Yigiriza mu Ngeri Esikiriza
1. Okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda mu buweereza kizingiramu ki?
1 Ababuulizi abalungi ng’omutume Pawulo, bakimanyi nti ‘okukwata ekigambo eky’amazima mu ngeri entuufu’ tekikoma ku kujuliza bujuliza Byawandiikibwa Ebitukuvu. (2 Tim. 2:15) Nga tukozesa Ekigambo kya Katonda, tuyinza tutya okuyigiriza mu ngeri ‘esikiriza’?—Bik. 28:23.
2. Tuyinza tutya okuyamba abantu okweyongera okusiima Ekigambo kya Katonda?
2 Leka Ekigambo kya Katonda Kyogere: Ekisooka, kozesa Baibuli mu ngeri ereetera abantu okussa ekitiibwa mu magezi agava eri Katonda agagirimu. Bwe twesiga Ekigambo kya Katonda kiyinza okuleetera abatuwuliriza okussaayo omwoyo nga tubasomera ekyawandiikibwa. (Beb. 4:12) Tuyinza okugamba: “Nkisanze nga kya muganyulo okumanya endowooza ya Katonda ku nsonga eno. Weetegereze Ekigambo kye kye kigamba.” Buli lwe kiba kisobose, leka Ekigambo kya Katonda kyogere ng’okisoma butereevu.
3. Ng’omaze okusoma ekyawandiikibwa kiki ky’oyinza okukola okuyamba akuwuliriza okutegeera amakulu gaakyo?
3 Ekyokubiri, nnyonnyola ekyawandiikibwa ky’osomye. Abantu bangi bazibuwalirwa okutegeera ekyawandiikibwa bwe guba nga gwe mulundi gwabwe ogusoose okukiwulira. Baba beetaaga okunnyonnyolwa engeri gye kikwataganamu n’ensonga eba eyogerwako. (Luk. 24:26, 27) Essira lisse ku bigambo ebiggyayo ensonga enkulu. Okumubuuza ekibuuzo kiyinza okukuyamba okukakasa oba nga ensonga agitegedde bulungi.—Nge. 20:5; Bik. 8:30.
4. Mutendera ki ogusembayo ogunaatuyamba okuyigiriza mu ngeri esikiriza?
4 Kubaganya Naye Ebirowoozo ku Byawandiikibwa: Ekyokusatu, fuba okumutuuka ku mutima. Yamba oyo gw’obuulira okulaba engeri ekyawandiikibwa gye kimukwatako ye kennyini. Okukubaganya ebirowoozo n’omuntu ku Byawandiikibwa kiyinza okumuleetera okukyusa endowooza ye. (Bik. 17:2-4; 19:8) Ng’ekyokulabirako, ng’omaze okusoma Zabbuli 83:18 oyinza okukubaganya naye ebirowoozo ku ngeri okutegeera erinnya ly’omuntu gye kiri ekikulu ennyo mu kukulaakulanya enkolagana ey’okulusegere n’omuntu oyo. Oluvannyuma oyinza okumubuuza nti, “Olowooza okumanya erinnya lya Katonda kinaafuula essaala zo okuba ez’amakulu?” Mu ngeri eyo, okukwataganya ekyawandiikibwa n’embeera y’oyo gw’obuulira kiraga omuganyulo oguli mu kyawandiikibwa ekyo. Bw’oyigiriza mu ngeri ng’eyo esikiriza ng’okozesa Ekigambo kya Katonda, kireetera abantu abeesimbu okwagala okusinza Katonda ow’amazima, Yakuwa.—Yer. 10:10.