Ebirimu
Jjanwali 15, 2015
© 2015 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
MAAKI 2-8, 2015
Weebaze Yakuwa, Oweebwe Emikisa
OLUPAPULA 8 • ENNYIMBA: 2, 75
MAAKI 9-15, 2015
Ensonga Lwaki Tukwata Eky’Ekiro kya Mukama Waffe
OLUPAPULA 13 • ENNYIMBA: 8, 109
MAAKI 16-22, 2015
Okuba n’Obufumbo Obunywevu era obw’Essanyu
OLUPAPULA 18 • ENNYIMBA: 36, 51
MAAKI 23-29, 2015
Mukkirize Yakuwa Anyweze Obufumbo Bwammwe era Abukuume
OLUPAPULA 23 • ENNYIMBA: 87, 50
MAAKI 30, 2015–APULI 5, 2015
Kisoboka Okuba n’Okwagala Okwa Nnamaddala?
OLUPAPULA 28 • ENNYIMBA: 72, 63
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
▪ Weebaze Yakuwa, Oweebwe Emikisa
Okufumiitiriza ku mikisa Yakuwa gy’atuwa n’okumwebaza kisobola okutuyamba okusiima ebyo by’atukolera. Okusiima ebintu Yakuwa by’atukolera kisobola okutuyamba okuba abamativu n’okwolekagana n’embeera enzibu. Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2015 kijja kutuyamba okujjukira ensonga eyo omwaka gwonna.
▪ Ensonga Lwaki Tukwata Eky’Ekiro kya Mukama Waffe
Ekitundu kino kiraga ensonga lwaki tusaanidde okujjukira okufa kwa Yesu. Kituyamba okumanya ekyo omugaati n’envinnyo ebikozesebwa ku mukolo gw’Ekijjukizo kye bikiikirira era n’engeri omuntu gy’ayinza okumanya nti agwanidde okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo. Ekitundu kino era kituyamba okulaba engeri gye tusobola okwetegekera eky’Ekiro kya Mukama waffe.
▪ Okuba n’Obufumbo Obunywevu era obw’Essanyu
▪ Mukkirize Yakuwa Anyweze Obufumbo Bwammwe era Abukuume
Leero, abafumbo boolekagana n’ebikemo bingi. Wadde kiri kityo, Yakuwa asobola okubayamba okuba n’obufumbo obunywevu era obw’essanyu. Ekitundu ekisooka kyogera ku bintu bitaano ebisobola okuyamba obufumbo okuba obunywevu. Ate ekitundu eky’okubiri kiraga engeri abafumbo gye bayinza okwewalamu ebikolwa eby’obugwenyufu.
▪ Kisoboka Okuba n’Okwagala Okwa Nnamaddala?
Okwagala okwa nnamaddala okulina okuba wakati w’omwami n’omukyala kwe kuliwa? Kisoboka okuba n’okwagala okwa nnamaddala? Omwami n’omukyala bayinza batya okwoleka okwagala ng’okwo? Laba engeri ekitabo ky’Oluyimba gye kinnyonnyolamu okwagala okwa nnamaddala.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
KU DDIBA: Omubuulizi ng’abuulira mu kitundu ky’e Grindelwald, emabega ze nsozi eziyitibwa Bernese
SWITZERLAND
ABANTU
7,876,000
ABABUULIZI
18,646
ABAALIWO KU KIJJUKIZO (2013)
31,980