali yalaga Ibulayimu ekisa. (Olubereberye 24:12, 14, 27) Ne Bessweri yandikoze kye kimu n’akkiriza Lebbeeka okugenda n’omuddu wa Ibulayimu? Ekisa kya Katonda kyandigattiddwako ekisa ky’abantu ekigendererwa kya Katonda ne kisobola okutuukirizibwa? Oba olugendo oluwanvu omuddu lwe yatindigga lwandibadde lwa bwereere? Kiteekwa okuba nga kyazzaamu nnyo amaanyi omuddu wa Ibulayimu okuwulira Labbani ne Bessweri nga bagamba nti: “Ekigambo ekyo kivudde eri Mukama.” (Olunyiriri 50) Baakitegeera nti Yakuwa ye yali amuwadde omukisa era ne bakkiriza by’abagambye. Awo, Bessweri n’ayoleka ekisa ng’agamba nti: “Lebbeeka ali mu maaso go, mutwale, ogende, abeere mukazi w’omwana wa mukama wo, Mukama nga bw’ayogedde.” (Olunyiriri 51) Lebbeeka yakkiriza okugenda n’omuddu wa Ibulayimu, era n’afuuka mukyala wa Isaaka omwagalwa.​—Olunyiriri 49, 52-58, 67.

Ekisa Omwana Kye Yalaga

9, 10. (a) Kiki Yakobo kye yasaba mutabani we Yusufu okumukolera? (b) Yusufu yalaga atya kitaawe ekisa?

9 Yakobo, muzzukulu wa Ibulayimu naye yalagibwa ekisa. Nga Olubereberye essuula 47 bw’eraga, mu kiseera ekyo Yakobo yali abeera Misiri, era ‘yali anaatera okufa.’ (Olunyiriri 27-29) Yali mweraliikirivu kubanga yali agenda kufiira mu nsi endala, so si eyo Katonda gye yali asuubizza Ibulayimu. (Olubereberye 15:18; 35:10, 12; 49:29-32) Yakobo teyayagala aziikibwe mu Misiri, n’olwekyo, yakola enteekateeka omulambo gwe gutwalibwe mu nsi y’e Kanani. Mutabani we Yusufu, eyalina ekifo eky’obuvunaanyizibwa, ye yali omuntu omutuufu eyandisobodde okukakasa nti ekiraamo kya kitaawe kituukirizibwa.

10 Ebyawandiikibwa bigamba: “[Awo Yakobo] n’ayita omwana we Yusufu n’amugamba nti Obanga kaakano ndabye ekisa mu maaso go, nkwegayiridde, . . . onkolere eby’ekisa n’eby’amazima; tonziikanga, nkwegayiridde, mu Misiri: naye bwe ndyebakira awamu ne bajjajja bange, onsitule onzi[j]e mu Misiri, onziike mu kifo kyabwe eky’okuziikangamu.” (Olubereberye 47:29, 30) Yusufu yasuubiza nti ajja kukola ekyo kitaawe kye yali amusabye, era nga wayiseewo akabanga katono, Yakobo yafa. Yusufu ne batabani ba Yakobo abalala baatwala omulambo gwa Yakobo “mu nsi y’e Kanani ne bamuziika mu mpuku ey’omu nnimiro ya Makupeera, Ibulayimu gye yagula.” (Olubereberye 50:5-8, 12-14) Mu ngeri eyo, Yusufu yalaga kitaawe ekisa.

Ekisa kya Muka Mwana

11, 12. (a) Luusi yalaga atya Nawomi ekisa? (b) Mu ngeri ki ekisa Luusi kye yalaga ku ‘nkomerero’ gye kyasinga ‘eky’olubereberye’?

11 Ekitabo kya Luusi kiraga engeri Nawomi eyali nnamwandu gye yalagibwamu ekisa Luusi Omumowaabu eyali muka mwana we ng’ate naye kennyini nnamwandu. Nawomi bwe yasalawo okuddayo e Besirekemu mu Yuda, Luusi yalaga okusaasira era n’obumalirivu ng’agamba: “Gy’onoogendanga, gye nnaagendanga nze: era gy’onoosulanga, gye nnaasulanga nze. Abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo Katonda wange.” (Luusi 1:16) Oluvannyuma Luusi yalaga ekisa kye bwe yakkiriza okufumbirwa Bowaazi, omusajja omukadde eyalina oluganda ku Nawomi.a (Ekyamateeka 25:5, 6; Luusi 3:6-9) Bowaazi yagamba Luusi: “Olaze ekisa ekisinga obungi [ku n]komerero okukira olubereberye kubanga togobereranga balenzi, oba baavu oba bagagga.”​—Luusi 3:10.

12 Luusi yalaga ekisa “olubereberye” bwe yasalawo okuleka abantu be n’anywerera ku Nawomi. (Luusi 1:14; 2:11) Kyokka ate ekisa kye yalaga ku ‘nkomerero’ kyasinga n’eky’olubereberye, kwe kugamba, Luusi okukkiriza okufumbirwa Bowaazi. Kati Luusi yali asobola okuzaalira Nawomi omusika kubanga Nawomi yali amaze okusukka emyaka egy’okuzaala. Bowaazi yawasa Luusi era oluvannyuma nga Luusi azadde, abakazi b’omu Besirekemu baagamba: “Nawomi azaaliddwa omwana.” (Luusi 4:14, 17) Mazima ddala, Luusi yali “mukazi mwegendereza nnyo” era n’olw’ensonga eyo, yafuna omukisa ogw’ekitalo ennyo ogw’okubeera jjajja wa Yesu Kristo.​—Luusi 2:12; 3:11; 4:18-22; Matayo 1:1, 5, 6.

Kiragibwa mu Bikolwa

13. Bessweri, Yusufu ne Luusi baalaga batya ekisa kyabwe?

13 Weetegerezza engeri Bessweri, Yusufu ne Luusi gye baayolekamu ekisa? Tebaakoma ku bigambo bugambo eby’ekisa byokka, naye era baalaga n’ebikolwa. Bessweri teyagamba bugambi nti: “Laba Lebbeeka ali mu maaso go,” naye yamuwaayo era ‘n’amusiibula.’ (Olubereberye 24:51, 59) Yusufu teyagamba bugambi nti: “Ndikola nga bw’oyogedde,” naye ye ne baganda be “baakolera Yakobo nga bwe yalagira.” (Olubereberye 47:30; 50:12, 13) Luusi naye teyayogera bwogezi nti, “Gy’onoogenda, gye nnaagendanga nze” naye yaleka abantu be era n’agenda ne Nawomi, era “bombi ne batambula okutuusa lwe baatuuka e Besirekemu.” (Luusi 1:16, 19) Nga bali mu Yuda, Luusi era yakola ‘byonna nnyazaala we bye yamulagiranga.’ (Luusi 3:6) Yee, ekisa kya Luusi, okufaananako n’eky’abalala, kyalagibwa mu bikolwa.

14. (a) Abaweereza ba Katonda ab’omu kiseera kino balaga batya ebikolwa eby’ekisa? (b) Bikolwa ki eby’ekisa by’omanyi Abakristaayo mu kitundu kyo bye booleka?

14 Kizzaamu amaanyi okulaba engeri abaweereza ba Katonda leero gye beeyongera okulaga ekisa okuyitira mu bikolwa. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku abo abayamba basinza bannaabwe abalwadde, abennyamivu, oba abali mu nnaku. (Engero 12:25) Oba lowooza ku Bajulirwa ba Yakuwa bangi abatwalako bannamukadde ku Kizimbe ky’Obwakabaka buli wiiki babeerewo mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Anna ow’emyaka 82 ng’alumizibwa mu nnyingo, agamba bw’ati: “Okutwalibwa mu nkuŋŋaana zonna, ogwo mukisa gwa Yakuwa. Mmwebaza nnyo okuviira ddala ku ntobo y’omutima gwange olw’okumpa ab’oluganda ne bannyinaze abalina okwagala ng’okwo.” Naawe weenyigira mu bikolwa ng’ebyo eby’okuyamba mu kibiina kyo? (1 Yokaana 3:17, 18) Bw’oba nga bw’otyo bw’okola, beera mukakafu nti ekisa kyo kisiimibwa nnyo.

Kiragibwa Kyeyagalire

15. Kiki ekirala ekikwata ku ngeri ekisa gye kiragibwamu ekyeyoleka mu byokulabirako ebisatu bye twekenneenyezza mu Baibuli?

15 Ebitundu bye twekenneenyezza okuva mu Baibuli era biraga nti omuntu alaga ekisa kyeyagalire awatali kukakibwa kwonna. Bessweri yakolagana kyeyagalire n’omuddu wa Ibulayimu, era ne Lebbeeka naye bw’atyo bwe yakola. (Olubereberye 24:51, 58) Yusufu yalaga ekisa nga tewali n’omu amusindiikiriza. (Olubereberye 50:4, 5) Luusi yalaga “ng’amaliridde okugenda [ne Nawomi].” (Luusi 1:18) Nawomi bwe yasaba Luusi atuukirire Bowaazi, olw’ekisa, omukyala oyo Omumowaabu yagamba: “By’oyogedde [n]naabikola.”​—Luusi 3:1-5.

16, 17. Kiki ekifuula ekisa kya Bessweri, Yusufu ne Luusi eky’amakulu ennyo, era kiki ekyabakubiriza okwoleka engeri eyo?

16 Ekisa Bessweri, Yusufu ne Luusi kye baalaga kyali kya makulu nnyo kubanga Ibulayimu, Yakobo ne Nawomi baali tebasobola kubakaka kubaako kye bakolawo. Ate era, tewaaliwo kintu kyonna kyali kiwaliriza Bessweri okuwaayo muwala we. Yali asobola okugamba omuddu wa Ibulayimu bw’ati: ‘Nedda, saagala muwala wange ono ankolera ennyo emirimu okugenda ewala.’ (Olubereberye 24:18-20) Mu ngeri y’emu, Yusufu yali wa eddembe okukolera ku ekyo kitaawe kye yali ayagala oba nedda, kubanga Yakobo yandibadde afudde ng’era tasobola kumuwaliriza kukolera ku bigambo bye. Nawomi kennyini yagamba nti Luusi yali wa ddembe okusigala mu Mowaabu. (Luusi 1:8) Era ne Luusi yali wa ddembe okufumbirwa ‘abalenzi abato’ mu kifo ky’okufumbirwa Bowaazi eyali akaddiye.

17 Bessweri, Yusufu, ne Luusi baalaga ekisa kyeyagalire; baakubirizibwa okukikola okuviira ddala mu mitima gyabwe. Baawulira nga bateekeddwa okwoleka engeri eyo eri abo abaabalinako akakwate era nga ne Kabaka Dawudi bwe yawulira nga yali ateekeddwa okulaga Mefibosesi ekisa.

18. (a) Abakadde Abakristaayo ‘balabirira batya ekisibo’? (b) Omukadde omu yayogera ki ku kuyamba bakkiriza banne?

18 Ne mu kiseera kino, abantu ba Katonda nga mw’otwalidde n’abasajja abalabirira ekisibo kya Katonda, booleka ekisa. (Zabbuli 110:3; 1 Abassesaloniika 5:12) Abakadde abo oba abalabirizi, muli bawulira nga bateekeddwa okutuukiriza omulimu ogwabakwasibwa bwe baalondebwa. (Ebikolwa 20:28) Wadde kiri bwe kityo, omulimu gwabwe ogw’okulabirira ekisibo awamu n’ebikolwa ebirala ebyoleka ekisa bye bakolera ekibiina, babikola “awatali kuwalirizibwa, naye kyeyagalire.” (1 Peetero 5:2, NW) Abakadde balabirira ekisibo kubanga baweereddwa obuvunaanyizibwa obwo era baagala okubutuukiriza. Balaga endiga za Kristo ekisa kubanga ekyo kye basaanidde okukola era baagala okukikola. (Yokaana 21:15-17) “Njagala okukyala mu maka ga baganda bange oba okubayita okujja ewange si lwa nsonga ndala yonna wabula okubalaga nti mbalowoozaako,” bw’atyo omukadde omu bw’agamba. “Kindeetera essanyu lingi nnyo okuyamba ab’oluganda!” Abakadde abafaayo ennyo ku b’oluganda bakkiriziganya n’ebigambo ebyo.

Laga Ekisa eri Abo Abali mu Bwetaavu

19. Nsonga ki ekwata ku kisa eggumiziddwa mu Byawandiikibwa bye twekenneenyezza mu kitundu kino?

19 Ebyawandiikibwa bye twekenneenyezza era biggumiza ensonga nti ekisa kirina okulagibwa abo abalina obwetaavu bwe batasobola kukolako bo bennyini. Okusobola okukuuma olunyiriri lw’ezzadde lye, Ibulayimu yali yeetaaga obuyambi bwa Bessweri. Omulambo gwe okusobola okutwalibwa mu Kanani, Yakobo yali yeetaaga obuyambi bwa Yusufu. Ate era okusobola okuzaala omusika, Nawomi yali yeetaaga obuyambi bwa Luusi. Ibulayimu, Yakobo ne Nawomi, baali tebasobola kukola ku bwetaavu obwo nga tewali abayambyeko. Mu ngeri y’emu leero, ekisa kyandiragiddwa naddala eri abo abali mu bwetaavu. (Engero 19:17, NW) Tusaanidde okukoppa Yobu, eyadduukiriranga ‘abali mu bulumi abaagala obuyambi, ne mulekwa oba omuntu omulala yenna ataalina amuyamba’ awamu n’oyo ‘eyali okumpi okufa.’ Yobu era ‘yasanyusanga omutima gwa bannamwandu,’ era yabanga ‘maaso eri omuzibe w’amaaso n’ebigere eri omulema.’​—Yobu 29:12-15, NW.

20, 21. Baani be tusaanidde okulaga ekisa, era buli omu ku ffe yandibadde mumalirivu kukola ki?

20 Mazima ddala waliwo ‘abali mu bulumi’ bangi mu buli kibiina Ekikristaayo abeetaaga okuyambibwa. Obulumi bwe balimu buyinza okuba nga buvudde ku kiwuubaalo, okumalibwamu amaanyi, okwewulira nga tebalina mugaso, obulwadde obw’amaanyi, oba okufiirwa omwagalwa waabwe. Ka kibe ki ekibaviiriddeko obulumi bwe balimu, abaagalwa baffe abo bonna balina ebyetaago bye tusobola okukolako era bye tusaanidde okukolako kyeyagalire nga tubalaga ekisa.​—1 Abasessaloniika 5:14.

21 N’olwekyo, ka tweyongere okukoppa Yakuwa Katonda, “alina ekisa ekingi.” (Okuva 34:6, NW; Abaefeso 5:1) Ekyo tusobola okukikola kyeyagalire nga tubaako kye tukolawo, naddala eri abo ababa mu bwetaavu. Era mazima ddala, tujja kuweesa Yakuwa ekitiibwa era tujja kufuna essanyu lya nsusso nga ‘buli muntu alaga munne ekisa.’​—Zekkaliya 7:9, NW.

[Obugambo obuli wansi]

a Okusobola okumanya ebisingawo ku bufumbo obwogerwako wano, laba ekitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 1, olupapula 370, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

Wandizzeemu Otya?

• Ekisa Baibuli ky’etukubiriza kyawukana kitya ku kisa abantu kye batera okulaga?

• Bessweri, Yusufu, ne Luusi baalaga batya ekisa?

• Ekisa twandikiraze na mwoyo ki?

• Baani be tusaanidde okulaga ekisa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Bessweri yalaga atya ekisa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]

Okwagala kwa Luusi okunywevu kwali kwa muganyulo eri Nawomi

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 19]

Omuntu ekisa akiraga kyeyagalire, ng’abaako ky’akolawo, era akiraga eri abo abali mu bwetaavu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share