LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w16 Okitobba lup. 31-32
  • Obadde Okimanyi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obadde Okimanyi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Similar Material
  • Olugero lw’Eŋŋaano n’Omuddo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • “Abatuukirivu Balyakaayakana ng’Enjuba”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • “Muwulirize nga Mbannyonnyola”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Okulwanirira Amawulire Amalungi mu Mateeka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
w16 Okitobba lup. 31-32
Omusajja ng’asiga omuddo mu nnimiro y’omulala

Obadde Okimanyi?

Kituufu nti mu biseera eby’edda omuntu yali asobola okusiga omuddo mu nnimiro y’omuntu omulala?

Ekiwandiiko ekiyitibwa Digest Empula Justinian kye yawandiika mu 1468

Ekiwandiiko kino ekiyitibwa Digest ekyawandiikibwa Empula Justinian kye kimu ku biwandiiko ebituyamba okumanya kalonda akwata ku by’amateeka mu biseera by’edda

MU MATAYO 13:24-26, Yesu yagamba nti: “Obwakabaka obw’omu ggulu buyinza okugeraageranyizibwa ku muntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye. Abantu bwe baali beebase, omulabe we n’ajja n’asiga mu ŋŋaano omuddo n’agenda. Bwe byakula ne bibala, omuddo ne gulabika.” Abantu abamu babuusabuusa obanga ddala ekintu ng’ekyo kyali kisobola okubaawo, naye ebiwandiiko by’Abaruumi eby’esigika eby’edda biraga nti ddala kyali kisobola okubaawo.

Enkuluze emu ennyonnyola ebigambo bya Bayibuli egamba nti: “Mu mateeka ga Rooma mwalimu etteeka erigaana omuntu okusiga omuddo mu nnimiro ya munne ng’ayagala okumwesasuza. Okuba nti etteeka eryo lyaliwo, kiraga nti abantu baakolanga ekintu ekyo.” Munnabyafaayo w’eby’amateeka ayitibwa Alastair Kerr yagamba nti: ‘Mu mwaka gwa 533 E.E., empula wa Rooma Justinian yafulumya ekiwandiiko ekiyitibwa Digest. Ekiwandiiko ekyo kyalimu amateeka ga Rooma mu bufunze era n’ebimu ku bigambo ebyayogerwa bannamateeka abaaliwo wakati w’omwaka gwa 100 E.E. n’ogwa 250 E.E.’ Okusinziira ku kiwandiiko ekyo, munnamateeka omu ayitibwa Ulpian yayogera ku musango ogumu ogwazibwa mu kyasa eky’okubiri, omuntu omu bwe yawawaabira omulala eyali asize omuddo mu nnimiro ye ne kiviirako ebirime bye okufa. Ekiwandiiko ekyo era kiraga engeri oyo eyabanga asize omuddo mu nnimiro ya munne gye yali alina okuliwa olw’okutta ebirime bya munne.

Okuba nti enkola y’abantu okusiga omuddo mu nnimiro z’abalala yaliwo mu bitundu by’Obwakabaka bwa Rooma kiraga nti Yesu yakozesa ekyokulabirako abantu kye baali bamanyi obulungi.

Buyinza bwenkana wa Rooma bwe yawa abakulembeze b’omu Buyudaaya mu kyasa ekyasooka?

MU KYASA ekyasooka, Buyudaaya yali efugibwa Rooma, era Rooma yali ekiikirirwa gavana eyalina amagye agaali gakolera ku biragiro bye. Obuvunaanyizibwa obukulu gavana bwe yalina bwali bwa kukuŋŋaanyiza Rooma omusolo n’okukuuma emirembe n’obutebenkevu. Abaruumi baabonerezanga abamenyi b’amateeka n’abo abaabanga baagala okutabangula emirembe. Kyokka bwe kyatuukanga ku kuddukanya emirimu egyakolebwanga mu bitundu ebitali bimu bye baafuganga, Abaruumi obuyinza baabulekanga mu mikono gy’abakulembeze b’omu bitundu ebyo.

Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya nga lutudde

Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya nga lutudde

Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya ye yali kkooti y’Abayudaaya ey’oku ntikko era ye yakolanga ku nsonga ezirina akwate n’Amateeka g’Abayudaaya. Waaliwo ne kkooti endala eza wansi mu bitundu bya Buyudaaya ebitali bimu. Abaruumi baaleka kkooti ezo okuwozesa emisango egisinga obungi egyabanga gizziddwa abantu b’omu Buyudaaya. Kyokka Abaruumi tebaawanga kkooti ezo buyinza kutta bamenyi b’amateeka. Obuyinza obwo Abaruumi baabwesigaliza. Kyokka lumu waliwo ekintu ekitaali kya bulijjo ekyabaawo. Ab’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya bawozesa Siteefano era oluvannyuma ne bamukuba amayinja ne bamutta.​—Bik. 6:8-15; 7:54-60.

Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya lwalina obuyinza bungi. Wadde kyali kityo, munnabyafaayo ayitibwa Emil Schürer agamba nti: “Abaruumi bwe baabanga baliko embeera yonna gye beekengedde, baabangako kye bakolawo nga tebasoose kwebuuza ku Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya.” Ekintu ekifaananako bwe kityo kyakolebwa omudduumizi w’amagye ga Rooma ayitibwa Kulawudiyo Lusiya bwe yakwata Pawulo, eyalina obutuuze bwa Rooma, n’amutwala.​—Bik. 23:26-30.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share