Ebyayolesebwa Ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda Bituukirira
‘Mukola bulungi okussaayo omwoyo ku kigambo eky’obunnabbi ng’ettabaaza eyakira mu kifo eky’ekizikiza.’—2 PEETERO 1:19.
1. Mbeera ki ez’enjawulo eziriwo mu nsi leero?
ENSI ya leero erimu obutabanguko obw’omuddiriŋŋanwa. Ebizibu abantu bye boolekagana nabyo, gamba ng’okwonoonebwa kw’obutonde n’ebikolwa ebya bannalukalala, byeyongera buli lukya. N’amadiini agaliwo mu nsi tegasobodde kugonjoola bizibu ebyo. Mu butuufu, gatumbula obukyayi, ne mwoyo gwa ggwanga ebireeta enjawukana mu bantu. Yee, nga bwe kyalagulwa, “ekizikiza ekikutte” kibuutikidde “amawanga.” (Isaaya 60:2) Kyokka, mu kiseera kye kimu, obukadde n’obukadde bw’abantu bakakafu nti ebiseera eby’omu maaso bijja kuba birungi. Lwaki? Lwa kuba bassaayo omwoyo ku kigambo kya Katonda eky’obunnabbi ekiringa “ettabaaza eyakira mu kifo eky’ekizikiza.” Bakkiriza okukulemberwa “ekigambo” kya Katonda, oba obubaka, obusangibwa mu Baibuli.—2 Peetero 1:19.
2. Okusinziira ku bunnabbi bwa Danyeri obukwata ku ‘kiseera eky’enkomerero,’ baani bokka abaweebwa okutegeera okw’eby’omwoyo?
2 Nnabbi Danyeri yawandiika bw’ati ku biseera eby’enkomerero: “Bangi abaliddiŋŋana embiro, n’okumanya kulyeyongera. Bangi abalyerongoosa, abalyetukuza, abaliwoomezebwa: naye ababi balikola ebibi: so ku babi tekuliba abalitegeera: naye abalina amagezi balitegeera.” (Danyeri 12:4, 10) Okutegeera ebintu eby’omwoyo kuweebwa abo bokka ‘abaddiŋŋana’ oba abanyiikira okusoma Ekigambo kya Katonda, era abafuba okukukola by’ayagala.—Matayo 13:11-15; 1 Yokaana 5:20.
3. Kintu ki ekikulu abayizi ba Baibuli kya baategeera mu myaka gya 1870?
3 Mu myaka gya 1870, nga ‘ennaku ez’oluvannyuma’ tezinnatandika, Yakuwa Katonda yatandika okuwa ekitangaala ku “bigambo eby’ekyama eby’obwakabaka obw’omu ggulu.” (2 Timoseewo 3:1-5; Matayo 13:11) Okwawukana ku ndowooza eyaliwo mu kiseera ekyo, abayizi ba Baibuli baakitegeera nti okudda kwa Kristo tekwali kwa kulabibwa. Oluvannyuma lw’okutuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka mu ggulu, Yesu yandikomyewo mu ngeri nti, yanditadde ebirowoozo bye ku nsi. Akabonero akalabika akazingiramu ebintu ebiwerako, kandiyambye abayigirizwa be okutegeera nti okubeerawo kwe kwali kutandise.—Matayo 24:3-14.
Ebyayolesebwa mu Kufuusibwa Bituukirira
4. Yakuwa anywezezza atya okukkiriza kw’abaweereza be ab’omu kiseera kino?
4 Okufuusibwa kwali kusonga ku kitiibwa kya Kristo mu Bwakabaka. (Matayo 17:1-9) Okwolesebwa okwo kwanyweza okukkiriza kwa Peetero, Yakobo, ne Yokaana mu kiseera abantu abasinga obungi we baalekera awo okugoberera Kristo olw’okuba teyakola bye baali basuubira. Mu ngeri y’emu leero, Yakuwa anywezezza okukkiriza kw’abaweereza be ab’omu kiseera kino ng’abayamba okweyongera okutegeera ebintu ebikwata ku kutuukirizibwa kw’okwolesebwa okwo okuwuniikiriza awamu n’okw’obunnabbi obulala bungi obukwatagana na kwo. Kati ka twekenneenye ebimu ku bintu bino eby’eby’omwoyo ebyatuukirira ebinyweza okukkiriza.
5. Emmunyeenye y’Emisana y’ani, y’ajja ddi, era atya?
5 Ng’ayogera ku kufuusibwa kwa Yesu, omutume Peetero yawandiika: “Ekisinga obunywevu tulina ekigambo kya bannabbi; mukola bulungi [okukissaako omwoyo], ng’ettabaaza eyakira mu kifo eky’ekizikiza, okutuusa obudde bwe bulikya emmunyeenye ekeesa obudde n’eyaka mu mitima gyammwe.” (2 Peetero 1:19) Emmunyeenye eyo ey’akabonero ey’Emisana oba “ekeesa obudde,” ye Yesu Kristo agulumiziddwa. (Okubikkulirwa 22:16) ‘Yajja’ mu 1914, Obwakabaka bwa Katonda bwe bwateekebwawo mu ggulu, era ekyo ne kiramba entandikwa y’ekiseera ekirala. (Okubikkulirwa 11:15) Mu kufuusibwa, Musa ne Eriya baalabibwa nga banyumya ne Yesu. Baali bakiikirira b’ani?
6, 7. Baani abakiikirirwa Musa ne Eriya mu kufuusibwa, era Ebyawandiikibwa biboogerako ki?
6 Okuva Musa ne Eriya bwe baalabika nga bali wamu ne Kristo mu kitiibwa kye, abajulirwa abo ababiri abeesigwa bateekwa okuba nga bakiikirira abo abanaafugira awamu ne Yesu mu Bwakabaka bwe. Eky’okuba nti Yesu alina b’agenda okufuga nabo, kikwatagana bulungi n’okwolesebwa nnabbi Danyeri kwe yaweebwa okukwata ku kutuuzibwa kwa Masiya ku ntebe y’Obwakabaka. Danyeri yalaba “eyafaanana ng’omwana w’omuntu,” nga ‘afuna obufuzi obw’emirembe n’emirembe’ okuva eri “omukadde eyaakamala ennaku ennyingi”—Yakuwa Katonda. Kyokka, weetegereze Danyeri ky’alaba oluvannyuma. Yawandiika: ‘N’obwakabaka, n’okufuga, n’obukulu obw’obwakabaka obuli wansi w’eggulu lyonna, byaweebwa abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu.’ (Danyeri 7:13, 14, 27) Yee, emyaka egisukka mu 500 ng’okufuusibwa tekunnabaawo, Katonda yakyoleka nti “abatukuvu” abamu bandibadde wamu ne Kristo mu kitiibwa ky’Obwakabaka.
7 Abatukuvu Danyeri be yalaba mu kwolesebwa be baani? Beebo, omutume Pawulo be yali ayogerako bwe yagamba nti: “Omwoyo [gwennyini] wamu n’omwoyo gwaffe [gutu]tegeeza nga tuli baana ba Katonda. Naye bwe tuli abaana, era tuli basika: abasika ba Katonda, era abasikira awamu ne Kristo; bwe tubonaabonera awamu, era tulyoke tuweerwe wamu ekitiibwa.” (Abaruumi 8:16, 17) Abatukuvu abo be bayigirizwa ba Yesu abaafukibwako amafuta. Mu Kubikkulirwa, Yesu agamba: “Awangula ndimuwa okutuula awamu nange ku ntebe yange ey’obwakabaka, era nga nange bwe nnawangula, ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye ey’obwakabaka.” ‘Abawanguzi’ bano abazuukiziddwa abawerera ddala emitwalo 144,000, bajja kufuga ensi yonna nga bali wamu ne Yesu.—Okubikkulirwa 3:21; 5:9, 10; 14:1, 3, 4; 1 Abakkolinso 15:53.
8. Abayigirizwa ba Yesu abaafukibwako amafuta bakoze mulimu ki ogufaananako ogwa Musa ne Eriya, era biki ebivuddemu?
8 Naye lwaki Abakristaayo abaafukibwako amafuta bakiikirirwa Musa ne Eriya? Ensonga eri nti, nga bakyali ku nsi, bakola omulimu ogufaananako ogwa Musa ne Eriya. Ng’ekyokulabirako, bawa obujulirwa ku Yakuwa ne bwe baba nga bayigganyizibwa. (Isaaya 43:10; Ebikolwa 8:1-8; Okubikkulirwa 11:2-12) Okufaananako Musa ne Eriya, baanika amadiini ag’obulimba ng’ate eno bwe bakubiriza abantu abeesimbu okuwa Katonda ekitiibwa. (Okuva 32:19, 20; Ekyamateeka 4:22-24; 1 Bassekabaka 18:18-40) Omulimu gwabwe guvuddemu ebibala? Awatali kubuusabuusa guvuddemu. Ng’oggyeko okuyamba okukuŋŋaanya bannaabwe abaafukibwako amafuta, bayambye ‘n’ab’endiga endala’ bukadde na bukadde okugondera Yesu Kristo.—Yokaana 10:16; Okubikkulirwa 7:4.
Kristo Awangulira Ddala
9. Okubikkulirwa 6:2 lulaga lutya Yesu ky’ali leero?
9 Yesu takyali muntu buntu eyeebagadde omwana gw’endogoyi, wabula kati Kabaka ow’amaanyi ennyo. Ayogerwako ng’eyeebaggadde embalaasi—akabonero Baibuli k’ekozesa okutegeeza olutalo. (Engero 21:31) Okubikkulirwa 6:2 lugamba bwe luti: “Laba, embalaasi enjeru, n’oyo atuddeko ng’alina omutego, n’aweebwa engule: n’agenda ng’awangula era awangule.” Ate era, Dawudi omuwandiisi wa zabbuli yayogera bw’ati ku Yesu: “Mukama alisindika omuggo ogw’amaanyi go okuva mu Sayuuni: Ggwe fugira wakati mu balabe bo.”—Zabbuli 110:2.
10. (a) Yesu yasooka kuwangula baani? (b) Obuwanguzi bwa Yesu obwasooka bwakwata butya ku nsi yonna?
10 Yesu yasooka kuwangula balabe be abasingayo okuba ab’amaanyi—Setaani ne badayimooni. Yabagoba mu ggulu n’abasuula ku nsi. Olw’okuba emyoyo egyo emibi gimanyi nti gisigazza akaseera katono, gireetedde abantu okubonaabona okutagambika. Mu kitabo ky’Okubikkulirwa, okubonaabona okwo kukiikirirwa abasajja abalala basatu abeebagadde embalaasi. (Okubikkulirwa 6:3-8; 12:7-12) Nga bwe kyalagulwa mu bunnabbi bwa Yesu obukwata ku ‘kabonero ak’okubeerawo kwe n’akamafundikira g’embeera z’ebintu zino,’ abasajja abo okwebagala embalaasi kivuddemu, entalo, enjala ne kawumpuli. (Matayo 24:3, 7; Lukka 21:7-11) Okufaananako okulumwa okw’okuzaala, ebintu bino ebireeta ‘okulumwa’ bijja kweyongera okutuusa Kristo lw’anaawangulira ddala ng’azikiriza enteekateeka ya Setaani.a—Matayo 24:8.
11. Ebyafaayo by’ekibiina Ekikristaayo bikakasa bitya nti Kristo afuga nga Kabaka?
11 Ate era, obuyinza bwa Yesu nga Kabaka bweyoleka mu ngeri nti akuumye ekibiina Ekikristaayo ne kisobola okutuukiriza omulimu gw’okubuulira obubaka bw’Obwakabaka mu nsi yonna. Wadde nga wabaddewo okuyigganyizibwa okw’amaanyi okuva eri Babulooni Ekinene, kwe kugamba, obwakabaka bw’ensi obw’amadiini ag’obulimba, ne gavumenti embi, omulimu gw’okubuulira gweyongedde mu maaso era ku kigera ekitabangawo mu byafaayo by’ensi. (Okubikkulirwa 17:5, 6) Buno nga bukakafu bwa maanyi obulaga nti Kristo afuga!—Zabbuli 110:3.
12. Lwaki abantu abasinga obungi tebategeera nti Kristo waali afuga?
12 Eky’ennaku, abantu abasinga obungi nga mw’otwalidde obukadde n’obukadde bw’abo abeeyita Abakristaayo, tebategeera nti ebintu ebigenda mu maaso mu nsi biraga nti waliwo obunnabbi obutuukirira. Basekerera n’abo abawa obujulirwa ku Bwakabaka bwa Katonda. (2 Peetero 3:3, 4) Lwaki bakola batyo? Lwa kuba Setaani abazibye amaaso. (2 Abakkolinso 4:3, 4) Mu butuufu, abo abeeyita Abakristaayo, yatandika okubaziba amaaso mu by’omwoyo ebyasa bingi emabega, era n’abaleetera n’obutaba na ssuubi lya Bwakabaka.
Tebassaayo Mwoyo ku Ssuubi ly’Obwakabaka
13. Ekizikiza eky’eby’omwoyo kyavaamu ki?
13 Yesu yalagula nti, okufaananako eŋŋaano ey’omu nsiko eyasimbibwa mu ŋŋaano ennungi, bakyewaggula bandisensedde ekibiina Ekikristaayo ne bakyamya bangi. (Matayo 13:24-30, 36-43; Ebikolwa 20:29-31; Yuda 4) Ekiseera bwe kyayitawo, abantu bano abeeyita Abakristaayo baatandika okwenyigira mu mikolo egy’ekikaafiiri ko n’okugoberera enjigiriza ez’ekikaafiiri era ne batuuka n’okugamba nti ebintu ebyo byali bya “Kikristaayo.” Ng’ekyokulabirako, Ssekukkulu yasibuka mu mikolo egikwataganyizibwa n’okusinza bakatonda ab’obulimba, Mithra ne Saturn. Naye kiki ekyaviirako abo abeeyita Abakristaayo okutandika okukwata emikolo egyo egitali gya Kikristaayo? Ekitabo ekiyitibwa New Encyclopædia Britannica (1974) kigamba bwe kiti: “Omukolo gwa Ssekukkulu ogw’okujjukira okuzaalibwa kwa Yesu Kristo gwateekebwawo olw’okuba abantu baali bagenda baggwaamu essuubi ly’okudda kwa Kristo.”
14. Enjigiriza za Oregin ne Augustine zaanyoolanyoola zitya amazima agakwata ku Bwakabaka?
14 Ate era lowooza ku ngeri amakulu g’ekigambo “obwakabaka,” gye gaanyoolebwamu. Ekitabo ekiyitibwa The Kingdom of God in 20th-Century Interpretation kigamba bwe kiti: “Origen [omwekenneenya w’eby’eddiini eyaliwo mu kyasa eky’okusatu] yakyusa engeri Abakristaayo gye bategeeramu ‘obwakabaka’ ng’agamba nti obwakabaka bwe bufuzi bwa Katonda mu mutima.” Enjigiriza eyo Oregin yagyesigamya ku ki? Teyagyesigamya ku Byawandiikibwa wabula ku “bufirosoofo ne ku ndowooza y’ensi eyawukana ku ndowooza ya Yesu n’ey’ekkanisa eyasooka.” Mu kitabo kye ekiyitibwa De Civitate Dei (Ekibuga kya Katonda) Augustine ow’e Hippo (354-430 C.E.) yagamba nti ekkanisa yennyini bwe Bwakabaka bwa Katonda. Endowooza ng’eyo etali ya mu Byawandiikibwa ye yaleetera amakanisa ga Kristendomu okufuna obuyinza mu by’obufuzi. Era obuyinza obwo gabadde nabwo okumala ebyasa bingi, ng’emirundi egisinga gabukozesa bubi.—Okubikkulirwa 17:5, 18.
15. Abaggalatiya 6:7 lutuukiriziddwa lutya ku bikwata ku makanisa mangi aga Kristendomu?
15 Kyokka, leero amakanisa gakungula bye gaasiga. (Abaggalatiya 6:7) Kirabika mangi gagenda gaggweebwako obuyinza bwago era n’abagoberezi baago bagenda bagaabulira. Embeera ng’eyo eri nnyo mu Bulaaya. Ekitabo ekiyitibwa Christianity Today, kigamba nti “leero lutikko tezikyali bifo bya kusinzizaamu, wabula ziterekebwamu ebintu eby’edda era nga kati abalambuzi be bagendayo.” Bwe kityo bwe kiri ne mu bitundu ebirala eby’ensi. Kino kitegeeza ki eri amadiini ag’obulimba? Ganaasaanawo olw’obutawagirwa mu bya nsimbi n’obutawagirwa bagoberezi baago? Era, okusinza okw’amazima kunaakwatibwako kutya?
Weeteekereteekere Olunaku lwa Katonda Olukulu
16. Obukyayi obugenda bweyongera eri Babulooni Ekinene bwoleka ki?
16 Ng’omukka n’olunyata ebiva mu lusozi bwe byoleka nti olusozi olwo lunaatera okuwandula omuliro, bwe kityo n’obukyayi obugenda bweyongera eri amadiini mu bitundu bingi mu nsi, bwoleka nti amadiini ag’obulimba ganaatera okuzikirizibwa. Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kuleetera bannabyabufuzi mu nsi okwegatta awamu bazikirize omwenzi ow’eby’omwoyo, Babulooni Ekinene. (Okubikkulirwa 17:15-17; 18:21) Abakristaayo ab’amazima basaanidde okutya ekikolwa ekyo, awamu n’ebintu ebirala ebinaddirira mu ‘kibonyoobonyo ekinene’? (Matayo 24:21) N’akatono! Mu butuufu bajja kujaganya nga Katonda azikiriza ababi. (Okubikkulirwa 18:20; 19:1, 2) Lowooza ku kyokulabirako ky’Abakristaayo abaali mu Yerusaalemi mu kyasa ekyasooka.
17. Lwaki abaweereza ba Katonda abeesigwa tebatya nkomerero y’embeera y’ebintu eno?
17 Amagye g’Abaruumi bwe gaazingiza Yerusaalemi mu 66 C.E., Abakristaayo abaali obulindaala mu by’omwoyo tebeewuunya, era tebaatya. Olw’okuba baali banyiikivu mu kwesomesa Ekigambo kya Katonda, baali bakimanyi nti ‘okuzikirizibwa kwakyo kwali kunaatera okutuuka.’ (Lukka 21:20) Ate era baali bakimanyi nti Katonda yandibasobozesezza okuva mu kibuga ekyo ne bagenda mu kifo ekitaliimu kabi. Amagye bwe gejjulula, Abakristaayo baasobola okukiddukamu. (Danyeri 9:26; Matayo 24:15-19; Lukka 21:21) Mu ngeri y’emu leero, abo abamanyi Katonda era abagondera Omwana we tebatya nkomerero y’embeera y’ebintu eno. (2 Abasessaloniika 1:6-9) Mu butuufu, ekibonyoobonyo ekinene bwe kinaatandika, bajja ‘kutunula waggulu, bayimuse emitwe gyabwe kubanga okununulibwa kwabwe kujja kuba kunaatera okutuuka.’—Lukka 21:28.
18. Kiki ekinaavaamu Googi bw’anaakola olulumba ssinzigu ku baweereza ba Katonda?
18 Oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kwa Babulooni Ekinene, Setaani, Googi ow’e Magoogi, ajja kukola olulumba ssinziggu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Nga bajja “ng’ekire ekibikka ku nsi,” Googi ne banne bajja kulowooza nti kijja kubabeerera kyangu okuwangula. Naye nga bajja kuwangulwa bubi nnyo! (Ezeekyeri 38:14-16, 18-23) Omutume Yokaana yawandiika: “Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru, n’eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow’amazima . . . Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala eky’obwogi ateme amawanga nakyo.” “Kabaka wa bakabaka” ono nnantameggwa ajja kununula abasinza ba Yakuwa era asaanyewo abalabe baabwe bonna. (Okubikkulirwa 19:11-21) Eno y’ejja okuba entikko y’okutuukirizibwa kw’okwolesebwa kw’okufuusibwa.
19. Obuwanguzi bwa Yesu bunaakola ki ku bayigirizwa be abeesigwa, era bandifubye kukola ki?
19 ‘Abo bonna abakkiririza mu Yesu bajja kumwewuunya.’ (2 Abasessaloniika 1:10) Oyagala okubeera omu ku abo abaliwuniikirira olw’obuwanguzi bw’Omwana wa Katonda? Bwe kiba kityo, weeyongera okunyweza okukkiriza kwo era ‘weeteeketeeke kubanga mu kiseera ky’otosuubira, Omwana w’omuntu ky’ajjiramu.’—Matayo 24:43, 44.
Mutunule
20. (a) Tusobola tutya okulaga nti tusiima ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’? (b) Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
20 ‘Omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ akubiriza abantu ba Katonda entakera okubeera obulindaala mu by’omwoyo. (Matayo 24:45, 46; 1 Abasessaloniika 5:6) Osiima okujjukizibwa kuno okuweebwa mu kiseera ekituufu? Okujjukizibwa okwo kukuleetera okukulembeza ebintu ebikulu mu bulamu? Weebuuze: ‘Ntunula mu by’omwoyo ne kiba nti nkitegeera nti Omwana wa Katonda afuga mu ggulu? Nkitegeera nti anaatera okutuukiriza omusango Katonda gw’asalidde Babulooni Ekinene n’ensi ya Setaani yonna?’
21. Lwaki abamu bayinza okuba nga baddiridde mu by’omwoyo, era kiki kye basaanidde okukola mu bwangu?
21 Mu kiseera kino, abamu ku bantu ba Yakuwa baddiridde mu by’omwoyo. Kyandiba nti tebalina bugumiikiriza ng’abamu ku bagoberezi ba Yesu abaasooka? Okweraliikirira ebizibu eby’omu bulamu, okwagala ebintu, oba okuyigganyizibwa bye bibatuusizza mu mbeera eyo? (Matayo 13:3-8, 18-23; Lukka 21:34-36) Oboolyawo abamu bakisanze nti ebintu ebimu ebifulumizibwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ bizibu okutegeera. Bwe kiba nti ekimu ku bintu ebyo kikutuuseeko, tukukubiriza oddemu okunyiikira okusoma Ekigambo kya Katonda era osabe Yakuwa akuyambe okuddamu okufuna enkolagana ey’oku lusegere naye.—2 Peetero 3:11-15.
22. Okwekenneenya obunnabbi obukwata ku kufuusibwa kwa Yesu awamu n’obunnabbi obulala obukwataganyizibwa nakwo, kikukutteko kitya?
22 Okwolesebwa okukwata ku kufuusibwa kwaweebwa abayigirizwa ba Yesu bwe baali beetaga okuzzibwamu amaanyi. Leero tulina ekituzzaamu amaanyi n’okusingawo, kwe kugamba, okutuukirizibwa kw’okufuusibwa kwa Yesu era n’okw’obunnabbi obulala obukwataganyizibwa nakwo. Nga tufumiitiriza ku bintu bino ebituukiriziddwa ne kye byoleka mu biseera eby’omu maaso, naffe ka twogere ng’omutume Yokaana nti: “Amiina jjangu Mukama waffe Yesu.”—Okubikkulirwa 22:20.
[Obugambo obuli wansi]
a Mu Luyonaani olwasooka, ekigambo “okulumwa” kitegeeza “okulumwa kw’okuzaala.” (Matayo 24:8, Kingdom Interlinear) Kino kitegeeza nti, okufaananako okulumwa okw’okuzaala, ebizibu bino bijja kweyongera obungi, era byeyongere okuba eby’amaanyi okutuukira ddala ku kibonyoobonyo ekinene.
Ojjukira?
• Mu myaka gya 1870, akabinja akatono ak’abayizi ba Baibuli baategeera ki ekikwata ku kudda kwa Kristo?
• Okwolesebwa kw’okufuusibwa kutuukiriziddwa kutya?
• Yesu okwebagala embalaasi ng’agenda awangula kikoze ki ku nsi ne ku kibiina Ekikristaayo?
• Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okubeera mu abo abanaawonawo nga Yesu amalirizza okuwangula?
[Ebifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Ebyayolesebwa mu kufuusibwa bituukirira
[Ebifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Omanyi ekyabaawo Kristo bwe yatandika okuwangula?