LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 4/12 lup. 3-4
  • Ganyulwa mu Bujjuvu mu Kwesomesa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ganyulwa mu Bujjuvu mu Kwesomesa
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
km 4/12 lup. 3-4

Ganyulwa mu Bujjuvu mu Kwesomesa

1. Okwesomesa n’okufumiitiriza biyinza kutuyamba bitya?

1 Tuganyulwa nnyo bwe ‘tussaayo ennyo omwoyo’ nga twesomesa era nga tufumiitiriza. (Beb. 2:1) Okusoma n’okufumiitiriza ku bye tuba tusomye mu Bayibuli ne mu bitabo by’Ekikristaayo, kitusobozesa okunnyikiza amazima agali mu Kigambo kya Katonda mu mitima gyaffe. Era kino kijja kubaako kye kikola ku ngeri gye tulowoozaamu n’engeri gye tweyisaamu. Mu butuufu, kijja kutuyamba okufuna essanyu mu kukola Yakuwa by’ayagala. (Zab. 1:2; 40:8) N’olwekyo, twetaaga okuyiga okussaayo omwoyo nga tusoma. Kyangu nnyo okuwugulibwa! Ebintu ebitonotono gamba ng’essimu, oba ekintu kyonna ekireekaana, biyinza okutuwugula. Oba ne bwe watabaawo bintu ng’ebyo ebituwugula, tuyinza okwesanga nga kituzibuwalira okussaayo omwoyo. Tuyinza okutuula wansi nga tulina ekigendererwa eky’okwesomesa, naye tugenda okwejjuukiriza ng’ebirowoozo byaffe bizze ku bintu birala. Tuyinza tutya “okussaayo ennyo omwoyo” nga twesomesa Ekigambo kya Katonda?

2. (a) Lwaki kikulu nnyo okukola enteekateeka ey’okwesomesa? (b) Okoze nteekateeka ki ey’okwesomesa Ekigambo kya Katonda?

2 Kiba kirungi okukola enteekateeka n’okulonda ekifo ekirungi eky’okusomeramu. Abasinga obungi ku ffe kituzibuwalira okufuna ekiseera n’ekifo ekisirifu. Muli tuyinza okuwulira nti tulina eby’okukola bingi buli lunaku. Wadde kiri kityo, tulina okufuba ennyo okufuna akadde ak’okwesomesa. Tetuyinza kulinda bulinzi okutuusa lwe tufuna akadde ak’okwesomesa. Mu kifo ky’ekyo, tulina okwegulira ebiseera tusobole okwesomesa. (Bef. 5:15, 16) Abamu bakozesa akadde ak’oku makya nga tewali bibataataaganya. Abalala bakisanze ng’obudde bw’akawungeezi buba bulungi. Ekikulu kiri nti tulina okufuba okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda n’Omwana we. (Yok. 17:3) N’olwekyo, ka tukole enteekateeka ey’okwesomesa era tuginywerereko.

3. Okufumiitiriza kye ki, era kuyinza kutuyamba kutya?

3 Okufumiitiriza, kwe kugamba, okulowooza ennyo ku ebyo bye tuba tuyize nga tusoma, kukulu nnyo. Kutuyamba okuggya ebirowoozo bya Katonda ku lupapula ne tubiyingiza mu mitima gyaffe. Okufumiitiriza kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okukolera ku kubuulirira okuli mu Bayibuli ne tusobola okubeera ‘abakozi b’ekigambo so si abawulizi obuwulizi.’ (Yak. 1:22-25) Okugatta ku ebyo, okufumiitiriza kutuyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, kubanga kutusobozesa okulowooza ku ngeri ze n’okulaba engeri gye zeeyolekera mu ebyo bye tuba tusoma.

4. Kiki ekiyinza okutusobozesa okufumiitiriza obulungi?

4 Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu bye tusoma era ne mu kufumiitiriza, tulina okukuuma ebirowoozo byaffe bireme kuwugulibwa. Okusobola okuyingiza ebintu ebippya mu birowoozo byaffe nga tufumiitiriza, twetaaga okuggya ebirowoozo byaffe ku bintu byonna ebiyinza okutuwugula. Okufumiitiriza kitwala obudde era kyetaagisa okufuna ekifo ekisirifu. Nga kizzaamu nnyo amaanyi okulya emmere ey’eby’omwoyo n’okunywa amazzi ag’obulamu agali mu Kigambo kya Katonda!

5. (a) Kiki ekiyambye abamu okwongera okussaayo omwoyo nga beesomesa? (b) Twandibadde na kiruubirirwa ki nga twesomesa, era miganyulo ki gye tuyinza okufuna?

5 Watya singa tuba tetusobola kussaayo mwoyo kumala kiseera kiwanvu era nga bwe tuba twakatandika okusoma, ebirowoozo byaffe bidda ku bintu birala? Abamu ekibayambye okuyiga okussaayo omwoyo kwe kuba nti mu ntandikwa batwala ebbanga ttono nga basoma naye ne bagenda nga balyongerako mpolampola. Ekiruubirirwa kyaffe kyandibadde kya kukozesa obudde obumala nga tusoma mu kifo ky’okupapiriza. Tusaanidde okulaba nti tunyumirwa bye tusoma. Ate era tuyinza okunoonyereza ebisingawo nga tukozesa ebitabo ebituweebwa ekibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi. Waliwo emiganyulo mingi egiva mu kunoonyereza “mu bintu bya Katonda eby’ebuziba.” (1 Kol. 2:10) Bwe tukola bwe tutyo, tweyongera okumanya Katonda n’okukulaakulanya obusobozi bwaffe obw’okutegeera. (Beb. 5:14) Bwe tubeera abayizi ba Bayibuli abanyiikivu, kijja kutuyamba okuba “n’ebisaanyizo by’okuyigiriza abalala.”—2 Tim. 2:2.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share