LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 8/1 lup. 3-4
  • Abantu bwe Bafa Balaga Wa?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abantu bwe Bafa Balaga Wa?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Abafu bali mu mbeera ki?
  • Wajja Kubaawo Okuzuukira!
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Amagombe Kye Ki? Ddala Kifo Abantu Gye Babonyaabonyezebwa Emirembe Gyonna?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Omuntu bw’Afa Ebibye Biba Tebikomye!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Essuubi Ekkakafu Erikwata ku Baagalwa Bo Abaafa
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 8/1 lup. 3-4

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | ABANTU ABAAFA​—BALIDDAMU OKUBA ABALAMU?

Abantu bwe Bafa Balaga Wa?

Abantu abakulu n’abaana nga bayimiridde okumpi n’essanduuko y’omufu mu malaalo

“Nnali ndowooza nti waliwo ebifo bisatu omuntu gy’ayinza okugenda ng’afudde: eggulu, ggeyeena, oba puligaatooli. Nnali nkimanyi nti sigwana kugenda mu ggulu, naye ate nga si nze omwonoonyi ennyo okugenda mu ggeyeena. Ate era nnali nneebuuza ebikolebwa mu puligaatooli. Kyokka tewali na kimu ku bifo ebyo kye nnali nsomyeko mu Bayibuli. Bantu be baabyogeranga.”​—Lionel.

“Banjigiriza nti abantu bonna bwe bafa bagenda mu ggulu, naye ekyo saakikkiriza. Nnali ndowooza nti abantu bwe bafa ebyabwe biba bikomye​—nti tebaba na ssuubi lyonna.”​—Fernando.

Wali weebuuzizzaako ebibuuzo bino: ‘Abantu baffe abafa balaga wa? Baba mu kubonyaabonyezebwa? Tuliddamu okubalaba? Tukakasiza ku ki nti bajja kuddamu okuba abalamu?’ Weetegereze engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo. Ka tusooke tulabe ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku kufa. Oluvannyuma tujja kulaba essuubi Bayibuli ly’ewa.

Abafu bali mu mbeera ki?

BAYIBULI KY’EYIGIRIZA: “Kubanga abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi, so nga tebakyalina mpeera; kubanga ekijjukizo kyabwe kyerabirwa. Buli kintu omukono gwo kye gulaba okukola, okikolanga n’amaanyi go; kubanga tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy’ogenda.”a​—Omubuulizi 9:5, 10.

Emagombe kye kifo abafu bonna gye bali; kifo kya kabonero oba mbeera abafu gye balimu nga tebategeera era nga tebasobola kukola kintu kyonna. Yobu omusajja omwesigwa amagombe yali agatwala atya? Bwe yafiirwa ebintu bye byonna n’abaana be mu lunaku lumu, ate oluvannyuma n’alwala amayute agaluma ennyo okuva ku bigere okutuuka ku mutwe, yeegayirira Katonda nti: “Singa onkwese mu magombe [“mu ggeyeena,” enkyusa y’Abakatuliki eyitibwa Douay Version], singa onkisa kyama.” (Yobu 1:13-19; 2:7; 14:13) Kya lwatu nti Yobu bwe yayogera ku magombe yali tategeeza kifo gye yandyeyongedde okubonaabonera. Amagombe yali agatwala ng’ekifo gye yandifunidde obuweerero.

Ekirala ekisobola okutuyamba okumanya embeera abafu gye balimu, kwe kwekenneenya ebyawandiikibwa ebyogera ku bantu munaana abaazuukizibwa.​—Laba akasanduuko akalina omutwe, “Abantu Munaana Abaazuukizibwa Aboogerwako mu Bayibuli.”

Tewali n’omu ku bantu abo abaazuukizibwa eyagamba nti yali agenze mu kifo eky’okubonyaabonyezebwa oba mu kifo eky’okwesiima. Singa abantu abo baali bagenze mu kimu ku bifo ebyo, tebandyogedde ebyo ebikolebwayo? Tebyandiwandiikiddwa mu Bayibuli abantu bonna basobole okubimanya? Naye tebiriimu mu Bayibuli. Lwaki abantu abo omunaana tebalina kye baayogera ku nsonga eyo? Kubanga baali tebalina kye bamanyi, baali ng’abali mu tulo otungi. Mu butuufu, emirundi egimu Bayibuli bw’eba eyogera ku kufa ekozesa ekigambo “okwebaka.” Ng’ekyokulabirako, Laazaalo bwe yafa, Yesu yagamba nti Laazaalo yali yeebase.​—Yokaana 11:11-14.

Kati olwo abafu baliddamu okuba abalamu? Balizuukuka okuva mu tulo?

a Mu kifo ky’okukozesa ekigambo “amagombe,” enkyusa za Bayibuli ezimu zikozesa ekigambo “hell” ng’abamu bagamba nti kye kifo abafu gye babonyaabonyezebwa. Naye Bayibuli teyigiriza nti waliyo ekifo abafu gye babonyaabonyezebwa.

ABANTU MUNAANA ABAAZUUKIZIBWA ABOOGERWAKO MU BAYIBULIb

Omwana wa nnamwandu Nnabbi Eriya yazuukiza mutabani wa nnamwandu w’e Zalefaasi, ekiri mu bukiikakkono bwa Isiraeri.​—1 Bassekabaka 17:17-24.

Omulenzi Omusunamu Erisa, eyaddira Eriya mu bigere, yazuukiza omulenzi mu kabuga Sunemu n’amuddiza bazadde be.​—2 Bassekabaka 4:32-37.

Omusajja eyasuulibwa mu ntaana Omulambo gw’omusajja eyali yaakafa gwasuulibwa mu ntaana omwali amagumba ga nnabbi Erisa. Bwe gwakoona ku magumba ga nnabbi, omusajja oyo yazuukira.​—2 Bassekabaka 13:20, 21.

Mutabani wa nnamwandu w’e Nayini Yesu bwe yali anaatera okuyingira ekibuga Nayini, yayimiriza abantu abaali batwala omulambo gw’omuvubuka okuguziika. Yamuzuukiza, oluvannyuma n’amukwasa nnyina.​—Lukka 7:11-15.

Muwala wa Yayiro Yayiro, eyali omukulu w’ekkuŋŋaaniro, yasaba Yesu awonye muwala we eyali omulwadde. Omuwala oyo bwe yafa, Yesu yamuzuukiza.​—Lukka 8:41, 42, 49-56.

Laazaalo mukwano gwa Yesu Laazaalo yamala ennaku nnya ng’afudde, naye Yesu yamuzuukiza ng’abantu bangi balaba.​—Yokaana 11:38-44.

Doluka Omutume Peetero yazuukiza omukazi oyo eyakoleranga abalala ebirungi.​—Ebikolwa 9:36-42.

Yutuko Omuvubuka ayitibwa Yutuko yawanuka mu ddirisa eryali ku kalina ey’okusatu n’agwa wansi n’afa; omutume Pawulo yamuzuukiza.​—Ebikolwa 20:7-12.

b Okuzuukira kwa Yesu Kristo kwali kwa njawulo nnyo ku kuzuukira kw’abantu bano omunaana, ng’ekitundu ekiddako bwe kiraga.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share