LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 5/00 lup. 1
  • “Mutunulenga”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Mutunulenga”
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Similar Material
  • ‘Mutunulenga’!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Buulira n’Obunyiikivu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Yamba Abantu ‘Okuzuukuka Okuva mu Tulo’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Ebinaatuyamba Okubuulira n’Obunyiikivu
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 5/00 lup. 1

“Mutunulenga”

1 Oluvannyuma lw’okwogera ku bintu ebikulu ebyandirambye ennaku ez’oluvannyuma ez’embeera zino ez’ebintu, Yesu yakubiriza abayigirizwa be ‘okutunulanga.’ (Mak. 13:33) Lwaki Abakristaayo bateekwa okusigala nga batunula? Kubanga tuli mu kiseera ekisingirayo ddala okuba eky’akabi mu byafaayo by’omuntu. Tetuteekwa kusumagira mu by’omwoyo. Ekyo kiyinza okutulemesa okusiima omulimu Yakuwa gw’atuwadde okukola mu kiseera kino eky’enkomerero. Mulimu ki ogwo?

2 Yakuwa akozesa abantu be okubuulira mu nsi yonna amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwe​—essuubi ly’abantu lyokka. Okukolera awamu n’entegeka ya Katonda kitwawulawo ng’Abakristaayo ab’amazima, abategeera obukulu bw’ebiseera bye tulimu era n’obwetaavu bw’okuyamba abalala okuwulira “ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 6:68) Bwe tunyiikirira omulimu guno omukulu ennyo, tuwa obujulizi obulaga nti tutunula mu by’omwoyo.

3 Tukubirizibwa Okubuulira: Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, twandibadde n’endowooza entuufu ku buweereza bwaffe. Okwagala Katonda ne muliraanwa waffe kutukubiriza kinnoomu okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. (1 Kol. 9:16, 17) Bwe tukola bwe tutyo, tujja kuwonya obulamu bwaffe n’obw’abo abatuwuliriza. (1 Tim. 4:16) Tube bamalirivu obutayosa kwenyigira mu kubuulira era n’okuwaayo ebiseera bingi nga bwe kyetaagisa mu kubuulira ku gavumenti esingirayo ddala obulungi abantu gye bayinza okufuna​—Obwakabaka bwa Katonda!

4 Obukulu bw’obuweereza bwaffe bwolesebwa ensonga endala enkulu​—ekibonyoobonyo ekinene kijja kubalukawo nga tukyakola omulimu guno. Obutamanya lunaku na kiseera kitwetaagisa okubeera nga tutunula era nga tuli beetegefu ekiseera kyonna, nga twesigamye ku Yakuwa okuyitira mu kusaba. (Bef. 6:18) Omulimu gw’okubuulira gweyongera okugaziwa. Naye olunaku lumu mu kiseera ekitali kya wala, omulimu gw’okuwa obujulirwa obusingayo obukulu mu byafaayo by’omuntu gujja kutuuka ku nkomerero.

5 N’obwesigwa goberera ekiragiro kya Yesu ‘okutunulanga.’ Kino kikulu nnyo n’okusinga bwe kyali kibadde. Ka twanukule mu ngeri eraga nti tutegeera obukulu bw’ebiseera bye tulimu. Leero era buli lunaku, ka tubeere bulindaala mu by’omwoyo era nga tuli banyiikivu mu buweereza bwa Yakuwa. Yee, ka ‘tutunulenga era tubenga bulindaala.’​—1 Bas. 5:6, NW.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share