Obunyiikivu Obukubiriza Abasinga Obungi
Omutume Pawulo yasiima Abakkolinso olw’okuba obunyiikivu bwabwe eri omulimu omulungi bwali ‘bukubirizza Bakristaayo bannaabwe abasinga obungi.’ (2 Kol. 9:2) Emirundi mingi, omuntu kinnoomu, amaka, ekibinja esomerwa ekitabo, oba ekibiina kyonna awamu kiyinza okukola kye kimu bwe kinyiikirira omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. Zino ze zimu ku ngeri mw’oyinza okulagira obunyiikivu mu buweereza.
◼ Ennaku z’Olw’Omukaaga zifuule za Kugabirako Magazini.
◼ Wenyigire mu buweereza bw’omu nnimiro ku Ssande.
◼ Lwe kisoboka, wenyigire mu kubuulira okw’akawungeezi.
◼ Wenyigire mu kubuulira okw’enjawulo kwonna okuba kutegekeddwa.
◼ Genda mu buweereza ku lunaku lw’oba togenze ku mulimu oba ku ssomero.
◼ Wenyigire mu buweereza mu kiseera ky’okukyala kw’omulabirizi wa circuit.
◼ Kola nga payoniya omuwagizi omwezi gumu oba n’okusingawo buli mwaka.
◼ Bwe kiba kisoboka, kyusa mu mbeera zo osobole okukola nga payoniya ow’enkalakkalira.
Laba 2000 Yearbook of Jehovah’s Witnesses, empapula 17-19.