Ensi Eraga Wa?
OBUMU mu nsi. Nga kiba kirungi nnyo singa ensi yonna eba bumu! Ekyo buli omu si kye yandyagadde? Kyo kituufu nti obumu bwogeddwako nnyo. Enfunda n’enfunda, abakulembeze b’ensi bateesezza ku ngeri y’okuleetawo obumu mu nsi. Mu Agusito 2000, abakulembeze b’amaddiini abassuka mu 1,000 baakuŋŋaanira ku kitebe ky’Amawanga Amagatte mu New York, mu lukuŋŋaana olwali lukwata ku kuleetawo emirembe mu nsi yonna. Baayogera ku ngeri y’okumalawo obutabanguko obuli mu nsi. Kyokka, wadde ng’ekigendererwa ky’olukuŋŋaana olwo kyali okuteesa ku ngeri y’okuleetawo emirembe mu nsi yonna, lwo lwennyini terwalimu mirembe olw’enjawukana eziriwo mu nsi. Mufuti omu okuva mu Yerusaalemi yagaana okubaawo ku lukuŋŋaana olwo olw’okuba lwalimu labbi Omuyudaaya. Abalala tekyabasanyusa olw’okuba abateesiteesi b’olukuŋŋaana tebaayita Dalai Lama kubaawo ku nnaku ebbiri ezaasooka, nga batya okunyiiza China.
Mu Okitobba 2003, amawanga ageetoolodde Pacific Ocean gaayogera ku nsonga z’eby’okwerinda mu nsi yonna mu lukuŋŋaana lwa Asia-Pacific Economic Cooperation (APEC) olwali mu Thailand. Amawanga 21 agaaliwo ku lukuŋŋaana olwo geeyama okumalawo ebibiina by’abannalukalala era ne gakkaanya ku ngeri y’okwongera amaanyi mu by’okwerinda mu nsi yonna. Kyokka, nga bali mu lukuŋŋaana olwo, bangi beemulugunya olw’ebyo ebyayogerwa katikkiro omu, ebyali byoleka obukyayi obw’amaanyi bwe yalina eri Abayudaaya.
Lwaki Tewaliiwo Bumu?
Wadde nga wabaddewo enteesaganya ku ngeri y’okuleetawo obumu mu nsi yonna, tewali kalungi kavuddemu. Lwaki obumu tebuliiwo mu kyasa kino eky’abiri mu ekimu, wadde ng’abantu babadde bafuba nnyo okubuleetawo?
Ekimu ku by’okuddamu kyeyolekera mu ebyo katikkiro omu bye yayogerera mu lukuŋŋaana olwali mu Thailand. Yagamba: “Waliwo okwenyumiriza mu mawanga.” Yee, abantu beenyumiriza mu mawanga gaabwe. Buli limu lyagala okuba ne gavumenti yaalyo. Olw’okuba gonna gaagala okuba ne gavumenti zaago, gavuganya era galina omulugube, ekiviiriddeko obuzibu obw’amaanyi. Emirundi mingi, singa ebyo eggwanga bye lyagala biba bikontana n’ebyo ensi yonna by’eyagala, eggwanga eryo likulembeza ebyo bye lyagala.
Kiba kituukirawo bulungi omuwandiisi wa Zabbuli bw’ayita mwoyo gwa ggwanga “kawumpuli omubi.” (Zabbuli 91:3) Omwoyo ogwo gubadde nga kawumpuli, era guviiriddeko olulyo lw’omuntu okubonaabona ennyo. Mwoyo gwa ggwanga n’obukyayi obuvaamu bibaddewo okumala ebyasa by’emyaka. Ne mu kiseera kino, mwoyo gwa ggwanga guleeseewo enjawukana, era abakulembeze tebasobodde kuzikomya.
Abakulembeze bangi bakitegedde nti mwoyo gwa ggwanga n’okwerowoozaako bye biviiriddeko ebizibu ebiri mu nsi yonna. Ng’ekyokulabirako, eyali Ssaabawandiisi w’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte ayitibwa U Thant yagamba: “Ebizibu bingi ebiriwo leero biva ku kuba nti abantu balina endowooza enkyamu . . . Endowooza zino mwe muli ey’okuba ne mwoyo gwa ggwanga, kwe kugamba, okwagala ennyo ‘ensi yaffe, k’ebeere ntuufu oba nkyamu.’” Wadde kiri kityo, ne leero amawanga ageerowoozaako gakyalulunkanira obuyinza. Ago agalina obuyinza tegaagala kulekera malala. Ng’ekyokulabirako, akatabo akayitibwa International Herald Tribune kaayogera bwe kati ku European Union (Ekibiina Ekigatta Amawanga ga Bulaaya): “Eby’obufuzi bya Bulaaya birimu nnyo okuvuganya n’obuteesigaŋŋana. N’okutuusa leero, amawanga mangi tegakkiriza mawanga malala bwe gali mu kibiina ekyo okutwala obukulembeze.”
Ekigambo kya Katonda, Baibuli, kyogera ku ebyo ebivudde mu bufuzi bw’abantu nga kigamba: ‘Omuntu abadde n’obuyinza ku mulala olw’okumukola obubi.’ (Omubuulizi 8:9) Ensi bwe bagikutuddekutuddemu amawanga ag’enjawulo, abantu balabye okutuukirizibwa kw’omusingi gwa Baibuli guno ogugamba nti: “Eyeeyawula anoonya kye yeegomba yekka, era alalukira amagezi gonna amatuufu.”—Engero 18:1.
Omutonzi waffe, oyo amanyi obulungi kye twetaaga, teyakigenderera abantu beeteerewo gavumenti zaabwe era beefuge. Abantu bwe beetereddewo gavumenti zaabwe, basudde muguluka ekigendererwa kya Katonda n’okuba nti y’alina obwa nnannyini ku bintu byonna. Zabbuli 95:3-5 wagamba: “Mukama ye Katonda omukulu, era Kabaka omukulu asinga bakatonda bonna. Enkonko z’ensi ziri mu mukono gwe; n’entikko z’ensozi nazo zizze. Ennyanja yiye, era yagikola; n’emikono gye gye gyabumba olukalu.” Katonda y’alina obwannannyini okufuga olulyo lw’omuntu, era abantu bonna gwe banditutte ng’omufuzi waabwe. Amawanga bwe geeteerawo gavumenti zaago, gaba gakola ekyo Katonda ky’atayagala.—Zabbuli 2:2.
Kiki Ekyetaagisa?
Ekiyinza okuyamba ensi yonna okuba obumu kwe kuba ne gavumenti emu, ng’ekola ku byetaago by’abantu bonna. Abantu bangi abeetegereza embeera eriwo mu nsi, balaba obwetaavu bw’ekyo. Kyokka, obwesige bwabwe babutadde mu bibiina by’abantu. Ng’ekyokulabirako, abantu bangi, nga mw’otwalidde n’abakulembeze b’eddiini bakubiriza abantu okuteeka obwesige mu Kibiina ky’Amawanga Amagatte, ng’ensibuko y’obumu mu nsi yonna. Kyokka, ebibiina by’abantu, tebisobodde kukola ku bizibu by’abantu mu nsi yonna. Mu kifo ky’ekyo, mu bibiina ebisinga obungi mulimu enjawukana ng’ezo eziri mu mawanga ag’enjawulo.
Baibuli etukubiriza obutassa bwesige mu bibiina by’abantu, nga tulowooza nti bye binaagonjoola ebizibu ng’egamba: “Temwesiganga balangira, newakubadde omwana w’omuntu, omutali buyambi bwonna.” (Zabbuli 146:3) Kino kitegeeza nti ensi teribeeramu bumu? N’akatono. Waliwo ekijja okuleetawo obumu.
Abantu bangi tebamanyi nti Katonda ataddewo gavumenti esobola okuleetawo obumu mu nsi yonna. Baibuli eyogera bw’eti ku Yakuwa Katonda: ‘Ntadde kabaka wange ku lusozi Sayuuni. Nsaba, nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo.’ (Zabbuli 2:6, 8) Weetegereze nti ekyawandiikibwa kino kigamba nti Yakuwa Katonda ‘ataddewo kabaka we,’ gwayita ‘omwana we,’ mu lunyiriri 7. Omwana oyo ye Yesu Kristo eyaweebwa obuyinza ku mawanga gonna.
Ekinaasobozesa Obumu Okubaawo mu Nsi
Abantu abasinga obungi bagaana obufuzi buno obw’omu ggulu Katonda bw’ataddewo. Amawanga gagugubidde ku ky’okwagala okwefuga. Kyokka, Katonda tajja kugumiikiriza abo abagaana obufuzi bwe ne gavumenti gy’ataddewo. Abo abagaana obufuzi bwe, Zabbuli 2:9 eboogerako bw’eti: ‘Abo Omwana, Yesu Kristo, alibaasayasa n’omuggo ogw’ekyuma, nga balinga entamu y’omubumbi.’ Amawanga goolekedde okuzikkirizibwa, ka kibeere nti gakimanyi oba nedda. Ekitabo kya Baibuli ekisembayo kyogera ku ‘bakabaka b’ensi yonna’ nga bakuŋŋaanyiziddwa ‘ku lutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu byonna.’ (Okubikkulirwa 16:14) Amawanga n’enjawukana zaago bijja kukomezebwa. Kino kijja kusobozesa gavumenti ya Katonda okukakalabya emirimu gyayo nga tewali agikuba ku mukono.
Ng’Omufuzi w’Obutonde Bwonna, Yakuwa Katonda ajja kukakasa nti ensi yonna eba bumu ng’ayitira mu Mwana we. Gavumenti ya Katonda ejja kuleetawo obumu obwa nnamaddala era ejja kuwa abo bonna abaagala obutuukirivu omukisa. Lwaki towaayo biseera n’osoma Zabbuli 72 mu Baibuli yo? Zabbuli eyo eraga ekyo obufuzi bwa Katonda kye bunaakolera abantu. Ensi ejja kubaamu obumu obwa nnamaddala, era ebizibu by’abantu byonna, gamba ng’okunyigirizibwa, ettemu, obwavu, n’ebirala, bijja kukoma.
Abantu bangi abali mu nsi eno erimu enjawukana balowooza nti ekyo tekisoboka. Naye, kiba kikyamu okuba n’endowooza eyo. Byonna Katonda bye yasuubizanga byatuukirizibwa, era n’ebyo by’asuubiza biteekwa okutuukirizibwa. (Isaaya 55:10, 11) Wandyagadde okubaawo ng’ebisuubizo ebyo bituukirizibwa? Ekyo kisoboka. Mu butuufu, waliwo abantu abeeteekerateekera ekiseera ekyo. Wadde nga bava mu mawanga gonna, tebalina njawukana, wabula bali bumu era nga bagondera obufuzi bwa Katonda. (Isaaya 2:2-4) Abantu abo be baani? Be Bajulirwa ba Yakuwa. Lwaki togendako mu nkuŋŋaana zaabwe? Mu butuufu, ojja kunyumirwa okubeera awamu n’abantu abasobola okukuyamba okugondera obufuzi bwa Katonda era obeere mu bumu obutaliggwaawo emirembe n’emirembe.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]
Abantu okuva mu mawanga gonna beeteekerateekera obulamu mu nsi eri obumu
[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Saeed Khan/AFP/Getty Images
[Ensibuko y’ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]
Woman grieving: Igor Dutina/AFP/Getty Images; protesters: Said Khatib/AFP/Getty Images; armored cars: Joseph Barrak/AFP/Getty Images