LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 1/1 lup. 11-14
  • Kisoboka Okukkiririza mu Mutonzi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kisoboka Okukkiririza mu Mutonzi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Eddiini by’Eremereddwa Okukola
  • Kisoboka Okuba Obulungi Awatali Katonda?
  • Ebirala Ebireetera Abantu Obutakkiririza mu Katonda
  • Kiki Ekyabayamba Okukkiririza mu Mutonzi?
  • Enkolagana Yo n’Omutonzi
  • Baibuli Ekkiriza nti Ebintu Byajjawo Byokka?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 1/1 lup. 11-14

Kisoboka Okukkiririza mu Mutonzi?

“BWE nnakirowoozaako nti wayinza okuba nga waliyo Omutonzi, kyankwasa obusungu okukimanya nti ayinza okuba ng’alina obuyinza okukomya okubonaabona kw’abantu naye nga si mwetegefu kukikola!” Bw’atyo bwe yayogera omuntu eyali takkiririza mu Katonda eyafiirwa ab’omu maka ge mu kutta abantu okw’ekikungo okwaliwo mu biseera by’Abanazi. Si ye yekka eyalina enneewulira ng’eyo.

Abantu bangi bwe boolekagana n’embeera ng’ezo kibazibuwalira okukkiririza mu Katonda, era endowooza gye balina nti Katonda taliiyo ebaleetera okufuna okubudaabudibwa. Nsonga ki enkulu ezireetera abantu abamu obutakkiririza mu Mutonzi? Ddala abantu bandibadde bulungi nnyo, ng’abamu bwe balowooza, singa tewali Katonda wadde eddiini? Kisoboka omuntu abadde takkiririza mu Katonda okukyusa endowooza ye n’atandika okumukkiririzaamu?

Eddiini by’Eremereddwa Okukola

Kyewunyisa okulaba nti eddiini y’esinze okuleetera abantu obutakkiririza mu Katonda. Munnabyafaayo ayitibwa Alister McGrath annyonnyola nti: “Ekisinga okuleetera abantu obutakkiririza mu Katonda kwe kuba nti beetamiddwa eddiini olw’ebyo bye zikola n’ebyo bye ziremereddwa okutuukiriza.” Emirundi egisinga obungi abantu balaba ng’eddiini ze zivaako entalo n’ebikolwa eby’ettemu. Omufirosoofo atakkiririza mu Katonda ayitibwa Michel Onfray kimwewuunyisa okulaba engeri ekitabo ky’ekimu eky’eddiini gye kiyinza “okuleetera abantu abamu okweyisa mu ngeri ennungi” ate abalala “n’ekibaleetera okweyisa mu ngeri ey’obukambwe ennyo,” gamba ng’okwenyigira mu bikolwa ebya bannalukalala.

Abantu bangi balina ebintu ebibi ennyo bye balabye mu ddiini. Bwe yali ng’akyali mu magye, omuvubuka omu Omuswidi ayitibwa Bertil, yawulira oyo akulembera eby’eddiini mu magye ng’ajuliza ebigambo bya Yesu ebigamba nti akwata ekitala alifa kitala okulaga nti ebikolwa eby’ettemu si bibi. Omukulembeze w’eddiini oyo yagamba nti wateekwa okubaawo omuntu akwata ekitala, n’olw’ensonga eyo omujaasi ateekwa okuba nga muweereza wa Katonda!​—Matayo 26:52.a

Bernadette, eyafiirwa kitaawe mu ssematalo ow’okubiri mu Bufalansa, ajjukira nga yayisibwa bubi bwe yawulira ebigambo omukulembeze w’eddiini bye yayogerera mu kuziika kizibwe we eyali ow’emyaka essatu. Omukulembeze w’eddiini oyo yagamba nti: “Katonda ayise omwana ono okubeera malayika.” Oluvannyuma Bernadette yazaala omwana omulema, naye tewali mukulembeze wa ddiini yenna yamubudaabuda olw’ekyo ekyali kimutuuseeko.

Ciarán, eyakulira mu kiseera ebikolwa eby’ettemu we byanyinyiitirira ennyo mu Northern Ireland, yeesittala olw’enjigiriza ey’omuliro ogutazikira. Yagambanga nti akyayira ddala Katonda avunaanyizibwa ku kikolwa ekibi ng’ekyo era yasoomooza Katonda ng’agamba nti, bw’aba nga gy’ali amutte. Ciarán si ye yekka eyeesittala olw’enjigiriza eyo eyoleka obukambwe. Mu butuufu, enjigiriza z’eddiini ziyinza okuba nga ze zaaviirako endowooza egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa byajjawo byokka. Alister McGrath agamba nti Darwin yali yakyawa enjigiriza ey’omuliro ogutazikira era ekyo kye kyamuleetera okubuusabuusa nti Katonda gyali so si endowooza gye yalina nti ebintu tebyatondebwa butondebwa. McGrath era ayogera ne ku ky’okuba nti Darwin yalina ‘ennaku ey’amaanyi olw’okufiirwa muwala we.’

Omuntu omunyiikivu mu ddiini, abamu bamutwala ng’atategeera bulungi oba nga nnalukalala. Irina, eyali yeetamiddwa okuyigiriza kw’eddiini okutaliimu nsa n’essaala ze baddiŋŋananga, agamba nti: “Nnali nkiraba nga bannaddiini balinga abatalowooza.” Louis eyali yeetamiddwa ebikolwa eby’obukambwe ebyali bikolebwa bannaddiini bannalukalala ye yafuna endowooza embi ennyo ku ddiini. Agamba nti: “Okumala emyaka mingi nnali saagala ddiini, era ekiseera kyatuuka ne nkiraba nti esobola okuba ey’akabi ennyo eri abantu. Ekyo kyandeetera okukyawa eddiini zonna.”

Kisoboka Okuba Obulungi Awatali Katonda?

Bwe kityo, tekyewuunyisa nti abantu bangi balowooza nti eddiini ze zibalemesa okukulaakulana era n’okuba n’emirembe. Abamu batuuse n’okulowooza nti oboolyawo abantu bandibadde bulungi n’okusingawo singa tewali Katonda wadde eddiini. Naye ate endowooza ng’eyo teyinza kuleeta bizibu birala?

Omufirosoofo ayitibwa Voltaire eyaliwo mu kyasa 18 yavumirira nnyo ebikolwa ebibi eby’abakulembeze b’eddiini abaaliwo mu kiseera kye. Kyokka, yali akimanyi nti okukkiririza mu Katonda kisobola okuyamba abantu okuba n’empisa ennungi. Oluvannyuma, omufirosoofo Omugirimaani ayitibwa Friedrich Nietzsche yalangirira nti Katonda mufu, naye yali atya nti endowooza eyo yandiviiriddeko abantu okuddirira mu mpisa era n’okufuna emitawaana olw’obutakkiririza mu Katonda. Naye yali mutuufu okuba n’okutya okw’engeri eyo?

Omuwandiisi ayitibwa Keith Ward agamba nti olulyo lw’omuntu bwe lwatuuka ku mulembe guno, ebikolwa eby’obukambwe tebyakendeera wabula “byeyongera ne bituuka ku kigero ekyali kitasuubirwa.” Era obutakkiririza mu Katonda tekiyambye bantu kwewala bintu bibi, gamba ng’obutali bwesigwa n’obusosoze. Kino kireetedde abantu bangi, nga mw’otwalidde n’abo abatakkiririza mu Katonda, okukiraba nti kya muganyulo okukkiririza mu Katonda.

Keith Ward alaga omuganyulo oguli mu kukkiririza mu Katonda: “Okukkiriza kuleetera omuntu okwagala okweyisa obulungi era n’okufaayo okulabirira ensi Katonda gye yatonda.” Okunoonyereza okutali kumu okwakolebwa gye buvuddeko awo kwalaga nti abantu abatwala eddiini ng’ekintu ekikulu beeyongedde okufaayo ku bantu abalala, era kino kibaviiriddeko okufuna essanyu. Okunoonyereza ng’okwo kwongera okulaga emiganyulo egiri mu musingi Yesu gwe yassaawo ogugamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”​—Ebikolwa 20:35.

Omusajja omu eyali takkiririza mu Katonda era ng’akola ku mbeera z’abantu, kyamuwuniikiriza nnyo okulaba engeri Baibuli gy’esobola okukyusa obulamu bw’abantu. Yagamba nti: “Oluvannyuma lw’okumala emyaka mingi nga nfuba okuyamba abantu okukyusa enneeyisa zaabwe ez’akabi eri obulamu bwabwe n’obw’abalala kyokka ne nnemererwa, kyaneewuunyisa okulaba engeri Baibuli gy’esobozesezza abantu okukyusa obulamu bwabwe.”

Wadde kiri kityo, abamu ku abo abatakkiririza mu Katonda bagamba nti okukkiririza mu Katonda kiviiriddeko abantu okweyongera okutirimbulwa era n’obukuubagano obulala, mu kifo ky’okuleetera abantu okweyisa obulungi era n’okufaayo ku bantu abalala. Bayinza okuba nga bakiraba nti okukkiririza mu Katonda kirina engeri gye kiyambyemu abantu abamu, naye bo bennyini ne basigala nga bakalambidde ku ndowooza yaabwe ey’obutakkiririza mu Katonda. Lwaki?

Ebirala Ebireetera Abantu Obutakkiririza mu Katonda

Bangi bayigiriziddwa nti endowooza egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa ntuufu. Ng’ekyokulabirako, Anila, eyasomera mu Albania gye batakkiririza mu Katonda agamba nti: “Bwe nnali mu ssomero, twayigirizibwa nti si kya magezi okukkiririza mu Katonda. Bulijjo nnayiganga ebintu ebyewuunyisa ebikwata ku bimera n’ebintu ebirala ebiramu, kyokka nga byonna mbitwala nti tebyatondebwa butondebwa, okuva bwe kiri nti kino kyatuleeteranga okulowooza nti endowooza yaffe etuukagana n’eya bannasayansi.” Kati agamba nti, “ebyo bye baatuyigirizanga nnamalanga gabikkiriza.”

Obukyayi abantu abamu bwe balina ku ddiini buyinza okubalemesa okukkiririza mu Katonda. Abajulirwa ba Yakuwa bwe baba babuulira amawulire amalungi nnyumba ku nnyumba batera okusanga abantu abalina obukyayi ng’obwo. Bertil, eyayogeddwako waggulu, yakyalirwa omuvubuka omu Omujulirwa wa Yakuwa. Bertil ajjukira ng’ayogera mu mutima gwe nti: ‘Musajja wattu ono azze mu kifo kikyamu!’ Agamba nti: “Nnamukkiriza okuyingira ne ndyoka njoleka obukyayi bwe nnalina ku Katonda, Baibuli, n’eddiini.”

Gus, ow’omu Scotland, yayisibwa bubi olw’obutali bwenkanya obuliwo mu nsi. Mu kusooka, yakaayananga nnyo era nga takkiriziganya na Bajulirwa ba Yakuwa. Yabuuzanga ebibuuzo ebifaananako n’ekyo nnabbi Omwebbulaniya ayitibwa Kaabakuuku kye yabuuza Katonda nti: ‘Lwaki ondeka okulaba ebirumya, era n’otunula butunuzi ng’ebikyamu bikolebwa?’​—Kaabakuuku 1:3.

Eky’okuba nti Katonda alabika ng’atafaayo ku bubi obuliwo mu nsi nakyo kimaze ebbanga ddene nga kibobbya abantu emitwe. (Zabbuli 73:2, 3) Omuwandiisi Omufalansa ayitibwa Simone de Beauvoir yagamba nti: “Kyali kyangu gyendi okulowooza nti omutonzi taliiyo mu kifo ky’okulowooza nti gy’ali era nga y’avunaanyizibwa ku bizibu byonna ebiri mu nsi.”

Naye eky’okuba nti eddiini ziremereddwa okunnyonnyola abantu ensonga ezibaviirako okubonaabona kitegeeza nti tewali asobola kuzinnyonnyola? Gus agamba nti oluvannyuma “yategeera ensonga lwaki Omutonzi ow’amaanyi ennyo akkirizza okubonaabona okubaawo okumala ekiseera.” Era agamba nti, “okutegeera kino kyannyamba nnyo.”b

Abantu abamu abagamba nti tebakkiririza mu Katonda bayinza okuba nga babuusabuusa endowooza egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa. Abantu ng’abo bayinza okuba nga baagala okumanya Katonda era bayinza n’okuba nga basaba. Ka tulabe ekyo ekyaleetera abamu ku abo abaali batakkiririza mu Katonda n’abo abaali babuusabuusa nti gy’ali okulowooza ennyo ku nsonga eno era ne kibaviiramu okufuna enkolagana ey’oku lusegere n’Omutonzi waabwe.

Kiki Ekyabayamba Okukkiririza mu Mutonzi?

Omuvubuka eyakyalira Bertil yamulaga nti waliwo enjawulo ya maanyi nnyo wakati w’Abakristaayo ab’amazima n’abo abeeyita obweyisi Abakristaayo. Bertil annyonnyola ekyo ekyasinga okumusikiriza, ng’oggyeko okumulaga nti Katonda gy’ali. Agamba nti: “Nnasikirizibwa nnyo engeri gye yangumiikirizaamu wadde nga nnalinga mmuwakanya. . . . Yalinga mukkakkamu, yandeeteranga ebitabo eby’okusoma era yabanga yeeteeseteese bulungi.”c

Svetlana, eyalina endowooza nti ebintu tebyatondebwa butondebwa era ng’akkiririza ne mu ndowooza ya nnaakalyakaani, yali akkiriza nti omuntu okusobola okubeerawo alina kwefaako yekka. Naye teyali mumativu n’endowooza eno ey’akabi. Ebyo bye yayigirizibwa mu ssomero eritendeka abasawo byayongera kumubuzaabuza. Agamba nti: “Bwe twali tusoma ebikwata ku butakkiririza mu Katonda, twayiga nti omuntu okusobola okubaawo alina kwefaako yekka. Naye bwe twali tusoma obusawo, twayigirizibwa nti tusaanidde okufaayo ku balala.” Era yeebuuza ensonga lwaki abantu, abagambibwa okuba nti baava mu nkima balina bingi ebibeeraliikiriza enkima bye zitalina. Kyanneewuunyisa nnyo okulaba nga “jjajja wange y’annyinnyonnyola ensonga ezo era n’andaga okuva mu Baibuli nti obutali butuukirivu bw’abantu bwe bubaviirako okuba n’enneewulira embi.” Era Svetlana yasanyuka nnyo okumanya engeri Baibuli gy’eddamu ebibuuzo gamba nga, lwaki abantu abeesigwa eri Katonda babonaabona?

Leif, enzaalwa y’omu Scandinavia, yali akkiririza nnyo mu njigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa era nga Baibuli agitwala okuba ekitabo eky’enfumo obufumo. Kyokka, lumu mukwano gwe yamubuuza nti: “Okimanyi nti by’oyogera by’ebyo abalala bye baayogera edda nga tebalina na kimu kye bamanyi ku Baibuli?” Ng’annyonnyola engeri gye yakwatibwako ebigambo ebyo, Leif agamba nti: “Nnakitegeera nti nnali mmaze gakkiriza enjigiriza eyo egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa. . . . Ndowooza nti ebimu ku ebyo ebiyinza okuyamba abantu abatakkiririza mu Katonda okutandika okufumiitiriza kwe kumanya obunnabbi obuli mu Baibuli n’engeri gye butuukirizibwamu.”​—Isaaya 42:5, 9.

Ciarán, eyayogeddwako waggulu, yali aweddemu amaanyi olw’emyaka emingi gye yayonoonera mu by’obufuzi. Bwe yalowooza ku bulamu, yafuna ekirowoozo kino: Katonda ow’amaanyi era ow’okwagala ye yekka asobola okumalawo ebizibu ebiri mu nsi era n’okumulaga engeri y’okugonjoolamu ebizibu bye. Yanyolwa mu mutima gwe era n’agamba nti, ‘kale singa mbadde nsobola okuzuula Katonda ng’oyo.’ Ng’ajjudde ennaku ey’amaanyi yasaba nti: “Oba nga gy’oli era ng’ompulira, ndaga engeri gye nnyinza okuvvuunuka ebizibu byange era n’engeri okubonaabona kw’olulyo lw’omuntu gye kuyinza okuggwaawo.” Nga wayiseewo ennaku ntono, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa yamukyalira mu maka ge. Omujulirwa yamunnyonnyola ekyo Baibuli ky’eyigiriza ku myoyo emibi egikubiriza gavumenti z’abantu. (Abaefeso 6:12) Kino kyayongera okukakasa Ciarán ebyo ye kennyini bye yali yeetegerezza era ne kimuleetera okwagala okweyongera okumanya ebisingawo. Bwe yeeyongera okuyiga Baibuli, okukkiriza kwe mu Mutonzi ow’okwagala kweyongera okunywera.

Enkolagana Yo n’Omutonzi

Obunnanfuusi obuli mu madiini, enjigiriza ey’obutakkiririza mu Katonda gamba ng’eyo egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa, n’okweyongerayongera kw’obubi, bireetedde bangi okubuusabuusa oba obutakkiriza nti Omutonzi gyali. Wadde kiri kityo, Baibuli esobola okuddamu ebibuuzo byo mu ngeri ematiza. Era eraga ebirowoozo bya Katonda, ‘ebirowoozo eby’emirembe so si bya bubi, okuwa abantu essuubi.’ (Yeremiya 29:11) Ate ye Bernadette eyali takkiriza nti Katonda gyali, era eyalina omwana eyazaalibwa nga mulema, essuubi eryo lyamubudaabuuda nnyo mu kubonaabona kwe yalimu.

Abantu bangi abaali batakkiriza mu Katonda bakwatiddwako nnyo engeri Baibuli gy’ennyonnyolamu ensonga lwaki Katonda akkirizza okubonaabona okubaawo. Bw’onoowaayo ekiseera okumanya engeri Baibuli gy’eddamu ebibuuzo ng’ebyo, naawe oyinza okukikakasa nti Katonda gyali era nti “tali wala wa buli omu ku ffe.”​—Ebikolwa 17:27.

[Obugambo obuli wansi]

a Okusobola okutegeera obanga Omukristaayo owa nnamaddala asaanidde okwenyigira mu ntalo, laba ekitundu, “Ddala Abakristaayo Basaanidde Okwenyigira mu Ntalo?” Ekiri mu Watchtower eya Okitobba 1, 2009, olupapula 29-31.

b Okusobola okumanya ebisingawo ebikwata ku nsonga lwaki Katonda akyaleseewo obubi, laba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?, olupapula 106 okutuuka 114, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

c Okumanya ebisingawo ebikwata ku kutondebwa kw’ebintu, laba Awake! eya Ssebutemba 2006, erina omutwe ogugamba nti “Is There a Creator?,” eyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Akasanduuko akali ku lupapula 13]

Ebibuuzo Ebitaddibwamu Njigiriza Egamba nti Ebintu Tebyatondebwa Butondebwa

• Obulamu buyinza butya okuva mu kintu ekitalina bulamu?​—ZABBULI 36:9.

• Lwaki ebisolo n’ebimera bizaala okusinziira ku bika byabyo?​—OLUBERYEBERYE 1:11, 21, 24-28.

• Bwe kiba nti abantu baava mu nkima, lwaki tewaliiwo muntu n’omu afaanana ng’enkima?​—ZABBULI 8:5, 6.

• Okufaayo ku balala kikwatagana kitya n’endowooza egamba nti omuntu okusobola okubeerawo alina kwefaako yekka?​—ABARUUMI 2:14, 15.

• Ddala waliwo essuubi lyonna eri olulyo lw’omuntu?​—ZABBULI 37:29.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 12 13]

Katonda ow’okwagala ayinza atya okutonda ensi omuli abaana ababonaabona?

Obunnanfuusi obuli mu madiini buleetedde bangi okuva ku Katonda

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share