Okyajjukira?
Ofubye okusoma magazini za Omunaala gw’Omukuumi ezaafulumizibwa gye buvuddeko awo? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:
Mu ngeri ki ekyokulabirako kya Sulemaani gye kiri okulabula gye tuli?
Katonda yawa Kabaka Sulemaani emikisa mingi era yamusobozesa okukola ebintu bingi. Kyokka bwe yali afuga nga kabaka, Sulemaani yava ku mateeka ga Yakuwa. Yawasa muwala wa Falaawo eyali tasinza Yakuwa, n’awasa abakazi abalala bangi, era n’akkiriza bakazi be abaali batasinza Yakuwa okumuleetera okusinza bakatonda ab’obulimba. Tusaanidde okwewala okutwalirizibwa endowooza z’abantu enkyamu. (Ma. 7:1-4; 17:17; 1 Bassek. 11:4-8)—12/15, olupapula 10-12.
Lwaki tusaanidde okugoberera emitindo gya Bayibuli?
Abo abagoberera emitindo gya Bayibuli baba n’omuntu ow’omunda omuyonjo era enkolagana yaabwe n’ab’omu maka gaabwe yeeyongera okunywera. (Zab. 19:8, 11) Abo abagaana okugoberera emitindo gya Bayibuli bafuna ennyiike etagambika.—1/1, olupapula 8, 9.
Tumanya tutya nti wabaddengawo Abakristaayo ab’amazima abaafukibwako amafuta okuva mu kyasa ekyasooka n’okweyongerayo?
Mu lugero lwa Yesu olukwata ku ‘ŋŋaano n’omuddo,’ “ensigo ennungi” zikiikirira ‘abaana b’obwakabaka.’ (Mat. 13:24-30, 38) Omuddo gwandikulidde wamu n’eŋŋaano okutuusa mu kiseera ky’amakungula. N’olwekyo, wadde nga tetusobola kutegeerera ddala bantu ki abaali abamu ku abo abaafukibwako amafuta aboogerwako ng’eŋŋaano abaaliwo okuva mu kyasa ekyasooka okutuukira ddala mu kiseera kyaffe, tuli bakakafu nti bulijjo wabaddengawo Abakristaayo abaafukibwako amafuta ku nsi.—1/15, olupapula 7.
Tuyinza tutya okwewala okukwatirwa abalala obuggya?
Bino bye bijja okutuyamba: Okwagala ennyo baganda baffe, okukuŋŋaana awamu n’abantu ba Katonda, okufuba okukola ebintu ebirungi, ‘n’okusanyuka n’abo abasanyuka.’ (Bar. 12:15)—2/15, olupapula 16-17.
Bintu ki by’osaanidde okulowoozaako nga tonnaba kuwa balala magezi?
Sooka otegeere bulungi embeera y’omuntu. Toyanguyiriza kuwa muntu magezi. Wa amagezi ageesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda. Kozesa ebitabo by’omuddu omwesigwa. Weewale okusalirawo abalala.—3/15, olupapula 7-9.
Yesu yakubiriza abo abaali bamuwuliriza okutambula mayiro ey’okubiri. (Mat. 5:41) Kiki kye yali ategeeza?
Mu kiseera ekyo, Isiraeri yali efugibwa Abaruumi, abaawalirizanga abantu okukola emirimu. Bwe kityo, Yesu bwe yakubiriza abo abaali bamuwuliriza okutambula mayiro ey’okubiri yali ategeeza nti singa ab’obuyinza baabanga babalagidde okukola ekintu kyonna ekiri mu mateeka naye nga tekikontana na mateeka ga Katonda, baalinanga okukikola awatali kwemulugunya.—4/1, olupapula 9.
Ana ayogerwako mu bitabo by’Enjiri eyaliwo nga Yesu awozesebwa y’ani?
Mu Bayibuli, Ana ayogerwako nga “kabona omukulu” era yali akyali mu kifo ekyo mu kiseera Yesu bwe yali ng’awozesebwa. (Luk. 3:2) Yaweerezaako nga kabona asinga obukulu okuva mu mwaka gwa 6 oba 7 E.E. okutuuka awo nga mu mwaka gwa 15 E.E. Ne bwe yaggibwa mu kifo ekyo, Ana yasigala akyalina obuyinza bungi mu Isiraeri.—4/1 olupapula 9.
Lwaki Abakristaayo basaanidde okubatizibwa era omuntu alina kukola ki okusobola okubatizibwa?
Omukristaayo bw’abatizibwa aba asaba Katonda amuyambe okuba n’enkolagana ennungi naye. (1 Peet. 3:21) Twewaayo eri Yakuwa okuyitira mu kusaba. Mu kusaba nga twewaayo eri Yakuwa, tweyama okukola by’ayagala obulamu bwaffe bwonna. Bwe tubatizibwa tuba twoleka mu lujjudde nti tumaze okwewaayo eri Yakuwa.—4/1, olupapula 16, 17.
Ani yasindika “emmunyeenye” eyakulembera abalaguzisa emmunyeenye?
Emmunyeenye eyo yasindikibwa Sitaani Omulyolyomi, oyo eyali ayagala ennyo okulaba nti omwana Yesu attibwa. Sitaani akubiriza ebikolwa eby’obukambwe, obulimba, n’ettemu. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yamwogerako ‘ng’omulimba era kitaawe w’obulimba.’ Era Yesu yagamba nti Sitaani “okuva ku lubereberye mussi.” (Yok. 8:44)—4/1 olupapula 29.