Si Bakadde Nnyo Kuweereza Katonda
Mu kibuga Málaga, ekiri mu bukiika ddyo bwa Sipeyini, waliyo omukyala ne muwala we, nga bombi bayitibwa Ana, abaabatizibwa nga Ddesemba 19, 2009. Be bamu ku bantu 2,352 abaabatizibwa mu Sipeyini mu 2009. Naye waliwo ekintu ekyewuunyisa ku mukyala ono ne muwala we—emyaka gyabwe. Omukyala ono yalina emyaka 107 ate nga muwala we wa myaka 83!
Baatuuka batya okwewaayo eri Yakuwa ne babatizibwa? Ng’emyaka gya 1970 gyakatandika, waliwo muliraanwa wa Ana omuto eyateranga okumuyita okubaawo mu Lukuŋŋaana olw’Okusoma Ekitabo olwabeeranga mu maka g’Omujulirwa omu. Ana yateranga okugenda mu lukuŋŋaana olwo. Kyokka, omulimu gwe yali akola tegwamusobozesa kukulaakulana.
Nga wayise emyaka nga kkumi, abamu ku baana ba Ana baatandika okuyiga Baibuli era ne bafuuka abaweereza ba Yakuwa. Omu ku baana be ayitibwa Mari Carmen, ye yamuleetera okuddamu okwagala okumanya amazima ga Baibuli era n’amuyamba okutandika okuyiga Baibuli. Oluvannyuma, jjajja wa Mari Carmen, Ana omukulu, naye yatandika okwagala okuyiga Baibuli. N’ekivuddemu, abantu kkumi okuva mu maka gano kati babatize.
Ku lunaku lwe baabatizibwa, ba Ana bombi, maama ne muwala we, baali basanyufu nnyo. Ana ow’emyaka 107 yagamba nti, “Yakuwa abadde mulungi nnyo gyendi, annyambye okumutegeera.” Ate ye muwala we yagamba nti, “Ng’Olusuku lwa Katonda terunnajja, njagala okuweereza Yakuwa, nga nkola by’ayagala era nga nkola kyonna ekisoboka okubuulira amawulire amalungi.”
Okubaawo mu nkuŋŋaana zonna kireetera bannamwandu bano essanyu ppitirivu. Omukadde omu mu kibiina kyabwe agamba nti, “Tebasubwa lukuŋŋaana lwonna. Baba beetegefu okubaako ne kye baddamu mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi.”
Ekyokulabirako kyabwe kitujjukiza nnamwandu ayitibwa Ana “ataayosanga kugenda mu yeekaalu, nga yeenyigira mu buweereza obutukuvu emisana n’ekiro, ng’asiiba, era nga yeegayirira Katonda.” Kino kyamusobozesa okufuna enkizo okulaba ku Yesu ng’akyali muwere. (Luk. 2:36-38) Ku myaka 84 egy’obukulu, Ana teyali mukadde nnyo kuweereza Yakuwa, era nga ne ba Ana aboogeddwako waggulu bwe bali.
Olinayo ab’eŋŋanda zo abeetegefu okuwuliriza obubaka bwa Baibuli? Oba wali osanzeeko nnamukadde eyakuwuliriza ng’ogenze ewuwe? Abantu ng’abo basobola okuba nga ba Ana ababiri aboogeddwako waggulu, kubanga si bakadde nnyo kutandika kuweereza Katonda ow’amazima, Yakuwa.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 25]
“Yakuwa abadde mulungi nnyo gyendi”
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 25]
“Ng’Olusuku lwa Katonda terunnajja, njagala okuweereza Yakuwa”