Okwongera Okuteeka Essira ku Baibuli!
1. Mu kusooka, Watchtower yali ekubirwa baani, ate yo The Golden Age yali ya baani?
1 Nga Okitobba 1, 1919, magazini eyitibwa The Golden Age eyasookera ddala yakubibwa. Yali ya muganyulo nnyo mu mulimu gw’okubuulira. Lwaki? Kubanga yali ekubiddwa olw’ekigendererwa eky’okuyamba abantu bonna okutwalira awamu. Kyokka ate yo Watchtower okumala emyaka mingi yali etwalibwa okuba magazini y’abo bokka ‘ab’ekisibo ekitono.’ (Luk. 12:32) Ababuulizi b’Obwakabaka baasanyukira nnyo magazini eyo empya era ne kiba nti okumala emyaka mingi baagigabanga mu bungi okusinga Watchtower.
2. Magazini eyali eyitibwa Golden Age kati eyitibwa etya, era okuviira ddala ku ntandikwa, yalina kigendererwa ki?
2 Magazini eyitibwa The Golden Age yakubibwa okulaga abantu nti ekinaagonjoolera ddala ebizibu byabwe bwe Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, obujja okubatuusa mu mbeera ennungi. Emyaka bwe gyagenda giyitawo, enkyukakyuka nnyingi zaakolebwa mu magazini eyo okusobola okutuukagana n’ebyetaago by’abantu eby’omu kiseera ekyo. Mu 1937, erinnya lya magazini eno lyakyusibwa n’etandika okuyitibwa Consolation. Mu 1946, yatandika okuyitibwa Awake!, erinnya ly’ekyayitibwa ne leero.
3. Awake! yeeyambisiddwa nnyo mu kutuukiriza bunnabbi ki?
3 Okuva lwe yasooka okukubibwa, magazini eno yeeyambisiddwa nnyo mu mulimu gw’okubuulira ogubadde gukolebwa okuviira ddala mu 1919. (Mat. 24:14) Kyokka, olw’obukulu bw’ebiseera bye tulimu, kirabika kisaanira okwongera okukola enkyukakyuka mu Awake!
4. (a) Kiki omuntu ky’alina okukola bw’aba ayagala okuwonyezebwawo ku ‘lunaku lw’obusungu bwa Yakuwa’? (b) Okusinziira ku Okubikkulirwa 14: 6, 7, kiki ‘malayika abuukira mu bbanga ery’omu ggulu’ ky’akubiriza abantu bonna okukola?
4 Abantu bukadde na bukadde banyumirwa okusoma Awake! kubanga eyogera ku bintu eby’enjawulo ebitali bya ddiini ate mu ngeri esikiriza. Awatali kubuusabuusa, abasinga obungi ku abo ababeerawo ku mukolo gw’Ekijjukizo buli mwaka, basomi ba Awake! Wadde kiri kityo, omuntu yenna bw’aba ng’ayagala okuwonyezebwawo ku ‘lunaku lw’obusungu bwa Yakuwa,’ yeetaaga okuyambibwa okukola ekisingawo ku kusoma obusomi ebitabo byaffe.—Zef. 2:3; Kub. 14:6, 7.
5. (a) Okutandika ne Awake! aka Jjanwali 2006, kiki ekijja okuteekebwako ennyo essira? (b) Abantu bangi bayinza kukubirizibwa kukola ki, era ekyo nga kituukiriza bunnabbi ki?
5 N’olwekyo, okutandika ne Jjanwali 2006, Awake! ejja kuteeka nnyo essira ku Bwakabaka bwa Katonda. Ejja kwongera okukubiriza abagisoma okukozesa Baibuli basobole okufuna amagezi aganaabayamba okugonjoola ebizibu byabwe era yeeyongere okulaga ekyo Baibuli ky’eyogera ku mbeera eziriwo leero. Mu ngeri eyo, abagisoma bajja kutegeera bulungi embeera eziriwo leero era oboolyawo bakubirizibwe okwagala okumanya ebisingawo ku Yakuwa.—Zek. 8:23.
6, 7. (a) Awake! eneeyamba etya abantu bangi okuteeka mu nkola 1 Abasessaloniika 2:13? (b) Awake! ejja kufulumizibwanga emirundi emeka buli mwezi, era enkyukakyuka eno ejja kukwata ku nnimi mmeka?
6 Awake! ejja kwongera okubaamu ebintu ebisikiriza abantu bonna okutwalira awamu. Kyokka, essira lijja kusinga kuteekebwa ku Baibuli. (1 Bas. 2:13) Okuva Watchtower bwe yeesigamiziddwa ennyo ku Baibuli ate nga ne Awake! ejja kubaamu ebintu bingi ebyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, kirabika tekijja kwetaagisa kweyongera kufulumya Awake! emirundi ebiri buli mwezi. N’olwekyo, okutandika ne Jjanwali 2006, Awake! ejja kufulumizibwanga omulundi gumu gwokka buli mwezi. Kino kijja kukifuula kyangu okugiteekateeka, okugivvuunula n’okugiweereza mu bifo ebitali bimu.
7 Enkyukakyuka eno ejja kukwata ku nnimi 40 ku buli kikumi Awake! mw’ekubibwa. Mu nnimi nnyingi, Awake! efulumizibwa omulundi gumu buli mwezi oba emirundi ena buli mwaka. Tewajja kubaawo nkyukakyuka yonna mu Watchtower.
8. Ababuulizi bayinza kugaba batya Awake! wamu ne Watchtower?
8 Ababuulizi bayinza okugaba Awake! aka buli mwezi awamu n’emu ku Watchtower ez’omwezi ogwo. Abo abagaba Awake! basobola okukozesa ennyanjula emu yokka okumala omwezi gwonna obutafaananako nga bwe kiri kati.
9. Awake! ejja kwongera kweyambisibwa mu ngeri ki?
9 Okuva lwe yasooka okufulumizibwa mu 1919, magazini eyayitibwanga The Golden Age, oluvannyuma n’eyitibwa Consolation, ate kati emanyiddwa nga Awake!, yeeyambisiddwa nnyo mu mulimu gw’okubuulira. Tusaba Yakuwa ayongere okutuwa omukisa nga tugaba magazini eno wadde ng’ekoleddwamu enkyukakyuka era yeeyongere okuyamba abantu okuva mu “buli ggwanga, n’ebika n’abantu n’ennimi” okweyongera okwesiga Obwakabaka bwa Katonda nga bwe bwokka obujja okugonjoola ebizibu byabwe.—Kub. 7:9.