LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 6/15 lup. 3-6
  • Tuyize “Ekyama” Ekiri mu Buweereza Obutukuvu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tuyize “Ekyama” Ekiri mu Buweereza Obutukuvu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OMULIMU GW’OKUKYALIRA EBIBIINA
  • OKUKYALIRA EBIBINJA EBYESUDDE
  • OBUZIBU BW’EBY’ENTAMBULA
  • TWAKUBIRIZA ABALALA OKUYINGIRA OBUWEEREZA OBW’EKISEERA KYONNA
  • Okugaziya Obuweereza Bwaffe
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • ‘Pawulo Yeebaza Katonda n’Aguma’
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Okuzziŋŋanamu Amaanyi
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Nnyumiddwa Okuyiga n’Okuyigiriza Abalala Ebikwata ku Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 6/15 lup. 3-6

Ebyafaayo

Tuyize “Ekyama” Ekiri mu Buweereza Obutukuvu

Byayogerwa Olivier Randriamora

“Mazima ddala mmanyi kye kitegeeza okuba n’ebintu ebitono, era mmanyi kye kitegeeza okuba n’ebintu ebingi. Mu buli kintu kyonna na mu buli mbeera yonna njize ekyama eky’okuba omukkufu n’eky’okulumwa enjala . . . Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.”​—Baf. 4:12, 13.

NZE ne mukyala wange, Oly, ebigambo by’omutume Pawulo ebyo bituzizzaamu nnyo amaanyi. Okufaananako Pawulo, naffe tuyize okwesiga Yakuwa nga tuweereza mu Madagascar.

Maama wa Oly yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa mu 1982. Mu kiseera ekyo, nze ne Oly twali tunaatera okufumbiriganwa. Nange nnatandika okuyiga Bayibuli era oluvannyuma Oly yanneegattako. Twafumbiriganwa mu 1983, ne tubatizibwa mu 1985. Bwe twamala okubatizibwa, twatandikirawo okuweereza nga bapayoniya abawagizi. Mu Jjulaayi 1986, twatandika okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo.

Mu Ssebutemba 1987, twatandika okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo. Twasooka kuweereza mu kabuga akasangibwa mu bukiikakono bwa Madagascar. Mu kitundu ekyo tewaaliyo kibiina. Mu Madagascar mulimu amawanga 18 ag’enjawulo, era obuwangwa bw’abantu bwawukana. Olulimi olusinga okwogerwa mu Madagascar luyitibwa Malagasy, naye ng’abantu b’omu bitundu ebitali bimu balwogera mu ngeri za njawulo. Bwe kityo, twasalawo okuyiga engeri abantu ab’omu kitundu kye twali tubuuliramu gye baali boogeramu olulimi olwo, era ekyo kyasikiriza abantu bangi okutuwuliriza.

Mu kusooka, enkuŋŋaana twaziberangamu babiri ffekka. Buli lwa ssande nnawanga emboozi ya bonna, era oluvannyuma lw’emboozi Oly yakubanga mu ngalo. Ate era twabeeranga n’Olukuŋŋaana lw’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda, era Oly yawanga emboozi nga talina amuyambako. Naye twasanyuka nnyo omulabirizi w’ekitundu bwe yatukyalira n’atuyamba okulaba enkyukakyuka ze twali twetaaga okukola mu nkuŋŋaana zaffe.

Olw’okuba amabaluwa gaalwangawo okutuuka, ebiseera ebimu tetwafunanga ssente zaffe ez’okweyimirizaawo mu budde. Bwe kityo, twayiga okukekkereza ennyo. Lumu twali tetulina ssente zimala kututwala ku lukuŋŋaana olunene olwali mu kifo ekyali kyesudde mayiro 80 okuva we twali tubeera. Twajjukira ebigambo ow’oluganda omu bye yali yatugamba: “Bwe mufunanga ebizibu, mubibuulire Yakuwa. Ndaba mukola mulimu ggwe.” Bwe kityo, twasaba Yakuwa era ne tusalawo okutambuza ebigere. Kyokka, bwe twali tetunnasimbula, waliwo ow’oluganda eyatukyalira nga tetukisuubira n’atuwa ssente ezaali zimala okututwala ku lukuŋŋaana!

OMULIMU GW’OKUKYALIRA EBIBIINA

Mu Febwali 1991, nnalondebwa okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu. Mu kiseera ekyo, ekibinja kyaffe kyalimu ababuulizi 9, era nga 3 ku bo babatize. Mu kiseera ekyo, abantu nga 50 be baateranga okubaawo mu nkuŋŋaana. Bwe nnamala okutendekebwa, nnaweereza ng’omulabirizi w’ekitundu mu kibuga ekikulu, Antananarivo. Mu 1993, twasindikibwa okuweereza mu kitundu ekirala ekiri mu buvanjuba bwa Madagascar. Obulamu bwayo bwali bwa njawulo nnyo ku obwo bwe twalimu nga tuli mu kibuga.

Bwe twabanga tugenda okukyalira ebibiina n’ebibinja ebyali byesudde, twatambuzanga bigere, ng’oluusi tutambula mayiro nga 90 nga tuyita mu bibira ebiri ku nsozi. Twewalanga okutwala ebintu ebingi. Naye emboozi y’omulabirizi bwe yabangamu okulaga ebifaananyi, nga bwe kyateranga okuba mu biseera ebyo, ebintu bye twatwalanga byabanga bizitowa. Oly yasitulanga ekyuma kye twakozesanga okulaga ebifaananyi ku lutimbe, ate nze ne nsitula bbaatule.

Ebiseera ebisinga twatambulanga mayiro nga 25 olunaku okusobola okutuuka ku kibiina ekirala. Twayitanga mu nsozi, twasomokanga emigga, era twayitanga ne mu bisooto. Oluusi twasulanga ku kkubo, naye emirundi egisinga twafunanga aw’okusula. Ebiseera ebimu twasabanga omuntu yenna gwe twabanga tusanze okutusuza. Bwe twafunanga aw’okusula, twatandikanga okuteekateeka eky’okulya. Oly yeeyazikanga ensuwa n’agenda okukima amazzi ku mugga oba ku nnyanja eyabanga okumpi. Nze nneeyazikanga embazzi ne njasa enku ez’okufumbisa. Kyatutwaliranga ebiseera bingi okuteekateeka emmere. Olw’olumu, twagulangayo enkoko nga tulina okugisala n’okugimaanya.

Bwe twamalanga okulya emmere, twagendanga okukima amazzi ag’okunaaba. Ebiseera ebimu twasulanga mu ffumbiro. Enkuba bwe yatonnyanga, twebakanga twesigamye ekisenge. Ekyo kyatuyambanga obutatoba, effumbiro bwe lyabanga litonnya.

Twafubanga okubuulira abantu abaatusuzanga. Bwe twatuukanga gye twabanga tugenda, baganda baffe ne bannyinaffe Abakristaayo baatusanyukiranga nnyo era baatulabiriranga bulungi. Ekyo kyatwerabizanga ebizibu ebitali bimu bye twabanga tufunye nga tuli mu kkubo.

Ab’oluganda abaabanga batusuzizza, twabayambangako ku mirimu gy’awaka. Ekyo kyabasobozesanga okugenda naffe mu buweereza bw’ennimiro. Twewalanga okwejalabya era tetwasuubiranga baganda baffe kutuwa mmere gye babanga batasobola kugula.

OKUKYALIRA EBIBINJA EBYESUDDE

Twanyumirwanga okukyalira ebibinja ebyesudde era twasanganga ab’oluganda batutegekedde eby’okukola bingi. Eby’okukola byabanga bingi nnyo ne kiba nti tetwafunanga na kadde ‘kuwummulako.’ (Mak. 6:31) Lumu, ow’oluganda ne mukyala we baayita abayizi baabwe aba Bayibuli nga 40 mu maka gaabwe tusobole okusomako nabo. Oly yeegatta ku mwannyinaffe ne basomesaako abayizi nga 20 ate nze n’ow’oluganda ne tusomesaako 20. Bwe twamalanga okusoma n’omuyizi omu, nga tudda ku mulala. Bwe zaatuuka essaawa ez’olweggulo, twayimirizaamu okusomesa abayizi ne tufuna enkuŋŋaana z’ekibiina. Oluvannyuma lw’enkuŋŋaana twasomesa abayizi abaali basigaddewo. Twamaliriza okusomesa abayizi ku ssaawa nga bbiri ez’ekiro!

Bwe twakyalira ekibinja ekirala, ffe awamu n’ab’oluganda bonna mu kibinja ekyo twasimbula ku ssaawa bbiri ez’oku makya ne tutindigga olugendo okugenda okubuulira ku kyalo ekimu ekyali ewala. Ffenna twagenda twambadde ngoye nkadde. Twayita mu kibira ne tugenda mu kitundu gye twali tugenda okubuulira ne tutuukayo ku ssaawa nga mukaaga ez’emisana. Bwe twatuuka bwe tuti, twayambala engoye ezitukula ne tutandikirawo okubuulira nnyumba ku nnyumba. Amayumba gaali matono kyokka ng’ababuulizi tuli bangi. Bwe kityo, twamalako ekitundu ekyo mu ddakiika nga 30. Oluvannyuma twagenda ku kyalo ekiddako. Bwe twamala okubuulira ku kyalo ekyo, twatindigga olugendo ne tuddayo eka. Mu kusooka, ekyo kyatumalamu amaanyi, kubanga twakozesa ebiseera bingi n’amaanyi mangi okugenda mu bitundu ebyo naye ne tumalayo essaawa emu yokka nga tubuulira. Kyokka, ab’oluganda be twagenda nabo bo tebeemulugunya era tebaggwaamu maanyi.

Ekibinja ekimu ekyali mu Taviranambo kyali kikuŋŋaanira mu maka g’ow’oluganda eyali abeera ku lusozi. Ow’oluganda oyo yalina ennyumba ya kisenge kimu ye n’ab’omu maka ge mwe baali basula era ng’alina n’akayumba akalala omwafunirwanga enkuŋŋaana. Bwe twatuuka, ow’oluganda oyo yakoowoola banne ng’agamba nti, “Ab’oluganda!” Omu ku b’oluganda abaali ku lusozi oluliraanyeewo yayitaba nti, “Wangi!” Yamugamba nti, “Omulabirizi w’ekitundu atuuse!” Ow’oluganda yamuddamu nti, “Ka tujje!” Ab’oluganda baagenda bategeeza n’abalala abaali ku busozi obulala. Mu kiseera kitono, abantu baatandika okujja era olukuŋŋaana lw’agenda okutandika ng’abaliwo tusukka mu 100.

OBUZIBU BW’EBY’ENTAMBULA

Mu 1996 twasindikibwa okukyalira ebibiina ebiri mu kitundu ekiriraanye ekibuga Antananarivo. Bwe twali tuweereza mu kitundu ekyo, twayolekagana n’ebizibu ebirala bingi. Tewaaliwo mmotoka zaali zitwala bantu mu bitundu eby’omu kyalo ennyo. Lumu bwe twali tugenda okukyalira ekibinja ekyali mu Beankàna (Besakay), ekyali kisangibwa mayiro 150 okuva mu kibuga Antananarivo, twalaba kabangali eyali esobola okututwalako. Twateesa n’omusajja eyali agivuga n’akkiriza okututwalako. Yali ejjudde nnyo nga kuliko abasaabaze abalala nga 30. Abamu baali batudde waggulu ku kabangali ate ng’abalala beerippye ku mabbali.

Twali twakatambulako akabanga katono, emmotoka n’efa, bwe kityo ne tweyongerayo ku bigere. Oluvannyuma lw’okutambula okumala essaawa eziwerako, twagenda okulaba nga loole ejja. Wadde nga yali etisse abantu bangi era ng’eriko ebintu bingi, omuvuzi waayo bwe yatutuukako yayimirira. Twalinya, naye ne tugenda nga tuyimiridde. Oluvannyuma twatuuka ku mugga, naye olutindo kwe twalina okuyitira twasanga baluddaabiriza. Twaddamu okutambuza ebigere okutuusa bwe twatuuka ku kaalo bapayoniya ab’enjawulo kwe baali babeera. Wadde nga twali tetwetegese kubakyalira, twasalawo okubuulira nabo nga bwe tulinda olutindo okuddaabirizibwa n’emmotoka endala eyinza okututwala.

Waayita wiiki nnamba ne tulyoka tuddamu okulaba ku mmotoka endala, gye twalinnya n’etwongerayo. Oluguudo lwali lujjudde ebinnya. Emirundi mingi twalinanga okusindika emmotoka eyo okusobola okuyita mu mazzi agaali gatukoma mu maviivi, era emirundi egimu twaseereranga ne tugwa. Twatuuka we twalina okuviiramu ng’obudde bukyali bwa ku makya nnyo. Twava ku luguudo ne tutambula nga tuyita mu masamba g’omuceere agaalimu ebitosi n’amazzi nga gatukoma mu kiwato.

Twali tetugendangako mu kitundu ekyo, bwe kityo twasalawo okubuulira abantu be twasanga nga bakola mu masamba g’omuceere n’okubasaba batulagirire wa Abajulirwa ba Yakuwa gye baali babeera. Nga twasanyuka nnyo okukimanya nti abantu abo baali ba luganda!

TWAKUBIRIZA ABALALA OKUYINGIRA OBUWEEREZA OBW’EKISEERA KYONNA

Tufunye essanyu lingi mu kuyamba abalala okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Ng’ekyokulabirako, waliwo ekibiina kye twakyalira ekyalimu bapayoniya aba bulijjo mwenda. Twakubiriza buli payoniya okubaako omubuulizi omulala omu gw’ayamba okufuuka payoniya. Bwe twaddayo okukyalira ekibiina ekyo nga wayise emyezi mukaaga, bapayoniya aba bulijjo baali baweze 22. Waliwo bannyinaffe babiri abaali baweereza nga bapayoniya abaali bayambye bataata baabwe, abaali baweereza ng’abakadde mu kibiina, okufuuka bapayoniya aba bulijjo. Ab’oluganda abo nabo baalina omukadde mu kibiina gwe baayamba okufuuka payoniya. Nga wayise ekiseera kitono, omukadde oyo yafuuka payoniya ow’enjawulo. Oluvannyuma, omukadde oyo yafuuka omulabirizi w’ekitundu, n’atandika okukyalira ebibiina ng’ali wamu ne mukyala we. Omu ku bakadde bali ababiri kati naye aweereza ng’omulabirizi w’ekitundu, ate omulala ayamba mu mulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka.

Twebaza Yakuwa buli lunaku olw’engeri gy’atuyambyemu, kubanga tewali kintu kyonna kye twandisobodde kukola mu maanyi gaffe. Kyo kituufu nti oluusi tuwulira nga tukooye era ebiseera ebimu tulwala, naye tufuna essanyu lingi buli lwe tulowooza ku birungi bye tufunye mu buweereza bwaffe. Yakuwa atuyambye nnyo nga tukola omulimu gwe. Tuli basanyufu okuba nti kati tuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo. Mu butuufu, tuyize “ekyama” ekiri mu buweereza obutukuvu nga twesiga Yakuwa, ‘oyo atuwa amaanyi.’

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 6]

Tuyize “ekyama” nga twesiga Yakuwa

[Mmaapu/​Ebifaananyi ebiri ku lupapula 4]

Ekizinga Madagascar kikwata kya kuna mu bizinga ebisinga obunene mu nsi yonna. Ettaka ly’ekizinga ekyo limyufu era kiriko ebisolo bingi eby’enjawulo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Kitusanyusa nnyo okuyigiriza abantu Bayibuli

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]

Twayolekagana n’obuzibu bw’eby’entambula

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share