Ekiseera ky’EKijjukizo—Kiseera eky’Okukola n’Obunyiikivu
1. ‘Embaga za Yakuwa’ zaakwatanga zitya ku Baisiraeri abaali batya Katonda?
1 Mu biseera ebyalagirwa mu mwaka, Abaisiraeri ab’edda baakwatanga ‘embaga za Yakuwa.’ (Leev. 23:2) Bwe baawangayo ebiseera okufumiitiriza ku bulungi bwa Katonda waabwe, kyabaviiramu okufuna essanyu n’okunyiikirira okusinza okulongoofu.—2 Byom. 30:21–31:2.
2, 3. Lwaki kisaanira okunyiikirira ebintu eby’eby’omwoyo mu kiseera ky’Ekijjukizo, era Ekijjukizo kinaabaawo ddi?
2 Mu kiseera kyaffe, buli mwaka tweyongera okunyiikirira ebintu eby’eby’omwoyo mu kiseera ky’Ekijjukizo. Kiba kiseera lwe tufumiitiriza ennyo ku kirabo eky’omuwendo Yakuwa kye yawaayo ku lwaffe, kwe kugamba, Omwana we eyazaalibwa omu yekka. (Yok. 3:16; 1 Peet. 1:18, 19) Nga tufumiitiriza ku kwagala Katonda n’Omwana we kwe batulaze, tuwulira nga tukubirizibwa okutendereza Yakuwa era n’okunyiikira okukola by’ayagala.—2 Kol. 5:14, 15.
3 Omwaka guno, omukolo ogw’okujjukira eky’Ekiro kya Mukama waffe gujja kubaawo ku Lw’Okuna nga Maaki 24, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Tuyinza tutya okwongeramu amaanyi mu buweereza bwaffe mu mwezi gwa Maaki, Apuli ne Maayi?
4, 5. (a) Kiki ekiyambye abamu okutuusa amawulire amalungi ku bantu abawerako? (b) Ngeri ki ey’okutuukiriramu abantu b’omu kitundu kyo gy’osanze nga nnungi?
4 Okutuukirira Abantu Abawerako: Fuba okutuukirira abantu bangi nga bwe kisoboka ng’oli mu buweereza bw’ennimiro. Osobola okutegeka okwenyigira mu kubuulira nnyumba ku nnyumba mu kiseera abantu abasinga obungi we babeerera awaka, gamba ng’olweggulo oba akawungeezi? Singa mu kibinja gy’osomera ekitabo wabaawo abandyagadde okwenyigira mu buweereza ng’okusoma kw’ekitabo tekunnatandika, oyo akubiriza okusoma kw’ekitabo ayinza okutegekawo olukuŋŋaana lw’obuweereza bw’ennimiro oluli mu bufunze, era ne mubuulira mu kitundu ekiri okumpimpi.
5 Engeri endala gye tuyinza okutuukiriramu abantu abangi kwe kubuulira mu bifo ebya lukale. Mwannyinaffe omu mu Japan yayagala okukola nga payoniya omuwagizi wadde nga yali alina omulimu ogw’ekiseera kyonna. Omukadde yamuwa amagezi okubuulira buli lunaku awayimirira eggaali y’omukka nga tannagenda ku mulimu. Oluvannyuma lw’okuvvuunuka ensonyi n’okulekera awo okutya abasaabaze abaali bamujerega, yasobola okufuna abantu 40 baatwalira magazini nga mw’otwalidde abasaabaze, abakozi b’oku ggaali y’omukka n’abantu abaalinawo amadduuka. Yasobola okugaba magazini nga 235 mu mwezi. Bwe yawaayo akaseera okukubaganya ebirowoozo n’abantu ku Byawandiikibwa buli lunaku, yasobola okutandika abayizi ba Baibuli mukaaga.
6. Abavubuka bayinza batya okwongera amaanyi mu buweereza bwabwe?
6 Emikisa Egitali Gimu egy’Okuwa Obujulirwa: Ababuulizi bangi abasoma bafuna ebiseera eby’oluwummula mu mwaka. Bayinza okukozesa ebiseera ebyo okukola nga bapayoniya abawagizi. Okugatta ku ekyo, abavubuka Abakristaayo basobola okwongera ku buweereza bwabwe nga babuulira ku ssomero. Kiyinza okukwewuunyisa nti bayizi banno bayinza okwagala okumanya ebikwata ku nzikiriza zo. Lwaki teweeyambisa akakisa ak’okukubaganya ebirowoozo mu kibiina oba nga mulina bye muwandiikako, okuwa obujulirwa? Abayizi abamu basobodde okuwa obujulirwa nga bakozesa vidiyo zaffe. Abalala basobodde okuyigiriza bayizi bannaabwe Baibuli era ne babayamba okutuuka ku kwewaayo n’okubatizibwa. Zino ngeri nnungi z’oyinza okweyambisa ‘okutendereza erinnya lya Yakuwa.’—Zab. 148:12, 13.
7. (a) Ow’oluganda omu asobodde atya okuwa abantu obujulirwa? (b) Naawe osobodde okukola ekintu ekifaananako bwe kityo?
7 Ng’okola emirimu gyo buli lunaku, fuba okwogerako n’abantu ebikwata ku Katonda waffe n’ebisuubizo bye eby’ekitalo. Ow’oluganda omu atambulira mu ggaali y’omukka buli lunaku, akozesa buli kakisa k’afuna okuwa basabaze banne obujulirwa. Ng’ekyokulabirako, buli lunaku bwe yalinga alindirira eggaali y’omukka endala, yakozesanga eddakiika ttaano okuwa omuvubuka omu obujulirwa. Ekyavaamu, omuvubuka ono awamu ne mukwano gwe bakkiriza okutandika okuyiga Baibuli era kino baakikoleranga mu ggaali nga bagenda. Lumu, omukyala omu omukadde eyabawulirizanga nga basoma yatuukirira ow’oluganda era n’amusaba okutandika okuyiga naye Baibuli. Kaakano n’omukyala ono ayiga Baibuli buli lw’aba akozesezza eggaali y’omukka. Nga yeeyambisa enkola eno, ow’oluganda ono asobodde okuyigiriza abantu abawerera ddala kkumi ng’ali mu ggaali y’omukka.
8. Nkola ki abo abakaddiye oba abalwadde gye bayinza okweyambisibwa okusobola okwongera ku buweereza bwabwe?
8 Kiba kitya singa oba nga tokyasobola kukola nnyo olw’obukadde oba olw’obulwadde? Waliwo enkola endala z’oyinza okukozesa okwongera okutendereza Yakuwa. Wali okozesezzaako essimu okuwa obujulirwa? Bw’oba nga tomanyi ngeri ya kukikolamu, buuza omulabirizi akubiriza okusoma kwammwe okw’ekitabo. Omulabirizi oyo asobola okukola enteekateeka n’ababuulizi abalala abeeyambisa enkola eyo bakoleko naawe. Bwe mukolera awamu kiyinza okuyamba buli omu okuyigira ku munne, era ne kibasobozesa okuwa obujulirwa mu ngeri ennungi. Ebirowoozo ebirungi ku ngeri y’okuwaamu obujulirwa ng’okozesa essimu bisangibwa mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Febwali 2001, empapula 5-6.
9. Tuyinza tutya okuyamba abayizi ba Baibuli okutuukiriza ebisaanyizo by’okukolera awamu n’ekibiina mu buweereza?
9 Okubeerawo ku mukolo gw’Ekijjukizo kiyinza okukubiriza abappya bangi okwongera okutendereza Yakuwa. Osobola okubayamba okuvvuunuka okutya okwenyigira mu kubuulira okw’embagirawo ng’obabuulira ebirungi by’ofunye mu buweereza bw’ennimiro, era ng’obayigiriza engeri y’okunnyonnyolamu obulungi enjigiriza za Baibuli awamu n’okulwanirira okukkiriza kwabwe. (1 Peet. 3:15) Singa omuyizi wa Baibuli aba ng’ayagala okutandika okwenyigira mu kubuulira amawulire amalungi, tegeeza omukadde akubiriza akakiiko k’abakadde. Omukadde oyo ajja kukola enteekateeka basisinkane omuyizi oyo balabe obanga atuukiriza ebisaanyizo by’okwenyigira mu buweereza n’ekibiina. Nga kiteekwa okuba nga kisanyusa nnyo omutima gwa Yakuwa bw’alaba ng’abappya basalawo okuwagira obufuzi bwe!—Nge. 27:11.
10. (a) Okuba n’enteekateeka ennungi kiyinza kitya okutuyamba okukola nga bapayoniya abawagizi? (b) Wasobola okukola nga payoniya omuwagizi mu kiseera ky’Ekijjukizo eky’omwaka oguwedde? Wasobola otya?
10 Osobola Okukola nga Payoniya Omuwagizi? Kikulu nnyo okutuukiriza essaawa 50 ezeetaagisibwa bapayoniya abawagizi. (Mat. 5:37) Kino kitegeeza nti olina okutegeka okukola essaawa nga 12 mu buweereza bw’ennimiro buli wiiki. Ku nteekateeka eziri ku lupapula 5 eziraga engeri y’okukolamu nga payoniya omuwagizi, kuliko etuukagana n’embeera zo? Bwe kuba nga tekuli, osobola okwekolera eyiyo ku bubwo eneekusobozesa okukola nga payoniya omuwagizi mu Maaki, Apuli, oba Maayi? Saba Yakuwa akuyambe okwongera ku buweereza bwo.—Nge. 16:3.
11. Abakadde n’abaweereza bayinza batya okuwagira abo abanaakola nga bapayoniya abawagizi?
11 Abakadde n’abaweereza bajja kukuwagira mu kufuba kwo okw’okuweereza Yakuwa mu ngeri ey’enjawulo mu kiseera kino eky’Ekijjukizo. Oboolyawo, bangi ku bo bajja kukola nga bapayoniya abawagizi. Abakadde bajja kukola entegeka nga bwe kinaaba kyetaagisizza wabeewo enkuŋŋaana z’obuweereza bw’ennimiro eziwerako, gamba ng’olweggulo, akawungeezi ne ku wiikendi. Nga basalawo ekifo awanaabeera enkuŋŋaana zino era n’ekiseera we zinaabeererawo, abakadde balina okwogerako n’abo abateekateeka okukola nga bapayoniya abawagizi. Abakadde bajja kufuba okulaba nti wabaawo ababuulizi abalala b’ojja okukolanga nabo ku nnaku z’onooba owaddeyo okugenda mu buweereza. Mu ngeri eno, wajja kubaawo enteekateeka ennungi era ebirungi bingi ebijja okutuukibwako.—Nge. 20:18.
12. Kiki ekitukubiriza okutendereza Yakuwa ekiseera kyonna?
12 Kola Ekisingiridde: Embeera zo bwe ziba nga tezikusobozesa kuweereza nga payoniya omuwagizi, jjukira nti Yakuwa asiima okufuba n’okwefiiriza kwe tukola ‘okusinziira ku ekyo kye tuyinza, so si ekyo kye tutayinza.’ (2 Kol. 8:12) Tulina ebintu bingi kwe tusinziira okwebaza Yakuwa. Ng’alina ensonga ennungi, Dawudi yawandiika: ‘Nja kwebazanga Yakuwa ebiro byonna: ettendo lye linaabeeranga mu kamwa kange.’ (Zab. 34:1, NW) Naffe ka tubeere bamalirivu okukola ekyo mu kiseera kino eky’Ekijjukizo.
[Akasanduuko akali ku lupapula 3]
Onoosobola Otya Okwongera ku Buweereza Bwo?
◼ Buulira mu biseera abantu we babeerera awaka
◼ Buulira mu bifo ebya lukale
◼ Buulira ng’oli ku mulimu oba ku ssomero
◼ Kozesa essimu okuwa obujulirwa
◼ Kola nga payoniya omuwagizi
[Ekipande ekiri ku lupapula 5]
Enteekateeka z’Okukola nga Payoniya Omuwagizi—Engeri y’Okukolamu Essaawa 12 Buli Wiiki
Ku Makya—Okuva ku Bbalaza Okutuuka ku Lwomukaaga
Oyinza okulondawo okukola ku Ssande mu kifo ky’olunaku olulala.
Olunaku Ekiseera Essaawa
Bbalaza Ku Makya 2
Olw’Okubiri Ku Makya 2
Olw’Okusatu Ku Makya 2
Olw’Okuna Ku Makya 2
Olw’Okutaano Ku Makya 2
Olw’Omukaaga Ku Makya 2
Omugatte: 12
Ennaku Bbiri mu Wiiki
Oyinza okulondawo okukola ennaku bbiri mu wiiki.
(Okusinziira ku nnaku z’oba olonzeewo okukola, enteekateeka eno eyinza kukusobozesa kukola ssaawa 48 mu mwezi.)
Olunaku Ekiseera Essaawa
Olw’Okusatu Lwonna 6
Olw’Omukaaga Lwonna 6
Omugatte: 12
Okukola Ennaku Bbiri Akawungeezi ne ku Wiikendi
Oyinza okulondawo okukola ennaku bbiri akawungeezi mu wiiki.
Olunaku Ekiseera Essaawa
Bbalaza Akawungeezi 11⁄2
Olw’Okusatu Akawungeezi 11⁄2
Olw’Omukaaga Lwonna 6
Ssande Kitundu 3
Omugatte: 12
Okukola Ennaku Ssatu Olweggulo n’Olwomukaaga
Oyinza okulondawo okukola ku Ssande mu kifo ky’olunaku olulala.
Olunaku Ekiseera Essaawa
Bbalaza Olweggulo 2
Olw’Okusatu Olweggulo 2
Olw’Okutaano Olweggulo 2
Olw’Omukaaga Lwonna 6
Omugatte: 12
Enteekateeka Yange ey’Obuweereza
Salawo essaawa z’oyagala okukola buli lunaku.
Olunaku Ekiseera Essaawa
Bbalaza
Olw’Okubiri
Olw’Okusatu
Olw’Okuna
Olw’Okutaano
Olw’Omukaaga
Ssande
Omugatte: 12