Ebirimu
Maayi 15, 2012
© 2012 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania. All rights reserved.
Ogw’Okusoma Mu Kibiina
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
JJULAAYI 2-8, 2012
Ossa Ekitiibwa mu Kirabo Katonda Kye Yatuwa eky’Obufumbo?
OLUPAPULA 3 • ENNYIMBA: 87, 75
JJULAAYI 9-15, 2012
Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu ng’Obufumbo Bwo Bulimu Ebizibu
OLUPAPULA 8 • ENNYIMBA: 36, 69
JJULAAYI 16-22, 2012
Weesige Yakuwa—Katonda ‘ow’Ebiro n’Ebiseera’
OLUPAPULA 17 • ENNYIMBA: 116, 135
JJULAAYI 23-29, 2012
OLUPAPULA 23 • ENNYIMBA: 93, 89
EKIGENDERERWA KY’EBITUNDU EBY’OKUSOMA
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 1, 2 OLUPAPULA 3-12
Ebitundu bino biraga ensonga lwaki kikulu nnyo okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa obukwata ku bufumbo. Bijja kulaga ensonga lwaki tusaanidde okulaga nti tussa ekitiibwa mu kirabo Katonda kye yatuwa eky’obufumbo. Ate era biraga ensonga lwaki kikulu okuba n’endowooza ennuŋŋamu ng’obufumbo bwaffe bulimu ebizibu era n’engeri okukolera ku bulagirizi obuli mu Byawandiikibwa gye kisobola okuyamba abafumbo okuba abasanyufu.
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 3 OLUPAPULA 17-21
Ekitundu kino kiraga engeri Yakuwa gy’akiraze nti ye Mukuumi w’Ebiseera Omukulu. Ekitundu kino kijja kutuyamba okwongera okumwesiga awamu n’Ekigambo kye, Bayibuli. Ate era kijja kutuyamba okuba abamalirivu okwongera okukozesa obulungi ebiseera byaffe nga bwe tulindirira Yakuwa okutulokola.
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 4 OLUPAPULA 23-27
Wadde nga tetutuukiridde, twagala Katonda era twagala okwoleka ekitiibwa kye. Ekitundu kino kiraga engeri gye tuyinza okwolekamu ekitiibwa kya Yakuwa. Era kiraga ebyo bye tulina okukola okusobola okukoppa Katonda tusobole okumusanyusa. (Bef. 5:1) Ate era kiraga engeri gye tuyinza okweyongera okwoleka ekitiibwa kya Katonda.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
13 Nnakola Omukwano ku Bakristaayo Abakuze mu Myaka
28 “Mwekuume Ekizimbulukusa KY’abafalisaayo”
KU DDIBA: Ow’oluganda ne mukyala we abaweereza nga bapayoniya nga babuulira ku siteegi ya biroole mu kibuga Toulouse ekya Bufalansa. Biroole ebisukka mu 1,800 okuva mu nsi ezitali zimu eza Bulaaya biyita mu kibuga kino buli lunaku
BUFALANSA
ABANTU
63,787,000
ABABUULIZI
122,433
BAPAYONIYA MU MYAKA 10 EGIYISE:
Beeyongera ebitundu 296 ku buli kikumi